-
Beetegefu Okubuulira ne bwe Bandibadde BayigganyizibwaYesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
-
-
Mu butuufu, abagoberezi ba Yesu bayinza okwolekagana n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi, naye Yesu abagamba nti: “Bwe babawangayo temweraliikiriranga bwe mulyogera oba kye mulyogera; mu kiseera ekyo muliweebwa eky’okwogera; kubanga si mmwe muliba mwogera, wabula omwoyo gwa Kitammwe gwe gulyogerera mu mmwe.” Agattako nti: “Ow’oluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w’omwana aliwaayo omwana we, n’abaana balyefuulira bazadde baabwe ne babawaayo okuttibwa. Era mulikyayibwa abantu bonna olw’erinnya lyange; naye oyo aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.”—Matayo 10:19-22.
-
-
Beetegefu Okubuulira ne bwe Bandibadde BayigganyizibwaYesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
-
-
Ng’obulagirizi Yesu bw’awa awamu n’okulabula kw’awa abatume 12 birungi nnyo! Mu butuufu, obulagirizi obwo bwa kuyamba n’abagoberezi be abalala abajja okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’oluvannyuma lw’okufa kwe n’okuzuukira kwe. Kino kyeyolekera mu ky’okuba nti agamba nti abagoberezi be ‘ba kukyayibwa abantu bonna,’ so si abo bokka abatume be bandibadde babuulira. Okugatta ku ekyo, Bayibuli terina w’ekiragira nti abatume baasimbibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka mu kiseera ekitono kye baamala nga Yesu abatumye okubuulira mu Ggaliraaya era Bayibuli teraga nti mu kiseera ekyo ab’eŋŋanda zaabwe baabawaayo okuttibwa.
Kya lwatu nti mu kugamba abatume ebigambo ebyo, Yesu alowooza ku biseera eby’omu maaso. Lowooza ku ky’okuba nti agamba nti abayigirizwa be tebagenda kumalako kitundu kyonna kye balina kubuuliramu “ng’Omwana w’omuntu tannatuuka.” Yesu akiraga nti abayigirizwa be tebajja kumaliriza kubuulira bikwata ku Bwakabaka bwa Katonda nga Kabaka Yesu Kristo tannajja ng’omulamuzi Katonda gw’alonze.
-