Obusobozi bw’Olina obw’Okukuba Akafaananyi Obukozesa Bulungi?
KINTU ki ekizitowa kiro ng’emu n’ekitundu naye ng’ate kyogerwako ng’ekintu “ekikyasinzeeyo okuba eky’ekyewuunyo mu butonde bwonna”? Bwe bwongo bw’omuntu. Obwongo bw’omuntu ddala bwewuunyisa. Gye tukoma okuyiga ebikwata ku bwongo bw’omuntu gye tukoma okukiraba nti ddala emirimu gya Yakuwa gya ‘kitalo’ nnyo. (Zab. 139:14) Lowooza ku kintu ekimu obwongo bwaffe kye butusobozesa okukola, nga kuno kwe kukuba akafaananyi. Emirundi mingi ffenna tukozesa obusobozi bwaffe obw’okukuba akafaananyi.
Ng’ekyokulabirako, wali osomye oba owulidde ku kifo ky’otogendangamu naye ate n’okuba akafaananyi ku ngeri ekifo ekyo gye kifaananamu? Mu butuufu, buli lwe tulowooza ku kintu kye tutalaba, kye tutawulira, kye tutalozaako, kye tutakwatako, oba kye tutawunyiriza, tuba tukozesa obusobozi bwaffe obw’okukuba akafaananyi.
Bayibuli egamba nti twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. (Lub. 1:26, 27) Ekyo kiraga nti ne Yakuwa alina obusobozi obw’okukuba akafaananyi. Okuva bwe kiri nti naffe yatuwa obusobozi obwo, atusuubira okubukozesa okutegeera by’ayagala. (Mub. 3:11) Tuyinza tutya okukozesa obusobozi obw’okukuba akafaananyi okutegeera Katonda by’ayagala, era tuyinza tutya okwewala okubukozesa obubi?
OKUKOZESA OBUBI OBUSOBOZI OBW’OKUKUBA AKAFAANANYI
(1) Okulowooza ku kintu mu kiseera ekikyamu oba okulowooza ku bintu ebibi.
Si kikyamu okukuba akafaananyi ku bintu ebitali bimu. Waliwo obukakafu obulaga nti ekyo oluusi kivaamu emiganyulo. Naye okusinziira ku Omubuulizi 3:1, buli kintu kiriko “ekiseera kyakyo.” N’olwekyo oluusi tuyinza okukola ekintu mu kiseera ekikyamu. Ng’ekyokulabirako, singa tutandika okulowooza ku bintu ebirala nga tuli mu nkuŋŋaana oba nga twesomesa, olowooza tuba tukozesezza bulungi obusobozi bwaffe obw’okukuba akafaananyi? Ate era Yesu yatulabula ku kabi akali mu kukuba akafaananyi ku bintu ebitasaana, gamba ng’ebikolwa eby’obugwenyufu. (Mat. 5:28) Ebintu ebimu bye tulowoozaako biyinza okuba nga bibi nnyo mu maaso ga Yakuwa. Bwe tulowooza ku bintu eby’obugwenyufu, kiyinza okutuleetera okubyenyigiramu. Ba mumalirivu obutakkiriza busobozi bwo obw’okukuba akafaananyi kukuggya ku Yakuwa!
(2) Okulowooza nti eby’obugagga bituwa obukuumi obwa nnamaddala.
Ssente n’ebintu tubyetaaga era bya mugaso. Naye singa tutandika okulowooza nti ssente n’ebintu bye biwa omuntu obukuumi n’essanyu ebya nnamaddala tujja kwejjusa. Omusajja ow’amagezi Sulemaani yagamba nti: “Ebintu by’omugagga kye kibuga kye ekiriko bbugwe; biringa ekigo mu kulaba kwe.” (Nge. 18:11) Lowooza ku ekyo ekyaliwo mu Ssebutemba 2009, amataba bwe gaayonoona ekitundu ekisinga obunene eky’ekibuga Manila eky’omu Philippines. Abo abaalina eby’obugagga ebingi bo tebaakosebwa? Omusajja omu omugagga eyafiirwa ebintu bye ebingi yagamba nti, “Amataba ago gaaviirako abagagga n’abaavu okwenkanankana. Bonna gaabaleetera okubonaabona.” Kyangu okutandika okulowooza nti eby’obugagga bireetera omuntu obukuumi n’essanyu ebya nnamaddala, naye si bwe kiri.
(3) Okweraliikirira ekisukkiridde ebintu ebiyinza n’obutabaawo.
Yesu yatukubiriza okwewala okweraliikirira ekisukkiridde. (Mat. 6:34) Omuntu eyeeraliikirira ekisukkiridde buli kiseera aba awo ng’akuba obufaananyi. Omuntu ng’oyo akooya nnyo obwongo bwe ng’alowooza ku bizibu ebitaliiwo, kwe kugamba, ng’alowooza ku bizibu ebitannabaawo ate ng’oluusi biyinza n’obutabeererawo ddala. Ebyawandiikibwa biraga nti okweraliikirira ng’okwo kusobola okumalamu omuntu amaanyi oba okumuleetera okwennyamira. (Nge. 12:25) Nga kiba kya magezi okukolera ku kubuulirira kwa Yesu, nga tukola ku bizibu eby’olunaku lwa leero nga bwe biba bizze.
OKUKOZESA OBULUNGI OBUSOBOZI OBW’OKUKUBA AKAFAANANYI
(1) Okulengera akabi akayinza okubaawo ne tukeewala.
Ebyawandiikibwa bitukubiriza okuba ab’amagezi n’okulengerera ewala. (Nge. 22:3) Tusobola okukozesa obusobozi bwaffe obw’okukuba akafaananyi ne tulowooza ku ebyo ebiyinza okuva mu ebyo bye tuba tugenda okusalawo. Ng’ekyokulabirako, watya singa oyitibwa okugenda ku kabaga. Oyinza otya okukozesa obusobozi bw’okukuba akafaananyi okusalawo oba onoogenda? Oluvannyuma lw’okulowooza ku bintu, gamba nga baani abalala abayitiddwa, bameka abanaabeera ku kabaga ako, kanaabeera wa era kanaabaawo ddi, weebuuze: ‘Biki ebiyinza okubaayo? Ddala ebinaakolebwa ku kabaga ako binaaba bituukana n’emisingi egiri mu Bayibuli?’ Okwebuuza ebibuuzo ng’ebyo kisobola okukuyamba okukuba akafaananyi ku ebyo ebiyinza okubeera ku kabaga ako. Bw’okozesa obulungi obusobozi bwo obw’okukuba akafaananyi kijja kukuyamba okwewala embeera eziyinza okwonoona enkolagana yo ne Yakuwa.
(2) Okulowooza ku ngeri y’okukwatamu embeera enzibu.
Obusobozi bw’okukuba akafaananyi era busobola okutuyamba “okumanya engeri gye tuyinza okukwatamu embeera enzibu.” Watya singa oba ofunye obutategeeragana ne mukkiriza munno mu kibiina. Onootuukirira otya muganda wo oba mwannyoko oyo okusobola okuzzaawo emirembe? Waliwo ebintu ebitali bimu by’oba olina okulowoozaako. Ayogera atya n’abalala? Kiseera ki ekisingayo obulungi okwogera ku nsonga eyo? Onookozesa bigambo ki era ddoboozi ki ly’onookozesa? Osobola okukozesa obusobozi obw’okukuba akafaananyi okumanya engeri esingayo obulungi gy’oyinza okukwatamu embeera eyo. (Nge. 15:28, obugambo obuli wansi.) Bw’ofumiitiriza bw’otyo ku ngeri y’okugonjoolamu obutategeeragana kisobola okuyamba mu kukuuma obumu bw’ekibiina. Eyo ngeri nnungi ey’okukozesaamu obusobozi bw’okukuba akafaananyi.
(3) Okwongera okuganyulwa mu kusoma Bayibuli n’okwesomesa.
Kikulu okusoma Bayibuli buli lunaku. Naye, ekiruubirirwa kyaffe ekikulu si kwe kusoma essuula ennyingi buli lunaku. Twagala okubaako bye tuyiga mu ebyo bye tusoma mu Bayibuli era tubikolereko. Okusoma Bayibuli kusaanidde okutuyamba okwongera okwagala amakubo ga Yakuwa. Obusobozi bwaffe obw’okukuba akafaananyi busobola okutuyamba okutuuka ku kiruubirirwa ekyo. Mu ngeri ki? Lowooza ku kitabo Koppa Okukkiriza Kwabwe. Okusoma ekitabo ekyo kisobola okutuyamba okukuba akafaananyi ku mbeera abamu ku bantu aboogerwako mu Bayibuli ze baayitamu. Kituyamba okweteeka mu mbeera abantu abo ze baalimu ne tulaba ebyo bye baalaba, ne tuwulira ebyo bye baawulira, ne tuwunyiriza ebyo bye baawunyiriza, era ne tutegeera engeri gye baali beewuliramu. Ekyo kituyamba okubaako ebintu ebirala ebikulu bye tuyiga mu ebyo bye tusoma mu Bayibuli, ne bwe kituuka ku bintu bye tubadde tulowooza nti tubimanyi bulungi. Bwe tukozesa bwe tutyo obusobozi bwaffe obw’okukuba akafaananyi nga tusoma Bayibuli oba nga twesomesa, kituganyula nnyo.
(4) Okukulaakulanya obusaasizi n’okubwoleka.
Obusaasizi oluusi bwogerwako ng’okuwulira obulumi bw’omuntu omulala. Yakuwa ne Yesu booleka obusaasizi, era naffe tusaanidde okubakoppa. (Kuv. 3:7; Zab. 72:13) Tuyinza tutya okukulaakulanya engeri eno? Ekimu ku bintu ebiyinza okutuyamba okugikulaakulanya kwe kukuba akafaananyi. Tuyinza okuba nga tetuyitangako mu mbeera mukkiriza munnaffe gy’alimu. Naye tuyinza okwebuuza nti: ‘Singa nze abadde mu mbeera eyo, nnandibadde mpulira ntya? Kiki kye nnandibadde nneetaaga?’ Bwe tulowooza ku mbeera eyo era ne tukuba akafaananyi, kituyamba okwoleka obusaasizi. Bwe twoleka obusaasizi kituyamba mu buweereza bwaffe ne mu ngeri gye tukolaganamu ne bakkiriza bannaffe.
(5) Okukuba akafaananyi ku ngeri obulamu gye bunaaba mu nsi empya.
Mu Bayibuli mulimu ebyawandiikibwa bingi ebyogera ku ngeri obulamu gye bunaaba mu nsi empya. (Is. 35:5-7; 65:21-25; Kub. 21:3, 4) Mu bitabo byaffe mulimu ebifaananyi ebiraga ebintu ebyawandiikibwa ebyo bye byogerako. Lwaki? Ebifaananyi ebyo bituleetera okukuba akafaananyi ne tweraba nga tuli mu nsi empya. Yakuwa eyatuwa obusobozi obw’okukuba akafaananyi amanyi nti bwe tukozesa obulungi obusobozi obwo kituganyula nnyo. Bwe tukozesa obusobozi obwo ne tukuba akafaananyi ku bintu bye yasuubiza kituyamba okuba abakakafu nti bijja kutuukirira, era kituyamba okusigala nga tuli beesigwa gy’ali wadde nga twolekagana n’ebizibu.
Yakuwa yatuwa obusobozi obw’ekitalo obw’okukuba akafaananyi. Obusobozi obwo busobola okutuyamba okumuweereza obulungi. Ka tukirage nti tusiima Oyo eyatuwa ekirabo kino eky’omuwendo nga tukikozesa bulungi.