-
Yakuwa Akyawa ObukuusaOmunaala gw’Omukuumi—2002 | Maayi 1
-
-
5, 6. (a) Lwaki bakabona be baali basingira ddala okunenyezebwa? (b) Yakuwa yalaga atya nti teyasiima bakabona?
5 Lwaki bakabona be bandibadde basingira ddala okunenyezebwa? Olunyiriri 7 lututangaaza bulungi ku nsonga: “Emimwa gya kabona gyandinywezezza okumanya, era bandinoonyezza amateeka mu kamwa ke: kubanga ye mubaka wa Mukama w’eggye.” Emyaka nga lukumi emabega, amateeka ga Katonda agaaweebwa Isiraeri okuyitira mu Musa gaagamba nti bakabona baalina obuvunaanyizibwa ‘okuyigiriza abaana ba Isiraeri amateeka gonna Mukama ge yababuulira.’ (Eby’abaleevi 10:11) Eky’ennaku, nga wayiseewo ekiseera, omuwandiisi wa 2 Ebyomumirembe 5:3 yagamba: “Ebiro bingi Isiraeri nga talina Katonda ow’amazima era nga talina kabona ayigiriza era nga talina Mateeka.”
6 Mu kiseera kya Malaki, mu kyasa eky’okutaano B.C.E., bakabona tebaakyusaako. Baalemererwa okuyigiriza abantu Amateeka ga Katonda. N’olwekyo, bakabona abo baali beetaaga okuvunaanibwa. Weetegereze ebigambo eby’amaanyi Katonda by’abagamba. Malaki 2:3 wagamba: “Ndisiiga obusa ku maaso gammwe, obusa obwa ssaddaaka zammwe.” Nga kwali kuvumirira kwa maanyi! Obusa bw’ebisolo ebiweebwayo bwalinga bulina okufulumizibwa ebweru w’olusiisira ne bwokebwa. (Eby’Abaleevi 16:27) Naye Yakuwa bw’abagamba nti mu kifo ky’ekyo obusa bwandisiigiddwa mu maaso gaabwe, kiba kiraga bulungi nti teyasiima n’akamu ssaddaaka zaabwe n’abo abaaziwangayo.
-
-
Yakuwa Akyawa ObukuusaOmunaala gw’Omukuumi—2002 | Maayi 1
-
-
11. Baani abasingira ddala okwetaaga okuba abeegendereza?
11 Leero, abo abalina enkizo ey’okuyigiriza Ekigambo kya Katonda mu kibiina, balina okutwala okulabula okuli mu Malaki 2:7 nga kukulu. Wagamba nti emimwa gyabwe “gyandinywezezza okumanya, era [abantu] bandinoonyezza amateeka” mu kamwa kaabwe. Balina obuvunaanyizibwa bwa maanyi, kubanga Yakobo 3:1 walaga nti ‘balisalirwa omusango ogusinga obunene.’ Wadde balina okuyigiriza n’ebbugumu n’amaanyi, ebyo bye bayigiriza birina okwesigamizibwa ku Kigambo kya Katonda n’obulagirizi obuyitira mu kibiina kya Yakuwa. Mu ngeri eyo bajja kuba ‘n’ebisaanyizo by’okuyigiriza abalala.’ N’olwekyo, babuulirirwa: “Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi, ayigiriza obulungi ekigambo kya Katonda.”—2 Timoseewo 2:2, 15, NW.
12. Abo abayigiriza balina kwegendereza ki?
12 Bwe tuba tetwegenderezza, tuyinza okugattika endowooza zaffe n’ebyo bye tuyigiriza. Ekyo kiyinza okuba eky’akabi naddala omuntu bw’agezaako okwemalirira ng’ate endowooza ye ekontana n’ekibiina kya Yakuwa bye kiyigiriza. Naye Malaki essuula 2 walaga nti twandisuubidde abayigiriza mu kibiina okunywerera ku magezi agava eri Katonda so si ku ndowooza zaabwe, eziyinza okwesitazza endiga. Yesu yagamba: ‘Alyesitaza ku bano abato abantaddemu okukkiriza, waakiri asibibwe mu bulago olubengo olunene, balyoke bamusuule mu buziba bw’ennyanja.’—Matayo 18:6.
-