-
Bakoowu Naye TebaddiriraOmunaala gw’Omukuumi—2004 | Ssebutemba 1
-
-
1, 2. (a) Abo bonna abaagala okusinza okw’amazima bakubirizibwa kukola ki? (b) Kiki ekiyinza okuba eky’akabi eri enkolagana yaffe ne Yakuwa?
NG’ABAYIGIRIZWA ba Yesu, tumanyi bulungi ebigambo bye bino ebizzaamu amaanyi: “Mujje gye ndi, mmwe mmwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. . . . Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n’omugugu gwange mwangu.” (Matayo 11:28-30) Ate era, ‘Yakuwa awa Abakristaayo ebiro eby’okuwummuzibwa.’ (Ebikolwa 3:19) Awatali kubuusabuusa, naawe kennyini ofunye obuweerero olw’okuyiga amazima g’omu Baibuli, olw’okuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso, n’olw’okussa mu nkola emisingi gya Baibuli mu bulamu bwo.
2 Kyokka, abamu ku abaweereza ba Yakuwa bafuna ebirowoozo ebibaleetera okukoowa. Emirundi egimu ebirowoozo ebyo bimala akaseera katono, ate oluusi biyinza okumala ekiseera kiwanvu. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, abamu bayinza okuwulira nti obuvunaanyizibwa bwabwe obw’Ekikristaayo bubafuukidde mugugu mu kifo ky’okubazzaamu amaanyi nga Yesu bwe yasuubiza. Enneewulira ng’eyo embi, eyinza okuba ey’akabi eri enkolagana Omukristaayo gy’alina ne Yakuwa.
-
-
Bakoowu Naye TebaddiriraOmunaala gw’Omukuumi—2004 | Ssebutemba 1
-
-
Obukristaayo Tebunyigiriza
5. Bigambo ki ebirabika ng’ebikontana ebikwata ku kubeera Omukristaayo?
5 Kyo kituufu nti okubeera Omukristaayo kyetaagisa okufuba okw’amaanyi. (Lukka 13:24) Ne Yesu yagamba nti: “Buli ataasitulenga [muti] gwe ye, n’ajja ennyuma wange, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.” (Lukka 14:27) Bw’oba tofumiitirizza nnyo, ebigambo bino biyinza okulabika ng’ebikontana n’ekyo Yesu kye yayogera ekikwata ku kikoligo kye okuba nti kiwewuka era nti kizzaamu amaanyi. Naye ekituufu kiri nti, tebikontana.
6, 7. Lwaki kiyinza okugambibwa nti okusinza kwaffe tekukooya?
6 Wadde ng’okukola ennyo kikooya mu mubiri, naye kireeta okumatira era kizzaamu amaanyi kasita kiba nti ebivaamu biganyula. (Omubuulizi 3:13, 22) Kintu ki ekiganyula okusinga okubuulira abalala amazima g’omu Baibuli? Kyo kituufu nti si kyangu okutambuliza obulamu bwaffe ku misingi gya Katonda egy’eby’empisa, naye emiganyulo egivaamu mingi nnyo. (Engero 2:10-20) Ne bwe tuba nga tuyigganyizibwa, tukitwala nti nkizo okubonaabona ku lw’Obwakabaka bwa Katonda.—1 Peetero 4:14.
7 Mazima ddala, omugugu gwa Yesu guwummuza naddala bw’olowooza ku kizikiza eky’eby’omwoyo abo abali mu kikoligo ky’amadiini ag’obulimba kye balimu. Katonda atwagala nnyo era tatusaba kukola bye tutasobola kutuukiriza. ‘Ebiragiro bya Yakuwa tebizitowa.’ (1 Yokaana 5:3) Nga bwe kiragibwa mu Byawandiikibwa, Obukristaayo obw’amazima tebunyigiriza. Kya lwatu, okusinza kwaffe tekukooya, era tekumalaamu maanyi.
-