Okuweereza Kristo Kabaka n’Obwesigwa
“[Yaweebwa] okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga n’ennimi, bamuweerezenga.”—DANYERI 7:14.
1, 2. Kiki ekiraga nti mu 33 C.E., Kristo yali tannatandika kufuga mu bujjuvu?
MUFUZI ki eyali asobola okufiirira abantu b’afuga, n’azuukira era n’addamu okufuga nga kabaka? Ate mufuzi ki eyali asobola okubeeraku nsi, n’aleeteraabo b’afuga okumussaamu obwesige n’okumunywererako ate oluvannyuma n’agenda okufugira mu ggulu? Omuntu yekka eyasobola okukola ekyo era n’akola n’ebintu ebirala bingi, ye Yesu Kristo. (Lukka 1:32, 33) Ku Pentekoote 33 C.E., oluvannyuma lw’okufa n’azuukira ate n’agenda mu ggulu, Katonda ‘yamuteekawo okuba omutwe ku byonna ebiri mu kkanisa.’ (Abaefeso 1:20-22; Ebikolwa 2:32-36) Bwe kityo, Kristo yaweebwa obuyinza, naye yali tannatandika kufuga mu bujjuvu. Yasooka kufuga Bakristaayo abaafukibwako amafuta, Isiraeri ow’omwoyo oba “Isiraeri wa Katonda.”—Abaggalatiya 6:16; Abakkolosaayi 1:13.
2 Kumpi emyaka nga 30 oluvannyuma lwa Pentekoote 33 C.E., omutume Pawulo yakiraga nti Kristo yali tannatandika kufuga mu bujjuvu, wabula nti yali atudde “ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’alindirira oluvannyuma abalabe be okufuusibwa entebe ey’ebigere bye.” (Abaebbulaniya 10:12, 13) Ate ku nkomerero y’ekyasa ekyasooka C.E., omutume Yokaana eyali akaddiye yafuna okwolesebwa n’alaba Omufuzi w’Obutonde Bwonna, Yakuwa, ng’atuuza Kristo Yesu ku ntebe y’Obwakabaka mu ggulu. (Okubikkulirwa 11:15; 12:1-5) Kati ka twetegereze obukakafu obulaga nti Kristo yatandika okufuga nga Kabaka Masiya mu ggulu mu 1914.a
3. (a) Bubaka ki obuppya obubadde mu mawulire amalungi ag’Obwakabaka okuva mu 1914? (b) Bibuuzo ki bye tuyinza okwebuuza?
3 Okuva mu 1914, amawulire amalungi ag’Obwakabaka gabadde galimu obubaka obuppya kubanga Kristo abadde afuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu, kyokka ng’afugira ‘wakati mu balabe be.’ (Zabbuli 110:1, 2; Matayo 24:14; Okubikkulirwa 12:7-12) Ate era, abo abaagala okubeera wansi w’obufuzi bwe abali ku nsi babadde balaga nti babuwagira nga beenyigira mu mulimu gw’okuyigiriza abantu Baibuli ogukolebwa mu nsi yonna, ku kigero ekitabangawo. (Danyeri 7:13, 14; Matayo 28:18) Abakristaayo abaafukibwako amafuta, ‘abaana b’obwakabaka,’ baweereza ‘ng’ababaka mu kifo kya Kristo.’ Bayambibwako ekibiina ekinene ‘eky’ab’endiga endala’ abayinza okuyitibwa abatume b’Obwakabaka bwa Katonda. (Matayo 13:38; 2 Abakkolinso 5:20; Yokaana 10:16) Bwe kityo, buli omu ku ffe asaanidde okwekebera alabe obanga ddala awagira obufuzi bwa Kristo. Weebuuze: Mmussaamu obwesige? Nyinza ntya okussa obwesige mu Kabaka afugira mu ggulu? Ka tusooke tulabe ensonga lwaki tusaanidde okussa obwesige mu Kristo.
Kabaka Aleetera Abalala Okumussaamu Obwesige
4. Ng’oyo eyali ajja okufuga nga kabaka, kiki Yesu kye yakola ng’ali mu buweereza bwe obw’oku nsi?
4 Ekituleetera okwesiga Kristo ze ngeri ze ennungi n’ebyo bye yakola. (1 Peetero 1:8) Bwe yali ku nsi, Yesu eyali ajja okufuga nga Kabaka yalaga ebimu ku ebyo by’alikolera abantu bonna bw’aliba afuga nga Kabaka mu kiseera kya Katonda ekigereke. Yaliisa abaali balumwa enjala, yawonya abalwadde, yazibula abazibe b’amaaso n’abaggavu b’amatu, yasobozesa bakasiru okwogera, era yazuukiza n’abafu. (Matayo 15:30, 31; Lukka 7:11-16; Yokaana 6:5-13) Bwe tumanya obulungi ebikwata ku bulamu bwa Yesu obw’oku nsi, kituyamba okumanya engeri ze—n’okusingira ddala okwagala kwe okw’okwefiiriza. (Makko 1:40-45) Ku nsonga eno, Napoléon Bonaparte yagamba bw’ati: ‘Alekizanda, Kayisaali, Charlemagne, nange kennyini twatandikawo obwakabaka obw’enjawulo nga tukozesa maanyi naye ye Yesu Kristo yakozesa kwagala. Eyo ye nsonga lwaki abantu bangi mu kiseera kino basobola okuwaayo obulamu bwabwe ku lulwe.’
5. Lwaki engeri za Yesu zaali zisikiriza?
5 Olw’okuba Yesu yali muteefu era nga muwombeefu, abo bonna abaalinga bazitoowereddwa olw’ebizibu ebitali bimu bazzibwangamu amaanyi olw’ebyo bye yabayigirizanga n’engeri gye yagalagangamu ekisa. (Matayo 11:28-30) Ng’ekyokulabirako, abaana baawuliranga bulungi nga bali naye n’abasajja abeetoowaze baamugoberera ne bafuuka abayigirizwa be. (Matayo 4:18-22; Makko 10:13-16) Ate olw’okuba yali afaayo era ng’awa abalala ekitiibwa, kyaviirako abakazi bangi abatya Katonda okuwaayo ebiseera byabwe, amaanyi gaabwe, n’ebintu byabwe, okumulabirira ng’akola omulimu gwe ogw’okubuulira.—Lukka 8:1-3.
6. Yesu yalaga atya nti akwatiddwako Lazaalo bwe yafa?
6 Kristo yayoleka ezimu ku ngeri ze ennungi bwe yafiirwa mukwano gwe Lazaalo. Yakwatibwako nnyo bwe yalaba Malyamu ne Maliza nga bakaaba era olw’okuba yali tasobola kukyebeera naye ‘yakaaba amaziga.’ Wadde Yesu yali akimanyi nti agenda kuzuukiza Lazaalo, ‘yasinda mu mwoyo’ olw’ennaku ennyingi gye yalina. Ng’akubirizibwa okwagala n’ekisa, Yesu yakozesa obuyinza obwamuweebwa Katonda n’azuukiza Lazaalo.—Yokaana 11:11-15, 33-35, 38-44.
7. Lwaki tusaanidde okussa obwesige mu Yesu? (Laba akasanduuko ku lupapula 31.)
7 Kitwewuunyisa nnyo bwe tulowooza ku ngeri Yesu gye yayagalamu ekituufu ate n’akyawa obubi n’obunnanfuusi. Emirundi ebiri mirambirira, Yesu yagoba abasuubuzi ab’omululu mu yeekaalu. (Matayo 21:12, 13; Yokaana 2:14-17) Bwe yali ku nsi, yatuukibwako ebizibu eby’enjawulo ne kimusobozesa okumanyira ddala obulungi ebizibu bye twolekagana nabyo. (Abaebbulaniya 5:7-9) Ate era, yakyayibwa era yayisibwako mu ngeri etali ya bwenkanya. (Yokaana 5:15-18; 11:53, 54; 18:38–19:16) Mu nkomerero yakkiriza okufa, asobole okutuukiriza ekyo Kitaawe ky’ayagala n’okusobozesa abantu okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 3:16) Ebyo byonna tebikuleetera okweyongera okuweereza Kristo n’obwesigwa? (Abaebbulaniya 13:8; Okubikkulirwa 5:6-10) Naye, kiki omuntu ky’asaanidde kukola okusobola okuba omu ku abo abanaafugibwa Kristo?
Okufuuka Anaafugibwa Kristo
8. Biki ebyetaagibwa abo abanaafugibwa Kristo?
8 Kirowoozeeko: Omuntu okufuna obutuuze mu nsi endala, wabaawo ebisaanyizo by’alina okutuukiriza. Omuntu oyo kiyinza okumwetaagisa okuba n’empisa ennungi era nga mulamu bulungi. Mu ngeri y’emu, abo abanaafugibwa Kristo nabo kibeetaagisa okuba n’empisa ennungi n’okuba abalamu obulungi mu by’omwoyo.—1 Abakkolinso 6:9-11; Abaggalatiya 5:19-23.
9. Tuyinza tutya okulaga nti twesiga Kristo?
9 Yesu Kristo era ayagala abo banaafuga babe beesigwa gy’ali n’eri Obwakabaka bwe. Kino bakikola nga bakolera ku ebyo bye yayigiriza ng’ali ku nsi. Ng’ekyokulabirako, basaanidde okuteeka Obwakabaka mu kifo ekisooka n’okusoosa ebyo Katonda by’ayagala mu kifo ky’okwenoonyeza eby’obugagga. (Matayo 6:31-34) Ate era bakikola nga booleka engeri za Kristo ne bwe baba mu mbeera enzibu. (1 Peetero 2:21-23) Ng’oggyeko ekyo, Kristo ayagala abo b’anaafuga bakoppe ekyokulabirako kye nga be basooka okukolera abalala ebirungi.—Matayo 7:12; Yokaana 13:3-17.
10. Tuyinza tutya okulaga nti twesiga Kristo (a) mu maka, (b) ne mu kibiina?
10 Abagoberezi ba Yesu era balaga nti bamwesiga nga booleka engeri ze mu maka. Ng’ekyokulabirako, abaami balaga nti beesigwa eri Kabaka waabwe ow’omu ggulu nga booleka engeri za Kristo mu ngeri gye bayisaamu bakyala baabwe n’abaana baabwe. (Abaefeso 5:25, 28-30; 6:4; 1 Peetero 3:7) Ate abakyala balaga nti beesigwa eri Kristo nga booleka ‘omwoyo omuwombeefu omuteefu’ n’empisa ennungi. (1 Peetero 3:1-4; Abaefeso 5:22-24) Abaana nabo balaga nti beesigwa eri Kristo bwe bakoppa ekyokulabirako kye ne baba bawulize. Bwe yali akyali muto, Yesu yagonderanga bazadde be wadde nga baali tebatuukiridde. (Lukka 2:51, 52; Abaefeso 6:1) N’olwekyo, abo abanaafugibwa Kristo bafuba okumukoppa nga ‘basaasiragana, nga baagala baganda baabwe ng’ab’oluganda,’ era nga baba ‘ba kisa.’ Bafuba okuba nga Kristo, nga baba ‘bawombeefu, nga tabawalana kibi lwa kibi, oba ekivume olw’ekivume.’—1 Peetero 3:8, 9; 1 Abakkolinso 11:1.
Bagondera Amateeka
11. Mateeka ki abo abanaafugibwa Kristo ge bagoberera?
11 Ng’abantu ababa baagala okufuuka abatuuze mu nsi emu bwe bagondera amateeka g’ensi eyo, n’abo abanaafugibwa Kristo bagondera “etteeka lya Kristo” nga bagondera ebiragiro bye era nga bakolera ku ebyo bye yayigiriza. (Abaggalatiya 6:2) Ate era, bafuba okulaba nga bagoberera ‘etteeka eriringa kabaka w’amateeka’ nga lino lye tteeka ery’okwagala. (Yakobo 2:8) Amateeka gano gazingiramu ki?
12, 13. Tulaga tutya nti tugondera “etteeka lya Kristo”?
12 Abo abanaafugibwa Kristo tebatuukiridde era balina obunafu obutali bumu. (Abaruumi 3:23) Bwe kityo, kibeetaagisa okwongera okukulaakulanya ‘okwagala okutaliimu bunnanfuusi’ eri baganda baabwe basobole ‘okubaagala okuviira ddala mu mutima.’ (1 Peetero 1:22) ‘Singa omuntu yenna aba n’ensonga ku munne,’ Abakristaayo bagoberera eteeka lya Kristo nga ‘bazibiikirizigana era nga basonyiwagana.’ Bwe bagoberera etteeka eryo, kibayamba okubuusa amaaso obutali butuukirivu bw’abalala n’okwagalana bokka na bokka. Tekikusanyusa okubeera n’abo abagondera Kabaka waffe w’okwagala nga balagaŋŋana okwagala bokka na bokka ‘ekintu ekinyweza obumu’?—Abakkolosaayi 3:13, 14, NW.
13 Yesu yalaga nti okwagala kwe kwali kusingira wala okwo abantu kwe balaga bannaabwe. (Yokaana 13:34, 35) Yagamba nti, bwe twagala abo bokka abatwagala, ‘kya njawulo ki kye tuba tukoze?’ Bwe twagala abo bokka abatwagala okwagala kwaffe tekuba kwa nnamaddala. Yesu yatukubiriza okukoppa Kitaawe nga twagala abalabe baffe n’abo abatuyigganya. (Matayo 5:46-48, NW) Okwagala ng’okwo kukubiriza abanaafugibwa Obwakabaka okugumiikiriza nga bakola omulimu gwabwe omukulu. Mulimu ki ogwo?
Obwesigwa Bugezesebwa
14. Lwaki omulimu gw’okubuulira mukulu nnyo?
14 Abo abanaafugibwa Obwakabaka bwa Katonda balina omulimu omukulu ‘ogw’okuwa obujulirwa ku bwakabaka bwe.’ (Ebikolwa 28:23) Kikulu nnyo okukola omulimu guno kubanga Obwakabaka bwa Masiya bujja kugulumiza Yakuwa ng’omufuzi ow’obutonde bwonna. (1 Abakkolinso 15:24-28) Bwe tubuulira amawulire amalungi, abantu bafuna omukisa okufuuka abo abanaafugibwa Obwakabaka bwa Katonda. Ate era, engeri abantu gye baanukulamu nga tubabuulidde amawulire ago Kristo Kabaka kw’ajja okusinziirako ng’alamula abantu abo. (Matayo 24:14; 2 Abassesaloniika 1:6-10) Bwe kityo, engeri esingira ddala obukulu gye tulagamu nti tutadde obwesige mu Kristo, kwe kugondera ekiragiro kye nga tubuulira abalala ku Bwakabaka bwe.—Matayo 28:18-20.
15. Lwaki obwesigwa bw’Abakristaayo bugezesebwa?
15 Amazima gali nti, Setaani afuba nnyo okulaba ng’aziyiza omulimu gw’okubuulira, era abafuzi bagaanyi obufuzi bwa Kristo, obwamuweebwa Katonda. (Zabbuli 2:1-3, 6-8) Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Omuddu tasinga mukama we. Obanga banjigganya nze, nammwe banaabayigganya.” (Yokaana 15:20) Bwe kityo, abagoberezi ba Kristo boolekaganye n’olutalo olw’eby’omwoyo era obwesigwa bwabwe bugezesebwa.—2 Abakkolinso 10:3-5; Abaefeso 6:10-12.
16. Mu ngeri ki abo abanaafugibwa Obwakabaka gye bawa ‘Kayisaali ebya Kayisaali ne Katonda ebya Katonda’?
16 Abo abanaafugibwa Obwakabaka bwa Katonda basigala nga beesigwa eri Kabaka waabwe atalabika naye tebajeemera ba buyinza. (Tito 3:1, 2) Yesu yagamba nti: “Ebya Kayisaali mumuwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mumuwenga Katonda.” (Makko 12:13-17) Bwe kityo, abo abanaafugibwa Kristo bagondera amateeka ga gavumenti singa gaba tegakontana na mateeka ga Katonda. (Abaruumi 13:1-7) Kkooti enkulu ey’Abayudaaya bwe yawa ekiragiro ekikontana n’etteeka lya Katonda ng’eragira abayigirizwa okulekera awo okubuulira, abayigirizwa baayoleka obuvumu naye ne basigala nga bawa kkooti eyo ekitiibwa. Baddamu nti “Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.”—Ebikolwa 1:8; 5:27-32.
17. Lwaki twandibadde bavumu nga twolekaganye n’ebizibu ebigezesa obwesige bwaffe?
17 Kyo kituufu nti, abo abanaafugibwa Kristo kibeetaagisa okuba abavumu okusobola okusigala nga beesigwa eri Kabaka waabwe mu kiseera eky’okugezesebwa. Kyokka, Yesu yagamba nti: “Mmwe mulina omukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawayiranga buli kigamba kibi , okubavunaanya nze. Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnyingi mu ggulu.” (Matayo 5:11, 12) Abagoberezi ba Kristo abaasooka balaba obutuufu bw’ebigambo bino. Ne bwe baabakubanga emiggo olw’okubuulira amawulire g’Obwakabaka, baasanyuka “kubanga ba[a]saanyizibbwa okukwatibwa ensonyi olw’Erinnya. Buli lunaku mu yeekaalu ne mu nnyumba eka tebaayosanga kuyigiriza n’okubuuliranga Yesu nga ye Kristo.” (Ebikolwa 5:41, 42) Nammwe musiimibwa nnyo bwe mwoleka omwoyo ng’ogwo nga mugumiikiriza ebizibu, obulwadde, ennaku, oba okuziyizibwa ne mweyongera okubuulira.—Abaruumi 5:3-5; Abaebbulaniya 13:6.
18. Ebyo Yesu bye yagamba Pontiyo Piraato byali bitegeeza ki?
18 Bwe yali tannafuuka Kabaka, Yesu yagamba bw’ati Gavana Omuruumi Pontiyo Piraato: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno: singa obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, basajja bange bandirwanye, ne ssiweebwayo mu Bayudaaya: naye kaakano obwakabaka bwange si bwa wano.” (Yokaana 18:36) N’olwekyo, abo abanaafugibwa Obwakabaka obw’omu ggulu tebakwata bya kulwanyisa era tebeenyigira mu ntalo. Basigala nga beesigwa eri “Omulangira ow’Emirembe” ne batabaako ludda lwe bawagira mu bintu byonna eby’ensi ebivaako enjawukana.—Isaaya 2:2-4; 9:6, 7, NW.
Emikisa Eginaafunibwa Abasigala nga Beesigwa
19. Lwaki abo abanaafugibwa Kristo beesunga ebiseera eby’omu maaso ebirungi?
19 Abo abasigala nga beesigwa eri Kristo “Kabaka wa bakabaka,” beesunga ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Beesunga ekiseera Obwakabaka obw’omu ggulu lwe bulitandika okufuga ensi. (Okubikkulirwa 19:11–20:3; Matayo 24:30) Ensigalira y’abaafukibwako amafuta, nga bano be ‘baana b’obwakabaka’ beesunga okufugira awamu ne Kristo mu ggulu. (Matayo 13:38; Lukka 12:32) Ate ‘ab’endiga endala’ bo beesunga ekiseera kabaka waabwe lw’alibagamba nti: ‘Mujje, mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire [Olusuku lwa Katonda ku nsi] mu bwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutonda ensi.’ (Yokaana 10:16; Matayo 25:34) N’olwekyo, ka bonna abaagala okufugibwa Obwakabaka babe bamalirivu okusigala nga beesigwa eri Kristo Kabaka waabwe.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba akatabo Reasoning From the Scriptures, ku mpapula 95-7 wansi w’omutwe “Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bagamba nti Obwakabaka bwa Katonda bwateekebwawo mu 1914?” Akatabo ako kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Osobola Okunnyonnyola?
• Lwaki tusaanidde okwesiga Kristo?
• Mu ngeri ki abo abafugibwa Kristo gye balagamu nti bamwesiga?
• Lwaki twandyagadde okuba abeesigwa eri Kristo, Kabaka waffe?
[Akasanduuko akali ku lupapula 31]
ENGERI ZA KRISTO ENDALA
Obutasosola—Yokaana 4:7-30.
Obusaasizi—Matayo 9:35-38; 12:18-21; Makko 6:30-34.
Okwagala okw’Okwefiiriza—Yokaana 13:1; 15:12-15.
Obwesigwa—Matayo 4:1-11; 28:20; Makko 11:15-18.
Ekisa—Makko 7:32-35; Lukka 7:11-15; Abaebbulaniya 4:15, 16.
Obutaba mukakanyavu—Matayo 15:21-28.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Bwe tulagaŋŋana okwagala tuba tugoberera “etteeka lya Kristo”
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Engeri za Kristo zikuleetera okumuweereza n’obwesigwa?