EKIBUUZO 6
Kiki Bayibuli kye yalagula ku Masiya?
OBUNNABBI
“Ggwe Besirekemu Efulaasa, . . . mu ggwe mwe muliva omufuzi wa Isirayiri.”
OKUTUUKIRIZIBWA
“Yesu bwe yamala okuzaalibwa mu Besirekemu eky’e Buyudaaya mu nnaku za Kabaka Kerode, abalaguzisa emmunyeenye baava Ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi.”
OBUNNABBI
“Ebyambalo byange babigabana, era engoye zange bazikubira akalulu.”
OKUTUUKIRIZIBWA
“Abasirikale bwe baamala okukomerera Yesu ku muti, ne batwala ebyambalo bye eby’okungulu ne babigabanyaamu emirundi ena . . . Naye kyo ekyambalo eky’omunda kyali tekyatungibwa wabula nga kyalukibwa bulukibwa okuva wansi okutuuka waggulu. Awo ne bagambagana nti: ‘Tetukiyuzaamu, naye tukube akalulu tulabe anaakitwala.’ ”
OBUNNABBI
“Akuuma amagumba ge gonna; tewali na limu ku go limenyeddwa.”
OKUTUUKIRIZIBWA
“Bwe baatuuka ku Yesu ne balaba nga yafudde dda, tebaamenya magulu ge.”
OBUNNABBI
“Yafumitibwa olw’ebyonoono byaffe.”
OKUTUUKIRIZIBWA
“Omu ku basirikale abo n’amufumita effumu mu mbiriizi, era amangu ago ne muvaamu omusaayi n’amazzi.”
OBUNNABBI
“Ne bampa empeera yange, ebitundu bya ffeeza 30.”
OKUTUUKIRIZIBWA
“Awo Yuda Isukalyoti, omu ku Kkumi n’Ababiri n’agenda eri bakabona abakulu, n’abagamba nti: ‘Munampa ki mmuweeyo gye muli?’ Ne bamusuubiza okumuwa ebitundu bya ffeeza 30.”