ESSUULA 106
Engero Bbiri Ezikwata ku Nnimiro y’Emizabbibu
MATAYO 21:28-46 MAKKO 12:1-12 LUKKA 20:9-19
OLUGERO OLUKWATA KU BAANA ABABIRI
OLUGERO OLUKWATA KU BAKOZI MU NNIMIRO Y’EMIZABBIBU
Yesu ali ku yeekaalu era yaakamala okuddamu bakabona abakulu n’abakadde, ababadde bamubuuza gye yaggya obuyinza okukola ebintu by’akola. By’abaddamu bibasirisa. Oluvannyuma agera olugero olulaga ekyo kyennyini abantu abo kye bali.
Yesu agamba nti: “Omusajja yalina abaana babiri; n’agenda eri asooka n’amugamba nti: ‘Mwana wange, leero genda okole mu nnimiro y’emizabbibu.’ N’amuddamu nti, ‘Sijja kugenda.’ Naye oluvannyuma ne yeekuba mu kifuba n’agenda. N’atuukirira ow’okubiri n’amugamba ekintu kye kimu. N’amuddamu nti, ‘Nja kugenda Ssebo,’ naye n’atagenda. Ku bombi ani yakola kitaawe ky’ayagala?” (Matayo 21:28-31) Eky’okuddamu kyeyoleka kaati: omwana eyasooka ye yakola kitaawe ky’ayagala.
Bwe kityo, Yesu agamba abo abamuziyiza nti: “Mazima ddala mbagamba nti, abasolooza omusolo ne bamalaaya babakulembedde okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda.” Mu kusooka, abasolooza omusolo ne bamalaaya baali tebaweereza Katonda. Kyokka, okufaananako omwana eyasooka, oluvannyuma beenenya era kati baweereza Katonda. Ku luuyi olulala, abakulembeze b’eddiini balinga omwana ow’okubiri, mu ngeri nti beetwala okuba abaweereza Katonda naye nga mu butuufu tebakikola. Yesu agamba nti: “Yokaana [Omubatiza] yajja gye muli ng’abalaga ekkubo ery’obutuukirivu ne mutamukkiriza. Naye abasolooza omusolo ne bamalaaya baamukkiriza, era wadde ng’ekyo mwakiraba temwekuba mu kifuba musobole okumukkiriza.”—Matayo 21:31, 32.
Oluvannyuma Yesu agera olugero olulala. Mu lugero luno, Yesu akiraga nti ng’oggyeeko okuba nti abakulembeze b’eddiini bagaanye okuweereza Katonda, era babi nnyo. Yesu agamba nti: “Waaliwo omuntu eyasimba ennimiro y’emizabbibu, n’agissaako olukomera, n’ateekamu essogolero ly’envinnyo, n’azimbamu omunaala; awo n’agireka mu mikono gy’abalimi abaagipangisa, n’agenda mu nsi ey’ewala. Ekiseera ky’amakungula bwe kyatuuka, n’atuma omuddu eri abalimi amuleetere ku bibala eby’omu nnimiro ye ey’emizabbibu. Naye ne bamukwata ne bamukuba era ne bamugoba n’addayo ngalo nsa. N’addamu n’abatumira omuddu omulala; ono ne bamutema olubale era ne bamuswaza nnyo. N’abatumira n’omuddu omulala, ono ne bamutta. N’abatumira n’abalala bangi; abamu ne babakuba, abalala ne babatta.”—Makko 12:1-5.
Abo abawulira olugero lwa Yesu olwo banaategeera amakulu gaalwo? Oboolyawo, bayinza okujjukira ebigambo bya Isaaya bino: “Ennimiro ey’emizabbibu eya Yakuwa ow’eggye ye nnyumba ya Isirayiri; Abasajja ba Yuda ye nnimiro gye yali ayagala ennyo. Yali asuubira bwenkanya, naye laba! waaliwo butali bwenkanya.” (Isaaya 5:7) Olugero lwa Yesu lukwatagana bulungi n’ebigambo ebyo. Nnannyini nnimiro ye Yakuwa, ate ennimiro y’emizabbibu lye ggwanga lya Isirayiri, eririna Amateeka ga Katonda agakola ng’olukomera olubawa obukuumi. Yakuwa yatuma bannabbi be okuyigiriza abantu be n’okubayamba okubala ebibala ebirungi.
Naye, “abalimi” baayisa bubi “abaddu” abaatumibwa gye bali era ne babatta. Yesu agamba nti: “[Nnannyini nnimiro y’emizabbibu] yali akyalinayo omuntu omulala omu, ng’ono ye mwana we omwagalwa. Ono gwe yasembayo okubatumira ng’agamba nti, ‘Omwana wange bajja kumussaamu ekitiibwa.’ Naye abalimi abo ne boogera bokka na bokka nti, ‘Ono ye musika. Mujje tumutte, obusika bujja kuba bwaffe.’ Ne bamukwata ne bamutta.”—Makko 12:6-8.
Kati Yesu abuuza nti: “Nnannyini nnimiro y’emizabbibu kiki ky’alikola?” (Makko 12:9) Abakulembeze b’eddiini bamuddamu nti: “Olw’okuba babi, alibazikiririza ddala, era ennimiro y’emizabbibu aligipangisa abalimi abalala abalimuwa ebibala ng’ekiseera kyabyo kituuse.”—Matayo 21:41.
Abasajja abo beesalira omusango nga tebamanyi, kubanga be bamu ku ‘balimi’ b’ennimiro ya Yakuwa ‘ey’emizabibu,’ eggwanga lya Isirayiri. Ebimu ku bibala Yakuwa by’abasuubiramu kwe kukkiririza mu Mwana we, Masiya. Yesu atunuulira abakulembeze b’eddiini abo n’abagamba nti: “Temusomanga ku kyawandiikibwa kino ekigamba nti: ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda. Kino kyava eri Yakuwa era kitwewuunyisa nnyo’?” (Makko 12:10, 11) Oluvannyuma Yesu abagamba butereevu nti: “Eno ye nsonga lwaki mbagamba nti, Obwakabaka bwa Katonda bujja kubaggibwako buweebwe eggwanga eribala ebibala byabwo.”—Matayo 21:43.
Abawandiisi ne bakabona abakulu bakitegeera nti ‘olugero olwo Yesu lw’ageze lukwata ku bo.’ (Lukka 20:19) Kati n’okusinga bwe kyali kibadde, baagala okutta Yesu, ‘omusika’ omutuufu. Naye batya ekibiina ky’abantu, abatwala Yesu okuba nnabbi. Bwe kityo tebagezaako kutta Yesu kati.