Obukkakkamu—Butuganyula Butya?
Saraa agamba nti: “Ndi muntu wa nsonyi. Mpulira nga seetaaya bwe mbeera awali abantu abeekakasa ennyo oba abakambwe. Naye bwe mbeera n’omuntu omukkakkamu era omwetoowaze mpulira nga nzikakkanye. Nsobola okumubuulira engeri gye nneewuliramu, ebindi ku mutima, n’ebizibu byange. Mikwano gyange egy’oku lusegere bakkakkamu era beetoowaze.”
Ebyo Sara bye yayogera biraga nti bwe tuba abakkakkamu, abantu abalala baba banyumirwa okubeera naffe. Era bwe tuba abakkakkamu tusanyusa Yakuwa. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Mwambale . . . obukkakkamu.” (Bak. 3:12) Obukkakkamu kye ki? Yesu yayoleka atya obukkakkamu? Era okwoleka engeri eyo kituyamba kitya okweyongera okuba abasanyufu?
OBUKKAKKAMU KYE KI?
Omuntu omukkakkamu aba wa mirembe era muteefu mu mutima. Omuntu omukkakkamu ayisa bulungi abalala era abalaga ekisa. Asigala muteefu ne bw’ayolekagana n’ebintu ebinyiiza.
Omuntu okuba omukkakkamu tekiraga nti munafu wabula kiraga nti wa maanyi. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “obukkakkamu” kyakozesebwanga okutegeeza embalaasi ey’omu nsiko eyabanga efuuliddwa ey’awaka. Embalaasi eyo yasigalanga nga ya maanyi, naye yabanga etendekeddwa okufuga amaanyi gaayo. Mu ngeri y’emu, bwe tuba abakkakkamu, tufuga engeri zaffe ezitali nnungi ne tubeera mu mirembe n’abalala.
Omuntu ayinza okugamba nti: ‘Nze mu butonde siri mukkakkamu.’ Tuli mu nsi omuli abantu abakambwe era abatali bagumiikiriza, era ekyo kiyinza okukifuula ekizibu gye tuli okuba abakkakkamu. (Bar. 7:19) N’olwekyo, kitwetaagisa okufuba okusobola okukulaakulanya obukkakkamu, era omwoyo gwa Yakuwa gusobola okutuyamba okukulaakulanya engeri eno. (Bag. 5:22, 23) Lwaki tusaanidde okufuba okukulaakulanya obukkakkamu?
Obukkakkamu busikiriza abalala. Ng’ebigambo bya Sara bwe biraze, tuwulira bulungi nga tuli n’omuntu omukkakkamu. Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo mu kwoleka obukkakkamu n’ekisa. (2 Kol. 10:1) N’abaana abaali batamumanyi nnyo baanyumirwanga okubeera naye.—Mak. 10:13-16.
Obukkakkamu butukuuma era bukuuma n’abo be tuba nabo. Bwe tuba abakkakkamu, tetwanguwa kunyiiga oba okukola ebintu mu busungu. (Nge. 16:32) Ekyo kituyamba obutalumirizibwa muntu ow’omunda olw’okuba tuba twewaze okukola ebintu ebirumya abalala naddala abo be twagala. Ate era bwe tuba abakkakkamu kikuuma abalala kubanga kituyamba okwewala okubatuusaako akabi olw’obuteefuga.
YESU YASSAAWO EKYOKULABIRAKO EKIRUNGI ENNYO
Wadde nga Yesu yalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi n’eby’okukola bingi, yali mukkakkamu eri bonna. Abantu bangi abaaliwo mu kiseera kye baali boolekagana n’ebizibu era nga bazitoowereddwa, nga beetaaga okuwummuzibwa. Abantu abo nga bateekwa okuba nga baabudaabudibwa nnyo, Yesu bwe yabagamba nti: “Mujje gye ndi, . . . kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima”!—Mat. 11:28, 29.
Tuyinza tutya okuba abakkakkamu nga Yesu? Tusaanidde okusoma Ekigambo kya Katonda tulabe engeri Yesu gye yakolaganangamu n’abantu era n’engeri gye yakwatangamu embeera enzibu. Era bwe twolekagana n’embeera enzibu, tusaanidde okufuba okweyisa nga Yesu. (1 Peet. 2:21) Lowooza ku bintu bisatu ebyayamba Yesu okuba omukkakkamu.
Yesu yali mwetoowaze okuviira ddala ku mutima. Yesu yagamba nti yali “muteefu era muwombeefu mu mutima.” (Mat. 11:29) Engeri ezo Bayibuli ezoogerera wamu kubanga obukkakkamu bulina akakwate n’obwetoowaze. (Bef. 4:1-3) Lwaki kiri bwe kityo?
Obwetoowaze butuyamba okwewala okunyiiga amangu olw’ebyo abalala bye baba batwogeddeko. Yesu yeeyisa atya abantu abamu bwe baamwogerako obubi nti ‘wa mululu ‘ era nti ‘mutamiivu’? Mu kifo ky’okudda awo okwereega nabo, yakyoleka mu ngeri gye yeeyisaamu nti ebyo bye baali boogera tebyali bituufu. Era mu bukkakkamu yagamba nti: “Ebintu eby’obutuukirivu omuntu by’akola bye biraga nti wa magezi.”—Mat. 11:19.
Singa wabaawo ayogera obubi ku langi yo, ekikula kyo, oba embeera gye wakuliramu, kiba kirungi okufuba okusigala ng’oli mukkakkamu. Omukadde omu ow’omu South Africa ayitibwa Peter agamba nti: “Bwe wabaawo omuntu ayogera ekintu ekinnyiiza, nneebuuza nti, ‘Yesu yandyeyisizza atya mu mbeera eno?’” Agattako nti: “Njize obutanyiiga mangu olw’ebyo abalala bye baba banjogeddeko.”
Yesu yali akimanyi nti abantu tebatuukiridde. Abayigirizwa ba Yesu baali baagala okukola ebirungi naye oluusi obutali butuukirivu bwabalemesanga okubikola. Ng’ekyokulabirako, mu kiro ekyasembayo Yesu amale attibwe, Peetero, Yakobo, ne Yokaana baalemererwa okusigala nga batunula nga Yesu bwe yali abagambye. Yesu yakiraga nti yali ategeera ensonga lwaki beebaka bwe yagamba nti: “Omwoyo gwagala naye omubiri munafu.” (Mat. 26:40, 41) Olw’okuba Yesu yali akimanyi nti abatume be baali tebatuukiridde, teyabanyiigira.
Mwannyinaffe ayitibwa Mandy yalinga akolokota nnyo abalala, naye kati afuba nnyo okuba omukkakkamu nga Yesu. Agamba nti, “Nfuba okukijjukiranga nti abantu tebatuukiridde era nfuba okutunuulira ebirungi mu balala nga Yakuwa bw’akola.” Engeri Yesu gye yatunuulirangamu obunafu bw’abalala naawe esobola okukuyamba okuba omukkakkamu ng’okolagana n’abalala?
Yesu yalekanga ebintu mu mikono gya Yakuwa. Yesu bwe yali ku nsi, yagumira okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Baamutegeera bubi, baamunyooma, era baamutulugunya. Wadde kiri kityo, yasigala mukkakkamu kubanga “yeewaayo eri Oyo asala omusango mu butuukirivu.” (1 Peet. 2:23) Yesu yali akimanyi nti Kitaawe ow’omu ggulu yandimuyambye okugumira embeera enzibu era nti mu kiseera kye ekituufu yandibonerezza abo abaali bamuyisa obubi.
Bwe tukola ebintu mu busungu nga tuyisiddwa bubi, kiyinza okwongera okwonoona obwonoonyi embeera. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli etugamba nti: “Obusungu bw’omuntu tebuleeta butuukirivu bwa Katonda.” (Yak. 1:20) Ne bwe tuba nga tulina ensonga entuufu okusunguwala, obutali butuukirivu buyinza okutuleetera okweyisa mu ngeri enkyamu.
Mwannyinaffe Cathy ow’omu Bugirimaani yalinga alowooza nti bw’oteerwanako tewali ayinza kukulwanirira. Naye bwe yayiga okwesiga Yakuwa, endowooza ye yakyuka. Agamba nti: “Kati sikitwala nti buli kiseera nnina okwerwanako. Nsigala ndi mukkakkamu nga nkimanyi nti Yakuwa alaba era ajja kutereeza ebintu mu kiseera kye ekituufu.” Bw’oyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, okwesiga Katonda nga Yesu bwe yakola kijja kukuyamba okusigala ng’oli mukkakkamu.
“BALINA ESSANYU ABATEEFU”
Yesu yakiraga nti bwe tuba abakkakkamu kituyamba okuba abasanyufu. Yagamba nti: “Balina essanyu abateefu.” (Mat. 5:5) Weetegereze engeri obukkakkamu gye butuyambamu mu mbeera zino.
Obukkakkamu bukkakkanya embeera etali nnyangu mu bufumbo. Ow’oluganda Robert abeera mu Australia agamba nti: “Waliwo ebintu bingi ebirumya bye nnagambanga mukyala wange naye nga sikigenderedde. Kyokka ebigambo ebirumya ebyogerwa mu busungu tebisobola kuzzibwayo. Nnawuliranga bubi bwe nnalabanga engeri ebigambo ebyo gye byambanga bimukosezzaamu.”
“Emirundi mingi ffenna tusobya” mu bye twogera, era ebigambo bye twogera nga tetulowoozezza biyinza okutabangula emirembe mu maka. (Yak. 3:2) Mu mbeera ng’ezo, obukkakkamu butuyamba okusigala nga tuli bateefu ne tufuga olulimi lwaffe.—Nge. 17:27.
Robert yafuba nnyo okukulaakulanya obukkakkamu n’okwefuga. Biki ebivuddemu? Agamba nti: “Kati buli lwe tufuna obutakkaanya, nfuba okuwuliriza obulungi, okwogera mu bukkakkamu, n’obutanyiiga. Kati enkolagana yange ne mukyala wange yeeyongedde okulongooka.”
Obukkakkamu butuyamba okukolagana obulungi n’abalala. Abantu abanyiiga amangu baba n’emikwano mitono. Naye obukkakkamu butuyamba ‘okukuuma emirembe egitugatta.’ (Bef. 4:2, 3) Cathy ayogeddwako waggulu agamba nti, “Obukkakkamu bunnyambye okukolagana obulungi na buli muntu wadde ng’abantu abamu si bangu.”
Obukkakkamu butusobozesa okuba n’emirembe ku mutima. Bayibuli eraga nti waliwo akakwate wakati ‘w’amagezi agava waggulu’ n’obukkakkamu n’emirembe. (Yak. 3:13, 17) Omuntu omukkakkamu aba muteefu mu mutima. (Nge. 14:30) Martin, afubye ennyo okukulaakulanya obukkakkamu, agamba nti, “Kati sikyakalambira ku bye njagala, era ekyo kinnyambye okuba n’emirembe n’essanyu.”
Kyo kituufu nti oluusi kiyinza okutwetaagisa okufuba ennyo okusobola okukulaakulanya obukkakkamu. Ow’oluganda omu agamba nti “Ekituufu kiri nti ebiseera ebimu mpulira obusungu bungi munda.” Naye Yakuwa, oyo atukubiriza okuba abakkakkamu, ajja kutuyamba okukulaakulanya engeri eyo. (Is. 41:10; 1 Tim. 6:11) Ajja ‘kumaliriza okutendekebwa kwaffe’; ajja ‘kutufuula ba maanyi.’ (1 Peet. 5:10) Okufaananako omutume Pawulo, oluvannyuma lw’ekiseera tujja kusobola okwoleka “obukkakkamu n’ekisa kya Kristo.”—2 Kol. 10:1.
a Amannya agamu gakyusiddwa.