ESSUULA 112
Ayigiriza ku Kuba Obulindaala—Abawala Embeerera
YESU AGERA OLUGERO OLUKWATA KU BAWALA EKKUMI EMBEERERA
Yesu abadde addamu ekibuuzo abatume be kye bamubuuzizza ekikwata ku kabonero akandiraze okubeerawo kwe n’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu. Ng’akyalina ensonga eyo mu birowoozo, kati abawa okubuulirira okukulu ennyo ng’akozesa olugero. Okutuukirizibwa kw’olugero olwo kwandirabiddwa abo abandibaddewo mu kiseera ky’okubeerawo kwe.
Atandika olugero olwo, ng’agamba nti: “Obwakabaka obw’omu ggulu buyinza okugeraageranyizibwa n’abawala ekkumi embeerera abaakwata ettaala zaabwe ne bagenda okwaniriza omugole omusajja. Abataano baali basirusiru, ate abataano abalala baali ba magezi.”—Matayo 25:1, 2.
Mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu tategeeza nti mu bayigirizwa be abalina essuubi ery’okusikira Obwakabaka obw’omu ggulu, kimu kya kubiri basirusiru ate kimu kya kubiri ba magezi. Mu kifo ky’ekyo, alaga nti bwe kituuka ku Bwakabaka, buli omu ku bayigirizwa be alina eddembe okusalawo okuba obulindaala oba okuwugulibwa. Wadde kiri kityo, Yesu mukakafu nti buli omu ku bagoberezi be asobola okusigala nga mwesigwa bw’atyo n’afuna empeera Kitaawe gy’asuubizza.
Mu lugero olwo, abawala bonna ekkumi embeerera bagenda okwaniriza omugole omusajja. Bw’anaatuuka, abawala embeerera bajja kumulisa ekkubo mw’ayita, okulaga nti bamuwa ekitiibwa ng’atwala omugole we omukazi mu nnyumba etegekeddwa ku lw’omugole omukazi. Naye kiki ekibaawo?
Yesu agamba nti: “Abasirusiru baatwala ettaala zaabwe naye ne batatwala mafuta, kyokka bo ab’amagezi baatwala amafuta mu ccupa zaabwe ne mu ttaala zaabwe. Omugole omusajja bwe yalwawo okutuuka, bonna ne basumagira ne beebaka.” (Matayo 25:3-5) Omugole omusajja tatuukira mu kiseera kye bamusuubiriramu. Alabika ng’aluddewo okutuuka, era ekyo kireetera abawala embeerera okwebaka. Abatume bayinza okuba nga bajjukira omusajja Yesu gwe yayogerako eyagenda era oluvannyuma ‘n’akomawo ng’amaze okulya obwakabaka.’—Lukka 19:11-15.
Mu lugero olukwata ku bawala ekkumi embeerera, Yesu ayogera ku ekyo ekibaawo ng’omugole omusajja atuuse. Agamba nti: “Awo ekiro mu ttumbi ne wabaawo aboogerera waggulu nti, ‘Omugole omusajja wuuno ajja! Mufulume mumwanirize.’” (Matayo 25:6) Naye, ddala abawala embeerera beetegese era bali bulindaala?
Yesu agamba nti: “Abawala bonna ne bagolokoka ne batandika okukola ku ttaala zaabwe. Abawala abasirusiru ne bagamba ab’amagezi nti, ‘Mutuwe ku mafuta gammwe kubanga ettaala zaffe zinaatera okuzikira.’ Abawala ab’amagezi ne babaddamu nti, ‘Bwe tubawaako gayinza obutatumala. Mugende eri abo abagatunda mwegulire.’”—Matayo 25:7-9.
Kya lwatu nti abawala abataano embeerera tebali bulindaala era tebeetegekedde kujja kwa mugole omusajja. Tebalina mafuta gamala mu ttaala zaabwe era beetaaga okugenda okufunayo amalala. Yesu agamba nti: “Bwe baali bagenda okugagula, omugole omusajja n’atuuka. Abawala abaali beetegese ne bayingira naye mu nnyumba omwali ekijjulo ky’embaga ey’obugole, era oluggi ne luggalwawo. Oluvannyuma abawala bali abalala ne bajja ne bamugamba nti, ‘Ssebo, Ssebo, tuggulirewo!’ N’abaddamu nti, ‘Mazima mbagamba nti sibamanyi.’” (Matayo 25:10-12) Nga kya nnaku nnyo okuba nti abawala abo tebaali beetegefu era tebaali bulindaala!
Abatume bakiraba nti omugole omusajja Yesu gw’ayogerako ye ye kennyini. Emabegako Yesu yeegeraageranya ku mugole omusajja. (Lukka 5:34, 35) Ate abawala embeerera ab’amagezi? Bwe yali ayogera ku ‘b’ekisibo ekitono,’ abandiweereddwa Obwakabaka, Yesu yagamba nti: “Mubeere nga mwambadde era nga mweteeseteese era n’ettaala zammwe muzikuume nga zaaka.” (Lukka 12:32, 35) Bwe kityo, mu lugero luno olw’abawala embeerera, abatume bakiraba nti Yesu ayogera ku bantu abalinga bo. Kati olwo lwaki Yesu ageze olugero olwo?
Yesu alaga bulungi ensonga lwaki ageze olugero olwo. Amaliriza olugero olwo ng’agamba nti: “N’olwekyo, mubeere bulindaala kubanga temumanyi lunaku wadde essaawa.”—Matayo 25:13.
Kya lwatu nti Yesu akiraga nti abagoberezi be abeesigwa abandibaddewo mu kiseera ky’okubeerawo kwe, kyandibeetaagisizza okusigala nga batunula. Yesu ajja kujja, era abagoberezi be beetaaga okuba abeetegefu era nga bali bulindaala, okufaananako abawala abataano embeerera ab’amagezi, kibayambe obutalagajjalira ssuubi lyabwe ery’omuwendo n’ekirabo ekibategekeddwa.