ESSUULA 130
Yesu Aweebwayo era Atwalibwa Okuttibwa
MATAYO 27:31, 32 MAKKO 15:20, 21 LUKKA 23:24-31 YOKAANA 19:6-17
PIRAATO AGEZAAKO OKUTA YESU
YESU ASINGISIBWA OMUSANGO ERA ATWALIBWA OKUTTIBWA
Wadde nga Yesu atulugunyiziddwa nnyo era asekereddwa, era nga Piraato agezezzaako okubalaga nti Yesu talina musango, bakabona abakulu n’abantu tebaagala Piraato kuta Yesu. Mu buli ngeri yonna baagala Yesu attibwe. Beeyongera okuleekaana nti: “Mukomerere ku muti! Mukomerere ku muti!” Piraato abagamba nti: “Mmwe mumutwale mumutte, nze siraba musango gw’azzizza.”—Yokaana 19:6.
Abayudaaya balemererwa okukakasa Piraato nti Yesu agwanidde okuttibwa olw’ensonga eyeekuusa ku by’obufuzi. Kyokka kati bakomyawo omusango ogw’okuvvoola Katonda ab’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya gwe baamusibako nga bamuwozesa. Bagamba nti: “Tulina etteeka, era okusinziira ku tteeka eryo agwanidde okufa, kubanga yeeyita mwana wa Katonda.” (Yokaana 19:7) Piraato akiraba nti batandise kumuvunaana musango mulala.
Addayo mu lubiri lwe n’agezaako okunoonya ngeri y’okutaasa omusajja oyo abonyaabonyezeddwa ennyo era nga ne mukyala wa Piraato kennyini yalooseddwa ku musajja oyo. (Matayo 27:19) Naye kati Piraato anaakola atya ng’Abayudaaya baleeseewo omusango omupya nti Yesu yeeyita “mwana wa Katonda”? Piraato akimanyi nti Yesu ava Ggaliraaya. (Lukka 23:5-7) Naye abuuza Yesu nti: “Ewammwe wa?” (Yokaana 19:9) Kyandiba nti Piraato yeebuuza obanga Yesu yaliwo nga tannazaalibwa wano ku nsi era nti yandiba Omwana wa Katonda?
Piraato yawulidde nga Yesu kennyini agamba nti kabaka era nti Obwakabaka bwe si bwa mu nsi muno. Olw’okuba Yesu tekimwetaagisa kulambulula bye yayogedde, asirika busirisi. Ekyo kinyiiza nnyo Piraato, era mu busungu obungi agamba Yesu nti: “Ogaanye okunziramu? Tomanyi nti nnina obuyinza okukuta oba okukutta?”—Yokaana 19:10.
Yesu amugamba nti: “Tewandibadde na buyinza bwonna ku nze singa tebwakuweebwa kuva waggulu. Eno ye nsonga lwaki omusajja ampaddeyo gy’oli y’alina ekibi ekisinga obunene.” (Yokaana 19:11) Yesu alabika tayogera ku muntu omu yekka, wabula ategeeza nti Kayaafa n’abo b’abadde nabo, ne Yuda Isukalyoti bavunaanibwa kinene okusinga Piraato.
Nga Piraato akwatiddwako nnyo olw’obukkakkamu bwa Yesu n’olw’ebyo by’ayogedde, era nga yeeyongedde okutya nti Yesu yandiba nga Mwana wa Katonda, agezaako nate okumuta. Kyokka, Abayudaaya boogera ekintu ekirala ekireetera Piraato okutya. Bamutiisatiisa nti: “Bw’ota omusajja ono, ojja kuba toli mukwano gwa Kayisaali. Buli muntu eyeefuula kabaka aba awakanya Kayisaali.”—Yokaana 19:12.
Gavana oyo addamu okuleeta Yesu, atuula awasalirwa emisango, era agamba abantu nti: “Laba! kabaka wammwe!” Naye Abayudaaya boogerera waggulu nti: “Mutwale! Mutwale! Mukomerere ku muti!” Piraato ababuuza nti: “Nzite kabaka wammwe?” Wadde ng’Abayudaaya beetamiddwa obufuzi bw’Abaruumi, bakabona abakulu bagamba nti: “Tetulina kabaka mulala wabula Kayisaali.”—Yokaana 19:14, 15.
Piraato atya nnyo olw’ebyo Abayudaaya bye bamugambye, era awaayo Yesu attibwe. Abasirikale bambula Yesu ekyambalo ekimyufu ne bamwambaza ebyambalo bye eby’okungulu. Nga Yesu atwalibwa okuttibwa, alina okwetikka omuti kw’agenda okukomererwa.
Kati essaawa zinaatera okuwera mukaaga ez’omu ttuntu ku Lwokutaano, Nisaani 14. Yesu abadde atunula okuviira ddala ku Lwokuna ku makya era abonyaabonyezeddwa nnyo. Agezaako okusitula omuti, naye takyalina maanyi. Abasirikale balagira omusajja abadde ayitawo, ayitibwa Simooni ow’e Kuleene mu Afirika, okusitula omuti ogwo agutwale mu kifo Yesu w’agenda okukomererwa. Waliwo abantu bangi abamugoberera, era abamu bakaaba era baaziirana olw’ebyo ebigenda mu maaso.
Yesu agamba abakazi abakaaba nti: “Abawala b’e Yerusaalemi, mulekere awo okunkaabira. Mwekaabire mmwekka era mukaabire n’abaana bammwe; kubanga laba! ekiseera kijja abantu lwe baligamba nti, ‘Balina essanyu abakazi abagumba, n’abo abatazaalangako era n’abo abatayonsangako!’ Baligamba ensozi nti ‘Mutugweko!’ n’obusozi nti, ‘Mutubuutikire!’ Kubanga we bakoledde ebintu bino ng’omuti mubisi, kiriba kitya nga gukaze?”—Lukka 23:28-31.
Yesu ayogera ku ggwanga ly’Abayudaaya. Liringa omuti ogugenda gukala, naye nga gukyali mubisibisi olw’okuba Yesu akyaliwo era nga n’abo abamukkiririzaamu bakyaliwo. Abo bwe banaavaawo, eggwanga eryo lijja kukala mu by’omwoyo, ng’omuti bwe gukala. Wajja kubaawo okukaaba okw’amaanyi ng’amagye g’Abaruumi gazikiriza eggwanga eryo Katonda lye yasalira omusango!