Bwe Tukoppa Yesu Tusobola Okuba n’Obulamu obw’Amakulu
‘Tambulanga nga Yesu bwe yatambula.’—1 Yokaana 2:6.
NGA bwe tulabye mu kitundu ekivuddeko, Yesu yalina obulamu obw’amakulu. N’olwekyo bwe tuba twagala okuba n’obulamu obw’amakulu, tusaanidde okumukoppa n’okukolera ku magezi ge yatuwa.
Mu butuufu, ekyo kyennyini Yakuwa ky’atukubiriza okukola ng’ekyawandiikibwa ekijuliziddwa waggulu bwe kiraga. Okutambula nga Yesu bwe yatambula kizingiramu okukolera ku njigiriza ze mu bulamu bwaffe bwonna. Bwe tunaakola bwe tutyo, Katonda ajja kutusiima era naffe tujja kuba n’obulamu obw’amakulu.
Mu njigiriza za Yesu mulimu emisingi egisobola okutuyamba okutambula nga bwe yatambula. Egimu ku misingi egyo gisangibwa mu ebyo bye yayogera ng’abuulira ku lusozi. Ka twetegereze egimu ku gyo tulabe n’engeri gye tuyinza okugikolerako mu bulamu bwaffe.
OMUSINGI: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.”—Matayo 5:3.
ENGERI GYE GUTUYAMBA OKUBA N’OBULAMU OBW’AMAKULU:
Yesu yalaga nti abantu beetaaga okumanya ebikwata ku Katonda. Twetaaga okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo nga bino: Lwaki weetuli? Lwaki waliwo okubonaabona kungi? Ddala Katonda atufaako? Waliyo obulamu oluvannyuma lw’okufa? Bwe tufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ng’ebyo tusobola okuba n’obulamu obw’amakulu. Yesu yali akimanyi nti Ekigambo kya Katonda kye kyokka ekisobola okuddamu ebibuuzo ebyo. Bwe yali asaba Katonda, yagamba nti: “Ekigambo kyo ge mazima.” (Yokaana 17:17) Ddala Ekigambo kya Katonda kisobola okutuyamba okumumanya n’okufuna essanyu?
EKYOKULABIRAKO:
Esa eyali asinga okuyimba mu bbandi emu, yali anaatera okufuuka omuyimbi omwatiikirivu. Wadde kyali kityo, Esa yali awulira nga talina ssanyu lya nnamaddala. Agamba nti, “Wadde nga nnanyumirwanga nnyo okubeera mu bbandi, nnali mpulira ng’obulamu bwange si bwa makulu.” Nga wayiseewo ekiseera, Esa yasisinkana omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Esa agamba nti, “Nnamubuuza ebibuuzo bingi. Nnakwatibwako nnyo olw’engeri gye yabiddamu ng’akozesa Bayibuli, era ne nzikiriza anjigirize Bayibuli.” Ebyo Esa bye yayiga mu Bayibuli byamukwatako nnyo era n’asalawo okwewaayo okuweereza Yakuwa. Agamba nti: “Mu biseera eby’emabega nnafunanga ebizibu buli kiseera, naye kati nnina obulamu obw’amakulu.”a
OMUSINGI: “Balina essanyu abo abasaasira abalala.”—Matayo 5:7.
ENGERI GYE GUTUYAMBA OKUBA N’OBULAMU OBW’AMAKULU:
Okuba abasaasizi kizingiramu okulumirirwa abalala, okubalaga ekisa, n’okubafaako. Yesu yasaasiranga abo abaali mu bwetaavu era yayambanga abo abaali babonaabona, kubanga yali abalumirirwa. (Matayo 14:14; 20:30-34) Bwe tuba abasaasizi nga Yesu, obulamu bwaffe buba bwa makulu kubanga abo abasaasira abalala bafuna essanyu. (Ebikolwa 20:35) Tusobola okulaga nti tuli basaasizi okuyitira mu bigambo ne mu bikolwa. Ddala okuba abasaasizi kirina engeri yonna gye kituganyulamu?
EKYOKULABIRAKO:
Maria n’omwami we Carlos, bassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kusaasira abalala. Taata wa Maria ssemwandu, era amaze ekiseera kiwanvu nga mulwadde wa sukaali. Maria ne Carlos baamutwala mu maka gaabwe bamulabirire. Oluusi tebakomba ku mpeke ya tulo, era obulwadde bwe bwe buttuka, baba balina okumuddusa mu ddwaliro. Bagamba nti wadde ng’oluusi bakoowa nnyo, okulabirira taata wa Maria kibaleetera essanyu lingi.
OMUSINGI: “Balina essanyu abaleetawo emirembe.”—Matayo 5:9.
ENGERI GYE GUTUYAMBA OKUBA N’OBULAMU OBW’AMAKULU:
Okuleetawo emirembe kitusobozesa kitya okuba n’obulamu obw’amakulu? Bwe tukikola, tuba n’enkolagana ennungi n’abalala. Tusaanidde okukolera ku magezi gano agali mu Bayibuli: “Mukolenga kyonna kye musobola okutabagana n’abantu bonna.” (Abaruumi 12:18) “Abantu bonna” bazingiramu ab’omu maka gaffe n’abantu abatali ba ddiini yaffe. Ddala okuba ab’emirembe eri “abantu bonna” kituyamba okuba n’obulamu obw’amakulu?
EKYOKULABIRAKO:
Lowooza ku mukyala omu ayitibwa Nair. Okumala emyaka mingi, ayolekaganye n’embeera enzibu ezandimuleetedde obutakuuma mirembe, naddala wakati we n’ab’omu maka ge. Okuva omwami we lwe yamulekawo emyaka nga 15 emabega, akuzizza abaana be yekka. Omu ku batabani be yatandika okukozesa ebiragalalagala n’afuuka muyaaye, era n’atandika okutigomya maama we ne mwannyina. Nair agamba nti by’ayiga mu Bayibuli bimuyambye okukuuma emirembe ne mu mbeera ng’ezo enzibu ennyo. Yeewala okuyomba n’okukaayana. Afuba okuba ow’ekisa, okuba omusaasizi, n’okufaayo ku balala. (Abeefeso 4:31, 32) Agamba nti okuyiga okukuuma emirembe kimuyambye okuba n’enkolagana ennungi n’ab’omu maka ge, era n’abantu abalala.
LOWOOZA NE KU BISEERA EBY’OMU MAASO
Bwe tukolera ku magezi Yesu ge yawa abagoberezi be, tujja kuba basanyufu era bamativu. Naye okusobola okuba n’obulamu obusingayo okuba obw’amakulu, tusaanidde okulowooza ne ku biseera eby’omu maaso. Gwe ate, obulamu busobola butya okuba obw’amakulu nga kye tumanyi kyokka kiri nti tujja kukaddiwa, tulwale, era tufe?
Naye waliwo amawulire amalungi! Abo bonna abafuba ‘okutambula nga Yesu bwe yatambula,’ Yakuwa asuubiza okubawa emikisa mingi nnyo mu biseera eby’omu maaso. Asuubiza nti anaatera okufuula ensi eno olusuku lwe, abantu abakola by’ayagala mwe balibeera emirembe gyonna nga balamu bulungi. Bayibuli egamba nti: “Laba! Eweema ya Katonda eri wamu n’abantu, era anaabeeranga wamu nabo, era baliba bantu be. Katonda yennyini aliba wamu nabo. Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era tewalibaawo kufa nate, newakubadde kukungubaga, newakubadde okukaaba newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”—Okubikkulirwa 21:3, 4.
Maria, nnamukadde ow’emyaka 84 eyayogeddwako mu kitundu ekisooka, yeesunga olunaku ebisuubizo ebyo lwe birituukirira. Ate ggwe? Wandyagadde okumanya ebisingawo ebikwata ku ‘bulamu obwa nnamaddala,’ bwe tujja okufuna ng’Obwakabaka bwa Katonda butandise okufuga ensi? (1 Timoseewo 6:19) Bwe kiba bwe kityo, tuukirira Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo, oba wandiikira abakuba magazini eno.b
a Osobola okusoma ebikwata ku byafaayo bya Esa mu kitundu ekirina omutwe, “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu—Nnalina Empisa Embi”.
b Akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa, kayambye abantu bangi okuyiga ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku nsonga ezitali zimu.