Tunaatambuliranga mu Linnya lya Yakuwa Katonda Waffe
“[Naye ffe] tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n’emirembe.”—MIKKA 4:5.
1. Ku bikwata ku by’empisa, embeera yali etya mu biseera bya Nuuwa, era mu ngeri ki Nuuwa gye yali ow’enjawulo?
OMUSAJJA asooka okwogerwako mu Baibuli ng’eyatambula ne Katonda, ye Enoka. Ow’okubiri ye Nuuwa. Ebyawandiikibwa bitugamba nti: “Nuuwa yali mutuukirivu, nga talina kabi mu mirembe gye: Nuuwa n’atambulira wamu ne Katonda.” (Olubereberye 6:9) Nuuwa yagenda okuzaalibwa, ng’abantu baava dda ku kusinza okulongoofu. Embeera yeeyongera okwonooneka bamalayika abataali beesigwa bwe baawasa abakazi ne babazaalamu abaana abayitibwa Abanefuli, ‘ab’amaanyi,’ oba “abantu abaayatiikirira” mu kiseera ekyo. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti ensi yajjula ettemu! (Olubereberye 6:2, 4, 11) Wadde kyali kityo, Nuuwa yasigala taliiko kya kunenyezebwa era yali ‘mubuulizi wa butuukirivu.’ (2 Peetero 2:5) Katonda bwe yamugamba okuzimba eryato okusobola okuwonyawo obulamu bwe n’obw’abalala, Nuuwa yakkiriza “n’akola bw’atyo; nga byonna Katonda bye yamulagira bw’atyo bwe yakola.” (Olubereberye 6:22) Mazima ddala Nuuwa yatambula ne Katonda.
2, 3. Kyakulabirako ki ekirungi Nuuwa kye yatuteerawo?
2 Pawulo bwe yali ayogera ku lufulube lw’abajulirwa abeesigwa, yawandiika bw’ati ku Nuuwa: “Olw’okukkiriza Nuuwa, bwe yalabulwa Katonda ku bigambo ebyali bitannalabika, n’atya bulungi n’asiba eryato olw’okulokola ennyumba ye; kyeyava asalira ensi omusango, n’afuuka omusika w’obutuukirivu obuli mu kukkiriza.” (Abaebbulaniya 11:7) Nga Nuuwa yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo! Olw’okuba Nuuwa yali mukakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ekyo kye yayogera, yakozesa ebiseera bye, amaanyi ge n’eby’obugagga bwe okukola Katonda by’ayagala. Mu ngeri y’emu leero, bangi bagaanye emirimu egimu ne bakozesa ebiseera byabwe, amaanyi gaabwe n’ebintu byabwe okukola Yakuwa by’ayagala. Okukkiriza kwabwe kujja kubaviiramu okuwonyawo obulamu bwabwe n’obw’abalala.—Lukka 16:9; 1 Timoseewo 4:16.
3 Okufaananako jjajjaawe Enoka, eyayogerwako mu kitundu ekyayita, Nuuwa n’ab’omu maka ge kiteekwa okuba nga tekyabanguyira kulaga kukkiriza. Nga bwe kyali mu kiseera kya Enoka, ne mu kiseera kya Nuuwa abasinza ab’amazima baali batono nnyo—abantu munaana bokka be baakuuma obwesigwa ne bawonawo mu mataba. Nuuwa yabuulira obutuukirivu mu nsi ejjudde ettemu n’obugwenyufu. Ate era, ye n’ab’omu maka ge baazimba eryato nga beetegekera amataba, wadde nga baali tebagalabangako. Abantu abaabalaba bateekwa okuba nga beewuunya nnyo.
4. Kikyamu ki Yesu kye yayogerako abantu b’omu kiseera kya Nuuwa kye baakola?
4 Ekyewuunyisa kiri nti, Yesu bwe yayogera ku bantu b’omu kiseera kya Nuuwa, teyayogera ku ttemu, amadiini ag’obulimba oba ebikolwa eby’obugwenyufu, wadde nga bye bibi eby’amaanyi ebyaliwo mu kiseera ekyo. Ekikyamu kyokka kye yayogerako abantu b’omu kiseera ekyo kye baakola, kwe kugaana okulabula okwabaweebwa. Yagamba nti baali “balya nga banywa, nga bawasa nga bawayiza, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato.” Kikyamu ki kye baali bakoze mu kulya n’okunywa n’okuwasa n’okuwayiza? Bye baali bakola bye bintu “ebya bulijjo!” Wadde bye baali bakola tebyali bikyamu, amataba go gaali gajja, era nga ne Nuuwa abuulira obutuukirivu. Ebyo Nuuwa bye yabuuliranga ne bye yakolanga byandibadde bibaleetera okubaako kye bakolawo. Kyokka, ‘tebaafaayo okutuusa amataba lwe gajja, ne gabatwala bonna.’—Matayo 24:38, 39.
5. Nuuwa n’ab’omu maka kyali kibeetaagisa kuba na ngeri ki?
5 Bwe tulowooza ku byaliwo mu kiseera ekyo, tulaba nti ekyo Nuuwa kye yakola kyali kya magezi. Kyokka, kyali kyetaagisa obuvumu okusobola okuba ow’enjawulo ng’Amataba tegannajja. Ate era, Nuuwa n’ab’omu maka ge kyali kibeetaagisa okuba n’okukkiriza okw’amaanyi okusobola okuzimba eryato n’okuteekamu ebisolo ebya buli kika. Abamu ku beesigwa abo, baawulirako nti bandyagadde okuba mu bulamu obwa bulijjo, baleme kuba baawufu ku balala? Ne bwe kiba nti baafuna ekirowoozo ekyo, tekyabaleetera kuddirira. Oluvannyuma lw’okugumiikiriza emyaka mingi—egisinga n’egyo gye tumala nga tuli mu nteekateeka y’ebintu eno—Nuuwa yawonawo mu Mataba lwa kuba yalina okukkiriza okw’amaanyi. Kyokka, abo bonna abeemalira ku bintu “ebya bulijjo” era abataafaayo ku kulabula okwabaweebwa, Yakuwa yabazikiriza.
Ensi Eddamu Okubaamu Ettemu
6. Ng’Amataba gawedde, abantu baali bakyali mu mbeera ki?
6 Ng’Amataba gawedde, waddawo omulembe omuppya. Kyokka, era abantu tebaali batuukirivu, ‘n’okulowooza okw’omu mutima gw’omuntu’ kweyongera okuba ‘okubi okuva mu buto bwe.’ (Olubereberye 8:21) Wadde badayimooni baali tebakyasobola kweyambaza mibiri gya bantu, baali bakyabuzaabuza abantu. Ensi ey’abatatya Katonda yeeraga mangu nti “eri mu buyinza bwa mubi.” Era nga bwe kiri ne mu kiseera kyaffe, abasinza ab’amazima baalina okulwanyisa “enkwe za Setaani.”—1 Yokaana 5:19, NW; Abaefeso 6:11, 12.
7. Ettemu lyeyongera litya mu nsi oluvannyuma lw’Amataba?
7 Okuviira ddala mu kiseera kya Nimuloodi ensi yaddamu okubaamu ettemu. Olw’okuba abantu beeyongedde obungi ate nga n’ensi ekulaakulanye mu bya tekinologiya, ettemu lyeyongedde nnyo mu nsi. Edda abantu baalwanyisanga bitala, mafumu, busaale, n’amagaali. Kyokka ku ntandikwa y’ekyasa ekya 20, baatandika okukozesa emmundu n’emizinga. Mu Ssematalo I ebyokulwanyisa eby’amaanyi, gamba ng’ennyonyi ennwanyi, tanka, emmeeri lubbira, n’omukka ogw’obutwa bye byakozesebwa. Mu lutalo olwo, ebyokulwanyisa ebyo byasanyaawo abantu bukadde na bukadde. Ekyo kyanditwewuunyisizza? Nedda.
8. Okubikkulirwa 6:1-4 zituukiriziddwa zitya?
8 Mu 1914, Yesu yatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka mu ggulu, era “olunaku lwa mukama waffe” lwatandika. (Okubikkulirwa 1:10) Mu kwolesebwa okuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa, Yesu alabibwa nga Kabaka, ng’atudde ku mbalaasi enjeru era ng’agenda awangula. Embalaasi endala zimugoberera era nga buli emu erina ekibonyoobonyo ky’ekiikirira ekyandituuse ku bantu. Emu ku mbalaasi ezo yali ya lukunyu era oyo eyali agituddeko “n’aweebwa okuggyawo emirembe ku nsi, era battiŋŋane bokka na bokka: n’aweebwa ekitala ekinene.” (Okubikkulirwa 6:1-4) Embalaasi eyo n’oyo eyali agituddeko bikiikirira entalo ez’amaanyi, ate ekitala ekinene kikiikirira eby’okulwanyisa nnamuzisa ebikozesebwa mu ntalo okutirimbula abantu ku kigero ekitabangawo. Eby’okulwanyisa ebyo bizingiramu bbomu za nukuliya, nga buli emu esobola okuzikiriza abantu mitwalo na mitwalo; ennyonyi ezisobola okukasuka bbomu ezo mu bitundu ebyesudde mayilo ezisukka mu lukumi; omukka ogw’obutwa, n’obuwuka obuleeta endwadde.
Tufaayo ku Kulabula Yakuwa kw’Atuwa
9. Mu ngeri ki ensi ey’akakyo kano gy’efaananamu n’eyo eyaliwo ng’Amataba gawedde?
9 Mu nnaku za Nuuwa, Yakuwa yazikiriza olulyo lw’omuntu kubanga abantu ababi baali beenyigidde nnyo mu bikolwa eby’ettemu, nga bakubirizibwa Abanefuli. Ate kiri kitya mu kiseera kyaffe? Ettemu likendeddeko bw’oligeraageranya ku eryo eryaliwo mu kiseera ekyo? N’akatono! Ate era nga bwe kyali mu kiseera kya Nuuwa, abantu beemalidde nnyo ku bintu “ebya bulijjo” ne bagaana okuwuliriza okulabula okubaweebwa. (Lukka 17:26, 27) Kati olwo, waliwo ensonga yonna etuleetera okubuusabuusa obanga Yakuwa anaddamu okuzikiriza olulyo lw’omuntu? Mu butuufu teriiwo.
10. (a) Kulabula ki okuweereddwa enfunda n’enfunda mu bunnabbi bwa Baibuli? (b) Kiki kye tusaanidde okukola mu kiseera kino?
10 Emyaka bikumi na bikumi ng’Amataba tegannajja, Enoka yali yalagula dda ku kuzikiriza okwandibaddewo mu kiseera kyaffe. (Yuda 14, 15) Yesu naye yalaga nti wandibaddewo “ekibonyoobonyo ekinene.” (Matayo 24:21) Ne bannabbi abalala nabo baayogera ku kiseera ekyo. (Ezeekyeri 38:18-23; Danyeri 12:1; Yoweeri 2:31, 32) Mu kitabo ky’Okubikkulirwa, tusoma ku ekyo ekinaabaawo ku nkomerero ng’ababi bazikirizibwa. (Okubikkulirwa 19:11-21) Okufaananako Nuuwa, naffe tuli babuulizi ba butuukirivu abanyiikivu. Tufaayo ku kulabula Yakuwa kw’atuwa era tuyamba balirwana baffe okukola kye kimu. Era nga Nuuwa, naffe tutambula ne Katonda. Mazima ddala omuntu yenna bw’aba ayagala obulamu, kimugwanira okutambula ne Katonda. Naye, ekyo kinaasoboka kitya ng’ate buli lukedde twolekagana n’okupikirizibwa? Kijja kusoboka singa tuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Katonda.—Abaebbulaniya 11:6.
Weeyongere Okutambula ne Katonda mu Biseera Ebizibu Ennyo
11. Mu ngeri ki gye tufaananamu Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka?
11 Mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo abaafukibwako amafuta baayitibwanga “ab’ekkubo.” (Ebikolwa 9:2) Byonna bye baakolanga byali byetooloolera ku kukkiriza kwe baalina mu Yakuwa ne mu Yesu Kristo. Baatambuliranga mu kkubo lya Mukama waabwe. N’Abakristaayo ab’amazima leero, bakola kye kimu.
12. Kiki ekyaliwo nga Yesu amaze okuliisa ekibiina ky’abantu?
12 Obukulu bw’okuba n’okukkiriza bweyolekera mu ekyo ekyaliwo mu buweereza bwa Yesu. Lumu, Yesu yaliisa abantu nga 5,000 mu ngeri ey’ekyamagero. Abantu bano beewuunya nnyo era ne basanyuka nnyo. Naye weetegereze kye baakola. Tusoma: “Awo abantu bwe baalaba akabonero ke yakola, ne bagamba nti Mazima ono ye nnabbi oyo ajja mu nsi. Awo Yesu bwe yategeera nga bagenda okujja okumukwata, bamufuule kabaka, n’addayo nate ku lusozi yekka.” (Yokaana 6:10-15) Mu kiro ekyo, Yesu yabaddukako n’agenda mu kifo ekirala. Kirabika abantu bangi baggwaamu amaanyi nga Yesu agaanye okumufuula kabaka. Baali balaba ng’ajja kuba kabaka mugezi nnyo era ng’afaayo ku byetaago by’abantu. Kyokka, ekyo si kye kyali ekiseera kya Yakuwa ekigereke okufuuliramu Yesu Kabaka. Ku luuyi olulala, Yesu yali wa kufugira mu ggulu so si ku nsi.
13, 14. Ndowooza ki abantu gye baayoleka, era okukkiriza kwabwe kwagezesebwa kutya?
13 Abantu baagoberera Yesu era Yokaana agamba nti, baamusanga “emitala w’ennyanja.” Lwaki baamugoberera ng’ate yali agaanye okumufuula Kabaka? Ekyo bangi kye baakola kyalaga nti baali balowooza bya mubiri, kubanga baali boogera nnyo ku mmere Katonda gye yawa bajjajjaabwe nga bakyali mu ddungu mu biseera bya Musa. Ekitegeeza baali baagala Yesu abawenga emmere. Yesu bwe yamanya ebiruubirirwa byabwe ebikyamu yatandika okubayigiriza amazima ag’eby’omwoyo basobole okutereeza endowooza zaabwe. (Yokaana 6:17, 24, 25, 30, 31, 35-40) Abamu baamwemulugunyiza naddala bwe yagamba nti: “Ddala ddala mbagamba nti Bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa muntu ne munywa omusaayi gwe, temulina bulamu mu mmwe. Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, alina obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw’enkomerero.”—Yokaana 6:53, 54.
14 Ebigambo bya Yesu emirundi mingi byaleeteranga abantu okulaga obanga ddala baagala okutambula ne Katonda. N’ebigambo bye yakozesa ku mulundi ogwo byakola kye kimu. Byabanyiiza. Tusoma nti: “Bangi ab’omu bayigirizwa be bwe baawulira ne bagamba nti Ekigambo ekyo kizibu; ani ayinza okukiwuliriza?” Yesu yabannyonnyola nti baalina okutegeera amakulu g’ebigambo ebyo. Yabagamba nti: “Omwoyo gwe guleeta obulamu; omubiri teguliiko kye gugasa: ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo, bwe bulamu.” Kyokka, era bangi tebaamuwuliriza kubanga ebyawandiikibwa bitugamba nti: “Ab’oku bayigirizwa be bangi kyebaava baddirira, ne bataddayo kutambulira wamu naye nate.”—Yokaana 6:60, 63, 66.
15. Ndowooza ki ennungi abagoberezi ba Yesu abamu gye baalina?
15 Kyokka, waliwo abayigirizwa ba Yesu abamu abataamwabulira. Amazima gali nti, n’abayigirizwa abo abaamunywererako tebaategeera Yesu kye yali ategeeza. Kyokka, baasigala bakyamwesiga. Peetero, omu ku abo abaasigala nga beesigwa yayoleka endowooza y’abalala bonna abaali bakyasigaddewo. Yagamba: “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 6:68) Ng’endowooza eyo yali nnungi nnyo, era ng’ekyokulabirako kye yatuteerawo kyali kirungi!
16. Bintu ki ebiyinza okutugezesa era ndowooza ki entuufu gye twandibadde nayo?
16 Leero, naffe tuyinza okugezesebwa ng’abayigiriza abaasooka. Tuyinza okuggwaamu amaanyi olw’okuba ebisuubizo bya Yakuwa tebituukiridde mangu nga bwe tubadde tusuubira. Tuyinza okuwulira nti engeri ebyawandiikibwa gye binnyonnyolwamu mu bitabo baffe, nzibu okutegeera. Empisa za Mukristaayo munnaffe nazo ziyinza okutuleetera okwesittala. Naye, kyandibadde kya magezi okulekera awo okutambula ne Katonda olw’obusongasonga obutono ng’obwo? Tekyandibadde kya magezi n’akamu! Abayigirizwa abaayabulira Yesu baali balowooza bya mubiri. Naye ffe tetuteekwa kukola bwe tutyo.
‘Naye ffe Tetuli ba Kudda Nnyuma’
17. Kiki ekiyinza okutuyamba ne tweyongera okutambula ne Katonda?
17 Pawulo yawandiika nti: “Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda.” (2 Timoseewo 3:16) Mu Baibuli, Yakuwa atubuulira kaati nti: “Lino lye kkubo, mulitambuliremu.” (Isaaya 30:21) Bwe tukolera ku ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda, kituyamba ‘okwegendereza engeri gye tutambulamu.’ (Abaefeso 5:15) Bwe tusoma Ekigambo kya Katonda era ne tufumiitiriza ku ebyo ebikirimu, kijja kutuyamba ‘okutambuliranga mu mazima.’ (3 Yokaana 3) Mazima ddala nga Yesu bwe yagamba, “Omwoyo gwe guleeta obulamu; omubiri teguliiko kye gugasa.” Obulagirizi bwokka obwesigika obuyinza okuluŋŋamya ebigere byaffe bwebwo bwe tufuna okuyitira mu Kigambo kya Yakuwa, omwoyo gwe, ne mu kibiina kye.
18. (a) Kintu ki ekitali kya magezi abamu kye basalawo okukola? (b) Tuteekwa kuba na kukkiriza kwa ngeri ki?
18 Leero, abamu basalawo okwemalira ku by’ensi olw’okuba balowooza bya mubiri oba olw’okuba bye baagala tebituukiridde mangu nga bwe basuubira. Mu kifo ky’okusoosa eby’Obwakabaka, basalawo okuluubirira ebyabwe ku bwabwe, ne beerabira obukulu bw’ebiseera bye tulimu era ne batalaba bukulu bwa kusigala nga ‘batunula.’ (Matayo 24:42) Ekyo kye bakola kye kisingayo obutaba kya magezi. Weetegereze ebigambo by’omutume Pawulo: “Ffe tetuli ba kudda nnyuma mu kuzikirira, naye tuli ba kukkiriza olw’okulokola obulamu.” (Abaebbulaniya 10:39) Okufaananako Enoka ne Nuuwa, wadde nga tuli mu kiseera ekizibu ennyo, tulina enkizo ey’okutambula ne Katonda. Ekyo bwe tukikola, tuba bakakafu nti tujja kulaba okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Yakuwa, okuzikirizibwa kw’ababi, n’ensi empya ey’obutuukirivu. Eyo nga nkizo ya maanyi nnyo!
19. Okusinziira ku Mikka, abasinza ab’amazima bamaliridde kukola ki?
19 Nnabbi Mikka yagamba nti amawanga “ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we.” Oluvannyuma yeeyogerako ne bakkiriza banne ng’agamba: “Naffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n’emirembe.” (Mikka 4:5) Bwe kiba nti naawe oli mumalirivu okukola nga Mikka, funa enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa ebiseera ne bwe biba bizibu bitya. (Yakobo 4:8) Ka ffenna tube bamalirivu okutambula ne Yakuwa Katonda waffe kati, era n’emirembe gyonna!
Wandizzeemu Otya?
• Kakwate ki akaliwo wakati w’ennaku za Nuuwa n’ekiseera kyaffe?
• Nuuwa n’ab’omu maka ge baalondawo kkubo ki, era tuyinza tutya okuba n’okukkiriza ng’okwabwe?
• Ndowooza ki enkyamu abamu ku bagoberezi ba Yesu gye baalina?
• Abakristaayo ab’amazima bamalirivu kukola ki?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 30]
Nga bwe kyali mu kiseera kya Nuuwa, ne leero abantu beemalidde ku bintu ebya bulijjo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Ng’ababuulizi b’Obwakabaka, “tetuli ba kudda nnyuma mu kuzikirira”