Otuukagana n’Embeera?
1. Kiki kye tusaanidde okukola, okuva bwe kiri nti embeera y’ensi ekyukakyuka?
1 Mu 1 Abakkolinso 7:31, Bayibuli egeraageranya ensi ku siteegi okuzannyirwa omuzannyo ogulimu ebitundu eby’enjawulo. Olw’okuba embeera y’ensi ekyukakyuka, naffe tulina okukyusakyusaamu enteekateeka zaffe, engeri gye tubuuliramu, n’ennyanjula zaffe. Oli mwetegefu okutuukagana n’embeera?
2. Lwaki tusaanidde okukyusakyusa mu ngeri gye tubuuliramu okusobola okutambulira awamu n’ekibiina kya Yakuwa?
2 Engeri gy’Obuuliramu: Ekibiina Ekikristaayo kituukagana n’embeera ebaawo. Mu kusooka, Yesu bwe yatuma abayigirizwa be okugenda okubuulira, yabagamba obutatwala bya kulya oba ssente. (Mat. 10:9, 10) Naye nga wayiseewo ekiseera, yabagamba okusitula eby’okukozesa olw’okuba yamanya nti abayigirizwa be bandiyiganyiziddwa, era n’omulimu gw’okubuulira gwandituuse ne mu bitundu ebirala. (Luk. 22:36) Mu kyasa ekiyise, ekibiina kya Yakuwa kizze kikozesa engeri ez’enjawulo ez’okubuulira, gamba ng’okukozesa ebipande, emikutu gya rediyo, n’emmotoka eziriko emizindaalo. Okuva bwe kiri nti bwe tuba tubuulira nnyumba ku nnyumba abantu abasinga obungi tetubasanga waka, tutera okukubirizibwa okubuulira embagirawo ne mu bifo ebya lukale. Ate era tutera n’okukubirizibwa okubuulira nnyumba ku nnyumba mu biseera eby’akawungeezi. Eggaali lya Yakuwa bwe likyusa ekkubo, ofuba okutambulira wamu nalyo?—Ez. 1:20, 21.
3. Okutuukagana n’embeera kituyamba kitya mu buweereza bwaffe?
3 Ennyanjula Yo: Bintu ki abantu b’omu kitundu kye mubuuliramu bye balowoozaako? Bikwata ku maka, ku bya nfuna, oba ku bumenyi bw’amateeka? Okumanya ebizibu abantu b’omu kitundu kye tubuuliramu bye balina kijja kutusobozesa okutegeka ennyanjula ezituukirawo. (1 Kol. 9:20-23) Oyo gwe tuba tubuulira bw’ayogera ekimweraliikiriza, kiba kirungi okwogera ku ekyo mu kifo ky’okulemera ku nnyanjula gye tuba twategese.
4. Lwaki twandifubye okutuukagana n’embeera yonna ebaawo?
4 Mu kiseera ekitali kya wala, wajja kubaawo ekibonyoobonyo ekinene. “Ekiseera ekisigaddeyo kitono.” (1 Kol. 7:29) Nga kikulu nnyo okutuukagana n’embeera yonna ebaawo kitusobozese okutuukiriza obuweereza bwaffe mu bujjuvu mu kiseera kino ekitono ekisigaddeyo!