Mweyongere Okukola Obulungi
“Mweyongere . . . okukola obulungi.”—LUK. 6:35, NW.
1, 2. Lwaki okukolera abalala ebirungi tekitera kuba kyangu?
OKUKOLERA abalala ebirungi tekitera kuba kyangu. Abo be tulaga okwagala bo bayinza obutatuyisa bulungi. Wadde nga tufuba okuyamba abantu mu by’omwoyo nga tubabuulira ‘enjiri ey’ekitiibwa kya Katonda’ n’Omwana we, bo bayinza obutasiima oba obuteefiirayo. (1 Tim. 1:11) Abalala bafuuka ‘balabe ba muti gwa Kristo ogw’okubonyaabonya.’ (Baf. 3:18, NW) Naye ffe ng’Abakristaayo, tusaanidde kubayisa tutya?
2 Yesu Kristo yagamba abayigirizwa be nti: “Mweyongere okwagala abalabe bammwe n’okukola obulungi.” (Luk. 6:35, NW) Kati ka twetegereze bulungi okubuulirira kuno, era tulabe n’engeri gye tusobola okuganyulwa mu bintu ebirala Yesu bye yayogera ku kukolera abalala ebirungi.
“Mwagalenga Abalabe Bammwe”
3. (a) Mu bigambo byo, wumbawumbako Yesu bye yayogera mu Matayo 5:43-45. (b) Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya ab’omu kyasa ekyasooka baali batwala batya Abayudaaya n’ab’amawanga?
3 Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi okumanyiddwa obulungi, Yesu yakubiriza abaali bamuwuliriza okwagalanga abalabe baabwe n’okusabiranga abo ababayigganya. (Soma Matayo 5:43-45.) Abo abaali bamuwuliriza ku olwo baali Bayudaaya, era baali bamanyi Katonda kye yalagira nti: “Towalananga ggwanga, so tobanga na nge yonna eri abaana b’abantu bo, naye onooyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” (Leev. 19:18) Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya ab’omu kyasa ekyasooka baalina endowooza nti ebigambo “abaana b’abantu bo” ne “muliraanwa wo” byali bikwata ku Bayudaaya bokka. Amateeka ga Musa gaali gagaana Abaisiraeri okuba n’enkolagana n’ab’amawanga, naye wajjawo endowooza nti abantu b’amawanga bonna baali balabe, era nti buli omu ku bo yalina okukyayibwa.
4. Abayigirizwa ba Yesu baalina kuyisa batya abalabe baabwe?
4 Okwawukana ku ndowooza eyo gye baalina, Yesu yagamba: “Mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya.” (Mat. 5:44) Abayigirizwa be bo baalina okuyisa obulungi abo bonna abandibayisizza obubi. Okusinziira ku muwandiisi w’Enjiri Lukka, Yesu yagamba: “Mbagamba mmwe abawuliriza, Mweyongerenga okwagala abalabe bammwe, okukolera ebirungi abo ababakyawa, okuwa omukisa abo ababakolimira n’okusabira abo ababavuma.” (Luk. 6:27, 28, NW) Okufaananako abantu b’omu kyasa ekyasooka abakkiriza Yesu bye yayogera, naffe ‘tukolera ebirungi abo abatukyawa’ ka babe nga bo batuyisa bubi. ‘Tuwa omukisa abo abatukolimira’ nga twogera nabo mu ngeri ey’ekisa. Era ‘tusabira abo abatuyigganya’ n’abo ‘abatuvuma.’ Essaala ng’ezo ziba ziraga nti twagala abalabe baffe era tusaba Yakuwa abayambe baveemu omutima omubi, era bakole ebintu ebinaabayamba okusiimibwa mu maaso ge.
5, 6. Lwaki tulina okwagala abalabe baffe?
5 Lwaki tulina okwagala abalabe baffe? Yesu yagamba nti: “Mulyoke mubeerenga abaana ba Kitammwe ali mu ggulu.” (Mat. 5:45) Bwe tugoberera okubuulirira okwo, tuba tukoppa Yakuwa era tufuuka ‘baana’ be kubanga “enjuba ye agyakiza ababi n’abalungi, abatonnyeseza enkuba abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” Ng’Enjiri ya Lukka bw’egamba, Katonda “mulungi eri abateebaza n’ababi.”—Luk. 6:35.
6 Ng’alaga nti kikulu nnyo abayigirizwa be ‘okwagala abalabe baabwe,’ Yesu yagamba nti: “Bwe munaayagalanga ababaagala, mulina mpeera ki? n’abawooza tebakola bwe batyo? Bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, munaabasinzangawo ki? n’ab’amawanga tebakola bwe batyo?” (Mat. 5:46, 47) Bwe twagala abo bokka abatwagala, tetuggya kuweebwa “mpeera,” wadde okusanyusa Katonda. Ggwe ate oba n’abawooza abaali bayisibwamu amaaso baali baagala abo ababaagala.—Luk. 5:30; 7:34.
7. Lwaki tewaba kya njawulo kye tuba tukoze bwe tulamusaako “baganda” baffe bokka?
7 Abayudaaya baateranga nnyo okukozesa ekigambo “emirembe” nga balamusa. (Balam. 19:20; Yok. 20:19) Kino kyabanga kitegeeza nti gw’olamusa omwagaliza birungi byereere. Bwe tulamusaako “baganda” baffe bokka, tuba tetulina ‘kisingawo’ kye tukoze. Nga Yesu bwe yalaga, “n’ab’amawanga” bwe batyo bwe baali bakola.
8. Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti: ‘Mubeerenga batuukirivu’?
8 Olw’ekibi kye baasikira, abayigirizwa ba Kristo baali tebatuukiridde era nga bakola ensobi. (Bar. 5:12) Wadde kyali kityo, Yesu yamaliriza okubuulira kwe kuno ng’agamba nti: “Mubeerenga abatuukirivu, nga Kitammwe ali mu ggulu bw’ali omutuukirivu.” (Mat. 5:48) Yali akubiriza abamuwuliriza bakoppe ‘Kitaabwe ow’omu ggulu,’ Yakuwa, nga bayiga okwagala abalabe baabwe, mu ngeri eyo okwagala kwabwe kube nga kutuukiridde. Bwe tutyo naffe bwe tulina okukola.
Lwaki Tulina Okusonyiwa Abalala?
9. Ebigambo “Otusonyiwe amabanja gaffe” bitegeeza ki?
9 Tweyongera okukola obulungi bwe tusonyiwa omuntu aba atukoze obubi. Essaala ya Yesu ey’okulabirako erimu ebigambo bino: “Osonyiwe amabanja gaffe, nga naffe bwe tusonyiye abatwewolako.” (Mat. 6:12) Kya lwatu nti amabanja gano agalina okusonyiyibwa si ga nsimbi. Enjiri ya Lukka eraga nti Yesu “amabanja” ge yali ayogerako bye byonoono, kubanga egamba nti: “Otusonyiwe ebyonoono byaffe; kubanga naffe tumusonyiwa buli gwe tubanja.”—Luk. 11:4.
10. Tuyinza tutya okukoppa Katonda bwe kituuka ku kusonyiwa?
10 Tulina okukoppa Katonda, oyo asonyiwa aboonoonyi abeenenya. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Mubeerenga n’obulungi mwekka na mwekka, abakwatibwa ekisa, nga musonyiwagananga, era nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.” (Bef. 4:32) Omuwandiisi wa zabbuli Dawudi yagamba: “Mukama ajjudde okusaasira n’ekisa, alwawo okusunguwala, alina okusonyiwa okungi. . . . Tatukoze ng’ebibi byaffe bwe biri, so tatusasudde ng’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri. . . . Ebuvanjuba n’ebugwanjuba bwe biri ewala, bw’atyo bw’atutadde ewala ebyonoono byaffe. Nga Kitaabwe bw’asaasira abaana be, ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abamutya. Kubanga amanyi omubiri gwaffe; ajjukira nga ffe tuli nfuufu.”—Zab. 103:8-14.
11. Baani Katonda b’asonyiwa?
11 Katonda asonyiwa abo bokka abasonyiwa ababakoze obubi. (Mak. 11:25) Ng’aggumiza ensonga eno, Yesu yagamba, “Kubanga bwe munaasonyiwanga abantu ebyonoono bwabwe, Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga nammwe. Naye bwe mutaasonyiwenga bantu ebyonoono byabwe, ne Kitammwe taasonyiwenga byonoono byammwe.” (Mat. 6:14, 15) Yee, Katonda asonyiwa abo bokka abeetegefu okusonyiwa abalala. Era engeri emu gye tuyinza okweyongera okukola obulungi kwe kukola Pawulo kye yagamba nti: “Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo.”—Bak. 3:13.
“Temusalanga Musango”
12. Yesu yayogera ki ku kusalira abalala omusango?
12 Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yalaga engeri endala ey’okukola abalala obulungi bwe yagamba abamuwuliriza balekere awo okusalira bannaabwe omusango era ensonga eno yaginogaanya ng’akozesa ekyokulabirako ekirungi ennyo. (Soma Matayo 7:1-5.) Ka twetegereze Yesu kye yali ategeeza bwe yagamba nti: “Temusalanga musango.”
13. Abaali bawuliriza Yesu baalina kukola ki?
13 Okusinziira ku Njiri ya Matayo, Yesu yagamba, “Temusalanga musango, muleme okusalirwa.” (Mat. 7:1) Okusinziira ku Lukka, Yesu yagamba: “Temusalanga musango, nammwe temulisalirwa: era temusinzanga musango, nammwe temulisinzibwa musango: musonyiwenga, nammwe mulisonyiyibwa.” (Luk. 6:37) Abafalisaayo b’omu kyasa ekyasooka baasaliranga bubi abantu emisango nga beesigama ku bulombolombo, so si ku Byawandiikibwa. Abo bonna abaali ‘basala emisango’ mu ngeri eyo baalina okukikomya oluvannyuma lw’okuwulira ebigambo bya Yesu ebyo. Baalina ‘okusonyiwanga’ abalala ensobi zaabwe. Omutume Pawulo yayogera ekintu kye kimu ku kusonyiwa nga bwe tulabye waggulu.
14. Abayigirizwa ba Yesu bwe bandisonyiyenga abalala, abantu kyandibaleetedde kukola ki?
14 Abayigirizwa ba Yesu bwe bandisonyiyenga abalala, kyandireetedde abantu okuyiga okusonyiwa. Yesu yagamba: “Omusango gwe musala gulibasalirwa nammwe: era ekigera kye mugereramu, ekyo kye muligererwa nammwe.” (Mat. 7:2) Bwe kituuka ku ngeri gye tuyisaamu abalala, kye tusiga kye tukungula.—Bag. 6:7.
15. Yesu yalaga atya nti kikyamu okukolokota abalala?
15 Ng’alaga nti kikyamu okukolokota abalala, Yesu yabuuza: “Ekikutunuuliza ki akantu akali ku liiso lya muganda wo, naye n’otofaayo ku njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? Oba olimugamba otya muganda wo nti Leka nkuggyeko akantu akali ku liiso lyo; naye laba, enjaliiro ekyali ku liiso lyo ggwe?” (Mat. 7:3, 4) Omuntu alina omuze gw’okukolokota abalala aba mwangu okulaba ekikyamu ekitono ennyo ekiri ku “liiso” lya muganda we. Mu kukola atyo aba ng’agamba nti muganda we ebintu tabiraba era tabitegeera bulungi. Ekikyamu ne bwe kiba kitono nga bw’olaba akasubi, omuntu oyo aba ayagala ‘akyanike.’ Awulira nti y’alina okuyamba muganda we okulaba ebintu mu ngeri entuufu.
16. Mu ngeri ki Abafalisaayo gye baalina “enjaliiro” ku maaso?
16 Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baali baagala nnyo okukolokota abalala. Ng’ekyokulabirako: Omusajja omu Kristo gwe yali azibudde amaaso bwe yagamba nti Yesu ateekwa okuba nga yatumibwa Katonda, Abafalisaayo baamugamba: “Wazaalibwa mu bibi byereere, naawe otuyigiriza ffe?” (Yok. 9:30-34) Bwe kyatuukanga ku kutegeera eby’omwoyo n’okutunuulira ebintu mu ngeri ennuŋŋamu, Abafalisaayo baalina “enjaliiro” ku maaso era baali ba muzibe. Yesu kye yava agamba, “Munnanfuusi ggwe, sooka oggyeko enjaliiro ku liiso lyo ggwe; olyoke olabe bulungi okuggyako akantu ku liiso lya muganda wo.” (Mat. 7:5; Luk. 6:42) Bwe tuba ab’okukola abalala obulungi, tetujja kukolokota baganda baffe nga tubanoonyako ensobi buli kiseera. Mu kifo ky’ekyo, tujja kukikkiriza nti tetutuukiridde, era twewale okusalira bakkiriza bannaffe omusango oba okubakolokota.
Engeri gye Tulina Okuyisaamu Abalala
17. Okusinziira ku Matayo 7:12, tulina kuyisa tutya abalala?
17 Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yalaga nti Katonda addamu okusaba kw’abaweereza be olw’okuba abatwala ng’abaana be. (Soma Matayo 7:7-12.) Yesu yassaawo omusingi guno ku ngeri gye tulina okuyisaamu abalala: “Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo.” (Mat. 7:12) Okuyisa bantu bannaffe bwe tutyo ye ngeri yokka gye tuyinza okulaga nti ddala tuli bagoberezi ba Yesu Kristo.
18. ‘Amateeka’ gaalaga gatya nti tulina okuyisa abalala nga bwe twagala batuyise?
18 Yesu bwe yamala okugamba nti tulina okuyisa abalala nga bwe twagala batuyise, yayongerako nti: ‘Ekyo ge Mateeka ne Bannabbi.’ Bwe tuyisa abalala nga Yesu bwe yagamba, tuba tutuukirizza ekigendererwa ‘ky’Amateeka’—okuva ku kitabo kya Baibuli eky’Olubereberye okutuuka ku Ekyamateeka. Ng’oggyeko okwogera ku kigendererwa kya Yakuwa eky’okuleetawo ezzadde eryandimazeewo obubi bwonna, ebitabo bino birimu Amateeka Katonda ge yawa eggwanga lya Isiraeri mu 1513 B.C.E. okuyitira mu Musa. (Lub. 3:15) Mu Mateeka ago kiragibwa bulungi nti Abaisiraeri baalina okuba abenkanya, nga tebasosola mu bantu, era baalina okuyisa obulungi abagwira n’abaavu.—Leev. 19:9, 10, 15, 34.
19. ‘Bannabbi’ balaga batya nti tulina okukola obulungi?
19 Bwe yayogera ku ‘Bannabbi,’ Yesu yali ategeeza ebitabo by’obunnabbi ebiri mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Birimu obunnabbi obukwata ku Masiya obwatuukirizibwa ku Yesu. Ebyawandiikibwa ebyo era biraga nti Katonda awa abantu be emikisa bwe bakola ekituufu era ne bayisa abalala obulungi. Ng’ekyokulabirako, obunnabbi bwa Isaaya bwakubiriza Abaisiraeri nti: “Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti Mukwatenga eby’ensonga, mukolenga eby’obutuukirivu: . . . Alina omukisa omuntu akola ekyo, n’omwana w’omuntu akinyweza; . . . akuuma omukono gwe obutakola bubi bwonna.” (Is. 56:1, 2) Yee, Katonda ayagala abantu be bakolenga abalala ebirungi.
Koleranga Abalala Ebirungi
20, 21. Yesu bye yayogera mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi byakwata bitya ku bantu, era lwaki osaanye okubifumiitirizaako?
20 Ku nsonga enkulu ennyingi Yesu ze yayogerako mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi twetegerezzaako ntono ddala. Wadde kiri kityo, tusobola bulungi okutegeera engeri abo abaali bamuwuliriza gye baakwatibwako. Baibuli egamba nti: “Yesu bwe yamala ebigambo ebyo, ebibiina ne byewuunya okuyigiriza kwe: kubanga yabayigiriza nga nnannyini buyinza, so si ng’abawandiisi baabwe.”—Mat. 7:28, 29.
21 Awatali kubuusabuusa, Yesu Kristo yalaga nti ye yali “Omuwi w’Amagezi w’Ekitalo” eyasuubizibwa. (Is. 9:6, NW) Kyeyoleka bulungi mu Kubuulira kw’Oku Lusozi nti Yesu amanyi engeri Kitaawe ow’omu ggulu gy’atunuuliramu ebintu. Ng’oggyeko ebyo bye twetegerezza, okubuulira okwo kulaga bulungi engeri y’okufunamu essanyu erya nnamaddala, okwewala obwenzi, okukola eby’obutuukirivu, okufuna ebiseera by’omu maaso ebitangaavu, n’ebintu ebirala bingi. Lwaki toddamu n’osoma Matayo essuula 5 okutuuka ku 7 nga bw’osaba? Fumiitiriza ku bintu eby’omugaso ennyo Yesu bye yayogera mu Kubuulirira kwe okw’Oku Lusozi. Bisse mu nkola mu bulamu bwo. Olwo ojja kuba osobola bulungi okusanyusa Yakuwa, okuyisa abalala mu ngeri esaanira, era n’okweyongera okukolera abalala ebirungi.
Wandizzeemu Otya?
• Tulina kuyisa tutya abalabe baffe?
• Lwaki tulina okusonyiwa abalala?
• Yesu yayogera ki ku kusalira abalala omusango?
• Okusinziira ku Matayo 7:12, tulina kuyisa tutya abalala?
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 10]
Omanyi lwaki Yesu yagamba nti: “Temusalanga musango”?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Lwaki tusaanidde okusabira abo abatuyigganya?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Oyisa abalala nga bwe wandyagadde bakuyise?