-
Weesigire Ddala Yakuwa mu Biseera EbizibuOmunaala gw’Omukuumi—2003 | Ssebutemba 1
-
-
7, 8. (a) Yesu yalaga atya ng’amanyi nti abantu abatatuukiridde batera okweraliikirira ekisukkiridde ku bikwata ku bintu? (Laba n’obugambo obutono obuli wansi.) (b) Magezi ki Yesu ge yawa agakwata ku kwewala okweraliikirira ekisukkiridde?
7 Mu Kubuulirira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yagamba: “Mulekere awo okweraliikirira nti mulirya ki, mulinywa ki, oba ebikwata ku mubiri gwammwe, nti mulyambala ki.”b (Matayo 6:25, NW) Yesu yali akimanyi nti kya mu butonde abantu abatatuukiridde okwagala okufuna ebyetaagibwa mu bulamu. Naye tusobola tutya ‘okulekera awo okweraliikirira’ ebintu ng’ebyo? ‘Musooke munoonyenga obwakabaka,’ bw’atyo Yesu bwe yagamba. Ka tubeere nga twolekaganye na bizibu ki mu bulamu, tusaanidde okweyongera okukulembeza okusinza Yakuwa mu bulamu bwaffe. Bwe tunaakola bwe tutyo, ebirala byonna bye twetaaga, Kitaffe ow’omu ggulu ajja ‘kubitwongerako.’ Mu ngeri emu oba endala, ajja kutusobozesa okufuna bye twetaaga.—Matayo 6:33.
-
-
Weesigire Ddala Yakuwa mu Biseera EbizibuOmunaala gw’Omukuumi—2003 | Ssebutemba 1
-
-
b Okweraliikirira okwogerwako wano kwe “kutya, okumalako omuntu essanyu lyonna ly’aba nalyo.” Enzivuunula ezimu zigamba “temweraliikiriranga.” Naye mu kugamba bwe zityo, ziba zitegeeza nti tetulina kutandika kweraliikirira. Ekitabo ekimu kigamba: “Ebigambo by’Oluyonaani ebikozesebwa bitegeeza okulekera awo okukola ekintu ekiba kigenda mu maaso.”
-