-
Yesu Yayigiriza Nti Eriyo Omuliro Ogutazikira?Omunaala gw’Omukuumi—2009 | Jjanwali 1
-
-
Olulala Yesu yayogera ku kiseera ky’okusala omusango we yandigambidde ababi nti: “Muveewo we ndi, mmwe abaakolimirwa, mugende mu muliro ogutaggwaawo ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be.” Era yagamba nti ababi abo “baligenda mu kibonerezo ekitaggwaawo.”—MATAYO 25:41, 46.
-
-
Yesu Yayigiriza Nti Eriyo Omuliro Ogutazikira?Omunaala gw’Omukuumi—2009 | Jjanwali 1
-
-
‘Omuliro ogutaggwaawo’ Yesu gwe yayogerako gwali gwa ddala oba gwali gwa kabonero? Weetegereze nti ‘omuliro ogutaggwaawo’ Yesu gwe yayogerako mu Matayo 25:41 gwategekerwa “Setaani ne bamalayika be.” Olowooza omuliro gusobola okwokya ebitonde eby’omwoyo? Kyandiba nti ekigambo ‘omuliro’ Yesu yakikozesa mu ngeri ya kabonero? Tewali kubuusabuusa nti ‘endiga n’embuzi’ bye yayogerako mu ssuula eyo byali bya kabonero, so si bya ddala; byali bikiikirira abantu abalungi n’ababi. (Matayo 25:32, 33) Bwe kityo n’omuliro ogutazikira Yesu gwe yayogerako gwokya ababi mu ngeri ya kabonero.
-