ESSUULA 43
Baganda Baffe ne Bannyinaffe Be Baani?
LUMU, Omuyigiriza Omukulu yabuuza ekibuuzo ekyewuunyisa. Yabuuza nti: “Maama wange ne baganda bange be baani?” (Matayo 12:48) Wandisobodde okuddamu ekibuuzo ekyo?— Oboolyawo okimanyi nti maama wa Yesu yali ayitibwa Maliyamu. Naye omanyi amanya ga baganda be?— Olowooza yalina ne bannyina?—
Bayibuli egamba nti baganda ba Yesu baali “Yakobo, Yusufu, Simooni ne Yuda.” Mu kiseera Yesu we yakolera omulimu gw’okubuulira, ne bannyina baaliwo nga balamu. Okuva bwe kiri nti Yesu ye yali omuggulanda, abo bonna baali bato be.—Matayo 13:55, 56; Lukka 1:34, 35.
Ne baganda ba Yesu baali bayigirizwa be?— Bayibuli egamba nti mu kusooka baali “tebamukkiririzaamu.” (Yokaana 7:5) Naye oluvannyuma lw’ekiseera, Yakobo ne Yuda baafuuka bayigirizwa be, era baawandiika n’ebitabo ebimu ebya Bayibuli. Omanyi ebitabo bye baawandiika?— Baawandiika ekitabo kya Yakobo n’ekitabo kya Yuda.
Wadde nga Bayibuli teyogera mannya ga bannyina ba Yesu, tumanyi nti yalina nga babiri. Naye ayinza n’okuba nga yalina n’abalala. Bannyina ba Yesu abo nabo baafuuka bagoberezi be?— Ekyo Bayibuli tekyogerako, n’olwekyo tetumanyi. Naye omanyi ensonga lwaki Yesu yabuuza nti, “Maama wange ne baganda bange be baani?”— Ka tulabe.
Yesu bwe yali ayigiriza abayigirizwa be, waliwo omuntu eyajja n’amugamba nti: “Maama wo ne baganda bo bayimiridde wabweru baagala kwogerako naawe.” Awo Yesu yakozesa akakisa ako okubaako ekintu ekikulu ennyo ky’ayigiriza. Yabuuza ekibuuzo kino ekyewuunyisa: “Maama wange ne baganda bange be baani?” Yagolola omukono gwe eri abayigirizwa be n’agamba nti: “Laba! Maama wange ne baganda bange!”
Oluvannyuma Yesu yannyonnyola kye yali ategeeza, ng’agamba nti: “Buli akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala ye muganda wange, mwannyinaze era maama wange.” (Matayo 12:47-50) Kino kiraga nti Yesu yali ayagala nnyo abayigirizwa be. Yesu yali atuyigiriza nti abayigirizwa be baali nga baganda be bennyini ab’omubiri, bannyina, era bamaama be.
Mu kiseera ekyo baganda ba Yesu ab’omubiri—Yakobo, Yusufu, Simooni, ne Yuda—baali tebakkiriza nti Yesu Mwana wa Katonda. Bateekwa okuba nga tebakkiriza ebyo malayika Gabulyeri bye yagamba maama waabwe. (Lukka 1:30-33) N’olwekyo bayinza okuba nga baayisanga bubi Yesu. Omuntu yenna eyeeyisa bw’atyo taba muganda wo yennyini oba mwannyoko. Waliwo omuntu gw’omanyi ataayagalanga muganda we oba mwannyina?—
Bayibuli etubuulira ebikwata ku Esawu ne Yakobo era n’engeri Esawu gye yanyiiga ennyo n’atuuka n’okugamba nti: ‘Ŋŋenda kutta muganda wange Yakobo.’ Maama waabwe, Lebbeeka, yatya nnyo era n’agamba Yakobo ave awaka Esawu aleme okumutta. (Olubereberye 27:41-46) Naye nga wayiseewo emyaka mingi, Esawu yakyusa endowooza ye, era yagwa Yakobo mu kifuba n’amunywegera.—Olubereberye 33:4.
Yakobo yalina abaana abalenzi 12. Naye batabani ba Yakobo abakulu baali tebaagala muganda waabwe omuto Yusufu. Baamukwatirwa obuggya olw’okuba taata waabwe yali amwagala nnyo. N’olwekyo baamutunda eri abasuubuzi ba baddu abaali bagenda e Misiri. Oluvannyuma baagamba kitaabwe nti Yusufu yali attiddwa ensolo enkambwe. (Olubereberye 37:23-36) Ekyo tekyali kibi nnyo?—
Nga wayiseewo ekiseera, baganda ba Yusufu beenenya olw’ekyo kye baakola. N’olwekyo Yusufu yabasonyiwa. Olaba engeri Yusufu gye yali nga Yesu?— Abatume ba Yesu baamuddukako ng’akwatiddwa, era ne Peetero yamwegaana. Kyokka, okufaananako Yusufu, Yesu yabasonyiwa bonna.
Era Bayibuli etubuulira ebikwata ku b’oluganda ababiri Kayini ne Abbeeri. Nabo tusobola okubaako kye tubayigirako. Katonda yalaba nga Kayini tayagalira ddala muganda we. N’olwekyo Katonda yagamba Kayini okukyusa mu nneeyisa ye. Singa Kayini yali ayagala Katonda, yandimuwuliriza. Naye yali tayagala Katonda. Lumu Kayini yagamba Abbeeri nti: ‘Tugende mu nnimiro.’ Abbeeri yagenda ne Kayini. Bwe baali nga bali bokka mu nnimiro, Kayini yakuba nnyo muganda we n’amutta.—Olubereberye 4:2-8.
Bayibuli egamba nti waliwo ekintu ekikulu ennyo kye tuyigira ku ekyo. Okimanyi?— ‘Buno bwe bubaka bwe mwawulira okuva ku lubereberye: Tusaanidde okwagalana; tetusaanidde kuba nga Kayini eyava eri omubi.’ N’olwekyo ab’oluganda basaanidde okwagalana. Tebasaanidde okuba nga Kayini.—1 Yokaana 3:11, 12.
Lwaki si kirungi okuba nga Kayini?— Kubanga Bayibuli egamba nti ‘yava eri omubi,’ Sitaani Omulyolyomi. Okuva bwe kiri nti Kayini yeeyisa ng’Omulyolyomi, Omulyolyomi ye yali nga kitaawe.
Otegedde ensonga lwaki kikulu okwagala baganda bo ne bannyoko?— Bw’oba nga tobaagala, oba okoppa baana b’ani?— Abaana b’Omulyolyomi. Tewandyagadde kuba ng’omu ku baana abo, wandyagadde?— Kati olwo, oyinza otya okulaga nti oyagala okuba omwana wa Katonda?— Ng’oyagalira ddala baganda bo ne bannyoko.
Naye okwagala kye ki?— Okwagala ye nneewulira ey’amaanyi gye tuba nayo etuleetera okwagala okukolera abalala ebintu ebirungi. Bwe tuba n’endowooza ennungi ku bantu abalala era nga tubakolera ebirungi, tuba tulaga nti tubaagala. Kati olwo, baganda baffe ne bannyinaffe be tusaanidde okwagala be baani?— Jjukira, Yesu yayigiriza nti be baganda baffe Abakristaayo abali mu nsi yonna.
Lwaki kikulu nnyo okwagala baganda baffe ne bannyinaffe Abakristaayo?— Bayibuli egamba nti: “Oyo atayagala muganda we [oba mwannyina] gw’alabako, tayinza kwagala Katonda gw’atalabangako.” (1 Yokaana 4:20) N’olwekyo tetusaanidde kwagala ba luganda bamu na bamu. Wabula tulina okwagala bonna. Yesu yagamba: “Ku kino bonna kwe bajja okutegeerera nti muli bayigirizwa bange bwe munaayagalananga.” (Yokaana 13:35) Oyagala ab’oluganda bonna?— Kijjukire nti bw’oba nga tobaagala, toyinza kuba nga ddala oyagala Katonda.
Tuyinza tutya okulaga nti twagalira ddala baganda baffe ne bannyinaffe?— Bwe tuba tubaagala, tetujja kubeeyawulako olw’okuba tetwagala kwogera nabo. Bonna tujja kubatwala nga mikwano gyaffe. Tujja kubakoleranga ebirungi era tujja kuba beetegefu okubawa ku bye tulina. Era singa baba mu buzibu, tujja kubayamba kubanga ffenna tuli ba luganda.
Bwe kiba nti ddala twagala baganda baffe ne bannyinaffe, ekyo kiba kiraga ki?— Kiba kiraga nti tuli bayigirizwa ba Yesu, Omuyigiriza Omukulu. Ekyo si kye twandyagadde okuba?—
Soma ebyawandiikibwa bino ebirala ebitukubiriza okwagala baganda baffe ne bannyinaffe. Abaggalatiya 6:10 ne 1 Yokaana 4:8, 21.