ESSUULA 103
Addamu Okulongoosa Yeekaalu
MATAYO 21:12, 13, 18, 19 MAKKO 11:12-18 LUKKA 19:45-48 YOKAANA 12:20-27
YESU AKOLIMIRA OMUTI GW’OMUTIINI ERA ALONGOOSA YEEKAALU
OKUSOBOLA OKUWA BANGI OBULAMU, YESU ALINA OKUFA
Yesu n’abayigirizwa be bamaze ennaku ssatu mu Bessaniya bukya bava e Yeriko. Kati ku Bbalaza ku makya, nga Nisaani 10, batambula nga bagenda e Yerusaalemi. Yesu enjala emuluma. Bw’atyo alaba omuti gw’omutiini n’agenda we guli. Ku muti ogwo kuliko ebibala?
Omwezi gwa Maaki gunaatera okuggwaako, naye emitiini gitandika kubala mu Jjuuni. Wadde kiri kityo, ebikoola by’omutiini ogwo bivuddeyo mangu. Bwe kityo, Yesu alowooza nti ku muti ogwo kuliko ebibala ebisooka. Kyokka akizuula nti tekuli bibala. Ebikoola by’omutiini ogwo biwadde ekifaananyi ekitali kituufu. Yesu agamba nti: “Tewabangawo alya ku bibala byo emirembe n’emirembe.” (Makko 11:14) Amangu ago omuti ogwo gutandika okukala, era amakulu g’ekyo ga kutegeerwa enkeera.
Wayita ekiseera kitono, Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka e Yerusaalemi. Agenda mu yeekaalu, gye yalambudde jjo olweggulo. Leero akola ekisingawo ku kulambula obulambuzi yeekaalu; akola ekintu ekifaananako ekyo kye yakola emyaka esatu emabega ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 30 E.E. (Yokaana 2:14-16) Ku luno Yesu agoba ‘abatundira ebintu mu yeekaalu n’abo ababigula.’ Ate era avuunika ‘emmeeza z’abo abavungisa ssente n’entebe z’abo abatunda amayiba.’ (Makko 11:15) Mu butuufu, n’abo abaagala okuyita mu luggya lwa yeekaalu nga batwala ebintu mu bitundu ebirala eby’ekibuga, tabakkiriza kuyitamu.
Lwaki Yesu ayisa bw’atyo abo abawanyisa ssente n’abatundira ebisolo mu yeekaalu? Agamba nti: “Tekyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabirwamu amawanga gonna’? Naye mugifudde mpuku ya banyazi.” (Makko 11:17) Ensonga lwaki Yesu ayita abasajja abo abanyazi eri nti basaba ssente nnyingi abo abagula ebisolo eby’okuwaayo nga ssaddaaka. Ekyo kye bakola Yesu akitwala ng’obunyazi oba obubbi.
Kya lwatu nti bakabona abakulu, abawandiisi, n’abantu abakulu mu ggwanga bawulira ekyo Yesu ky’akoze era baagala okumutta. Kyokka, waliwo ekibalemesa. Tebamanyi ngeri ya kuttamu Yesu kubanga abantu bangi bagenda gy’ali okumuwuliriza.
Ng’oggyeeko Abayudaaya, waliwo n’abakyufu, nga bano be bantu abaali beegasse ku ddiini y’Ekiyudaaya, abazze ku Mbaga y’Okuyitako. Mu bantu abo mulimu Abayonaani abazze ku mbaga eyo okusinza. Abayonaani abo batuukirira Firipo, oboolyawo olw’okuba alina erinnya ery’Ekiyonaani, ne bamubuuza obanga basobola okulaba Yesu. Firipo takakasa obanga kituufu abantu abo okulaba Yesu, bw’atyo yeebuuza ku Andereya. Firipo ne Andereya bagenda eri Yesu okumutegeeza ku nsonga eyo, oboolyawo ng’akyali mu yeekaalu.
Yesu akimanyi nti asigazza ennaku ntono attibwe. N’olwekyo, kino si kye kiseera okukola ebintu okusanyusa obusanyusa abalala oba okunoonya obuganzi mu bantu. Bw’atyo addamu abatume abo ababiri ng’akozesa ekyokulabirako. Agamba nti: “Ekiseera kituuse Omwana w’omuntu agulumizibwe. Mazima ddala mbagamba nti, empeke y’eŋŋaano bw’etagwa ku ttaka n’efa, esigala eri emu; naye bw’efa ebala ebibala bingi.”—Yokaana 12:23, 24.
Empeke emu ey’eŋŋaano eyinza okulabika ng’eteri ya mugaso nnyo. Naye bw’esimbibwa mu ttaka “n’efa,” esobola okumera era oluvannyuma n’ebala ebibala bingi. Mu ngeri y’emu, Yesu muntu omu atuukiridde. Naye olw’okusigala nga mwesigwa eri Katonda okutuukira ddala okufa, ajja kusobozesa abantu bangi abalina omwoyo ogw’okwefiiriza nga ye okufuna obulamu obutaggwaawo. Bwe kityo, Yesu agamba nti: “Oyo ayagala obulamu bwe abuzikiriza, naye oyo akyawa obulamu bwe mu nsi eno ajja kubukuuma asobole okufuna obulamu obutaggwaawo.”—Yokaana 12:25.
Yesu teyeerowoozaako yekka, kubanga agamba nti: “Oyo yenna ayagala okumpeereza angoberere, era gye nnaabeera n’omuweereza wange gy’anaabeera. Oyo yenna ayagala okumpeereza, Kitange alimuwa ekitiibwa.” (Yokaana 12:26) Ng’eyo nkizo ya maanyi! Abo Katonda b’awa ekitiibwa bajja kufugira wamu ne Kristo mu Bwakabaka.
Ng’alowooza ku kubonaabona okw’amaanyi kw’agenda okuyitamu n’engeri gy’agenda okuttibwamu, Yesu agamba nti: “Kaakano ndi mweraliikirivu nnyo; era njogere ki? Kitange, ndokola okuva mu kaseera kano.” Kyokka Yesu si mwetegefu kukkiriza kintu kyonna kumulemesa kukola Katonda by’ayagala. Agamba nti: “Wadde kiri kityo, nnina okwolekagana n’akaseera kano.” (Yokaana 12:27) Yesu mwetegefu okukola byonna Katonda by’ayagala, nga mw’otwalidde n’okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka.