Tuli ba Yakuwa
“Lirina essanyu eggwanga eririna Yakuwa nga Katonda waalyo, abantu b’alonze okuba ababe.”—ZAB. 33:12.
1. Lwaki tuyinza okugamba nti ebintu byonna bya Yakuwa? (Laba ekifaananyi waggulu.)
EBINTU byonna bya Yakuwa! “Ye nnannyini ggulu, n’eggulu erisingayo okuba waggulu, n’ensi ne byonna ebigirimu.” (Ma. 10:14; Kub. 4:11) N’olwekyo, olw’okuba Yakuwa ye yatonda abantu, abantu bonna babe. (Zab. 100:3) Naye, mu byafaayo byonna, wabaddewo abantu Katonda b’alonze okuba ababe mu ngeri ey’enjawulo.
2. Mu Bayibuli baani aboogerwako ng’abantu ba Yakuwa mu ngeri ey’enjawulo?
2 Ng’ekyokulabirako, ng’eyogera ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa abaaliwo mu Isirayiri ey’edda, Zabbuli 135 yabayita “ekintu [kya Katonda] ekiganzi.” (Zab. 135:4) N’obunnabbi bwa Koseya bwalaga nti abamu ku bantu abatali Bayisirayiri bandifuuse bantu ba Yakuwa. (Kos. 2:23) Obunnabbi bwa Koseya obwo bwatuukirira Yakuwa bwe yatandika okulonda n’abantu abatali Bayudaaya okuba abamu ku abo abajja okufugira awamu ne Kristo. (Bik. 10:45; Bar. 9:23-26) ‘Eggwanga eryo ettukuvu’ kintu kya Yakuwa “ekiganzi” mu ngeri nti abo abalirimu baafukibwako omwoyo omutukuvu ne balondebwa okufuna obulamu obutaggwaawo mu ggulu. (1 Peet. 2:9, 10) Ate bo Abakristaayo abeesigwa abalina essuubi ery’okufunira obulamu obutaggwaawo ku nsi? Nabo Yakuwa abayita ‘abantu be’ era ‘abalonde be.’—Is. 65:22.
3. (a) Baani leero abalina enkolagana ey’enjawulo ne Yakuwa? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Leero ‘ab’ekisibo ekitono’ abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu ‘n’ab’endiga endala’ abalina essuubi ery’okubeera ku nsi baweereza Yakuwa ‘ng’ekisibo kimu,’ era Yakuwa abatwala ng’abantu be. (Luk. 12:32; Yok. 10:16) Tusaanidde okusiima Yakuwa olw’okutuwa enkizo eyo ey’ekitalo. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri ezitali zimu gye tuyinza okulaga nti tusiima Yakuwa olw’enkizo eyo gye yatuwa.
NGA TWEWAAYO ERI YAKUWA
4. Engeri emu gye tuyinza okulagamu nti tusiima Yakuwa olw’okutusobozesa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye y’eruwa, era Yesu yakola atya ekintu ekifaananako bwe kityo?
4 Tukiraga nti tusiima Yakuwa olw’enkizo gye yatuwa nga twewaayo gy’ali n’omutima gwaffe gwonna. Bwe tubatizibwa, tukiraga mu lujjudde nti tuli ba Yakuwa era nti tuli beetegefu okumugondera. (Beb. 12:9) Ne Yesu yakola ekintu ekifaananako bwe kityo bwe yabatizibwa. Yali ng’agamba Yakuwa nti: “Ai Katonda wange, njagala nnyo okukola by’oyagala.” (Zab. 40:7, 8, obugambo obuli wansi.) Yesu yeeyanjula eri Yakuwa okukola by’ayagala wadde nga yazaalibwa mu ggwanga eryali lyewaayo eri Katonda.
5, 6. (a) Yakuwa yawulira atya nga Yesu abatiziddwa? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga nti Yakuwa asanyuka nnyo bwe twewaayo gy’ali wadde ng’ebintu byonna bibye.
5 Yakuwa yawulira atya Yesu bwe yabatizibwa? Bayibuli egamba nti: “Yesu bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n’ava mu mazzi, era laba! eggulu ne libikkuka, n’alaba omwoyo gwa Katonda nga gumukkako nga gulinga ejjiba. Era eddoboozi okuva mu ggulu ne ligamba nti: ‘Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsiima.’” (Mat. 3:16, 17) Wadde nga Yesu yali wa Yakuwa, Yakuwa yasanyuka nnyo okulaba ng’Omwana we mwetegefu okwemalira ku kukola by’ayagala. Ne leero Yakuwa kimusanyusa nnyo bwe twewaayo gy’ali era atuwa emikisa.—Zab. 149:4.
6 Ng’ekyokulabirako, watya singa waliwo omusajja eyasimba ennimiro y’ebimuli. Lumu kawala ke akato kanoga ekimuli okuva mu nnimiro ye ne kakimuwa ng’ekirabo. Ddala omusajja oyo ayinza okugamba nti, ‘Ekimuli kino kibadde mu nnimiro yange era kibadde kyange. Kawala kange kayinza katya okumpa ekimuli ekyange?’ Taata omulungi tayinza kulowooza ku bintu ng’ebyo. Mu kifo ky’ekyo, asanyukira ekirabo ekyo kubanga akiraba nti kyoleka okwagala kawala ke kwe kalina gy’ali. Ekimuli ekyo kawala ke kye kaba kamuwadde akitwala nga kya muwendo nnyo okusinga ebimuli ebirala byonna ebiri mu nnimiro ye. Ne Yakuwa asanyuka nnyo bwe twewaayo kyeyagalire okumuweereza.—Kuv. 34:14.
7. Malaki yalaga atya engeri Yakuwa gy’atwalamu abo abeewaayo gy’ali okumuweereza?
7 Soma Malaki 3:16. Bw’oba nga tonneewaayo eri Yakuwa era nga tonnabatizibwa, lowooza ku bukulu bw’okukola ebintu ebyo. Kyo kituufu nti okuva lwe wajja mu nsi obadde wa Yakuwa, ng’abantu bonna bwe bali aba Yakuwa. Naye lowooza ku ssanyu Yakuwa ly’ajja okuwulira ng’omukkirizza okuba Omufuzi wo era ne weewaayo gy’ali. (Nge. 23:15) Abo abeewaayo okuweereza Yakuwa, Yakuwa abamanyi era awandiika amannya gaabwe mu ‘kitabo eky’okujjukiza.’
8, 9. Kiki Yakuwa kye yeetaagisa abo abawandiikiddwa mu ‘kitabo kye eky’okujjukiza’?
8 Naye erinnya ly’omuntu okusobola okusigala mu ‘kitabo kya Yakuwa eky’okujjukiza,’ omuntu oyo alina ebintu by’alina okukola. Malaki yagamba nti omuntu oyo alina ‘okutya Yakuwa n’okulowooza ku linnya lye.’ Omuntu okusinza ekintu ekirala kyonna oba omuntu omulala yenna kiviirako erinnya lye okuggibwa mu kitabo eky’obulamu.—Kuv. 32:33; Zab. 69:28.
9 N’olwekyo, okwewaayo kwaffe eri Yakuwa kusingawo ku kumusuubiza nti tujja kukola by’ayagala era kusingawo ku kunnyikibwa mu mazzi. Ebintu ebyo tubikola omulundi gumu ne biggwa. Naye bwe tuba ab’okusigala nga tuli ku ludda lwa Yakuwa tulina okweyongera okuba abawulize gy’ali ekiseera kyonna, kati ne mu biseera eby’omu maaso.—1 Peet. 4:1, 2.
NGA TWEWALA OKWEGOMBA OKW’OMU NSI
10. Njawulo ki erina okubaawo wakati w’abo abaweereza Yakuwa n’abo abatamuweereza?
10 Mu kitundu ekyayita twalaba ebyo Bayibuli by’eyogera ku Kayini, Sulemaani, n’Abayisirayiri. Bonna baali bagamba nti basinza Yakuwa naye baali tebamwemaliddeeko. Ebyokulabirako ebyo biraga nti abo Yakuwa b’atwala nti babe balina okunywerera ku bintu eby’obutuukirivu era ne bakyawa ebibi. (Bar. 12:9) N’olwekyo tekyewuunyisa nti oluvannyuma lwa Malaki okwogera ku ‘kitabo eky’okujjukiza,’ Yakuwa yagamba nti wandibaddewo ‘enjawulo wakati w’omutuukirivu n’omubi, n’enjawulo wakati w’oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.’—Mal. 3:18.
11. Lwaki kirina okweyoleka eri abalala nti tuli ba Yakuwa?
11 Ekyo kituyamba okumanya ekintu ekirala kye tulina okukola okulaga nti tusiima Yakuwa olw’okutulonda okuba abantu be. Kirina ‘okweyoleka eri abantu bonna’ nti tuli ku ludda lwa Yakuwa. (1 Tim. 4:15; Mat. 5:16) Weebuuze: ‘Abalala bakiraba nti nneemalidde ku Yakuwa? Nkozesa buli kakisa ke nfuna okwemanyisa nti ndi Mujulirwa wa Yakuwa?’ Kinakuwaza nnyo Yakuwa singa oluvannyuma lw’okutulonda okuba abantu be tutya okumanyisa abalala nti tuli babe.—Zab. 119:46; soma Makko 8:38.
12, 13. Abamu bakifudde batya ekizibu eri abalala okukiraba nti baweereza ba Yakuwa?
12 Eky’ennaku abantu abamu batwaliriziddwa ‘omwoyo gw’ensi’ ne kiba nti kizibu okumanya obanga ‘baweereza Katonda oba tebamuweereza.’ (1 Kol. 2:12) Omwoyo gw’ensi guleetera abantu okukolera ku ‘kwegomba kw’omubiri.’ (Bef. 2:3) Ng’ekyokulabirako, wadde nga waliwo obulagirizi bungi obuweereddwa obukwata ku nnyambala n’okwekolako, abamu basazeewo obutabukolerako. Bambala engoye ezibakwata oba ezitangaala ne bwe baba nga bajja mu nkuŋŋaana. Abamu bakola oba basala emisono gy’enviiri egitasaana. (1 Tim. 2:9, 10) Abantu ng’abo bwe babeera mu bantu abatasinza Yakuwa, kizibu okumanya obanga ba Yakuwa oba ‘mikwano gya nsi.’—Yak. 4:4.
13 Waliwo n’engeri endala Abajulirwa ba Yakuwa abamu gye bakirazeemu nti tebeesambidde ddala nneeyisa ya nsi. Engeri gye bazinamu n’engeri gye beeyisaamu nga bali ku bubaga tesaana Bakristaayo. Bateeka ebifaananyi n’ebigambo ebitasuubirwa mu Mukristaayo ku mikutu emigatta bantu. Abantu abo bayinza okuba nga tebakolanga kibi kya maanyi kibeetaagisa kukangavvulwa, naye basobola okwonoona abalala mu kibiina abafuba okubeera n’empisa ennungi.—Soma 1 Peetero 2:11, 12.
14. Kiki kye tusaanidde okukola okukuuma enkolagana yaffe ne Yakuwa?
14 Ensi ekubiriza “okwegomba kw’omubiri, okwegomba kw’amaaso, n’okweraga olw’ebintu omuntu by’alina mu bulamu.” (1 Yok. 2:16) Olw’okuba tuli ba Yakuwa, tulina “okwewala obutatya Katonda n’okwegomba okw’omu nsi, [era tulina] okubeeranga n’endowooza ennuŋŋamu, n’obutuukirivu, n’okwemalira ku Katonda mu nteekateeka y’ebintu eno.” (Tit. 2:12) Ebyo bye twogera, engeri gye tulyamu ne gye tunywamu, engeri gye twambalamu n’engeri gye twekolako, era n’engeri gye tukolamu emirimu gyaffe esaanidde okukyoleka eri abalala nti twemalidde ku Yakuwa.—Soma 1 Abakkolinso 10:31, 32.
TULINA ‘OKWAGALANA ENNYO’
15. Lwaki tulina okwagala bakkiriza bannaffe n’okubalaga ekisa?
15 Ate era tukiraga nti tusiima Yakuwa olw’okutulonda okuba abantu be nga tuyisa bulungi bakkiriza bannaffe. Nabo ba Yakuwa. Ekyo bwe tukikuumira mu birowoozo, tujja kulaganga baganda baffe ne bannyinaffe ekisa era tujja kubaagalanga. (1 Bas. 5:15) Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange—bwe munaayagalananga.”—Yok. 13:35.
16. Kyakulabirako ki mu Mateeka ga Musa ekituyamba okumanya engeri Yakuwa gy’atwalamu abantu be?
16 Okusobola okumanya engeri gye tusaanidde okuyisaamu bakkiriza bannaffe, lowooza ku kino. Ebintu ebyakozesebwanga mu yeekaalu ya Yakuwa byali biweereddwayo oba byawuliddwawo okukozesebwa mu kusinza okulongoofu mwokka. Amateeka ga Musa gaalimu obulagirizi obukwata ku ngeri ebintu ebyo gye byalina okukwatibwamu, era abo abataakoleranga ku bulagirizi obwo battibwanga. (Kubal. 1:50, 51) Bwe kiba nti Yakuwa yafangayo nnyo ku bintu ebyo ebitaalina bulamu ebyali bikozesebwa mu kumusinza, olowooza tafaayo nnyo n’okusingawo ku ngeri abalala gye bayisaamu abantu be abeewaayo gy’ali! Ng’ayogera ku bantu be, Yakuwa yagamba nti: “Buli abakwatako mmwe aba akutte ku mmunye y’eriiso lyange.”—Zek. 2:8.
17. Kiki Yakuwa ky’assaako omwoyo era n’awuliriza?
17 Malaki yagamba nti Yakuwa “assaayo omwoyo” ku ngeri abantu be gye bakolaganamu. (Mal. 3:16) Mu butuufu Yakuwa “amanyi ababe.” (2 Tim. 2:19) Amanyi buli kimu kye tukola ne kye twogera. (Beb. 4:13) Bwe tuyisa obubi bakkiriza bannaffe Yakuwa “assaayo omwoyo era n’awuliriza.” Ate era bwe tusembeza bakkiriza bannaffe, bwe tubaako kye tubagabira, bwe tubasonyiwa, era bwe tubalaga ekisa, ekyo nakyo Yakuwa akiraba.—Beb. 13:16; 1 Peet. 4:8, 9.
“YAKUWA TALIREKERERA BANTU BE”
18. Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima Yakuwa olw’okutulonda okuba abantu be?
18 Tewali kubuusabuusa nti ffenna twagala okulaga nti tusiima Yakuwa olw’okutulonda okuba abantu be. Tukiraba nti kya magezi okukiraga nti tuli ba Yakuwa nga twewaayo kyeyagalire gy’ali. Wadde nga tuli “mu mulembe guno ogwakyama,” twagala abantu bakirabe nti ‘tetuliiko kya kunenyezebwa oba musango, era nti twaka ng’ettaala mu nsi.’ (Baf. 2:15) Tukyayira ddala ekibi. (Yak. 4:7) Twagala bakkiriza bannaffe era tubassaamu ekitiibwa, nga tukijjukira nti nabo ba Yakuwa.—Bar. 12:10.
19. Yakuwa awa atya abantu be emikisa?
19 Bayibuli egamba nti: “Yakuwa talirekerera bantu be.” (Zab. 94:14) Yakuwa tasobola kutuleka ka tube nga twolekagana na kizibu ki. N’okufa tekusobola kutwawula ku kwagala kwa Yakuwa. (Bar. 8:38, 39) Bayibuli egamba nti: “Bwe tuba abalamu, tuba balamu ku bwa Yakuwa, era bwe tufa, tufa ku bwa Yakuwa. N’olwekyo, ka tube nga tuli balamu oba nga tufudde, tuli ba Yakuwa.” (Bar. 14:8) Mazima ddala twesunga nnyo ekiseera Yakuwa lw’alizuukiza abaweereza be bonna abeesigwa abaafa. (Mat. 22:32) Ne mu kiseera kino Yakuwa atuwa emikisa gye. Nga Bayibuli bw’egamba, “lirina essanyu eggwanga eririna Yakuwa nga Katonda waalyo, abantu b’alonze okuba ababe.”—Zab. 33:12.