Otegeera Akabonero Akalaga Okubeerawo kwa Yesu?
TEWALI yandyagadde kufuna bulwadde oba akatyabaga. Okusobola okwewala ebizibu ng’ebyo, omuntu ow’amagezi alaba obubonero obulaga nti wagenda kubaawo akabi, n’abaako ky’akolawo. Yesu Kristo yayogera ku bubonero obw’enjawulo bwe tulina okwetegereza. Yalaga nti obubonero obwo bwandibaddewo mu nsi yonna era bwandikutte ne ku bantu bonna. Naawe obubonero obwo bukukwatako awamu n’ab’omu maka go.
Yesu yayogera ku Bwakabaka bwa Katonda obugenda okuggyawo obubi era bufuule ensi ekifo ekirabika obulungi ennyo. Abayigirizwa be baayagala okumanya ddi Obwakabaka obwo lwe bwandizze. Baamubuuza: “Tubuulire bino we biribeererawo n’akabonero [“ak’okubeerawo,” NW] kwo bwe kaliba n’ak’emirembe gino okuggwaawo?”—Matayo 24:3.
Yesu yali akimanyi nti oluvannyuma lw’okufa n’okuzuukira kwe, wandiyiseewo emyaka mingi nga tannatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka mu ggulu. Okuva bwe kiri nti abantu tebandisobodde kumulaba na maaso ng’atuuzibwa ku nnamulondo, Yesu yawa abagoberezi be akabonero kwe banditegeeredde “okubeerawo” kwe era nti ‘enkomerero y’emirembe gino’ enaatera okutuuka. Akabonero ako kaalimu ebintu bingi era nga byonna awamu bye byandikoze akabonero k’okubeerawo kwa Yesu.
Abawandiisi b’enjiri nga Matayo, Makko, ne Lukka baawandiika n’obwegendereza ebyo Yesu bye yaddamu. (Matayo, essuula 24 ne 25; Makko, essuula 13; Lukka, essuula 21) Waliwo n’abawandiisi ba Baibuli abalala abaawa kalonda omulala akwata ku kabonero. (2 Timoseewo 3:1-5; 2 Peetero 3:3, 4; Okubikkulirwa 6:1-8; 11:18) Olw’okuba tetusobola kwekenneenya byonna ebiri mu kabonero Yesu ke yayogerako, tugenda kwetegerezaako ebintu bitaano byokka. Ojja kukizuula nti kikulu nnyo okwekenneenya ebintu ebyo.—Laba akasanduuko ku lupapula 6.
“Enkyukakyuka ez’Amaanyi”
‘Eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaala kabaka.’ (Matayo 24:7) Magazini ey’omu Bugirimaani eyitibwa Der Spiegel yagamba nti ng’omwaka 1914 tegunaatuuka, abantu “baali beesunga ebiseera eby’omu maaso eby’emirembe n’enkulaakulana ez’amaanyi.” Naye, si bwe kyali. Magazini eyitibwa GEO egamba nti: ‘Abantu kyabeewuunyisa nnyo bwe wabalukawo olutalo mu Agusito 1914 ne lukoma mu Noovemba 1918. Olutalo olwo lwaleetawo enkyukakyuka ez’amaanyi mu byafaayo by’omuntu.’ Abaserikale abasukka mu bukadde 60 okuva mu nsi yonna be beenyigira mu lutalo olwo. Abaserikale nga 6,000 be battibwanga buli lunaku. Okuva olwo bannabyafaayo ne bannabyabufuzi bagamba nti, okuva mu “1914 okutuuka mu 1918 waaliwo enkyukakyuka ez’amaanyi.”
Ssematalo I yaleetawo enkyukakyuka ez’amaanyi era yatuusa abantu mu nnaku ez’oluvannyuma. Okuva olwo entalo, obunyoolagano n’ebikolwa bya bannalukalala byeyongedde. Ne ku ntandikwa y’ekyasa kino, ebintu tebikyuseeko. Ng’oggyeko entalo, waliwo n’ebintu ebirala bingi ebiri mu kabonero.
Enjala, Kawumpuli ne Musisi
‘Walibaawo enjala.’ (Matayo 24:7) Okuva enjala lwe yagwa mu Bulaaya, mu ssematalo eyasooka, wabaddengawo enjala mu bitundu bingi eby’ensi. Munnabyafaayo Alan Bullock yagamba nti enjala eyagwa mu Russia ne Ukraine mu 1933, “yaleetera abantu bangi okubundabundira mu byalo . . . Bangi baafiira ku nguudo.” Mu 1943 munnamawulire T. H. White yalaba enjala eyagwa mu ssaza ly’omu China eriyitibwa Henan. Yawandiika nti: “Mu kiseera ky’enjala omuntu asobola okulya ekintu kyonna n’afuna amaanyi. Olw’okuba aba atya okufa, asobola okulya ekintu kyonna ekitaliika.” Eky’ennaku, kumpi buli wamu mu Afirika waliwo enjala. Wadde nga mu nsi mulimu emmere esobola okumala abantu bonna, ekitongole kya UN Food and Agriculture Organization, kyagamba nti abantu obukadde 840 mu nsi yonna tebafuna mmere emala.
‘Kawumpuli.’ (Lukka 21:11) Olupapula lw’amawulire Süddeutsche Zeitung lugamba nti: “Mu 1918, Seseeba yatta abantu abali wakati w’obukadde 20 ne 50, nga bano baali bangi okusinga abo abaafa endwadde endala oba abaafiira mu ssematalo eyasooka.” Okuva olwo, abantu bangi nnyo bafudde endwadde ng’omusujja gw’ensiri, nnamusuna, akafuba, pooliyo, ne kkolera. Ate era abantu beeraliikirivu olwa siriimu eyeeyongedde ennyo. Wadde nga waliwo okukulaakulana mu by’ekisawo, waliwo endwadde nnyingi ezitawonyezeka ezeeyongera okukwata abantu. Kino kiraga nti ebiseera bye tulimu bya njawulo.
‘Ebikankano.’ (Matayo 24:7) Mu myaka 100 egyakayita, musisi asse abantu mitwalo na mitwalo. Alipoota emu egamba nti okuva mu 1914, musisi ow’amaanyi asobola okwonoona ebizimbe n’okwasa ettaka, abadde ayita emirundi 18 buli mwaka. Ate era wabaddewo ne musisi ow’amaanyi ennyo asobola okuzikiriza ebizimbe. Wadde wabaddewo okukulaakulana mu bya tekinologiya, musisi asse abantu bangi kubanga ebibuga bingi bizimbiddwa mu bifo w’atera okuyita.
Amawulire Amalungi!
Ebintu ebisinga obungi ebiri mu kabonero ak’ennaku ez’oluvannyuma binakuwaza. Wadde kiri kityo, Yesu yayogera ne ku mawulire amalungi.
‘N’enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.’ (Matayo 24:14) Omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka Yesu gwe yatandikawo gwandikoleddwa ku kigera ekinene mu nnaku ez’oluvannyuma. Omulimu guno gukolebwa mu kiseera kyaffe. Abajulirwa ba Yakuwa bayigiriza abantu Baibuli era babakubiriza okussa mu nkola bye bayiga. Kati Abajulirwa abasukka mu bukadde mukaaga babuulira mu nsi 235, mu nnimi ezisukka mu 400.
Weetegereze nti Yesu teyagamba nti abantu bandirekedde awo okukola emirimu gyabwe olw’okuba embeera nzibu. Ate era teyagamba nti akabonero kandibaddemu ekintu kimu kyokka ekyandirabiddwa mu nsi yonna. Wabula yagamba nti wandibaddewo ebintu bingi era nga byonna bye byandikoze akabonero akandirabiddwa mu nsi yonna.
Bw’otunuulira ebintu ebitali bimu ebiriwo mu nsi tolaba nti bikola akabonero akakulu ennyo? Ebiriwo mu nsi bikukwatako ggwe awamu n’ab’omu maka go. Naye tuyinza okwebuuza nti ‘Lwaki abantu batono nnyo abalina kye bakolawo?’
Bakola Bye Baagala
“Towugira Wano,” “Weegendereze Amasannyalaze,” “Kendeeza Sipiidi.” Bino bye bimu ku bigambo ebirabula bye tutera okusoma ku bupande naye ne tubibuusa amaaso. Lwaki? Ensonga eri nti tutera okwagala okukola ekyo kye twagala. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okwagala okuvuga endiima ng’ate amateeka tegatukkiriza, oba tuyinza okwagala okuwugira mu kifo awatakkirizibwa. Kyokka, kiba kya kabi singa tetufaayo ku kulabula okuba kutuweereddwa.
Ng’ekyokulabirako, abantu abamu ababa bagenze okulambula ensozi z’omu Austria, France, Italy, ne Switzerland bafa olw’obutafaayo ku kulabula okubagaana okuzannyira mu bifo ebimu. Okusinziira ku lupapula lw’amawulire oluyitibwa Süddeutsche Zeitung, abalambuzi bangi abatafaayo ku kulabula ng’okwo baba n’endowooza nti, Omuzannyo bwe gutabaamu kussa bulamu mu kabi tegunyuma. Kyokka kiba kya kabi okusuula omuguluka okulabula ng’okwo.
Lwaki abantu tebafaayo ku kabonero Yesu ke yayogerako? Kyandiba nti beenoonyeza bya bugagga, tebafaayo, tebasalawo, beemalidde ku mirimu oba batya okufiirwa ekitiibwa kyabwe. Waliwo ekimu ku bino ekiyinza okuba nga kye kikuleetera okusuula omuguluka akabonero k’okubeerawo kwa Yesu? Tekyandibadde kya magezi otegeere obubonero obwo era obeeko ky’okolawo?
Obulamu mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi
Abantu bangi beeyongedde okufaayo ku kabonero k’okubeerawo kwa Yesu. Omwami omu ow’omu Bugirimaani ayitibwa Kristian yagamba: “Bino biseera bya kazigizigi. Mazima ddala, tuli mu ‘nnaku za luvannyuma.’” Kristian ne mukyala we bamala ebiseera bingi nga babuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Masiya. Frank naye abeera mu nsi y’emu. Ye ne mukyala we bazzaamu abalala amaanyi nga bababuulira ku mawulire amalungi ag’omu Baibuli. Agamba nti: “Olw’embeera eriwo mu nsi, abantu bangi baagala okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Tubazzaamu amaanyi bwe tubabuulira ku bunnabbi bwa Baibuli obulaga nti ensi ejja kufuulibwa ekifo ekirabika obulungi ennyo.” Kristian ne Frank bakoze ekyo ekyogerwako mu kabonero k’okubeerawo kwa Yesu—babuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka.—Matayo 24:14.
Ku nkomerero, Yesu ajja kuzikiriza enteekateeka y’ebintu eno wamu n’abantu abagiwagira. Obwakabaka bwa Masiya bujja kufuga ensi yonna, era nga bwe kyasuubizibwa, bujja kugifuula Olusuku lwa Katonda. Abantu bajja kuba tebakyalwala, tebakyafa era n’abo abaafa bajja kuzuukizibwa bakomewo ku nsi. Bino bye bintu ebirungi abo abafaayo ku bubonero bye bajja okufuna. Tekyandibadde kya magezi okuyiga ebisingawo ku bubonero n’okumanya kye tulina okukola okusobola okuwonawo ku nkomerero? Mazima ddala kino buli omu ky’asaanidde okukola.—Yokaana 17:3.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 4]
Yesu yayogera ku bintu ebyandibaddewo mu nsi nga byonna awamu bikola akabonero akandirabiddwa buli wamu ku nsi
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 6]
Olabye ebintu ebiri mu nsi ebikola akabonero?
[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 6]
OBUBONERO OBULAGA NTI TULI MU NNAKU EZ’OLUVANNYUMA
Entalo ez’amaanyi ennyo ezitabangawo.—Matayo 24:7; Okubikkulirwa 6:4
Enjala.—Matayo 24:7; Okubikkulirwa 6:5, 6, 8
Kawumpuli.—Lukka 21:11; Okubikkulirwa 6:8
Okweyongera kw’obumenyi bw’amateeka.—Matayo 24:12
Musisi.—Matayo 24:7
Ebiseera eby’okulaba ennaku.—2 Timoseewo 3:1
Abantu okwagala ennyo ssente.—2 Timoseewo 3:2
Obutagondera bazadde.—2 Timoseewo 3:2
Abatayagala ba luganda.—2 Timoseewo 3:3
Okwagala essanyu okusinga Katonda.—2 Timoseewo 3:4
Obuteefuga.—2 Timoseewo 3:3
Obutayagala bulungi.—2 Timoseewo 3:3
Obutafaayo ku kulabula.—Matayo 24:39
Abasekerezi abatakkiriza bukakafu bulaga nti tuli nnaku ez’oluvannyuma.—2 Peetero 3:3, 4
Okubuulira Obwakabaka bwa Katonda mu nsi yonna.—Matayo 24:14
[Ensibuko y’ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]
WWI soldiers: From the book The World War—A Pictorial History, 1919; poor family: AP Photo/Aijaz Rahi; polio victim: © WHO/P. Virot