EKITUNDU EKY’OKUSOMA 51
Mweyongere ‘Okumuwuliriza’
“Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsiima. Mumuwulire.”—MAT. 17:5.
OLUYIMBA 54 “Lino Lye Kkubo”
OMULAMWAa
1-2. (a) Kiki abatume ba Yesu abasatu kye baalagirwa okukola, era baakikolerako batya? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
OLUVANNYUMA lw’embaga y’okuyitako ey’omwaka gwa 32 E.E., abatume, Peetero, Yakobo, ne Yokaana, baafuna okwolesebwa okwabeewuunyisa ennyo. Bwe baali ku lusozi oluwanvu, oboolyawo ku Lusozi Kerumooni, Yesu yafuusibwa nga balaba. ‘Yayakaayakana mu maaso ng’enjuba, ebyambalo bye eby’okungulu ne byakaayakana ng’ekitangaala.’ (Mat. 17:1-4) Oluvannyuma abatume abo baawulira Katonda ng’agamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsiima. Mumuwulire.” (Mat. 17:5) Engeri abatume abo abasatu gye baatambuzaamu obulamu bwabwe yakiraga nti baali bawuliriza Yesu. Naffe twagala okubakoppa.
2 Mu kitundu ekyayita, twayiga nti okuwuliriza eddoboozi lya Yesu kitegeeza okulekera awo okukola ebintu ebimu. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bibiri bye tulina okukola Yesu bye yagamba.
“MUYINGIRE MU MULYANGO OMUFUNDA”
3. Okusinziira ku Matayo 7:13, 14, kiki kye tusaanidde okukola?
3 Soma Matayo 7:13, 14. Weetegereze nti Yesu yayogera ku miryango gya mirundi ebiri egiyingira mu makubo abiri ag’enjawulo; ekkubo ‘eddene’ n’ekkubo ‘ery’akanyigo.’ Tewali kkubo lya kusatu. Tulina okwesalirawo ekkubo lye tunaatambuliramu. Okwo kusalawo kukulu nnyo, kubanga ekkubo erigenda mu bulamu obutaggwaawo liri limu lyokka.
4. Kiki ky’oyinza okwogera ku kkubo ‘eddene’?
4 Tulina okumanya enjawulo eriwo wakati w’amakubo ago abiri. Abantu abatambulira mu kkubo ‘eddene’ bangi kubanga lyangu okutambuliramu. Eky’ennaku, bangi basalawo okugoberera abantu abangi abatambulira mu kkubo eryo. Tebakimanyi nti Sitaani y’ayagala batambulire mu kkubo eryo erijja okubatuusa mu kuzikirira.—1 Kol. 6:9, 10; 1 Yok. 5:19.
5. Biki abamu bye bakoze okusobola okuzuula ekkubo ‘ery’akanyigo’ n’okutandika okulitambuliramu?
5 Okwawukana ku kkubo ‘eddene,’ ekkubo eddala “lya kanyigo,” era Yesu yagamba nti batono abaliraba. Lwaki? Weetegereze nti mu lunyiriri oluddako, Yesu yalabula abagoberezi be ku bannabbi ab’obulimba. (Mat. 7:15) Kigambibwa nti waliwo amadiini nkumi na nkumi, era agasinga obungi ku go gagamba nti gayigiriza amazima. Olw’okuba waliwo amadiini mangi nnyo, abantu bangi babuzaabuziddwa era abamu baweddemu amaanyi ne batagezaako kunoonya kkubo erigenda mu bulamu obutaggwaawo. Naye ekkubo eryo lisobola okuzuulibwa. Yesu yagamba nti: “Bwe musigala mu kigambo kyange, muba bayigirizwa bange ddala, era mujja kumanya amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.” (Yok. 8:31, 32) Kirungi nti tewasalawo kugoberera bantu bangi abali mu kkubo eddene, wabula wanoonya amazima. Watandika okuyiga Ekigambo kya Katonda n’omanya ebyo Katonda by’akwetaagisa era n’okolera ku ebyo Yesu bye yayigiriza. Ate era wayiga nti Yakuwa ayagala twewalire ddala enjigiriza z’amadiini ag’obulimba, era tulekere awo okukuza ennaku ezaasibuka mu madiini ag’obulimba. Era wayiga nti si kyangu kukola Yakuwa by’ayagala, n’okwekutula ku mize egikontana n’Ebyawandiikibwa. (Mat. 10:34-36) Kiyinza okuba nga tekyakwanguyira kukola nkyukakyuka ezaali zeetaagisa. Naye wafuba okukola enkyukakyuka ezo olw’okuba oyagala Kitaawo ow’omu ggulu era oyagala okukola ebimusanyusa. Ekyo kiteekwa okuba nga kyamusanyusa nnyo!—Nge. 27:11.
ENGERI GYE TUYINZA OKUSIGALA MU KKUBO ERY’AKANYIGO
6. Okusinziira ku Zabbuli 119:9, 10, 45, 133, kiki ekisobola okutuyamba okusigala mu kkubo ery’akanyigo?
6 Bwe tutandika okutambulira mu kkubo ery’akanyigo, kiki ekisobola okutuyamba okusigala mu kkubo eryo? Lowooza ku kyokulabirako kino. Enguudo ezimu enfunda eziyita mu nsozi, ziteekebwako ebyuma ebbali. Ebyuma ebyo biyamba abavuzi b’emmotoka okusigala ku luguudo ne batagwayo. Teri muvuzi wa mmotoka ayinza kugamba nti ebyuma ebyo binkugira nnyo! Emitindo gya Yakuwa egiri mu Bayibuli giringa ebyuma ebyo. Emitindo egyo gituyamba okusigala mu kkubo ery’akanyigo.—Soma Zabbuli 119:9, 10, 45, 133.
7. Abavubuka basaanidde kutwala batya ekkubo ery’akanyigo?
7 Abavubuka, oluusi muwulira nti emitindo gya Yakuwa gikugira nnyo? Bw’atyo Sitaani bw’ayagala mulowooze. Ayagala ebirowoozo byammwe mubimalire ku ebyo abo abatambulira mu kkubo eddene bye bakola, ne ku bulamu obulabika ng’obulungi bwe balimu. Ayagala mulowooze nti temunyumirwa bulamu nga bannammwe ku ssomero oba ng’abantu be mulaba ku Intaneeti. Ate era Sitaani ayagala mulowooze nti emitindo gya Yakuwa gibalemesa okunyumirwa obulamu mu bujjuvu.b Naye mujjukire kino: Sitaani tayagala abo abatambulira mu kkubo eddene bamanye ekyo ekigenda okubatuukako ku nkomerero. Ku luuyi olulala, Yakuwa ababuulidde byonna bye mugenda okufuna nga musigadde mu kkubo erigenda mu bulamu obutaggwaawo.—Zab. 37:29; Is. 35:5, 6; 65:21-23.
8. Kiki abavubuka kye basobola okuyigira ku Olaf?
8 Lowooza ku ekyo ky’osobola okuyigira ku kyokulabirako kya muganda waffe omuvubuka ayitibwa Olaf.c Bayizi banne baamupikirizanga okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Bwe yabagamba nti Abajulirwa ba Yakuwa batambuliza obulamu bwabwe ku mitindo gya Bayibuli egy’empisa, abawala abamu be yali asoma nabo beeyongera okumupikiriza yeegatte nabo. Naye Olaf yanywerera ku kituufu. Okwo si kwe kupikirizibwa kwokka kwe yayolekagana nakwo. Agamba nti: “Abasomesa bange baagezaako okumpikiriza nduubirire obuyigirize obwa waggulu, nga bagamba nti bujja kunviirako okuba omuntu ow’ekitiibwa. Baŋŋamba nti bwe siruubirira buyigirize obwo, sijja kutuuka ku buwanguzi mu bulamu.” Kiki ekyayamba Olaf okuziyiza okupikirizibwa okwo? Agamba nti: “Nnafuna emikwano egy’oku lusegere mu kibiina kyange. Nnafuuka ng’ow’omu maka gaabwe. Ate era nnanyiikirira okwesomesa. Gye nnakoma okwesomesa, gye nnakoma okukakasa nti gano ge mazima. Ekyo kyannyamba okuba omumalirivu okuweereza Yakuwa.”
9. Kiki abo abaagala okusigala mu kkubo ery’akanyigo kye balina okukola?
9 Sitaani ayagala tuve mu kkubo erigenda mu bulamu obutaggwaawo. Ayagala twegatte ku bantu abasinga obungi abali mu kkubo ‘erigenda mu kuzikirira.’ (Mat. 7:13) Naye tujja kusobola okusigala mu kkubo ery’akanyigo bwe tuneeyongera okuwuliriza Yesu, n’okutwala ekkubo eryo ng’ery’obukuumi gye tuli. Kati ka tulabe ekintu ekirala Yesu kye yagamba kye tulina okukola.
TABAGANA NE MUGANDA WO
10. Okusinziira ku Matayo 5:23, 24, kiki Yesu kye yagamba kye tulina okukola?
10 Soma Matayo 5:23, 24. Yesu yayogera ku kintu ekyali ekikulu ennyo eri Abayudaaya abaali bamuwuliriza. Kuba akafaananyi ng’omuntu agenze mu yeekaalu era nga yeeteeseteese okukwasa kabona ensolo ye ey’okuweebwayo nga ssaddaaka. Mu kaseera ako omuntu oyo bwe yajjukiranga nti muganda we alina ekintu ky’amwemulugunyaako, yalina okuleka awo ekiweebwayo kye, ‘n’agenda.’ Lwaki? Waliwo ekintu ekyali ekikulu ennyo okusinga okuwaayo ssaddaaka eri Yakuwa. Kintu ki ekyo? Yesu yagamba nti: ‘Sooka ogende otabagane ne muganda wo.’
11. Nnyonnyola engeri Yakobo gye yafubamu okuzzaawo emirembe ne Esawu.
11 Tulina bye tusobola okuyiga ebikwata ku kuzzaawo emirembe bwe twetegereza ekintu ekimu ekyaliwo mu bulamu bwa Yakobo. Yakobo bwe yali ng’amaze emyaka egisukka mu 20 mu nsi endala gye yali addukidde, Katonda yamulagira okuddayo mu nsi ye. (Lub. 31:11, 13, 38) Naye waaliwo ekizibu. Muganda we Esawu yali ayagala kumutta. (Lub. 27:41) Yakobo ‘yatya nnyo era yeeraliikirira’ nti muganda we ayinza okuba nga yali akyamusibidde ekiruyi. (Lub. 32:7) Kiki kye yakola okusobola okuzzaawo emirembe ne muganda we? Okusooka, yasaba Yakuwa n’amutegeeza engeri gye yali yeewuliramu. (Lub. 32:9-15) Oluvannyuma yaweereza Esawu ekirabo. Yakobo ne Esawu bwe baasisinkana, Yakobo yakiraga nti awa Esawu ekitiibwa ng’avvunnama mu maaso ge. Si mulundi gumu oba ebiri, wabula emirundi musanvu! Olw’okuba Yakobo yali mwetoowaze, yasobola okuzzaawo emirembe ne muganda we.—Lub. 33:3, 4.
12. Kiki kye tuyigira ku Yakobo?
12 Tulina bye tuyigira ku ngeri Yakobo gye yeeteekateekamu okusisinkana Esawu n’engeri gye yamutuukiriramu. Yakobo yasaba Yakuwa amuyambe. Oluvannyuma yakolera ku kusaba kwe ng’akola kyonna kye yali asobola okuzzaawo emirembe ne muganda we. Bwe baasisinkana, Yakobo teyawakana na muganda we ku ani eyali omukyamu. Ekigendererwa kye kyali kya kuzzaawo mirembe ne muganda we. Tuyinza tutya okumukoppa?
ENGERI GYE TUYINZA OKUZZAAWO EMIREMBE N’ABALALA
13-14. Bwe tukola ekintu ekinyiiza mukkiriza munnaffe, kiki kye tusaanidde okukola?
13 Ffe abali mu kkubo erigenda mu bulamu obutaggwaawo tusaanidde okufuba ennyo okuba mu mirembe ne bakkiriza bannaffe. (Bar. 12:18) Kiki kye tusaanidde okukola bwe tukizuula nti waliwo kye twakola ekyanyiiza mukkiriza munnaffe? Okufaananako Yakobo, tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe tusobole okutabagana ne mukkiriza munnaffe.
14 Ate era tusaanidde okwekebera. Tusobola okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Ndi mwetegefu okwetoowaza nneetondere muganda wange, nsobole okuzzaawo emirembe naye? Yakuwa ne Yesu banaawulira batya bwe nnaabaako kye nkolawo okuzzaawo emirembe ne muganda wange?’ Engeri gye tuddamu ebibuuzo ebyo ejja kutuleetera okuwuliriza Yesu tutuukirire mukkiriza munnaffe tusobole okuzzaawo emirembe wakati waffe naye. Bwe tukola tutyo, tuba tukoppa Yakobo.
15. Okukolera ku musingi oguli mu Abeefeso 4:2, 3, kiyinza kitya okutuyamba okuzzaawo emirembe ne mukkiriza munnaffe?
15 Teeberezaamu ekyandibaddewo singa Yakobo yayoleka amalala ng’asisinkanye muganda we! Oboolyawo ebyandivuddemu tebyandibadde birungi. Bwe tugenda eri muganda waffe okuzzaawo emirembe, tusaanidde okuba abeetoowaze. (Soma Abeefeso 4:2, 3.) Engero 18:19 wagamba nti: “Kyangu okuwamba ekibuga ekiriko bbugwe okusinga okusemberera ow’oluganda anyiize, era wabaawo ennyombo eziringa ebisiba eby’ekigo.” Bwe tuba abeetoowaze ne twetondera muganda waffe, kiyinza okumuyamba okuba omwetegefu okuzzaawo emirembe.
16. Kiki ekirala kye tusaanidde okulowoozaako, era lwaki?
16 Ate era tusaanidde okulowooza ennyo ku ebyo bye tunaayogera nga tuli ne muganda waffe gwe twagala okutabagana naye, n’engeri gye tunaabyogeramu. Tusaanidde okwogera naye mu ngeri eneemuyamba okuba omwetegefu okuzzaawo emirembe naffe. Mu kusooka ayinza okwogera ebitunyiiza. Mu mbeera ng’eyo tuyinza okunyiiga oba okwewolereza. Naye ekyo tekisobola kutuyamba kuzzaawo mirembe. Kijjukire nti okuzzaawo emirembe ne muganda wo kisinga okulaga ani mutuufu oba omukyamu.—1 Kol. 6:7.
17. Kiki ky’oyigidde ku Gilbert?
17 Ow’oluganda ayitibwa Gilbert yafuba nnyo okuzzaawo emirembe. Agamba nti: “Nnalina obutakkaanya obw’amaanyi ne muwala wange. Okumala ebbanga erisukka mu myaka ebiri, nnafuba nnyo okwogera naye ku butakkaanya obwo mu bukkakkamu tusobole okuzzaawo enkolagana ennungi gye twalina.” Kiki ekirala Gilbert kye yakola? Agamba nti: “Bwe nnabanga sinnayogera ne muwala wange, nnasabanga Yakuwa era nneeteekateekanga mu birowoozo nneme kunyiiga ng’alina ebigambo ebitali birungi by’ayogedde. Nnalina okuba omwetegefu okusonyiwa. Ate era nnayiga nti ekikulu si kwe kulaga nti nze mutuufu wabula okuzzaawo emirembe.” Biki ebyavaamu? Gilbert agamba nti: “Kati nnina emirembe mu mutima, olw’enkolagana ennungi gye nnina n’ab’omu maka gange bonna.”
18-19. Bwe tuba nga tulina omuntu gwe twanyiiza, kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola, era lwaki?
18 Kiki ky’osaanidde okukola bw’okizuula nti olina mukkiriza munno gwe wanyiiza? Kolera ku bulagirizi Yesu bwe yatuwa obukwata ku ngeri y’okuzzaawo emirembe. Tegeeza Yakuwa ku nsonga eyo, era musabe akuwe omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe okuzzaawo emirembe. Bw’onookola bwotyo, ojja kuba musanyufu, era ojja kuba okiraga nti owuliriza Yesu.—Mat. 5:9.
19 Tuli basanyufu okuba nti Yakuwa atuwa obulagirizi okuyitira mu Yesu Kristo, “omutwe gw’ekibiina.” (Bef. 5:23) Ka tube bamalirivu ‘okumuwuliriza’ okufaananako Peetero, Yakobo, ne Yokaana. (Mat. 17:5) Tulabye nti engeri emu gye tusobola okukikolamu kwe kufuba okuzzaawo emirembe ne bakkiriza bannaffe. Bwe tunaakola bwe tutyo, era ne tusigala mu kkubo ery’akanyigo erigenda mu bulamu, tujja kufuna emikisa mingi kati era tujja kufuna obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso.
OLUYIMBA 130 Sonyiwanga
a Yesu atukubiriza okutambulira mu kkubo ery’akanyigo erituusa mu bulamu obutaggwaawo. Ate era atukubiriza okuba mu mirembe ne bakkiriza bannaffe. Kusoomooza ki kwe tuyinza okwolekagana nakwo nga tugezaako okukolera ku kubuulirira okwo, era tuyinza kukuvvuunuka tutya?
b Laba ekibuuzo 6: “Nnyinza Ntya Obutatwalirizibwa Kupikirizibwa?” mu brocuwa Ebibuuzo 10 Abavubuka Bye Beebuuza Biddibwamu, ne vidiyo ya bukatuuni nga bukubibwa ku lubaawo erina omutwe, Ziyiza Okupikirizibwa! ku www.jw.org. (Genda ku ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI > ABAVUBUKA.)
c Amannya agamu gakyusiddwa.
d EBIFAANANYI: Bwe tusigala mu kkubo ‘ery’akanyigo’ Yakuwa ly’ataddeko olukomera okutukuuma, twewala ebizibu, gamba ng’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, n’okuluubirira obuyigirize obwa waggulu.
e EBIFAANANYI: Olw’okuba Yakobo yali ayagala okuzzaawo emirembe, yavunnamira muganda we Esawu enfunda n’enfunda.