ESSUULA 98
Abatume Baddamu Okwenoonyeza Obukulu
MATAYO 20:17-28 MAKKO 10:32-45 LUKKA 18:31-34
YESU ADDAMU OKWOGERA KU KUFA KWE
ABUULIRIRA ABATUME KU KY’OKWAGALA OBUKULU
Nga bamaliriza olugendo lwabwe, Yesu n’abayigirizwa be bava mu bukiikaddyo bwa Pereya ne basomoka Omugga Yoludaani okumpi ne Yeriko. Boolekedde Yerusaalemi era waliwo abalala abagenda nabo ku mbaga ey’Okuyitako ey’omwaka 33 E.E.
Yesu akulembeddemu abayigirizwa be kubanga ayagala atuuke mu kibuga ng’Okuyitako tekunnatandika. Naye abayigirizwa be batidde. Emabegako, Laazaalo bwe yali afudde era nga Yesu anaatera okuva e Pereya okugenda e Buyudaaya, Tomasi yagamba banne nti: “Naffe ka tugende, tusobole okufiira awamu naye.” (Yokaana 11:16, 47-53) N’olwekyo, kya mutawaana okugenda e Yerusaalemi, era eyo ye nsonga lwaki abayigirizwa batidde.
Okusobola okuyamba abatume okugumira ebinaatera okubaawo, Yesu abazza ku bbali n’abagamba nti: “Tugenda Yerusaalemi era Omwana w’omuntu ajja kuweebwayo eri bakabona abakulu n’abawandiisi bamusalire ogw’okufa, era bamuweeyo eri ab’amawanga bamusekerere, bamukube nnyo, bamukomerere ku muti, naye ku lunaku olw’okusatu azuukizibwe.”—Matayo 20:18, 19.
Guno mulundi gwa kusatu nga Yesu abuulira abayigirizwa be ebikwata ku kufa kwe n’okuzuukira kwe. (Matayo 16:21; 17:22, 23) Naye ku mulundi guno abagamba nti ajja kukomererwa ku muti. Bawulira by’abagamba, naye tebabitegeera. Oboolyawo balowooza nti ajja kuzzaawo obwakabaka bwa Isirayiri, basobole okufuna ekitiibwa mu bwakabaka bwa Kristo wano ku nsi.
Maama w’omutume Yakobo n’omutume Yokaana, nga kirabika ye Saalome, y’omu ku abo abatambula ne Yesu. Abatume abo ababiri Yesu abatuumye erinnya eritegeeza “Baana ba Kubwatuka,” kirabika olw’okuba basunguwala mangu. (Makko 3:17; Lukka 9:54) Abatume abo ababiri bamaze akaseera nga beegwanyiza ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka bwa Kristo. Ekyo maama waabwe akimanyi bulungi, era nga nabo bali kumpi awo atuukirira Yesu n’amuvunnamira, n’amusaba abeeko ky’amukolera. Yesu amubuuza nti: “Kiki ky’oyagala?” Omukazi amuddamu nti: “Batabani bange bano bombi nkusaba batuule naawe mu Bwakabaka bwo. Omu ku mukono gwo ogwa ddyo ate omulala ku gwa kkono.”—Matayo 20:20, 21.
Yakobo ne Yokaana balina okuba nga be bagambye nnyaabwe okubasabira ebifo ebyo. Olw’okuba abadde yaakabannyonnyola engeri gy’agenda okuweebuulwamu n’okujolongebwa, Yesu abagamba nti: “Temumanyi kye musaba. Musobola okunywa ekikopo kye nnaatera okunywa?” Bamuddamu nti: “Tusobola.” (Matayo 20:22) Naye balabika tebannategeera bulungi byonna bizingirwamu.
Wadde kiri kityo, Yesu abagamba nti: “Kyo ekikopo kyange mujja kukinywa, naye si nze asalawo alituula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ogwa kkono, wabula ky’abo Kitange be yakitegekera.”—Matayo 20:23.
Abatume abalala ekkumi basunguwala nnyo bwe bamanya ekyo Yakobo ne Yokaana kye babadde basaba. Kyandiba nti emabegako Yakobo ne Yokaana be baasinga okukaayana n’abatume abalala ku ani ku bo asinga obukulu? (Lukka 9:46-48) Ka kibe nti bwe kityo si bwe kyali, ebiriwo kati biraga nti abatume Ekkumi n’Ababiri tabakolera ku kubuulirira okukwata ku kuba aba wansi Yesu kwe yabawa. Bakyalulunkanira obukulu.
Yesu asalawo okugonjoola enkaayana eziriwo kati. Ayita Ekkumi n’Ababiri n’ababuulirira mu ngeri ey’ekisa ng’abagamba nti: “Mumanyi nti abo abafuga amawanga bakajjala ku bantu, n’abakulu baabwe babafugisa bukambwe. Naye tekirina kuba bwe kityo mu mmwe; buli ayagala okuba omukulu mu mmwe ateekeddwa okubeera omuweereza wammwe, era buli ayagala okubeera ow’olubereberye mu mmwe ateekeddwa okubeera omuddu wa bonna.”—Makko 10:42-44.
Yesu abakubiriza okumukoppa. Abagamba nti: “Omwana w’omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza n’okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.” (Matayo 20:28) Yesu amaze emyaka ng’esatu ng’aweereza abalala. Ate era agenda kuwaayo obulamu bwe ku lw’abantu bonna! Abayigirizwa be basaanidde okuba n’endowooza ya Kristo ey’okwagala okuweereza mu kifo ky’okuweerezebwa, okuba owa wansi mu kifo ky’okwagala obukulu.