Engeri y’Okufunamu Obuweerero ng’Ozitoowereddwa
“Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitooweereddwa, nange nnaabawummuza.”—MATAYO 11:28.
1, 2. (a) Baibuli erimu ki ekiyinza okukendeeza ku kweraliikirira ekisukkiridde? (b) Okuyigiriza kwa Yesu kwali kwa muganyulo kwenkana wa?
OBOOLYAWO okikkiriza nti kya kabi okweraliikirira ekisukkiridde. Kiyinza okukuleetera obulumi. Baibuli ekiraga bulungi nti abantu bonna banyigirizibwa era nga bangi balindirira okununulibwa okuva mu mbeera ezeeraliikiriza eziriwo leero. (Abaruumi 8:20-22) Era Ebyawandiikibwa bitulaga engeri gye tuyinza okufunamu obuweerero mu kiseera kino. Tuyinza okubufuna singa tugoberera ekyokulabirako ky’omusajja eyaliwo emyaka enkumi bbiri emabega. Wadde nga yali mubazzi, yayagala nnyo abantu okusinga omulimu ogwo. Bye yayogera byatuukanga ku mitima gy’abantu, yakolanga ku byetaago byabwe, yayambanga abanaku, era n’abudaabuda abennyamivu. Ate era, yayamba bangi okukulaakulana mu by’omwoyo. N’ekyavaamu, baalekera awo okweraliikirira ekisukkiridde, era naawe osobola.—Lukka 4:16-21; 19:47, 48; Yokaana 7:46.
2 Omusajja ono, Yesu ow’e Nazaaleesi, teyeesigamanga ku buyigirize obw’omu nsi abantu abamu bwe beeyunanga mu bibuga eby’edda nga Rooma, Asene, oba Alekizandiriya. Wadde kyali kityo, bye yayigiriza bimanyiddwa nnyo. Ekintu ekikulu mu bye yayigiriza kyali: gavumenti Katonda mw’anaayitira okufuga ensi yaffe. Era Yesu yateekawo emisingi emikulu egy’okugoberera mu bulamu—emisingi egy’omuganyulo ennyo leero. Abo abayiga era ne bassa mu nkola ebyo Yesu bye yayigiriza bafuna emiganyulo kaakati, nga mw’otwalidde n’okulekera awo okweraliikirira ekisukkiridde. Ekyo tewandikyagadde?
3. Bigambo ki ebizzaamu amaanyi Yesu bye yayogera?
3 Oyinza okubuusabuusa ebikwata ku musajja oyo. Oyinza okubuuza nti ‘Omusajja eyaliwo edda ennyo ayinza atya okubaako eky’amaanyi ky’akola ku bulamu bwange leero?’ Kyokka, wuliriza ebigambo bya Yesu ebizzaamu amaanyi: ‘Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky’emmemme zammwe. Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n’omugugu gwange mwangu.’ (Matayo 11:28-30) Yesu yali ategeeza ki? Ka twetegereze ebigambo bino era tulabe engeri gye biyinza okutuyamba okufuna obuweerero nga tuzitoowereddwa.
4. Yesu yayogera eri baani, era lwaki abaamuwulirizanga baali bakaluubiriddwa?
4 Yesu yayogera eri abantu bangi abaali bafuba ennyo okukola ekituufu naye nga ‘bazitoowereddwa’ kubanga abakulembeze Abayudaaya baafuula eddiini okuba omugugu. (Matayo 23:4) Baakakaatika ku bantu olukunkumuli lw’amateeka mu mbeera zonna ez’obulamu. Tekyandikumazeemu maanyi okuwulira buli kiseera nga bakugamba nti ‘tokola’ kino oba kiri? Okwawukana ku ekyo, Yesu yayigiriza abantu amazima n’obutuukirivu era n’abalaga nti singa bamuwuliriza, obulamu bwabwe bwandirongoose. Yee, okusobola okumanya Katonda kyali kyetaagisa okussaayo omwoyo ku Yesu Kristo, kubanga abantu bandisobodde okumanya Yakuwa nga bayitira mu Yesu. Yesu yagamba: “Alabye ku nze, ng’alabye ku kitange.”—Yokaana 14:9.
Ozitoowereddwa Nnyo mu Bulamu?
5, 6. Emirimu n’emisaala egy’omu biseera bya Yesu byali bitya bw’obigerageranya n’eby’omu kiseera kyaffe?
5 Omulimu gwo oba amaka go biyinza okuba nga bikuzitooweredde. Oba obuvunaanyizibwa obulala buyinza okulabika ng’obukuyitiriddeko. Bwe kiba bwe kityo, olinga abantu abeesimbu Yesu be yasanga era n’abayamba. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku buzibu obw’okweyimirizaawo. Leero, bangi bakuluusana okusobola okweyimirizaawo, era nga bwe kyali mu kiseera kya Yesu.
6 Mu biro ebyo, omupakasi yafaabiinanga okumala essaawa 12 olunaku, n’akola ennaku 6 mu wiiki ng’akolera eddinaali emu yokka olunaku lwonna. (Matayo 20:2-10) Ekyo leero bw’okigeraageranya n’omusaala gwo oba egya mikwano gyo, olaba ki? Kiyinza okuba ekizibu okugeraageranya emisaala egy’edda n’egy’ennaku zino. Oboolyawo engeri emu gye tuyinza okukikolamu kwe kugeraageranya obungi bw’ebintu ebisobola okugulibwa mu mutemwa gwa ssente. Omwekenneenya omu agamba nti mu kiseera kya Yesu, omugaati gumu ogukoleddwa mu bikopo bbiri eby’eŋŋaano, gwagulibwanga ensimbi omuntu ze yakoleranga essaawa emu. Omwekenneenya omulala agamba nti ekitundu ky’ekikopo ky’envinnyo kyagulibwanga ensimbi omuntu ze yakoleranga essaawa bbiri. Okusinziira ku bino, osobola okutegeera nti mu biro ebyo abantu baakuluusananga nnyo okusobola okweyimirizaawo. Baali beetaaga okufuna obuweerero n’okuddamu amaanyi nga bwe tubyetaaga leero. Bw’oba ng’okozesebwa, oyinza okupikirizibwa okole nnyo n’okusingawo. Emirundi mingi tetufuna budde kufumiitiriza bulungi ku bye tusalawo. N’olwekyo, oyinza okukikkiriza nti wandyagadde okufuna obuweerero.
7. Ebigambo bya Yesu abantu baabitwala batya?
7 Kya lwatu, ebigambo bya Yesu eri bonna abaali “bakooye era abazitoowereddwa” biteekwa okuba byasikiriza bangi mu biro ebyo. (Matayo 4:25; Makko 3:7, 8) Ate jjukira nti Yesu yagattako n’ekisuubizo nti, “nnaabawumuzza.” Ekisuubizo ekyo kikyaliwo leero. Kitukwatako bwe tuba nga ‘tukooye era nga tuzitoowereddwa.’ Era kiyinza n’okukwata ku baagalwa baffe abali mu mbeera y’emu.
8. Mu ngeri ki okukuza abaana, n’obukadde, gye bizitoowereddemu abantu?
8 Waliwo n’ebintu ebirala bingi ebizitooweredde abantu. Okukuza abaana mulimu gwa maanyi nnyo. Era n’abaana bennyini boolekaganye n’ebizibu bingi. Omuwendo gw’abantu abatawaanyizibwa mu birowoozo ne mu mubiri gweyongera. Newakubadde ng’abantu bayinza okuwangaala ennyo, bannamukadde balina endwadde ze bameggana nazo wadde nga waliwo okukulaakulana mu by’ekisawo.—Omubuulizi 12:1.
Okukolera Wansi w’Ekikoligo
9, 10. Mu biseera eby’edda, ekikoligo kyali kyoleka ki, era lwaki Yesu yagamba abantu okwetikka ekikoligo kye?
9 Weetegerezza nti mu bigambo ebiri mu Matayo 11:28, 29, Yesu yagamba nti: “Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze.” Mu nnaku ezo, omuntu owa bulijjo ayinza okuba yeewulira ng’akolera wansi w’ekikoligo. Okuviira ddala mu biseera eby’edda, ekikoligo kikozeseddwa mu ngeri ey’akabonero okutegeeza obusibe oba obuddu. (Olubereberye 27:40; Abaleevi 26:13; Ekyamateeka 28:48) Bangi ku baakolanga emirimu gy’okukakalukana Yesu be yalabanga baalinanga ebikoligo byennyini ku bibegabega byabwe, bye baakozesanga okusitula emigugu. Okusinziira ku ngeri ekikoligo gye kyakolebwangamu, kyabanga kiyinza okukalabula oba obutakalabula mubiri gw’oyo akisitudde. Ng’oyo eyakolako ogw’okubajja, Yesu ateekwa okuba nga yabajjako ku bikoligo, era ateekwa okuba nga yali amanyi okubajja ebyo ebyali “ebyangu.” Oboolyawo yazingiriranga amaliba oba obugoye ku kitundu ekikoligo we kyekuutanga ku nsigo oba ku kibegabega.
10 Yesu bwe yagamba nti, “Mwetikke ekikoligo kyange,” ateekwa okuba nga yali yeefaananya omuntu eyakolanga ebikoligo “ebyangu,” ebitaalumyaga nsingo n’ebibegabega. Bwe kityo, Yesu yagattako: “Omugugu gwange mwangu.” Kino kyategeeza nti ekikoligo kye tekyali kizibu kukozesa, era nti n’omulimu gwali tegukuluusanya. Kyo kituufu nti, mu kugamba abaali bamuwuliriza okwetikka ekikoligo kye, Yesu yali tabasuubiza buweerero bwa mbagirawo okuva mu mbeera zonna ezaali zibanyigiriza mu kiseera ekyo. Wadde kyali kityo, endowooza empya gye yabawa yandibaleetedde obuweerero. Okukyusa mu mbeera z’obulamu bwabwe n’engeri gye bakolamu ebintu nakyo kyandibaleetedde obuweerero. N’ekisingayo obukulu, essuubi erya nnamaddala lyandibayambye obuteeraliikirira.
Osobola Okuwummuzibwa
11. Lwaki Yesu yali tategeeza nti abantu bandiggiddwako ebikoligo byabwe?
11 Weetegereze nti Yesu yali tategeeza nti abantu bandiggiddwako ebikoligo byabwe. Rooma yandibadde ekyali mu buyinza ng’era gavumenti za leero bwe zifuga mu bitundu Abakristaayo gye babeera. Abaruumi tebandirekedde awo okuwooza omusolo. Ebizibu by’obulwadde n’eby’enfuna tebyandiweddewo. Abantu bandisigadde nga tebatuukiridde era nga balina ekibi. Kyokka, bandisobodde okuwummuzibwa nga bagoberera enjigiriza za Yesu. Naffe tusobola okuwummuzibwa singa tugoberera enjigiriza za Yesu.
12, 13. Kiki Yesu kye yayogerako ennyo ekyandireese okuwummuzibwa, era abamu baakolawo ki?
12 Agamu ku makulu agali mu bigambo bya Yesu ebikwata ku kikoligo geeyoleka bulungi ku bikwata ku mulimu gw’okufuula abayigirizwa. Tewali kubuusabuusa nti omulimu gwa Yesu omukulu gwali okuyigiriza abantu, ng’essira aliteeka ku Bwakabaka bwa Katonda. (Matayo :23) N’olwekyo, bwe yagamba nti, “Mwetikke ekikoligo kyange,” ekyo kiteekwa okuba nga kyali kizingiramu okukola omulimu gwe gumu. Ebiri mu Njiri biraga nti Yesu yaleetera abasajja bangi abeesimbu okukyusa emirimu gyabwe, ekintu ekikulu ennyo mu bulamu bw’abantu bangi. Jjukira bwe yayita Peetero, Andereya, Yakobo, ne Yokaana: “Mujje muyite nange, ndibafuula abavubi b’abantu.” (Makko 1:16-20) Yalaga abavubi abo nti bandibadde bamativu nga bakola omulimu gwe yali akulembeza mu bulamu bwe, nga bagoberera obulagirizi bwe.
13 Abamu ku Bayudaaya abaawuliriza Yesu baategeera ebyo bye yabayigiriza era ne babissa mu nkola. Kuba ekifaananyi ku ebyo ebyaliwo ku lubalama lw’ennyanja bye tusomako mu Lukka 5:1-11. Abavubi bana baali bavubye ekiro kyonna naye ne batakwasa kantu konna. Naye amangu ago, obutimba bwabwe ne bujjula ebyennyanja! Ekyo tekyajjawo kyokka; Yesu ye yakikola. Bwe bazza amaaso ku lubalama lw’ennyanja, baalaba abantu bangi abaali baagala okumanya ebyo Yesu bye yali ayigiriza. Ekyo kyayamba abavubi bano abana okutegeera ekyo Yesu kye yabagamba nti: ‘Okuva leero munaavubanga bantu.’ Baakolawo ki? “Baagobya amaato gaabwe ettale, ne baleka byonna, ne bagenda naye.”
14. (a) Tusobola tutya okuwummuzibwa leero? (b) Mawulire ki amalungi agawummuza Yesu ge yalangirira?
14 Naawe oyinza okukola ekifaananako bwe kityo. Omulimu ogw’okuyigiriza abantu amazima ga Baibuli gukyeyongera mu maaso. Abajulirwa ba Yakuwa obukadde nga mukaaga mu nsi yonna bakkirizza ebigambo bya Yesu ‘okwetikka ekikoligo kye;’ era bafuuse ‘abavubi b’abantu.’ (Matayo 4:19) Abamu bagufuula mulimu gwabwe ogw’ekiseera kyonna; ate abalala bagwenyigiramu nga bwe baba basobodde. Bonna bagusanga nga guwumuzza, bwe kityo ne batazitoowererwa nnyo mu bulamu. Gutwaliramu okukola ekyo ekibasanyusa, nga kwe kubuulira abalala ‘amawulire amalungi ag’obwakabaka.’ (Matayo 4:23, NW) Kireeta essanyu bulijjo okwogera ku mawulire amalungi naddala amawulire amalungi ag’ekika kino. Baibuli erimu obubaka bwe twetaaga okusobola okuyamba bangi okulaba engeri gye bayinza okufunamu obuweerero.—2 Timoseewo 3:16, 17.
15. Oyinza otya okuganyulwa mu kuyigiriza kwa Yesu?
15 N’abantu abaakatandika okuyiga ku Bwakabaka bwa Katonda baganyuddwa nnyo mu kuyigiriza kwa Yesu okukwata ku ngeri y’okweyisaamu mu bulamu. Bangi bayinza okwogera mu bwesimbu nti okuyigiriza kwa Yesu kubawummuzizza era nti kubayambye okukyusa obulamu bwabwe. Ekyo oyinza okukikakasa nga weekenneenya egimu ku misingi egiwa obulagirizi ku ngeri y’okweyisaamu egiri mu byogerwa ku bulamu bwa Yesu ku nsi n’obuweereza bwe, nnaddala mu Njiri ezaawandiikibwa Matayo, Makko ne Lukka.
Engeri y’Okufunamu Okuwummuzibwa
16, 17. (a) Wa w’oyinza okusanga ezimu ku njigiriza za Yesu enkulu? (b) Kiki ekyetaagisa okusobola okuwummuzibwa ?
16 Mu ddumbi w’omwaka 31 C.E., Yesu yayogera eri abantu ebigambo ebimanyiddwa ennyo mu nsi yonna na buli kati. Biyitibwa Okubuulira okw’Oku Lusozi. Kusangibwa mu Matayo essuula 5 okutuuka ku 7 ne Lukka essuula 6, era kuwumbawumbako bingi bye yayigiriza. Ebirala Yesu bye yayigiriza oyinza okubisanga mu bitundu ebirala eby’Enjiri. Bingi ku ebyo bye yayogera bitegeerekeka bulungi, wadde nga kiyinza okuba ekizibu okubissa mu nkola. Lwaki tosoma essuula ezo n’obwegendereza era ozifumiitirizeeko? Leka bye yayogera bibeeko kye bikola ku ndowooza yo.
17 Ebyo Yesu bye yayigiriza biyinza okusengekebwa mu ngeri ez’enjawulo. Ka tubisengeke mu ngeri nti buli lunaku wabaawo enjigiriza enkulu emu gye tuyiga, nga tulina ekiruubirirwa eky’okussa mu nkola bye tuyize. Tutya? Zisome n’obwegendereza. Jjukira omusajja omugagga eyabuuza Yesu Kristo nti: “Nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?” Yesu bwe yamujjukiza ebikulu ebiri mu Mateeka ga Katonda, omusajja yamuddamu nti ebyo yali abituukiriza. Wadde kyali kityo, omusajja yakizuula nti yali yeetaaga okukola ekisingawo. Yesu yamukubiriza okufuba okukolera ku misingi gya Katonda, abeere omuyigirizwa we. Kirabika, omusajja teyali mwetegefu kukola ekyo. (Lukka 18:18-23) N’olwekyo, oyo ayagala okuyiga enjigiriza za Yesu leero ateekwa okujjukira nti waliwo enjawulo wakati w’okukkiriziganya nazo n’okuzissa mu nkola, ekireeta obuweerero.
18. Nnyonnyola engeri gy’oyinza okukozesa mu ngeri ey’omuganyulo akasanduuko akaweereddwa.
18 Nga tutandika okwekenneenya n’okussa mu nkola enjigiriza za Yesu, laba ensonga esooka mu kasanduuko akalina omutwe ogugamba: “Enjigiriza Ezinaakuyamba.” Kajuliza Matayo 5:3-9. Mu butuufu, buli omu ku ffe asobola okuwaayo ekiseera okufumiitiriza ku kubuulirira okulungi okuli mu nnyiriri ezo. Kyokka, bw’ozitunuulira zonna awamu, olowooza osaanye kuba na ndowooza ki? Bw’oba nga ddala oyagala okufuna obuweerero ng’ozitoowereddwa ekisukkiridde, kiki ekinaakuyamba? Oyinza kuganyulwa otya singa oyongera okussaayo omwoyo ku bintu eby’omwoyo? Waliwo ebintu mu bulamu bwo by’osaanidde okuwa obudde obutono osobole okwongera okwemalira ku by’omwoyo? Bw’onookola bw’otyo, kijja kwongera ku ssanyu ly’olina kaakati.
19. Kiki ky’oyinza okukola okusobola okufuna okutegeera okusingawo?
19 Waliwo ekirala ky’oyinza okukola. Lwaki tokubaganya ebirowoozo ku nnyiriri ezo n’omuweereza wa Katonda omulala, oboolyawo munno mu bufumbo, ow’eŋŋanda, oba mukwano gwo? (Engero 18:24; 20:5) Jjukira nti n’omusajja omugagga yabuuza Yesu ku nsonga efaananako eyo. Singa yakolera ku bye yaddibwamu, kyandyongedde ku ssanyu lye era yandibadde n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Musinza munno gw’onookubaganya naye ebirowoozo ku nnyiriri ezo teyenkanankana Yesu; wadde kiri kityo, bye munaanyumya ku njigiriza za Yesu bijja kubaganyula mmwembi. Gezaako okukikola amangu ddala.
20, 21. Nteekateeka ki gy’oyinza okugoberera okusobola okuyiga enjigiriza za Yesu, era osobola otya okumanya enkulaakulana yo?
20 Tunuulira nate akasanduuko akaweereddwa. Enjigiriza zino zisengekeddwa mu ngeri nti buli lunaku osobola okwekennenyayo emu. Oyinza okusooka okusoma ebyo Yesu bye yayogera mu nnyiriri ezijuliziddwa. Oluvannyuma, fumiitiriza ku bigambo bye. Lowoolereza ku ngeri gy’oyinza okubissa mu nkola mu bulamu bwo. Singa okiraba nti obadde okikola, fumiitiriza olabe ekirala ky’oyinza okukola okusobola okugoberera enjigiriza eyo. Gezaako okugikolerako ku lunaku olwo lwennyini. Bwe kiba nga kikuzibuwalira okugitegeera, oba okulaba engeri gy’oyinza okugikolerako, waayo olunaku olulala okugirowoozaako. Kyokka kijjukire nti, teweetaaga kugikwata bukusu okusobola okweyongerayo ku njigiriza eddako. Olunaku oluddako osobola okwetegereza enjigiriza endala. Ku nkomerero ya wiiki, oyinza okwejjukanya okulaba bw’osobodde okukolera ku njigiriza za Yesu nnya oba ttaano. Mu wiiki ey’okubiri, weetegereze endala buli lunaku. Bwe weesanga ng’oddiridde mu kukolera ku njigiriza ezimu, toggwamu maanyi. Buli Mukristaayo ekyo kimutuukako. (2 Ebyomumirembe 6:36; Zabbuli 130:3; Omubuulizi 7:20; Yakobo 3:8) Weeyongere okukola bw’otyo mu wiiki ey’okusatu n’ey’okuna.
21 Oluvannyuma lw’omwezi, oyinza okuba weetegerezza ensonga zonna 31. Olwo nno onoowulira otya? Toobeere musanyufu okusingawo? Ne bw’onooba ng’okoze enkyukakyuka ntono, ojja kuwulira ng’ofunye obuweerero. Teweerabira nti waliyo ebirala bingi ebiri mu njigiriza za Yesu ebitali ku lukalala olwo. Lwaki tonoonyereza ebimu ku ebyo era ogezeeko okubissa mu nkola?—Abafiripi 3:16.
22. Kiki ekiyinza okuva mu kugoberera enjigiriza za Yesu, naye ngeri ki endala gye twetaaga okwekenneenya?
22 Osobola okukiraba nti ekikoligo kya Yesu kyangu newakubadde kirimu obuvunaanyizibwa. Enjigiriza ze n’okuba omuyigirizwa we tebizitowa. Oluvannyuma lw’emyaka 60, omutume Yokaana, mukwano gwa Yesu nfiirabulago, yagamba: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.” (1 Yokaana 5:3) Naawe oyinza okuba n’obugumu bwe bumu. Bw’oneeyongera okussa mu nkola enjigiriza za Yesu, ojja kukisanga nti bingi leero ebizitoowerera abalala gwe tebikuzitoowerera. (Zabbuli 34:8) Kyokka, waliwo engeri endala ey’ekikoligo kya Yesu gye weetaaga okwekenneenya. Yesu era yeeyogerako nti “muteefu era muwombeefu mu mutima.” Ekyo kikwatagana kitya n’okumuyigirako era n’okumukoppa? Ekyo kye tujja okwekenneenya mu kitundu kyaffe ekinaddako.—Matayo 11:29.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki twandigenze eri Yesu okufuna okuwummuzibwa?
• Ekikoligo kyali kikiikirira ki, era lwaki?
• Lwaki Yesu yagamba abantu okwetikka ekikoligo kye?
• Oyinza otya okufuna okuwummuzibwa okw’eby’omwoyo?
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ebiri ku lupapula 9]
Ekyawandiikibwa ky’omwaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa mu 2002 kijja kuba: “Mujje gye ndi, . . . nange nnaabawummuza.”—Matayo 11:28.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10, 11]
Enjigiriza Ezinaakuyamba
Bintu ki ebirungi by’oyinza okusanga mu Matayo essuula 5 okutuuka ku 7? Essuula zino zirimu enjigiriza ez’Omuyigiriza Omukulu Yesu, ze yaweera ku lusozi e Ggaliraaya. Soma ennyiriri eziweereddwa wammanga mu Baibuli yo era weebuuze ebibuuzo ebizikwatako.
1. 5:3-9 Kino kintegeeza ki ku ndowooza yange okutwalira awamu? Nkole ki okusobola okufuna essanyu erisingawo? Nsobola ntya okweyongera okussaayo omwoyo ku byetaago byange eby’omwoyo?
2. 5:25, 26 Mu kifo ky’okukoppa omwoyo gw’okukaayanakaayana abangi gwe balina, nze nnandyeyisizza ntya?—Lukka 12:58, 59.
3. 5:27-30 Ebigambo bya Yesu birabula bitya ku birowoozo eby’okwegomba okwetaba? Okwewala ebirowoozo ng’ebyo kinaayongera kitya ku ssanyu lyange n’emirembe?
4. 5:38-42 Lwaki nnandyewaze omuze ogw’okukalambira ku nsonga ogucaase ennyo mu kakyo kano?
5. 5:43-48 Nnaaganyulwa ntya mu kweyongera okumanya abo be nnali ntwala okuba abalabe bange? Kino kiyinza kitya okukendeeza oba okumalirawo ddala obukuubagano.
6. 6:14, 15 Bwe kiba nti oluusi nzibuwalirwa okusonyiwa abalala, kyandiba nti nnina obuggya oba obukyayi? Endowooza eyo nsobola ntya okugyeggyamu?
7. 6:16-18 Nfaayo nnyo ku ndabika yange ey’okungulu okusinga ekyo kye ndi munda? Kiki ekyandibadde ekikulu?
8. 6:19-32 Kiki ekiyinza okuvaamu singa nfaayo nnyo ku kufuna essente n’ebintu? Kiki ekinannyamba obutagwa lubege?
9. 7:1-5 Mpulira ntya bwe mbeera mu bantu abanoonyereza obusobyosobyo n’okuvumirira abalala? Lwaki kikulu nze okwewala okubeera bwe ntyo?
10. 7:7-11 Bwe kiba nti kikulu obutalekulira nga tulina kye tusaba Katonda, ate olwo kiri kitya mu mbeera endala ez’obulamu?—Lukka 11:5-13.
11. 7:12 Newakubadde nga mmanyi Etteeka Ery’Omuwendo, mirundi emeka lwe ndikolerako nga nkolagana n’abalala?
12. 7:24-27 Okuva bwe nvunaanyizibwa ku bulamu bwange, nnyinza ntya okwetegekera okwaŋŋanga ebizibu? Lwaki kino nnandikirowoozezzaako kati?—Lukka 6:46-49.
Enjigiriza endala ze nnyinza okwekenneenya:
13. 8:2, 3 Nyinza ntya okulaga ekisa eri abatalina mwasirizi nga Yesu bwe yakolanga?
14. 9:9-38 Okulaga obusaasizi kulina kifo ki mu bulamu bwange, era nnyinza ntya okukikola mu ngeri esingawo?
15. 12:19 Nga njigira ku bunnabbi obukwata ku Yesu, ngezaako okwewala enkaayana n’ennyombo?
16. 12:20, 21 Obutalumya balala okuyitira mu bigambo ne mu bikolwa byange kireetawo birungi ki?
17. 12:34-37 Ebiseera ebisinga obungi mbeera njogera ku ki? Nkimanyi nti bwe nkamula omucungwa guvaamu omubisi, n’olwekyo lwaki nnandifuddeyo nnyo ku ekyo ekiri mu mutima gwange?—Makko 7:20-23.
18. 15:4-6 Ebigambo bya Yesu binjigiriza ki ku kufaayo ku bannamukadde?
19. 19:13-15 Nnanditutte ekiseera okukola ki?
20. 20:25-28 Lwaki okubeera obubeezi n’obuyinza ku bwakyo si kya mugaso? Nsobola ntya okukoppa Yesu mu kino?
Enjigiriza endala Makko ze yawandiika:
21. 4:24, 25 Engeri gye mpisaamu abalala nkulu kwenkana wa?
22. 9:50 Bye njogera ne bye nkola bwe biba nga birungi, miganyulo ki eginaavaamu?
Mu nkomerero, enjigiriza ezimu Lukka ze yawandiika:
23. 8:11, 14 Singa ndeka okweraliikirira eby’obugagga, n’okunoonya amasanyu okuba ebikulu mu bulamu bwange, kiki ekiyinza okuvaamu?
24. 9:1-6 Wadde nga Yesu yalina amaanyi ag’okuwonya abalwadde, kiki kye yakulembeza?
25. 9:52-56 Nnyiiga mangu? Nneewala okwesasuza?
26. 9:62 Nnanditutte ntya obuvunaanyizibwa bwange obw’okwogera ku Bwakabaka bwa Katonda?
27. 10:29-37 Nsobola ntya okulaga nti ndi muliraanwa omulungi, so si muntu atafaayo?
28. 11:33-36 Nkyukakyuka ki ze nnyinza okukola okufuula obulamu bwange okuba obwangu?
29. 12:15 Kakwate ki akaliwo wakati w’obulamu n’ebintu?
30. 14:28-30 Singa ntwala ekiseera okulowooza n’obwegendereza ku bye mba nnina okusalawo, kiki kye nnyinza okwewala, era kireetawo miganyulo ki?
31. 16:10-12 Nnyinza ntya okuganyulwa mu kukuuma obugolokofu?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 8]
Omulimu ogw’okuwonya obulamu nga tukolera wansi w’ekikoligo kya Yesu guwummuza