ESSUULA 38
Yokaana Ayagala Yesu Amukakase Obanga Ye Masiya
YOKAANA AYAGALA OKUMANYA EKYO YESU KY’ALI
YESU ATENDEREZA YOKAANA
Yokaana Omubatiza amaze omwaka nga gumu n’ekitundu ng’asibiddwa mu kkomera. Wadde kiri kityo, awulira ku byamagero Yesu by’akola. Lowooza ku ngeri Yokaana gy’awuliramu ng’abayigirizwa be bamugambye nti Yesu azuukizza mutabani wa nnamwandu e Nayini. Naye Yokaana ayagala Yesu kennyini amutegeeze ebyo byonna kye bitegeeza. Bw’atyo, Yokaana atuma abayigirizwa be babiri okugenda eri Yesu bamubuuze nti: “Ye ggwe Wuuyo gwe tubadde tulindirira, oba tulindirire omulala?”—Lukka 7:19.
Ekibuuzo ekyo kyanditwewuunyisizza? Yokaana musajja mwesigwa, era emyaka ng’ebiri emabega bwe yali abatiza Yesu yalaba omwoyo gwa Katonda nga gukka ku Yesu era n’awulira nga Katonda asiima Yesu. Tetusobola kugamba nti okukkiriza kwa Yokaana kukendedde. Singa kibadde kityo, Yesu teyandimutenderezza nga bw’akola kati. Naye bwe kiba nti Yokaana taliimu kubuusabuusa, lwaki abuuza ekibuuzo ekyo?
Yokaana ayinza okuba ng’ayagala bwagazi kufuna bukakafu okuva eri Yesu kennyini obulaga nti ye Masiya. Ekyo kyandizzizzaamu nnyo Yokaana amaanyi ng’ali mu kkomera. Ate era ekibuuzo kya Yokaana kiyinza okuba nga kirina amakulu amalala. Yokaana amanyi bulungi obunnabbi bwa Bayibuli obulaga nti Masiya yandibadde kabaka era mununuzi. Kyokka, emyezi egiwerako giyiseewo bukya Yesu abatizibwa, naye Yokaana akyali mu kkomera. Bwe kityo, Yokaana yeebuuza obanga waliwo omulala agenda okujja, adde mu bigere bya Yesu, atuukirize mu bujjuvu ebyo byonna ebyayogerwa ku Masiya.
Mu kifo ky’okugamba obugambi abayigirizwa ba Yokaana nti, ‘Ye nze eyali ow’okujja,’ Yesu akiraga nti Katonda ali wamu naye ng’ayogera ku ky’okuba nti amusobozesezza okuwonya abantu endwadde eza buli ngeri. Agamba abayigirizwa abo nti: “Mugende mubuulire Yokaana bye muwulira ne bye mulaba: Abazibe b’amaaso balaba, abalema batambula, abagenge bawona ne balongooka, bakiggala bawulira, abafu bazuukizibwa, n’abaavu babuulirwa amawulire amalungi.”—Matayo 11:4, 5.
Mu kubuuza ekibuuzo ekyo, Yokaana ayinza okuba ng’asuubira Yesu okukola ebisinga ku ebyo by’akola kati, oboolyawo ng’asuubira okuba nti Yesu ajja kumununula okuva mu kkomera. Naye Yesu ayagala Yokaana aleme kusuubira byamagero ebisukka ku ebyo.
Abayigirizwa ba Yokaana bwe bagenda, Yesu agamba ekibiina ky’abantu nti Yokaana asingawo ne ku ky’okuba nti nnabbi. Akiraga nti ye ‘mubaka’ wa Yakuwa ayogerwako mu Malaki 3:1. Ate era ye nnabbi Eriya ayogerwako mu Malaki 4:5, 6. Yesu agamba nti: “Mazima mbagamba nti, mu abo abaazaalibwa abakazi, tewabangawo muntu asinga Yokaana Omubatiza; kyokka oyo asembayo okuba owa wansi mu Bwakabaka obw’omu ggulu amusinga.”—Matayo 11:11.
Mu kugamba nti oyo asembayo okuba owa wansi mu Bwakabaka obw’omu ggulu asinga Yokaana, Yesu akiraga nti Yokaana tali omu ku abo abajja okufugira awamu naye mu ggulu. Yokaana yateekerateekera Yesu ekkubo naye afa nga Kristo tannaggulawo kkubo eriyingira mu ggulu. (Abebbulaniya 10:19, 20) Kyokka Yokaana, nnabbi wa Katonda mwesigwa, era ajja kubeera ku nsi ng’afugibwa Obwakabaka bwa Katonda.