Okusaba
5 Wa era Ddi lw’Osaanidde Okusaba?
AWATALI kubuusabuusa okyetegerezza nti amadiini mangi gassa essira ku kusabira mu bizimbe ebiyooyooteddwa era gassaawo ebiseera abantu bye balina okusabirako. Ddala Baibuli eraga nti waliwo ebifo n’ebiseera eby’enkalakkalira bye tusaanidde okusabirako?
Baibuli eraga nti waliwo ebiseera ebimu mwe twetaagira okusaba. Ng’ekyokulabirako Yesu n’abagoberezi be bwe baali tebannaba kulya, yeebaza Katonda ng’asaba. (Lukka 22:17) Era abayigirizwa be bwe baakuŋŋaana okusinza, baasabira wamu. Bwe kityo, baagoberera enkola eyali emaze ekiseera ekiwanvu ng’egobererwa mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ne mu yeekaalu e Yerusaalemi. Katonda yayagala yeekaalu ebeere “nnyumba ya kusabirwamu amawanga gonna.”—Makko 11:17.
Abaweereza ba Katonda bwe bakuŋŋaana ne basabira wamu, Katonda asobola okuwulira okusaba kwabwe. Abantu bwe bakuŋŋaana nga balina ekigendererwa kimu, essaala esabibwa ku lwabwe bw’eba ekwatagana n’emisingi egiri mu Byawandiikibwa, Katonda agisiima. Essaala ng’eyo eyinza okuleetera Katonda okukola ekyo ky’atandikoze. (Abebbulaniya 13:18, 19) Abajulirwa ba Yakuwa basaba obutayosa nga bali mu nkuŋŋaana zaabwe. Oyanirizibwa n’essanyu mu Kizimbe ky’Obwakabaka ekiri mu kitundu kyo osobole okwewulirirako ggwe kennyini essaala ng’ezo.
Wadde kiri kityo, Baibuli tegamba nti waliwo ekiseera oba ekifo eby’enkalakkalira we tulina okusabira. Baibuli eyogera ku baweereza ba Katonda abaasabanga ekiseera kyonna kye baabanga baagadde era nga bali mu bifo eby’enjawulo. Yesu yagamba nti: “Bw’osabanga, yingiranga mu kisenge munda, omalenga okuggalawo oluggi, olyoke osabe Kitaawo ali mu kyama, kale Kitaawo alaba mu kyama, alikuwa empeera.”—Matayo 6:6.
Ebigambo ebyo tebituzzaamu maanyi? Mu butuufu, osobola okutuukirira Omufuzi w’obutonde bwonna ekiseera kyonna, ng’oli wekka, era n’oba mukakafu nti ajja kuwulira okusaba kwo. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti, emirundi egisinga obungi Yesu yanoonyanga akaseera okubeerako yekka asobole okusaba! Lumu yamala ekiro kiramba ng’asaba Katonda, ng’anoonya obulagirizi asobole okukola okusalawo okw’amaanyi.—Lukka 6:12, 13.
Abasajja n’abakazi abalala aboogerwako mu Baibuli baasaba nga baagala okusalawo mu ngeri ey’amagezi oba nga boolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi. Emirundi egimu baasabanga mu lwatu oba mu kasirise era baasabanga nga bali mu bibinja oba nga bali bokka. Ekintu ekikulu kiri nti baasabanga. Era Katonda akubiriza abaweereza be nti: “Musabenga bulijjo.” (1 Abassessaloniika 5:17) Mwetegefu ekiseera kyonna okuwulira okusaba kw’abo abakola by’ayagala. Ekyo tekiraga nti Yakuwa atwagala?
Mu butuufu mu nsi ya leero embi, abantu bangi beebuuza obanga kikulu okusaba. Oyinza okwebuuza, ‘Ddala okusaba kunannyamba?’
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 9]
Tuyinza okusaba ekiseera kyonna we tuba twagalidde era nga tuli mu kifo kyonna