ESSUULA 39
Zisanze Omulembe Omukakanyavu
YESU ANENYA EBIBUGA
AZZAAMU ABALALA AMAANYI
Yesu assa ekitiibwa mu Yokaana Omubatiza, naye abantu abasinga obungi batwala batya Yokaana? Yesu agamba nti: “Abantu b’omulembe guno nnaabageraageranya ku ani? Balinga abaana abato abatuula mu katale ne bakoowoola bannaabwe, nga babagamba nti, ‘Twabafuuyira endere ne mutazina; twakuba ebiwoobe, ne mutanakuwala.’”—Matayo 11:16, 17.
Kiki Yesu ky’ategeeza? Agamba nti: “Yokaana yajja nga talya era nga tanywa, naye abantu ne bagamba nti, ‘Aliko dayimooni.’ Omwana w’omuntu yajja ng’alya era ng’anywa, naye abantu ne bagamba nti: ‘Laba! Omusajja ow’omululu era omutamiivu, mukwano gw’abasolooza omusolo n’aboonoonyi.’” (Matayo 11:18, 19) Yokaana abadde musajja Munaziri, nga tanywa mwenge, naye abantu ne bagamba nti aliko dayimooni. (Okubala 6:2, 3; Lukka 1:15) Kyokka ate Yesu akola ebintu ebimu abantu aba bulijjo bye bakola. Alya era anywa mu ngeri esaana, naye abantu bagamba nti wa mululu. Kirabika tekisoboka kusanyusa bantu abo.
Yesu ageraageranya abantu b’omulembe ogwo ku ‘baana abato abatuula mu katale’ abagaana okuzina nga bannaabwe babafuuyira endere era abagaana okunakuwala nga bannaabwe bakuba ebiwoobe. Naye Yesu agamba nti: “Ebintu eby’obutuukirivu omuntu by’akola bye biraga nti wa magezi.” (Matayo 11:16, 19) Mu butuufu, “ebintu” Yokaana ne Yesu bye bakola biraga nti abantu bye baboogerako si bituufu.
Oluvannyuma lw’okukiraga nti omulembe ogwo mukakanyavu, Yesu anenya ebibuga Kolaziini, Besusayida, ne Kaperunawumu, gye yakolera ebyamagero ebingi. Yesu agamba nti singa ebyamagero ebyo yali abikoledde mu Ttuulo ne Sidoni, ebibuga by’e Foyiniikiya, abantu b’omu bibuga ebyo bandyenenyezza. Ate era ayogera ku Kaperunawumu, gy’abadde abeera okumala ekiseera. Ne mu kibuga ekyo, abantu abasinga obungi bagaana okumukkiriza. Ng’ayogera ku kibuga ekyo, Yesu agamba nti: “Ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango ekibonerezo kyo kiriba kinene nnyo okusinga ekya Sodomu.”—Matayo 11:24.
Oluvannyuma Yesu atendereza Kitaawe, akweka amazima ag’omuwendo ennyo “abagezi n’abayivu” naye n’agabikkulira abantu aba wansi, abalinga abaana abato. (Matayo 11:25) Yesu agamba abo abalinga abaana abato nti: “Mujje gye ndi mmwe mmwenna abategana era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange era muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima, era mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe. Kubanga ekikoligo kyange kyangu okusitula n’omugugu gwange si muzito.”—Matayo 11:28-30.
Yesu ayamba atya abantu okufuna ekiwummulo? Abakulembeze b’eddiini banyigiriza abantu nga babawaliriza okukolera ku bulombolombo bwe baateekawo, nga mw’otwalidde n’olukunkumuli lw’amateeka ge baateekawo agakwata ku Ssabbiiti. Naye Yesu aleetera abantu ekiwummulo ng’abayigiriza amazima agakwata ku Katonda, agataliimu bulombolombo obwo. Ate era ayamba abo abawulira nga banyigirizibwa ab’obuyinza oba abawulira nga baweddemu amaanyi olw’obutali butuukirivu bwabwe, okumanya engeri gye bayinza okufunamu obuweerero. Mu butuufu, Yesu abayamba okulaba engeri ebibi byabwe gye bisobola okusonyiyibwa n’engeri gye basobola okuba mu mirembe ne Katonda.
Abo bonna abakkiriza okwetikka ekikoligo kya Yesu basobola okwewaayo okuweereza Katonda, Kitaffe omusaasizi era ow’ekisa. Ekyo si kizibu, kubanga ebiragiro bya Katonda tebizitowa.—1 Yokaana 5:3.