EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 4-5
Bye Tuyiga mu Kuyigiriza kwa Yesu okw’Oku Lusozi
Omanyi obwetaavu bwo obw’eby’omwoyo?
Ebigambo “abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo” obutereevu bivvuunulwa nti “abo abasabiriza omwoyo.” (Mat 5:3; obugambo obuli wansi.) Tusobola okulaga nti tulina obwetaavu obw’eby’omwoyo nga . . .
tusoma Bayibuli buli lunaku
tweteekerateekera enkuŋŋaana era nga tuzibeeramu obutayosa
tufuba okusoma ebitabo byaffe n’ebintu ebirala ebiri ku mukutu gwaffe
tulaba programu ya buli mwezi ebeera ku JW Broadcasting
Nnyinza ntya okwongera ku biseera bye mmala nga ndya emmere ey’eby’omwoyo?