EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 25
“Mubeere Bulindaala”
Wadde ng’olugero olukwata ku bawala ekkumi lusinga kukwata ku bagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta, eby’okuyiga ebirimu bikwata ku Bakristaayo bonna. (w15 3/15 lup. 12-16) “N’olwekyo, mubeere bulindaala kubanga temumanyi lunaku wadde essaawa.” (Mat 25:13) Osobola okunnyonnyola olugero lwa Yesu olwo?
Omugole omusajja (luny. 1)—Yesu
Abawala ab’amagezi abaali beeteeseteese (luny. 2)—Abakristaayo abaafukibwako amafuta abeetegefu okukola omulimu ogwabaweebwa n’obwesigwa, era n’okweyongera okwaka ng’ettaala okutuuka ku nkomerero (Baf 2:15)
Okwogerera waggulu nti: “Omugole omusajja wuuno ajja!” (luny. 6)—Ebiraga okubeerawo kwa Yesu
Abawala abasirusiru (luny. 8)—Abakristaayo abaafukibwako amafuta abagenda okwaniriza omugole omusajja, kyokka ne batabeera bulindaala era ne batakuuma bugolokofu bwabwe
Abawala ab’amagezi bagaana okugaba amafuta gaabwe (luny. 9)—Oluvannyuma lw’okuteekebwako akabonero akasembayo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta abeesigwa bajja kuba tebakyasobola kuyamba abo abatali beesigwa
“Omugole omusajja n’atuuka” (luny. 10)—Yesu ajja kujja okusala omusango ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okuggwaako
Abawala ab’amagezi ne bayingira n’omugole omusajja awali embaga, era oluggi ne luggalwawo (luny. 10)—Yesu atwala Abakristaayo abaafukibwako amafuta abeesigwa mu ggulu, naye abatali beesigwa ne bafiirwa empeera yaabwe