Emikono Gyammwe Gibe n’Amaanyi
“Emikono gyammwe gibe n’amaanyi, mmwe abawulira mu nnaku zino ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi.”—ZEKKALIYA 8:9.
1, 2. Lwaki tusaanidde okwekenneenya ekitabo kya Kaggayi n’ekya Zekkaliya?
WADDE ng’obunnabbi bwa Kaggayi ne Zaakaliya bwawandiikibwa emyaka 2,500 emabega, bukyali bwa mugaso nnyo ne mu kiseera kino. Ebyo ebiri mu bitabo bino byombi, si ngero bugero ezikwata ku bintu ebyaliwo edda. Bye bimu ku ebyo ‘ebyawandiikibwa edda okutuyigiriza ffe.’ (Abaruumi 15:4) Bingi ku ebyo bye tusoma mu bitabo bino bituleetera okulowooza ku mbeera ezibaddewo okuva Obwakabaka lwe bwateekebwawo mu ggulu mu 1914.
2 Bwe yali ayogera ebyo ebyatuuka ku bantu ba Katonda abaaliwo mu biseera eby’edda, omutume Pawulo yagamba: “Naye ebyo byababaako abo okubeeranga ebyokulabirako; era byawandiikibwa olw’okutulabulanga ffe abatuukiddwako enkomerero z’emirembe.” (1 Abakkolinso 10:11) Kati oyinza okwebuuza nti, ‘mu ngeri ki ekitabo kya Kaggayi n’ekya Zekkaliya gye biri eby’omugaso gye tuli?’
3. Obunnabbi bwa Kaggayi ne Zekkaliya businga kwogera ku ki?
3 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, ebyo ebiri mu bunnabbi bwa Kaggayi ne Zekkaliya bikwata ku ebyo ebyaliwo mu kiseera Abayudaaya we baddirayo mu nsi eyali ebaweereddwa Katonda nga bavudde mu buwaŋŋanguse e Babulooni. Bannabbi abo ababiri baasinga kwogera ku mulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu. Mu 536 B.C.E., Abayudaaya baazimba omusingi gwa yeekaalu. Wadde ng’Abayudaaya abamu abaali bakaddiye baanakuwala bwe bajjukira yeekaalu ey’edda bwe yali efaanana, okutwalira awamu abantu bonna baasanyuka ‘ne boogerera waggulu n’essanyu.’ Ne mu kiseera kino, waliwo ekintu ekikulu ennyo n’okusingawo ekikolebwa mu kiseera kino. Kye kiruwa ekyo?—Ezera 3:3-13.
4. Kiki ekyaliwo oluvannyuma lwa Ssematalo I?
4 Nga wayiseewo ekiseera kitono oluvannyuma lwa Ssematalo I, abaweereza ba Yakuwa abaafukibwako amafuta baasumululwa okuva mu buwambe bwa Babulooni Ekinene. Kino kyalaga nti balina obuwagizi bwa Yakuwa. Mu kusooka, bannabyabufuzi ne bannaddiini baalabika ng’abakomezza omulimu gw’Abayizi ba Baibuli ogw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. (Ezera 4:8, 13, 21-24) Kyokka, Yakuwa Katonda yaggyawo enkonge zonna ezaali ziremesezza omulimu ogwo okugenda mu maaso. Bwe kityo, okuviira ddala mu 1919, wabaddewo okweyongerayongera kwa maanyi mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka era tewali kisobodde kuguziyiza.
5, 6. Ebigambo ebiri mu Zekkaliya 4:7 bituukiriziddwa bitya mu kiseera kyaffe?
5 Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kweyongera okuwagira omulimu gw’abaweereza be ogw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. Okusinziira ku Baibuli y’Oluganda eya 2003 Zekkaliya 4:7, lugamba nti: “Bw’oliba ozimbako ejjinja erimaliriza abantu balireekaana nti ‘Nga ddungi nga ddungi!’” Kino kituukiriziddwa kitya mu biseera byaffe?
6 Zekkaliya 4:7 lwayogera ku kiseera abasinza ba Mukama Afuga Byonna lwe balimusinza mu ngeri etuukiridde mu mpya za yeekaalu ye ey’eby’omwoyo ey’oku nsi. Yeekaalu eyo ye nteekateeka Yakuwa gy’ataddewo ey’okumusinza nga tusinziira ku ssaddaaka ya Yesu Kristo. Kyo kituufu nti, enteekateeka eno ey’okusinza ebaddewo okuviira ddala mu kyasa ekyasooka C.E., naye ekiseera kijja kutuuka okusinza okw’amazima kutuuke ku kigera eky’obutuukirivu. Mu kiseera kino, abantu bukadde na bukadde baweereza mu mpya za yeekaalu ey’eby’omwoyo ey’oku nsi. Abantu bano n’abalala nkumu abaliba bazuukiziddwa, bajja kufuuka abatuukiridde mu Bufuzi bwa Yesu Kristo obw’Emyaka Olukumi. Ku nkomerero y’emyaka egyo, abasinza ba Katonda ab’amazima be bokka abajja okusigala ku nsi eno ng’emaze okulongoosebwa.
7. Kifo ki Yesu ky’alina mu kuzza okusinza okw’amazima ku kigero eky’obutuukirivu mu kiseera kyaffe, era lwaki kino kizzaamu amaanyi?
7 Gavana Zerubbaberi ne Kabona Omukulu Yoswa baaliwo nga yeekaalu emalirizibwa okuzimbibwa mu 515 B.C.E. Zekkaliya 6:12, 13 waalagula nti Yesu yandikoze kinene nnyo mu kuzza okusinza okw’amazima ku kigero eky’obutuukirivu. Wagamba nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti Laba omuntu, erinnya lye Ettabi; naye aliroka mu kifo kye ye, era alizimba yeekaalu ya Mukama; era oyo . . . ye alitwala ekitiibwa, alituula ku ntebe ye alifuga; aliba kabona ku ntebe ye.” Okuva Yesu, ettabi ery’omu lunyiriri lwa Dawudi bw’ali emabega w’omulimu gw’Obwakabaka ogukolebwa mu yeekaalu ey’eby’omwoyo, waliwo ayinza okugulemesa okugenda mu maaso? Awatali kubuusabuusa tewali n’omu! Bwe kiba bwe kityo, kino tekyanditukubirizza okunyiikirira obuweereza bwaffe ne tutakkiriza kintu kyonna kutuwugula?
Okusoosa Ebikulu
8. Lwaki tuteekwa okukulembeza omulimu gw’omu yeekaalu ey’eby’omwoyo?
8 Yakuwa okusobola okutuyamba n’okutuwa emikisa gye, tuteekwa okukulembeza omulimu gw’omu yeekaalu ye ey’eby’omwoyo. Okwawukana ku Bayudaaya abaagamba nti: ‘Kino si kye kiseera,’ tuteekwa okujjukira nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma.” (Kaggayi 1:2; 2 Timoseewo 3:1) Yesu yalagula nti abagoberezi be abeesigwa bandibuulidde amawulire amalungi ag’Obwakabaka era ne bafuula abantu abayigirizwa. Tetusaanidde kulagajjalira mulimu gwaffe ogw’okubuulira amawulire amalungi. Omulimu guno ogwali guyimiriziddwa gwaddamu okukolebwa mu 1919 era tegunnaggwa. Wadde kiri kityo, tuli bakakafu nti ekiseera kijja kutuuka gumalirizibwe.
9, 10. Kiki omuntu ky’asaanidde okukola bw’aba wa kufuna mikisa gya Yakuwa, era kino kituleetera okukola ki?
9 Gye tunaakoma okunyiikira omulimu guno, Yakuwa gy’anaakoma okutuwa emikisa gye. Weetegereze ekisuubizo kye ekizzaamu amaanyi. Abayudaaya bwe bandizzeemu okumusinza n’omutima gwabwe gwonna era ne baddamu okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okuzimba omusingi gwa yeekaalu, Yakuwa yabagamba nti: “Okuva ku lunaku lwa leero ndibawa omukisa.” (Kaggayi 2:19) Baali bajja kuddamu okufuna emikisa gye. Ate weetegereze emikisa egyogerwako wano: “Wanaabanga ensigo ez’emirembe; omuzabbibu gunaawanga emmere yaagwo; ettaka linaawanga ekyengera kyalyo; n’eggulu linaawanga omusulo gwalyo; nange ndisisa ekitundu ky’abantu bano ekirisigalawo ebintu ebyo byonna.”—Zekkaliya 8:9-13.
10 Nga Yakuwa bwe yawa Abayudaaya emikisa mu by’omwoyo ne mu by’omubiri, naffe ajja kutuwa emikisa gye bwe tunaanyiikira okukola omulimu gw’atuwadde. Emikisa gino gizingiramu emirembe gye tulina, obukuumi, n’okukulaakulana mu by’omwoyo. Kyokka, tusaanidde okukijjukira nti Katonda bw’aba wa kwongera okutuwa emikisa gye, naffe tulina okukola omulimu gw’omu yeekaalu ye ey’eby’omwoyo nga bw’ayagala.
11. Tuyinza tutya okumanya obanga tusoosa ebintu ebisinga obukulu mu bulamu?
11 Kino kye kiseera ‘okufumiitiriza ku makubo gaffe.’ (Kaggayi 1:5, 7) Ffenna tulina okwekebera tusobole okumanya ebintu bye tukulembeza mu bulamu. Yakuwa atuwa emikisa gye leero ng’asinziira ku ngeri gye tugulumizaamu erinnya lye n’engeri gye tukolamu omulimu gw’omu yeekaalu ye ey’eby’omwoyo. Oyinza okwebuuza nti: ‘Nkyakulembeza ebintu ebisinga obukulu mu bulamu? Nkyali munyiikivu mu kuweereza Yakuwa, nkyayagala amazima, era nkyali munyiikivu mu mulimu gwe nga bwe nnali nga nnaakabatizibwa? Nnemeddwa okuweereza Yakuwa n’omutima gwange gwonna, n’okusoosa eby’Obwakabaka olw’okuba njagala okugaggawala? Nnemereddwa okugulumiza erinnya lya Yakuwa n’okukola omulimu gw’omu yeekaalu ye ey’eby’omwoyo olw’okutya abantu?’—Okubikkulirwa 2:2-4.
12. Mbeera ki Abayudaaya gye baalimu eyogerwako mu Kaggayi 1:6, 9?
12 Mazima ddala tetwagala Katonda kutuggyako mikisa gye olw’okulagajjalira omulimu gw’okugulumiza erinnya lye. Kijjukire nti Abayudaaya abaali bakomyewo ku butaka baatandika n’ebbugumu okuzimba yeekaalu naye oluvannyuma ‘badduka buli muntu eri ennyumba ye,’ nga bwe kiragibwa mu Kaggayi 1:9. Baatandika okwekolera ebyabwe ku bwabwe. N’ekyavaamu, ‘baakungulanga ebintu bitono nnyo,’ emmere n’eby’okunywa byalinga tebibamala, n’engoye zaalinga tezibabugumya. (Kaggayi 1:6) N’olw’ensonga eyo, Yakuwa yabaggyako emikisa gye. Kino tulina kye tukiyigirako?
13, 14. Tuyinza tutya okussa mu nkola ebyo bye tuyiga mu Kaggayi 1:6, 9, era lwaki kino kikulu?
13 Okusobola okweyongera okufuna emikisa gya Yakuwa, tuteekwa okwewala okukulembeza ebintu ebiyinza okutulemesa okusinza Yakuwa. Tuteekwa okwewala okwenoonyeza eby’obugagga, omwoyo gw’okwagala okugaggawala amangu, okuluubirira obuyigirize obwa waggulu okusobola okuba abaatiikirivu mu mulembe guno n’okwagala okufuna buli kintu.
14 Ebintu ng’ebyo ku bwabyo si bibi. Kyokka, okyetegerezza nti ebyo bye “bikolwa ebifu” ebiyinza okutulemesa okufuna obulamu obutaggwaawo? (Abaebbulaniya 9:14) Lwaki kigambibwa nti ebintu ebyo ‘bikolwa bifu’? Kubanga bifu mu ngeri ey’eby’omwoyo, tebirina mugaso era tebiriimu kalungi konna. Singa omuntu yeeyongera okubyenyigiramu, biyinza okumuviirako okufa mu by’omwoyo. Ekyo kyennyini kye kyatuuka ku Bakristaayo abamu abaafukibwako amafuta mu kiseera ky’abatume. (Abafiripi 3:17-19) Era ekintu kye kimu kituuse ne ku Bakristaayo abamu mu kiseera kyaffe. Oyinza okuba ng’olina abamu b’omanyi abaddirira mu buweereza bwabwe era ne bava ne mu kibiina; era nga kati tebakyayagala kuweereza Yakuwa. Wadde ng’omuntu bwe yenyigira mu “bikolwa ebifu” aba takyasiimibwa Yakuwa era nga takyafuna mikisa gye, tusuubira nti abantu ng’abo bajja kutuusa ekiseera badde eri Yakuwa. Nga kiba kya nnaku nnyo omuntu okutuuka mu mbeera ng’eyo! Omuntu oyo aba takyalina ssanyu na mirembe; ebibala eby’omwoyo gwa Katonda, era aba takyalina nkolagana na baganda be Abakristaayo.—Abaggalatiya 1:6; 5:7, 13, 22-24.
15. Kaggayi 2:14 walaga watya obukulu bw’okusinza kwaffe?
15 Okusobola okumanya obukulu bw’ensonga eno, ka twetegereze Kaggayi 2:14 tulabe engeri Yakuwa gye yatunuuliramu Abayudaaya abaalagajjalira omulimu gw’okuzimba yeekaalu ne badda mu kuyooyoota amayumba gaabwe. Lugamba: “Abantu bano bwe bali bwe batyo, era eggwanga lino bwe liri bwe lityo mu maaso gange, bw’ayogera Mukama; era na buli mulimu ogw’emikono gyabwe bwe guli bwe gutyo; n’ekyo kye baweerayo eyo si kirongoofu.” Ssaddaaka Abayudaaya abo ze baaweerangayo ku kyoto ky’omu Yerusaalemi, Yakuwa teyazisiimanga kubanga baali balagajjalidde okusinza okw’amazima.—Ezera 3:3.
Katonda Asuubiza Okuyamba Abasinza Be
16. Okusinziira ku kwolesebwa okwaweebwa Zekkaliya, biki Katonda bye yasuubiza Abayudaaya?
16 Okuyitira mu kwolesebwa okw’emirundi omunaana Zekkaliya kwe yafuna, Katonda yakakasa Abayudaaya nti yali ajja kubayamba mu mulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu. Mu kwolesebwa okwasooka, yabakakasa nti bwe bandimugondedde ne bagenda mu maaso n’omulimu gw’okuzimba, yeekaalu yandimaliriziddwa era Yerusaalemi ne Yuda byandizzeemu okuba mu mbeera ennungi. (Zekkaliya 1:8-17) Mu kwolesebwa okw’okubiri, yabakakasa nti yali ajja kusaanyawo gavumenti zonna ezaali ziziyiza okusinza okw’amazima. (Zekkaliya 1:18-21) Mu kwolesebwa okulala okwaddirira yabakakasa nti ajja kubakuuma nga bakola omulimu gw’okuzimba yeekaalu era asobozese abantu ab’amawanga ag’enjawulo okwekuluumulira mu nnyumba ye ewedde okuzimbibwa. Ate era yabasuubiza okubawa emirembe, obukuumi, okubaggirawo ebizibu ebiringa ensozi ebyali byekiise mu mulimu gwabwe, n’okubaggirawo obubi. Yabasuubiza nti yandikozesezza malayika okulabirira omulimu ogw’okuzimba n’okubakuuma. (Zekkaliya 2:5,11; 3:10; 4:7; 5:6-11; 6:1-8) Oluvannyuma lw’okubasuubiza ebintu ebyo byonna, Abayudaaya abawulize baakola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe ne beemalira ku mulimu ogwali gubakomezzaawo ku butaka.
17. Okuva bwe kiri nti okusinza okw’amazima kulina okutuuka ku buwanguzi, bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
17 Mu ngeri y’emu, olw’okuba tukimanyi nti okusinza okw’amazima kulina okutuuka ku buwanguzi, kino kyanditukubirizza okukola n’amaanyi mu buweereza n’okufaayo ennyo ku nnyumba ya Yakuwa ey’okusinzizaamu. Weebuuze: ‘Engeri gye nneeyisaamu n’ebiruubirirwa byange byoleka nti nzikiriza nti kino kye kiseera okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa? Mpaayo ebiseera ebimala okusoma Ekigambo kya Katonda eky’obunnabbi, era ebyo bye nsoma mbinyumyako nga ndi ne Bakristaayo bannange n’okukibuulirako abo be nsanga?’
18. Okusinziira ku Zekkaliya essuula 14, bintu ki ebijja okutuukirizibwa mu biseera eby’omu maaso?
18 Zekkaliya yayogera ku kuzikirizibwa kwa Babulooni Ekinene era n’alaga nti oluvannyuma lw’okuzikirizibwa okwo wandibaddewo olutalo lwa Kalumagedoni. Tusoma nti: “Walibeera olunaku lumu olumanyibwa Mukama; si musana so si kiro; naye olulituuka akawungeezi walibeera omusana.” Yee, olunaku lwa Yakuwa lujja kuba lunaku lwa nzikiza eri abalabe be ku nsi. Kyokka, bo abasinza be abeesigwa bajja kuwonyezebwawo era babeere mu kitangaala eky’olubeerera. Zekkaliya era yannyonnyola engeri ebintu byonna ebinaabeera mu nsi empya gye bijja okulangirira obutukuvu bwa Yakuwa. Okusinza okw’amazima mu yeekaalu ya Katonda ey’eby’omwoyo egulumiziddwa kwe kwokka okujja okubeera ku nsi. (Zekkaliya 14:7, 16-19) Nga kino kiriba kirungi nnyo! Mu kiseera ekyo, tujja kulaba okutuukirizibwa kw’ebintu ebyalagulwa era tujja kulaba ng’obufuzi bwa Yakuwa bugulumizibwa. Ng’olunaku lwa Yakuwa olwo luliba lwa njawulo nnyo!
Emikisa egy’Olubeerera
19, 20. Lwaki oyinza okugamba nti ebigambo ebiri mu Zekkaliya 14:8, 9 bizzaamu amaanyi?
19 Oluvannyuma olw’okugulumizibwa kw’obufuzi bwa Yakuwa, Setaani ne badayimooni be bajja kusibibwa basuulibwe mu bunnya obutakoma. (Okubikkulirwa 20:1-3, 7) Oluvannyuma,abantu bajja kufuna emikisa mingi mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. Zekkaliya 14:8, 9 wagamba: “Awo olulituuka ku lunaku luli [mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi], amazzi amalamu galiva e Yerusaalemi; ekitundu kyago kirigenda mu nnyanja ey’ebuvanjuba n’ekitundu kyago mu nnyanja ey’ebugwanjuba; kiriba bwe kityo mu kyeya ne mu ttogo. Era Mukama aliba Kabaka w’ensi zonna: ku lunaku luli Mukama alibeera omu n’erinnya lye limu.”
20 “Amazzi amalamu,” oba “omugga ogw’amazzi ag’obulamu,” ogukiikirira enteekateeka ya Yakuwa ey’okuwa abantu obulamu, gujja kukulukuta emirembe n’emirembe okuva mu ntebe y’Obwakabaka bwa Masiya. (Okubikkulirwa 22:1, 2) Abasinza ba Yakuwa ab’ekibiina ekinene, abanaaba bawonyeewo ku Kalumagedoni, bajja kusumululwa mu kibi kya Adamu ekivaako okufa. N’abo abaafa bajja kuzuukizibwa baganyulwe mu mikisa egyo. Oluvannyuma Yakuwa ajja kutandika okufuga ensi era abantu bonna ku nsi bajja kumutwala ng’Omufuzi ow’Obutonde Bwonna agwanidde okusinzibwa.
21. Kiki kye tumaliridde okukola?
21 Okusinziira ku ebyo Kaggayi ne Zekkaliya bye baalagula n’ebyo byonna ebituukiriziddwa, tulina ensonga ennungi okweyongera okukola omulimu Katonda gw’atuwadde mu yeekaalu ye ey’eby’omwoyo. Nga bwe tulindirira ekiseera okusinza okw’amazima lwe kulibeera ku ssa ery’obutuukirivu, ka tufube okukulembeza eby’Obwakabaka. Zekkaliya 8:9 lutukubiriza bwe luti: “Emikono gyammwe gibe n’amaanyi, mmwe abawulira mu nnaku zino ebigambo ebiva mu kamwa ka bannabbi.”
Ojjukira?
• Bintu ki ebifuula ekitabo kya Kaggayi ne Zekkaliya okuba eby’omugaso ennyo leero?
• Biki bye tuyigira mu kitabo kya Kaggayi ne Zekkaliya ku bikwata ku ebyo bye tulina okusoosa mu bulamu?
• Lwaki bwe tusoma ekitabo kya Kaggayi ne Zekkaliya tuba bakakafu nti tujja kuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Kaggayi ne Zekkaliya baakubiriza Abayudaaya okukola n’omutima gwabwe gwonna basobole okufuna emikisa gya Yakuwa
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]
Wemalidde nnyo ku ‘nnyumba yo’?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Yakuwa yasuubiza okuwa abantu be emikisa, era yakikola