-
Onoosigala ng’Oli “Bulindaala”?Omunaala gw’Omukuumi—2015 | Maaki 15
-
-
9. (a) Yesu yakiraga atya nti n’Abakristaayo abeesigwa basobola okuwugulibwa? (b) Kiki abaafukibwako amafuta kye bakoze oluvannyuma lw’okuwulira nti: “Omugole omusajja atuuse”? (Laba n’obugambo obuli wansi.)
9 Ekintu eky’okubiri ekyayamba abawala ab’amagezi okuba nga beetegekedde okujja kw’omugole omusajja kwe kuba nti baali bulindaala. Ddala kisoboka Abakristaayo abaafukibwako amafuta okuwugulibwa nga balindirira okujja kwa Kristo? Yee kisoboka. Weetegereze nti Yesu yagamba nti bwe baali balindirira okujja kw’omugole omusajja, abawala ‘bonna ekkumi baasumagira era ne beebaka.’ Yesu yali akimanyi nti n’omuntu omwesimbu era eyeesunga okujja kw’omugole omusajja asobola okuggwaamu amaanyi era n’awugulibwa. Ensonga eyo abaafukibwako amafuta abeesigwa bagikuumira mu birowoozo era bwe kityo bafuba nnyo okusigala nga bali bulindaala. Mu lugero lwa Yesu abawala bonna ekkumi balina kye bakolawo bwe bawulira nti: “Omugole omusajja atuuse!” Naye abawala ab’amagezi bo basigala nga bali bulindaala okutuukira ddala ku nkomerero. (Mat. 25:5, 6; 26:41) Mu ngeri y’emu, abaafukibwako amafuta abeesigwa ababaddewo mu nnaku ez’oluvannyuma, balina kye bakozeewo oluvannyuma lw’okulaba obukakafu obw’amaanyi obulaga nti “omugole omusajja” anaatera okutuuka.a Kati ka twetegereze ebigambo Yesu bye yakomekkereza nabyo mu lugero olwo.
-
-
Onoosigala ng’Oli “Bulindaala”?Omunaala gw’Omukuumi—2015 | Maaki 15
-
-
a Mu lugero lwa Yesu olwo, oluvannyuma lw’okuwulira oluyoogaano ng’omugole omusajja ajja (olunyiriri 6) wayitawo ekiseera omugole omusajja n’alyoka atuuka (olunyiriri 10). Okuva ennaku ez’enkomerero bwe zaatandika, abaafukibwako amafuta babadde bulindaala. Bakirabye bulungi nti ebyo ebiri mu nsi biraga nti okubeerawo kwa Kristo kwatandika. Bakimanyi bulungi nti kati Yesu afuga nga Kabaka mu Bwakabaka bwa Katonda. Kyokka balina okubeera obulindaala okutuusa lw’anajja, oba lw’anaatuuka.
-