“Tubuulire, Ebintu Ebyo Biribaawo Ddi?”
“Kabonero ki akaliraga okubeerawo kwo n’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu?”—MAT. 24:3.
1. Okufaananako abatume, kiki naffe kye twagala okumanya?
ABAYIGIRIZWA ba Yesu baali baagala okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Bwe kityo, bwe waali wabula ennaku ntono Yesu attibwe, abatume be bana baamubuuza nti: “Ebintu ebyo biribaawo ddi, era kabonero ki akaliraga okubeerawo kwo n’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu?” (Mat. 24:3; Mak. 13:3) Bwe yali addamu ekibuuzo ekyo, Yesu yayogera ku bintu ebitali bimu ebyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso. Ebintu ebyo bisangibwa mu Matayo essuula 24 ne 25. Ebyo bye yayogera bya makulu nnyo gye tuli kubanga naffe twagala nnyo okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso.
2. (a) Okumala emyaka mingi kiki kye tubadde twagala okutegeera? (b) Bibuuzo ki ebisatu bye tugenda okwetegereza?
2 Okumala emyaka mingi, abaweereza ba Yakuwa babadde beekenneenya obunnabbi bwa Yesu obukwata ku nnaku ez’oluvannyuma. Ekyo bakikoze nga baagala okutegeera ekiseera kyennyini ebigambo bya Yesu lwe byandituukiridde. Okusobola okulaba engeri gye tweyongedde okutegeera obunnabbi bwa Yesu obwo, ka twetegerezeeyo ebibuuzo ebikulu bisatu. “Ekibonyoobonyo ekinene” kitandika ddi? Yesu alamula ddi ‘endiga n’embuzi’? Yesu ‘ajja’ ddi oba akomawo ddi?—Mat. 24:21; 25:31-33.
EKIBONYOOBONYO EKINENE KITANDIKA DDI?
3. Mu biseera by’edda, twalina ndowooza ki ku kibonyoobonyo ekinene?
3 Okumala emyaka mingi twali tulowooza nti ekibonyoobonyo ekinene kyatandika mu 1914, Ssematalo I bwe yatandika, era nti Yakuwa ‘yakendeeza ku nnaku’ z’ekibonyoobonyo mu 1918 olutalo olwo bwe lwagwa kisobozese ensigalira y’abaafukibwako amafuta okubuulira amawulire amalungi eri amawanga gonna. (Mat. 24:21, 22) Omulimu ogw’okubuulira bwe gwandikomekkerezeddwa, ensi ya Sitaani yandizikiriziddwa. Bwe kityo, twali tulowooza nti ekibonyoobonyo ekinene kyandibadde mu mitendera esatu: Kyanditandise mu 1914, ne kiyimirizibwamu mu 1918, era ne kikomekkerezebwa ku Kalumagedoni.
4. Kiki kye twategeera ekikwata ku bunnabbi bwa Yesu obukwata ku nnaku ez’oluvannyuma?
4 Bwe tweyongera okwekenneenya obunnabbi bwa Yesu obwo, twakitegeera nti ebimu ku bintu ebyali mu bunnabbi obwo, byali bya kutuukirizibwa emirundi ebiri. (Mat. 24:4-22) Byasooka kutuukirizibwa mu Buyudaaya mu kyasa ekyasooka, era byandituukiriziddwa ku kigero eky’ensi yonna mu kiseera kyaffe. Ekyo kyatuyamba okutegeera ebintu ebirala ebiri mu bunnabbi obwo.a
5. (a) Kiki ekyatandika mu 1914? (b) Ekiseera eky’okulumwa kikwatagana na kiseera ki mu kyasa ekyasooka?
5 Ate era twakitegeera nti ekitundu ekisooka eky’ekibonyoobonyo ekinene tekyatandika mu 1914. Lwaki? Kubanga obunnabbi bwa Bayibuli bulaga nti ekibonyoobonyo ekinene kijja kutandika na kuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba, so si na lutalo wakati w’amawanga. N’olwekyo, ebyo ebyaliwo mu 1914 byali tebiraga nti ekibonyoobonyo ekinene kyali kitandise, wabula byali biraga nti ekiseera ‘eky’okulumwa’ kyali kitandise. (Mat. 24:8) Ekiseera ekyo ‘eky’okulumwa’ kikwatagana n’ebyo ebyaliwo mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya okuva mu mwaka gwa 33 E.E. okutuuka mu mwaka gwa 66 E.E.
6. Kiki ekinaalaga nti ekibonyoobonyo ekinene kitandise?
6 Kiki ekinaalaga nti ekibonyoobonyo ekinene kitandise? Yesu yagamba nti: “Bwe muliraba eky’omuzizo ekizikiriza, nnabbi Danyeri kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu, (omusomi akozese okutegeera) abo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi.” (Mat. 24:15, 16) Mu kutuukirizibwa okwasooka, ‘okuyimirira mu kifo ekitukuvu’ kwaliwo mu 66 E.E. eggye lya Rooma (“eky’omuzizo”) bwe lyalumba Yerusaalemi ne yeekaalu yaakyo (ekifo Abayudaaya kye baali batwala ng’ekitukuvu). Kyokka ‘okuyimirira mu kifo ekitukuvu’ kujja kubaawo ku kigero ekisingako ekibiina ky’Amawanga Amagatte (“eky’omuzizo” eky’omu kiseera kyaffe) bwe kinaalumba Kristendomu (ekitwalibwa ng’ekitukuvu eri abo abeeyita Abakristaayo) n’amadiini amalala gonna agali mu Babulooni Ekinene. Obulumbaganyi obwo era bwogerwako mu Okubikkulirwa 17:16-18. Obulumbaganyi obwo y’ejja okuba entandikwa y’ekibonyoobonyo ekinene.
7. (a) Abakristaayo baawonyezebwawo batya mu kyasa ekyasooka? (b) Kiki kye tusuubira okubaawo mu kiseera eky’omu maaso?
7 Yesu era yagamba nti: “Ennaku ezo zirikendeezebwako.” Ebigambo ebyo byasooka kutuukirizibwa mu 66 E.E. amagye ga Rooma bwe gaayimiriza obulumbaganyi bwago ku Yerusaalemi. Ekyo kyasobozesa Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaali mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya okudduka ne basobola ‘okuwonawo.’ (Soma Matayo 24:22; Mal. 3:17) Kati olwo kiki kye tusuubira okubaawo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene? Yakuwa ajja ‘kukendeeza’ ku kiseera ky’obulumbaganyi bw’ekibiina ky’Amawanga Amagatte ku madiini ag’obulimba. Ekyo kijja kusobozesa eddiini ey’amazima obutazikirizibwa wamu na madiini ag’obulimba era kijja kusobozesa abantu ba Katonda okuwonawo.
8. (a) Biki ebinaabaawo ng’ekitundu ekisooka eky’ekibonyoobonyo ekinene kiwedde? (b) Ddi omuntu asembayo ku 144,000 lw’ayinza okuba nga lw’ajja okuweebwa empeera ye mu ggulu? (Laba obugambo obwa wansi ku lupapula 8.)
8 Kiki ekinaabaawo ng’ekitundu ekisooka eky’ekibonyoobonyo ekinene kiwedde? Ebigambo bya Yesu biraga nti wajja kuyitawo akaseera nga Kalumagedoni tannatandika. Biki ebinaabaawo mu kaseera ako? Eky’okuddamu kisangibwa mu Ezeekyeri 38:14-16 ne Matayo 24:29-31. (Soma.)b Oluvannyuma, wajja kubaawo Kalumagedoni, ng’eno y’ejja okuba entikko y’ekibonyoobonyo ekinene. Kalumagedoni akwataganyizibwa n’okuzikirizibwa okwaliwo mu mwaka gwa 70 E.E. (Mal. 4:1) Okuva bwe kiti nti olutalo Kalumagedoni y’ejja okuba entikko y’ekibonyoobonyo ekinene, ekibonyoobonyo ekyo kijja kuba kya njawulo, ekintu “ekitabangawo kasookedde nsi ebaawo.” (Mat. 24:21) Oluvannyuma lwa Kalumagedoni, Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi bujja kutandika.
9. Obunnabbi bwa Yesu obukwata ku kibonyoobonyo ekinene butuzzaamu butya amaanyi?
9 Obunnabbi obukwata ku kibonyoobonyo ekinene butuzzaamu nnyo amaanyi. Lwaki? Kubanga bulaga nti ebizibu ne bwe binaaba bingi kwenkana wa mu kiseera ekyo, abantu ba Yakuwa ng’ekibiina bajja kuyita mu kibonyoobonyo ekinene. (Kub. 7:9, 14) N’ekisinga obukulu, ku Kalumagedoni, Yakuwa ajja kukiraga nti y’agwanidde okufuga obutonde bwonna era ajja kutukuza erinnya lye.—Zab. 83:18; Ez. 38:23.
YESU ALAMULA DDI ENDIGA N’EMBUZI?
10. Edda twalina ndowooza ki ku kiseera eky’okulamula endiga n’embuzi?
10 Kati ate lowooza ku kintu ekirala ekiri mu bunnabbi bwa Yesu obukwata ku nnaku ez’oluvannyuma, nga kuno kwe kulamula endiga n’embuzi. (Mat. 25:31-46) Edda, twali tulowooza nti Yesu yatandika okulamula abantu nti ndiga oba mbuzi mu 1914, ng’ennaku ez’oluvannyuma zitandise. Twali tulowooza nti abantu abagaana amawulire amalungi era ne bafa ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika baba mbuzi era tebaba na ssuubi lya kuzuukira.
11. Lwaki okulamula abantu nti ndiga oba mbuzi tekuyinza kuba nga kwatandika mu 1914?
11 Magazini y’Omunaala gw’Omukuumi eyakubibwa mu 1995, yatuyamba okwongera okutegeera Matayo 25:31, awagamba nti: “Omwana w’omuntu bw’alijjira mu kitiibwa kye ng’ali wamu ne bamalayika bonna, alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa.” Magazini eyo yalaga nti wadde nga Yesu yafuuka Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda mu 1914, mu mwaka ogwo teyatuula “ku ntebe ye ey’ekitiibwa” ng’Omulamuzi ‘w’amawanga gonna.’ (Mat. 25:32; geraageranya Danyeri 7:13.) Kyokka tusaanidde okukijjukira nti olugero olukwata ku ndiga n’embuzi okusingira ddala lwogera ku mulimu Yesu gw’ajja okukola ng’Omulamuzi. (Soma Matayo 25:31-34, 41, 46.) Okuva bwe kiri nti mu 1914 Yesu yali tannafuuka Mulamuzi w’amawanga gonna, ekiseera kye eky’okulamula abantu nti ndiga oba mbuzi tekiyinza kuba nga kyatandika mu mwaka ogwo.c Kati olwo Yesu anaatandika ddi okulamula abantu nti ndiga oba mbuzi?
12. (a) Yesu anaatandika ddi okulamula amawanga gonna? (b) Bintu ki ebyogerwako mu Matayo 24:30, 31 ne Matayo 25:31-33, 46?
12 Obunnabbi bwa Yesu obukwata ku nnaku ez’oluvannyuma bulaga nti Yesu ajja kutandika okulamula amawanga gonna oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba. Nga bwe tulabye mu katundu 8, ebimu ku bintu ebinaabaawo mu kiseera ekyo byogerwako mu Matayo 24:30, 31. Weetegereze nti ebintu Yesu bye yayogerako mu nnyiriri ezo bifaananako n’ebyo bye yayogera mu lugero olukwata ku ndiga n’embuzi. Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba nti: Omwana w’omuntu ajja kujjira mu kitiibwa ng’ali wamu ne bamalayika; amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa; abo abanaalamulwa okuba endiga bajja ‘kuyimusa emitwe gyabwe’ kubanga bajja kuba banaatera okufuna ‘obulamu obutaggwaawo.’d Ate abo abanaalamulwa okuba embuzi bajja ‘kukuba ebiwoobe’ kubanga bajja kuba bakimanyi nti ‘bagenda mu kufa okw’olubeerera.’—Mat. 25:31-33, 46.
13. (a) Yesu anaalamula ddi abantu nti ndiga oba mbuzi? (b) Okumanya ekyo kituleetera kutwala tutya omulimu gwaffe ogw’okubuulira?
13 Yesu ajja kulamula abantu ab’amawanga gonna nti ndiga oba mbuzi bw’alijja mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. Oluvannyuma, ku Kalumagedoni, ng’eno ye ntikko y’ekibonyoobonyo ekinene, abo abalinga embuzi bajja kuzikirizibwa. Okumanya ekyo kituleetera kutwala tutya omulimu gwaffe ogw’okubuulira? Kituleetera okutwala omulimu gwaffe ogw’okubuulira ng’ekintu ekikulu ennyo. Ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika, abantu bakyalina akakisa okukyusa endowooza zaabwe basobole okutambulira mu kkubo ery’akanyigo “eridda mu bulamu.” (Mat. 7:13, 14) Kyo kituufu nti mu kiseera kino, abantu abamu beeyisa ng’endiga oba ng’embuzi. Wadde kiri kityo, tusaanidde okukijjukira nti Yesu ajja kulamula abantu nti ndiga oba mbuzi mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. N’olwekyo, tusaanidde okweyongera okubuulira tusobole okuwa abantu bangi nga bwe kisoboka akakisa okuwulira amawulire amalungi n’okubaako kye bakolawo.
YESU AJJA DDI OBA AKOMAWO DDI?
14, 15. Byawandiikibwa ki ebina ebikwata ku kujja kwa Kristo ng’Omulamuzi mu kiseera eky’omu maaso?
14 Bwe tweyongedde okwetegereza obunnabbi bwa Yesu, tukirabye nti endowooza gye tubadde tulina ku ddi ebintu ebimu ebiri mu bunnabbi obwo lwe bituukirira ebadde yeetaaga okukyusibwamu. Kati ka twetegerezeeyo ebintu ebirala ebiri mu bunnabbi obwo.
15 Mu bigambo bye yayogera mu Matayo 24:29–25:46, Yesu essira yalissa ku ebyo ebyandibaddewo mu nnaku ez’oluvannyuma ne mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. Mu nnyiriri ezo, Yesu yayogera ku ‘kujja’ kwe, ku kutuuka kwe, oba ku kukomawo kwe, emirundi munaana.e Ng’ayogera ku kibonyoobonyo ekinene, Yesu yagamba nti: “Baliraba Omwana w’omuntu ng’ajjira mu bire.” “Temumanyi lunaku Mukama wammwe lw’alijjirako.” “Omwana w’omuntu ajjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.” Era ne mu lugero olukwata ku ndiga n’embuzi, Yesu yagamba nti: “Omwana w’omuntu bw’alijjira mu kitiibwa kye.” (Mat. 24:30, 42, 44; 25:31) Ebyawandiikibwa ebyo ebina bikwata ku kujja kwa Kristo ng’Omulamuzi mu kiseera eky’omu maaso. Ebyawandiikibwa ebirala ebina ebyogera ku kujja kwa Yesu bye biruwa?
16. Byawandiikibwa ki ebirala ebyogera ku kujja kwa Yesu?
16 Bwe yali ayogera ku muddu omwesigwa era ow’amagezi, Yesu yagamba nti: “Alina essanyu omuddu oyo singa mukama we akomawo [“ajja,” Kingdom Interlinear] n’asanga ng’akola bw’atyo.” Mu lugero lw’abawala ekkumi, Yesu yagamba nti: “Bwe baali bagenda okugagula, omugole omusajja n’atuuka [“n’ajja,” Int].” Mu lugero lwa ttalanta, Yesu yagamba nti: “Oluvannyuma lw’ekiseera kiwanvu, mukama w’abaddu abo n’ajja.” Mu lugero lwe lumu olwo, mukama w’abaddu yagamba nti: “Bwe nnandikomyewo [“nnandizze,” Int] nnandibadde nzifuna.” (Mat. 24:46; 25:10, 19, 27) Ebyawandiikibwa ebyo ebina byogera ku kiseera ki?
17. Tubadde tutegeera tutya okukomawo kwa Kristo okwogerwako mu Matayo 24:46?
17 Ebitabo byaffe bibadde biraga nti ebyawandiikibwa ebyo ebina bye tusembyeyo okwogerako bikwata ku kukomawo oba ku kujja kwa Yesu mu 1918. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bigambo bya Yesu ebikwata ku ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Soma Matayo 24:45-47.) Twali tulowooza nti ‘okukomawo’ kwa Yesu okwogerwako mu lunyiriri 46 kutegeeza nti yajja okulambula abaafukibwako amafuta mu 1918 era nti omuddu yasigirwa ebintu bya Mukama we byonna mu 1919. (Mal. 3:1) Kyokka oluvannyuma lw’okwongera okwekenneenya obunnabbi bwa Yesu, tukirabye nti twetaaga okukyusa mu ngeri gye tutegeeramu ebintu ebimu ebyogerwako mu bunnabbi obwo. Lwaki?
18. Okwetegereza obunnabbi bwa Yesu kituyamba kutegeera ki ku kujja kwa Yesu?
18 Mu nnyiriri eziddirirwa Matayo 24:46, ekigambo ‘okujja’ oba okukomawo kikwata ku kiseera ky’okujja kwa Yesu okusala omusango n’okuzikiriza ababi mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. (Mat. 24:30, 42, 44) Ate era nga bwe tulabye mu katundu 12, ‘okujja’ kwa Yesu okwogerwako mu Matayo 25:31 kukwata ku kiseera kye kimu ekyo eky’omu maaso eky’okusaliramu omusango. N’olwekyo, okukomawo kwa Yesu okusigira omuddu omwesigwa ebintu bye byonna, okwogerwako mu Matayo 24:46, 47, nakwo kujja kubaawo mu kiseera kya mu maaso, kwe kugamba, mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene.f Mu butuufu, okwekenneenya obunnabbi bwa Yesu kituyamba okukiraba nti ebyawandiikibwa ebyo byonna omunaana ebikwata ku kujja kwa Yesu bikwata ku kiseera kya mu maaso, Yesu lw’anajja okusala omusango mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene.
19. Nkyukakyuka ki ze tulabye mu kitundu kino, era bibuuzo ki ebijja okuddibwamu mu bitundu ebiddako?
19 Biki bye tulabye mu kitundu kino? Tulabye ebintu ebikulu bisatu. Ekisooka, tulabye nti ekibonyoobonyo ekinene tekyatandika mu 1914, naye kijja kutandika ng’ekibiina ky’Amawanga Amagatte kirumbye Babulooni Ekinene. Eky’okubiri, tulabye nti Yesu teyatandika kulamula ndiga na mbuzi mu 1914, wabula nti ekyo ajja kukikola mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. Eky’okusatu, tulabye nti okujja kwa Yesu okusigira omuddu omwesigwa ebintu bye byonna tekwaliwo mu 1919, naye nti kujja kubaawo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. N’olwekyo ebintu ebyo byonna ebisatu bya kubaawo mu kiseera kya mu maaso. Kati olwo ebyo bye tulabye mu kitundu kino bikwata bitya ku ngeri gye tutegeeramu ebigambo bya Yesu ebikwata ku muddu omwesigwa? Era bikwata bitya ku ngeri gye tutegeeramu obunnabbi bwa Yesu obulala obukwata ku nnaku ez’oluvannyuma? Ebibuuzo bino ebikulu bijja kuddibwamu mu bitundu ebiddako.
a Akatundu 4: Okumanya ebisingawo, laba Watchtower eya Febwali 15, 1994, olupapula 8-21 n’eya Maayi 1, 1999, olupapula 8-20.
b Akatundu 8: Ekimu ku bintu ebyogerwako mu nnyiriri zino kwe ‘kukuŋŋaanyizibwa kw’abalonde.’ (Matt. 24:31) Bwe kityo, kiyinzika okuba nti abaafukibwako amafuta abanaaba bakyaliwo ku nsi ng’ekitundu ekisooka eky’ekibonyoobonyo ekinene kiwedde, bajja kutwalibwa mu ggulu ng’olutalo Kalumagedoni terunnatandika. Ekyo kikyusaamu mu ebyo ebyafulumira mu kitundu “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower eya Agusito 15, 1990, olupapula 30.
c Akatundu 11: Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 1, 1995, olupapula 7-16.
d Akatundu 12: Laba n’ebyo ebiri mu Lukka 21:28.
e Akatundu 15: Ebigambo “okujja,” “okutuuka,” ne “okukomawo” byavvuunulwa okuva mu kigambo ky’Oluyonaani, erʹkho·mai.
f Akatundu 18: Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “akomawo” mu Matayo 24:46 kirina amakulu ge gamu n’ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “ajjira,” ne “lw’alijjirako” mu Matayo 24:30, 42, 44.