ESSUULA 125
Yesu Atwalibwa eri Anaasi n’Oluvannyuma eri Kayaafa
MATAYO 26:57-68 MAKKO 14:53-65 LUKKA 22:54, 63-65 YOKAANA 18:13, 14, 19-24
YESU ATWALIBWA ERI ANAASI EYALI KABONA ASINGA OBUKULU
OLUKIIKO OLUKULU LUMUWOZESA MU BUKYAMU
Yesu bw’amala okusibibwa ng’omuzzi w’emisango, atwalibwa eri Anaasi, eyali kabona asinga obukulu mu kiseera Yesu bwe yeewuunyisa abayigiriza b’omu yeekaalu ng’akyali muto. (Lukka 2:42, 47) Abamu ku batabani ba Anaasi oluvannyuma baaweerezaako nga kabona asinga obukulu, naye kati Kayaafa eyawasa muwala wa Anaasi ye kabona asinga obukulu.
Nga Yesu ali mu maka ga Anaasi, Kayaafa ayita ab’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya. Olukiiko olwo lubaako abantu 71, nga mw’otwalidde kabona asinga obukulu n’abo abaali baweerezzaako nga kabona asinga obukulu.
Anaasi abuuza Yesu ebikwata ku “bayigirizwa be ne ku njigiriza ye.” Yesu amuddamu nti: “Mbaddenga njogera eri ensi mu lujjudde. Mbaddenga njigiriza mu makuŋŋaaniro ne mu yeekaalu Abayudaaya bonna gye bakuŋŋaanira era sirina kye nnayogerera mu kyama. Lwaki ombuuza? Buuza abo abaawulira bye nnayogera.”—Yokaana 18:19-21.
Omukuumi ayimiridde awo akuba Yesu oluyi mu maaso ng’agamba nti: “Bw’otyo bw’oddamu kabona omukulu?” Naye olw’okuba Yesu akimanyi nti talina kikyamu ky’akoze, amugamba nti: “Bwe mba nga nnina ekikyamu kye njogedde, kyogere; naye bwe mba nga njogedde kituufu, lwaki onkuba?” (Yokaana 18:22, 23) Ebyo bwe biggwa, Anaasi alagira Yesu n’atwalibwa eri Kayaafa.
Mu kiseera kino Olukiiko Olukulu oluliko kabona asinga obukulu, abakadde, n’abawandiisi lumaze okutuula era luli mu maka ga Kayaafa. Kimenya mateeka okuwozesa omuntu mu kiro ky’olunaku olw’embaga ey’Okuyitako, naye kino tekigaana bantu bano abamaliridde okutuuka ku kiruubirirwa kyabwe ekikyamu.
Abasinga obungi ku bantu abo tebaagala Yesu. Kijjukire nti bwe yazuukiza Laazaalo, ab’Olukiiko Olukulu baasalawo nti Yesu asaanidde okuttibwa. (Yokaana 11:47-53) Ate era ennaku ntono emabega, abakulembeze b’eddiini bateesa bakwate Yesu mu lukujjukujju era bamutte. (Matayo 26:3, 4) Mu butuufu, wadde nga Yesu tannawozesebwa, kyeyoleka kaati nti yasaliddwa dda ogw’okufa!
Ng’oggyeeko okuba nti olukiiko lwe batuuzizza lumenya mateeka, bakabona abakulu ne bannaabwe era bagezaako okufuna abajulizi ab’obulimbam, basobole okusiba ku Yesu emisango. Bafuna abajulizi bangi naye obujulizi bwabwe tebukwatagana. Oluvannyuma wavaayo abajulizi babiri ne bagamba nti: “Twamuwulira ng’agamba nti: ‘Nja kumenya yeekaalu eno eyazimbibwa n’emikono, era mu nnaku ssatu nja kuzimba endala, nga tezimbiddwa na mikono gy’abantu.’” (Makko 14:58) Kyokka na bano obujulizi bwabwe tebukwatagana.
Kayaafa abuuza Yesu nti: “Tolina na kimu ky’oddamu? Kiki ky’oyogera ku ebyo abasajja bano bye bakulumiriza?” (Makko 14:60) Yesu asirika busirisi era tabaako ky’addamu ku ebyo abajulizi abo ab’obulimba bye boogera. Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, asalawo okukozesa akakodyo akalala.
Kayaafa akimanyi nti Abayudaaya tebaagalira ddala muntu yenna kweyita Mwana wa Katonda. Emabegako Yesu bwe yagamba nti Katonda ye Kitaawe, Abayudaaya baali baagala kumutta nga bagamba nti “yeefuula eyenkanankana ne Katonda.” (Yokaana 5:17, 18; 10:31-39) N’olwekyo, Kayaafa agamba Yesu nti: “Nkulayiza mu maaso ga Katonda omulamu otubuulire oba nga ggwe Kristo Omwana wa Katonda!” (Matayo 26:63) Kya lwatu, Yesu yakyogera dda nti Mwana wa Katonda. (Yokaana 3:18; 5:25; 11:4) Bw’atakyogera kati, kiyinza okutwalibwa nti yeegaana nti si Mwana wa Katonda era nti si ye Kristo. N’olwekyo Yesu agamba nti: “Ye nze; era mugenda kulaba Omwana w’omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogw’Oyo ow’Amaanyi era ng’ajjira ku bire eby’eggulu.”—Makko 14:62.
Oluwulira ebyo, Kayaafa ng’alinga munnakatemba ayuza ebyambalo bye era agamba nti: “Avvodde! Tukyetaaga obujulizi obulala? Muwulidde bw’avvoola. Mulowooza mutya?” Mu ngeri etali ya bwenkanya Olukiiko Olukulu lusalawo nti: “Agwanidde okufa.”—Matayo 26:65, 66.
Oluvannyuma batandika okusekerera Yesu n’okumukuba ebikonde. Abalala bamukuba empi mu maaso era ne bamuwandulira amalusu. Ate era bamubikka ku maaso ne bamukuba, olwo ne bamuduulira nga bamugamba nti: “Bw’oba oli nnabbi, tubuulire ani akukubye?” (Lukka 22:64) Kya nnaku nti Omwana wa Katonda atulugunyizibwa mu ngeri eyo oluvannyuma lw’okuwozesebwa ekiro mu ngeri emenya amateeka!