Ani Anaawonawo ku Lunaku lwa Yakuwa?
“Olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi.”—MALAKI 4:1.
1. Malaki ayogera atya ku nkomerero y’embeera y’ebintu bino embi?
KATONDA yaluŋŋamya nnabbi Malaki okuwandiika obunnabbi obukwata ku bintu eby’ekitalo ebyali eby’okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Ebintu ebyo bijja kukwata ku buli muntu ali ku nsi. Malaki 4:1 lugamba: “Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi; n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola obubi baliba bisasiro: awo olunaku olujja lulibookera ddala, bw’ayogera Mukama w’eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi.” Okuzikirizibwa kw’embeera zino embi kulikoma wa? Kujja kuba ng’emirandira gy’omuti egizikiriziddwa, omuti ne guba nga tegukyayinza kuddamu kuloka nate.
2. Ebyawandiikibwa ebimu byogera bitya ku lunaku lwa Yakuwa?
2 Oyinza okubuuza nti, ‘“Lunaku” ki olwo nnabbi Malaki lw’ayogerako?’ Lwe lumu n’olwo olwogerwako mu Isaaya 13:9, awagamba: “Laba, olunaku lwa Mukama lujja, olukambwe, nga lulina obusungu n’ekiruyi; okuzisa ensi, n’okuzikiriza abalina ebibi abaayo okubamalamu.” Ate Zeffaniya 1:15 lwo lunnyonnyola bwe luti: “Olunaku olwo lunaku lwa busungu, lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku, lunaku lwa [kuzikirirako] n’okulekebwawo, lunaku lwa kizikiza n’ekikome, lunaku lwa bire n’ekizikiza ekikutte.”
“Ekibonyoobonyo Ekinene”
3. ‘Olunaku lwa Yakuwa’ lwe luluwa?
3 Mu kutuukirizibwa okukulu okw’obunnabbi bwa Malaki, ‘olunaku lwa Yakuwa’ kye kiseera ekyogerwako nga “ekibonyoobonyo ekinene.” Yesu yalagula: “Kubanga mu biro ebyo waliba ekibonyoobonyo ekinene, nga tekibangawo kasookedde ensi ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate.” (Matayo 24:21) Lowooza ku kubonaabona, oba ennaku ensi by’erabye okuva mu 1914. (Matayo 24:7-12) Ssematalo ow’Okubiri yekka yatokomokeramu abantu abasukka mu bukadde 50! Kyokka, “ekibonyoobonyo ekinene” kijja kubaamu okubonaabona okusingira ewala okwo okwaliwo. Ekibonyoobonyo ekyo ekinene, okufaananako olunaku lwa Yakuwa, kikoma ku Kalumagedoni, ekiseera ennaku ez’enkomerero ez’embeera y’ebintu bino embi we kirigwerako.—2 Timoseewo 3:1-5, 13; Okubikkulirwa 7:14; 16:14, 16.
4. Ku nkomerero y’olunaku lwa Yakuwa kiki ekiriba kibaddewo?
4 Ku nkomerero y’olunaku lwa Yakuwa, ensi ya Setaani n’abawagizi baayo baliba bamaze okuzikirizibwa. Ekinaasooka okuzikirizibwa, z’eddiini zonna ez’obulimba. Oluvannyuma, enteekateeka z’eby’obufuzi n’ez’eby’obusuubuzi ezikubirizibwa Setaani nazo zijja kuzikirizibwa. (Okubikkulirwa 17:12-14; 19:17, 18) Ezeekyeri alagula bw’ati: “Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo, ne zaabu yaabwe eriba ng’ekintu ekitali kirongoofu; effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubawonya ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama.” (Ezeekyeri 7:19) Zeffaniya 1:14 lwogera bwe luti ku lunaku olwo: “Olunaku olukulu olwa Mukama luli kumpi, luli kumpi era lwanguwa mangu nnyo.” Olw’ebyo Baibuli by’eyogera ku lunaku lwa Yakuwa, twandibadde bamalirivu okutuukana n’ebyo Katonda by’atwetaagisa.
5. Kiki ekituuka ku abo abatya erinnya lya Yakuwa?
5 Oluvannyuma lw’okulagula olunaku lwa Yakuwa kye lunaakola ensi ya Setaani, Malaki 4:2, lulaga Yakuwa ng’agamba: “Naye mmwe abatya erinnya lyange enjuba ey’obutuukirvu eribaviirayo ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo, kale mulifuluma ne muligita ng’ennyana ez’omu kisibo.” “Enjuba ey’obutuukirivu” ye Yesu Kristo. Ye ‘kitangaala ky’ensi,’ eky’eby’omwoyo. (Yokaana 8:12) Yesu atuwonya mu by’omwoyo mu kiseera kyaffe, era n’oluvannyuma ajja kutuwonya mu mubiri mu nsi empya. Nga Yakuwa bw’agamba, abaliwonyezebwa ‘balifuluma ne baligita ng’ennyana ez’omu kisibo’ ezisanyuka olw’okusumululwa.
6. Kujaguza ki okw’obuwanguzi abaweereza ba Yakuwa kwe balyenyigiramu?
6 Ate kiri kitya eri abantu ababuusa amaaso Yakuwa by’atwetaagisa? Malaki 4:3, lugamba: “Era mulirinnyirira ababi; kubanga baliba vvu wansi w’ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndikolerako, bw’ayogera Mukama w’eggye.” Abantu abasinza Katonda tebajja kwenyigira mu kuzikiriza nsi ya Setaani. Wabula mu ngeri ey’akabonero ‘balinyirira ababi’ nga bajaguza olw’obuwanguzi obulibaawo oluvannyuma lw’olunaku lwa Yakuwa. Waaliwo okujaguza okw’amaanyi oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwa Falaawo n’amagye ge mu Nnyanja Emmyufu. (Okuva 15:1-21) Mu ngeri y’emu, okuzikirizibwa kwa Setaani n’ensi ye, bijja kuddirirwa okujaguza olw’obuwanguzi. Abeesigwa abaliwonawo ku lunaku lwa Yakuwa baligamba: ‘Ka tusanyuke era tujaguze mu bulokozi bwe.’ (Isaaya 25:9) Nga kuliba kujaguza kwa maanyi nnyo ng’obufuzi bwa Yakuwa bulagiddwa okuba obutuufu, era ng’ensi erongooseddwa abantu ne baba nga bayinza okugibaamu mu mirembe!
Kristendomu Ekoppa Isiraeri
7, 8. Nnyonnyola embeera y’eby’omwoyo eya Isiraeri mu kiseera kya Malaki.
7 Abantu Yakuwa baasiima beebo abamuweereza so si abatamuweereza. Bwe kityo bwe kyali Malaki we yawandiikira ekitabo kye. Mu 537 B.C.E., ensigalira y’eggwanga lya Isiraeri baakomezebwawo ewa boobwe oluvannyuma lw’emyaka 70 egy’obusibe mu Babulooni. Kyokka, mu myaka 100 egyaddirira, eggwanga eryakomezebwawo, lyaddamu okutwalirizibwa obwewagguzi n’ebikolwa ebibi. Abantu abasinga obungi baali tebassa kitiibwa mu linnya lya Yakuwa; nga babuusa amaaso amateeka ge ag’obutuukirivu, boonoona yeekaalu ye nga bawaayo ebisolo ebizibe by’amaaso, ebiwenyera n’ebirwadde nga ssaddaaka; era nga bagoba bakazi baabwe ab’omu buvubuka.
8 N’ekyavaamu, Yakuwa yabagamba bw’ati: “Ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu eri abalogo n’eri abenzi n’eri abalayira eby’obulimba; n’eri abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye, nnamwandu n’atalina kitaawe, era abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya, . . . Kubanga nze Mukama sijjulukuka.” (Malaki 3:5, 6) Kyokka, Yakuwa yandyaniriza abo bonna abandirese amakubo gaabwe amabi: “Mudde gye ndi, nange nadda gye muli.”—Malaki 3:7.
9. Obunnabbi bwa Malaki bw’atuukirizibwa butya mu kusooka?
9 Ebigambo ebyo byatuukirizibwa ne mu kyasa ekyasooka C.E. Ensigalira y’Abayudaaya baaweereza Yakuwa era ne bafuuka ekitundu ‘ky’eggwanga’ eppya ery’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, oluvannyuma eryagattibwako Bannaggwanga. Naye Abaisiraeri enzaalwa abasinga obungi baagana okukkiriza Yesu. N’olwekyo, Yesu yagamba bw’ati eggwanga lya Isiraeri: “Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa.” (Matayo 23:38; 1 Abakkolinso 16:22) Mu mwaka 70 C.E., nga Malaki 4:1 bwe lwalagula, ‘olunaku olwokya ng’ekikoomi’ lwatuuka ku Isiraeri ey’omubiri. Yerusaalemi ne yeekaalu yaakyo byazikirizibwa, era abantu abasukka mu kakadde akamu baafa olw’enjala, entalo, n’okuttibwa amagye g’Abaruumi. Kyokka, abo abaali baweereza Yakuwa bawonawo ku kibonyoobonyo ekyo.—Makko 13:14-20.
10. Mu ngeri ki abantu okutwalira awamu n’abakadde b’amakanisa gye bakoppyemu Isiraeri ey’omu kyasa ekyasooka?
10 Okutwalira awamu, abantu bangi, naddala Kristendomu, bakoppye eggwanga lya Isiraeri ery’omu kyasa ekyasooka. Abakulembeze b’amadiini n’abantu mu Kristendomu balonzeewo okugoberera enjigiriza zaabwe ez’eddiini mu kifo ky’amazima agakwata ku Katonda, Yesu ge yayigiriza. Abakadde b’amakanisa be basinga okunenyezebwa. Tebaagala kukozesa linnya lya Yakuwa, era baliggye mu nkyusa zaabwe eza Baibuli. Tebawa Yakuwa kitiibwa bwe bayigiriza enjigiriza ez’ekikaafiiri ezikontana n’Ebyawandiikibwa ng’okubonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira, Tiriniti, obutafa bw’emmeeme, n’obutatondebwa. Mu kukola ekyo, baleetera Yakuwa obutatenderezebwa, nga bakabona bwe baakola mu kiseera kya Malaki.
11. Amadiini g’ensi galaga gatya gwe gaweereza?
11 Ennaku ez’oluvannyuma bwe zaatandika mu 1914, amadiini g’ensi eno, naddala ago ageeyita Amakristaayo, gaalaga ani gwe gaali gaweereza. Mu Ssematalo Eyasooka n’ow’Okubiri, gaakubiriza abagoberezi baago okwetaba mu ntalo wadde nga kyandiviiriddeko okutta abantu bwe bafaananya enzikiriza. Ekigambo kya Katonda kiraga bulungi abo abagondera Yakuwa n’abo abatamugondera: “Ku kino abaana ba Katonda n’abaana ba Setaani kwe balabikira: buli muntu yenna atakola butuukirivu si wa Katonda, newakubadde atayagala muganda we. Kubanga kino kye kigambo kye mwawulira okuva ku lubereberye ffe okwagalananga: si nga Kayini bwe yali ow’omubi n’atta muganda we.”—1 Yokaana 3:10-12.
Okutuukiriza Obunnabbi
12, 13. Bunnabbi ki abaweereza ba Katonda bwe batuukirizza mu kiseera kyaffe?
12 Ku nkomerero ya Ssematalo Eyasooka mu 1918, abaweereza ba Yakuwa baakiraba nti Katonda yali asazeewo okuzikiriza Kristendomu, n’eddiini endala zonna ez’obulimba. Okuva ku olwo n’okweyongerayo, ab’emitima emyesigwa baagambibwa bwe bati: “Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye: kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyonoono bye.” (Okubikkulirwa 18:4, 5) Abo abaali baagala okuweereza Yakuwa baatandika okulongoosebwa ne beekutulira ddala ku ddiini ez’obulimba era ne batandika okubuulira amawulire amalungi ag’obwakabaka mu nsi yonna, omulimu ogulina okumalirizibwa ng’enkomerero y’embeera z’ebintu bino tennatuuka.—Matayo 24:14.
13 Ekyo kyakolebwa okusobola okutuukiriza obunnabbi obuli mu Malaki 4:5, Yakuwa we yagambira: “Laba, ndibatumira Eriya nnabbi olunaku olukulu olw’entiisa olwa Mukama nga terunnaba kutuuka.” Obunnabbi obwo bwasooka okutuukirizibwa mu mulimu gwa Yokaana Omubatiza eyali akiikirira Eriya. Yokaana yakola omulimu ng’ogwa Eriya bwe yabatiza Abayudaaya abaali beenenyeza ebibi byabwe olw’okumenya endagaano y’Amateeka. N’ekisingawo obukulu, Yokaana ye yalangirira okujja kwa Masiya. Kyokka, omulimu gwa Yokaana gwatuukiriza kitono nnyo ku bunnabbi bwa Malaki. Yesu bwe yayogera ku Yokaana nga Eriya ow’okubiri, kyalaga nti omulimu gwa “Eriya” gwali gukyalina okukolebwa mu biseera eby’omu maaso.—Matayo 17:11, 12.
14. Mulimu ki omukulu oguteekwa okukolebwa ng’enkomerero y’embeera y’ebintu bino tennatuuka?
14 Obunnabbi bwa Malaki bwalaga nti omulimu guno omukulu ogwa Eriya gwandikoleddwa ‘ng’olunaku lwa Yakuwa olukulu olw’entiisa’ terunnatuuka. Olunaku olwo lukomekkerezebwa n’olutalo olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, ku Kalumagedoni. Kino kitegeeza nti omulimu ogufaananako ogwa Eriya gwe gujja okusooka okukolebwa, ng’enkomerero y’embeera z’ebintu bino embi wamu n’Obufuzi obw’Emyaka Olukumi obw’Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu nga tebinnatuuka. Nga kituukiriza obunnabbi obwo, Ekibiina kya Eriya eky’omu kiseera kino, era nga kiwagirwa obukadde n’obukadde bwa Bakristaayo bannaabwe, banyiikirira omulimu gw’okuzzaawo okusinza okulongoofu, okugulumiza erinnya lya Katonda, n’okuyigiriza abalinga endiga amazima g’omu Baibuli, nga Yakuwa tannazikiriza mbeera z’ebintu bino embi eziriwo.
Yakuwa Awa Abaweereza Be Omukisa
15. Yakuwa ajjukira atya abaweereza be?
15 Yakuwa awa omukisa abo abamuweereza. Malaki 3:16 lugamba: “Awo abo abaatya Mukama ne boogeragana bokka na bokka: Mukama n’awuliririza n’awulira, ekitabo eky’okujjukiza ne kibawandiikirwa mu maaso ge abo abaatya Mukama ne balowooza erinnya lye.” Okuva ku kiseera kya Abeeri n’okweyongerayo, Katonda abadde awandiika mu kitabo amanya g’abantu baalijjukira alyoke abawe obulamu obutaggwaawo. Abalinga abo, Yakuwa abagamba: “Muleete ekitundu eky’ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, . . . oba nga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga we guligya.”—Malaki 3:10.
16, 17. Yakuwa awadde atya omukisa abantu be n’omulimu gwabwe?
16 Mazima ddala, Yakuwa awadde emikisa mingi abo abamuweereza. Atya? Engeri emu, ng’abayamba okweyongera okutegeera ebigendererwa bye. (Engero 4:18; Danyeri 12:10) Engeri endala, ng’abawa ebibala bingi mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira. Abantu bangi ab’emitima emyesigwa babeeyunzeeko mu kusinza okw’amazima, era bonna wamu bakola “ekibiina kinene . . . okuva mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi, . . . ne boogerera waggulu n’eddoboozi ddene, nga boogera nti Obulokozi buba bwa Katonda waffe atudde ku ntebe, n’eri Omwana gw’endiga.” (Okubikkulirwa 7:9, 10) Ekibiina kino ekinene kyeyolese mu ngeri ey’ekitalo, era abo abaweereza Yakuwa kati basukka mu bukadde mukaaga mu bibiina ebisukka mu 93,000 okwetooloola ensi yonna!
17 Era tulina omukisa gwa Yakuwa kubanga ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli, Abajulirwa ba Yakuwa bye bakuba, bye bisingayo okusaasaanyizibwa mu nsi yonna. Kampegaano, buli mwezi obukadde nga 90 obwa magazini za Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! bufulumizibwa. Omunaala gw’Omukuumi kakubibwa mu nnimi 144, ate Awake! mu nnimi 87. Akatabo akaakozesebwa okuyiga Baibuli akayitibwa Amazima Agakulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, akaafulumizibwa mu 1968, kaakubibwamu kopi ezisukka mu bukadde 107 mu nnimi 117. Ate akatabo Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi, akaafulumizibwa mu 1982, kaakubibwamu kopi ezisukka mu bukadde 81 mu nnimi 131. Ate ako akayitibwa Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, akaafulumizibwa mu 1995, kati kakubiddwamu kopi ng’obukadde 85 mu nnimi 154. Brocuwa, Katonda Atwetaagisa Ki? eyafulumizibwa mu 1996, kati emaze okukubibwamu kopi ng’obukadde 150 mu nnimi 244.
18. Lwaki tukulaakulana mu by’omwoyo wadde nga tuziyizibwa?
18 Tusobodde okukulaakulana mu by’omwoyo wadde nga wabaddewo okuziyizibwa okw’amaanyi ennyo okuva mu nsi ya Setaani. Kino kiraga amazima agali mu Isaaya 54:17: “Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa; era buli lulimi olulikugolokokerako okuwoza naawe olirusinga. Obwo bwe busika obw’abaddu [“abaweereza,” NW] ba Mukama, n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi, bw’ayogera Mukama.” Nga kizzaamu nnyo amaanyi abaweereza ba Yakuwa okumanya nti Malaki 3:17 lutuukirizibwa gye bali: “Era baliba bange, bw’ayogera Mukama w’eggye, ku lunaku lwe ndikolerako, baliba kintu kya nvuma.”
Okuweereza Yakuwa n’Essanyu
19. Abo abaweereza Yakuwa baawukana batya ku abo abatamuweereza?
19 Enjawulo eriwo wakati w’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa n’ensi ya Setaani embi yeeyongera okulabika obulungi ekiseera bwe kigenda kiyitawo. Malaki 3:18 lwalagula: “Awo lwe mulidda ne mwawula omutuukirivu n’omubi, oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.” Emu ku njawulo ennyingi eri nti abo abaweereza Yakuwa, bamuweereza n’essanyu ppitirivu. Ekimu ku ebyo ebibaleetera essanyu ng’eryo lye ssuubi ery’ekitalo lye balina. Bassa obwesige mu ebyo Yakuwa by’asuubiza: “Laba, ntonda eggulu eriggya, n’ensi empya: so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo. Naye musanyuke mujagulize ennaku zonna ekyo kye ntonda.”—Isaaya 65:17, 18; Zabbuli 37:10, 11, 29; Okubikkulirwa 21:4, 5.
20. Lwaki tuli bantu basanyufu?
20 Tukkiriza ekisuubizo kya Yakuwa nti abantu be abeesigwa bajja kuwonawo ku lunaku lwe olukulu era batuuke mu nsi empya. (Zeffaniya 2:3; Okubikkulirwa 7:13, 14) Era wadde ng’abamu ku ffe tuyinza okufa olw’obukadde, obulwadde, oba akabenje ng’ensi empya tennajja, Yakuwa atukakasa nti ajja kutuzuukiza tufune obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 5:28, 29; Tito 1:2) N’olwekyo, wadde ffenna tulina ebizibu n’okusoomooza, olunaku lwa Yakuwa bwe lugenda lusembera, tulina ensonga nnyingi okuba abantu abasingayo okuba abasanyufu ku nsi.
Wandizzeemu Otya?
• ‘Olunaku lwa Yakuwa’ lwe luliwa?
• Amadiini g’ensi gakoppa gatya Isiraeri ey’edda?
• Abaweereza ba Yakuwa batuukiriza bunnabbi ki?
• Yakuwa awadde atya abantu be omukisa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Yerusaalemi eky’omu kyasa ekyasooka ‘kyayaka ng’ekikoomi ky’omuliro’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Olw’essuubi ery’ekitalo lye balina, abaweereza ba Yakuwa basanyufu ddala