ESSUULA 42
Yesu Anenya Abafalisaayo
MATAYO 12:33-50 MAKKO 3:31-35 LUKKA 8:19-21
YESU AYOGERA KU ‘KABONERO KA YONA’
ABAYIGIRIZWA BE BA KU LUSEGERE OKUSINGA AB’EŊŊANDA ZE
Mu kugaana okukkiriza nti Yesu agoba dayimooni ng’akozesa amaanyi ga Katonda, abawandiisi n’Abafalisaayo boolekedde okuvvoola omwoyo omutukuvu. Bwe kityo, balina okusalawo obanga banaaba ku ludda lwa Katonda oba ku lwa Sitaani. Yesu agamba nti: “Bwe muba muti mulungi n’ebibala byammwe bijja kuba birungi; naye bwe muba muti mubi, n’ebibala byammwe bijja kuba bibi; kubanga omuti gutegeererwa ku bibala byagwo.”—Matayo 12:33.
Si kya magezi okulowooza nti ekikolwa ekirungi eky’okugoba dayimooni Yesu akikoze mu maanyi ga Sitaani. Nga Yesu bwe yakiraga mu kubuulira kwe okw’oku Lusozi, omuti bwe guba omulungi, n’ebibala byagwo biba birungi, so si bibi. N’olwekyo, okuba nti Abafalisaayo bamuwaayiriza kiraga ki? Kiraga nti babi. Yesu abagamba nti: “Mmwe abaana b’emisota egy’obusagwa, muyinza okwogera ebintu ebirungi nga muli babi? Ebintu ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.”—Matayo 7:16, 17; 12:34.
Mu butuufu, ebyo bye twogera biraga ekyo ekiri mu mutima gwaffe, era bisinziirwako nnyo nga tulamulwa. Bwe kityo, Yesu agamba nti: “Naye mbagamba nti buli kigambo ekitaliimu nsa abantu kye boogera kiribavunaanibwa ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango; kubanga olw’ebigambo byammwe muliyitibwa abatuukirivu, era olw’ebigambo byammwe, mulisalirwa omusango.”—Matayo 12:36, 37.
Wadde nga Yesu akoze ebyamagero bingi, abawandiisi n’Abafalisaayo baagala akoleyo ebyamagero ebirala. Bamugamba nti: “Omuyigiriza, twagala otulage akabonero.” Ka kibe nti baali bamulabyeko ng’akola ebyamagero oba nedda, waliwo obukakafu bungi obulaga nti akola eby’amagero. Eyo ye nsonga lwaki Yesu agamba abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abo nti: “Omulembe guno omubi era ogutali mwesigwa gwagala okulaba akabonero, naye tewali kabonero kaliguweebwa okuggyako aka nnabbi Yona.”—Matayo 12:38, 39.
Yesu tabaleka awo nga beebuuza ky’ategeeza. Abagamba nti: “Nga Yona bwe yali mu lubuto lw’ekyennyanja ekinene ennaku ssatu, emisana n’ekiro, n’Omwana w’omuntu ajja kumala ennaku ssatu mu ttaka, emisana n’ekiro.” Ekyennyanja ekinene kyamira Yona, naye bwe yava mu kyennyanja ekyo, yali ng’azuukidde. Yesu akiraga nti ajja kuttibwa era ku lunaku olw’okusatu azuukizibwe. Ekyo bwe kituukirira oluvannyuma, abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya bagaana okukkiriza ‘akabonero ka Yona,’ kwe kugamba, bagaana okwenenya n’okulekayo amakubo gaabwe amabi. (Matayo 27:63-66; 28:12-15) Obutafaananako bakulembeze ba ddiini abo, “abantu b’omu Nineeve” bo beenenya nga Yona ababuulidde. Mu ngeri eyo, bajja kusingisa omulembe guno omusango. Ate era Yesu agamba nti kabaka omukazi ow’e Seba naye ajja kubasalira omusango. Yayagala nnyo okuwulira ebigambo bya Sulemaani eby’amagezi era yabyewuunya nnyo. Oluvannyuma Yesu agamba nti: “Oyo asinga Sulemaani ali wano.”—Matayo 12:40-42.
Yesu ageraageranya omulembe guno omubi ku muntu avaamu omwoyo omubi. (Matayo 12:45) Olw’okuba omuntu oyo talina kintu kirungi ky’atadde mu kifo omwoyo ogwo omubi we guvudde, omwoyo ogwo gukomawo era ne guleetayo n’emyoyo emirala musanvu egigusinga obubi ne giyingira mu muntu oyo ne gibeera omwo. Mu ngeri y’emu, eggwanga lya Isirayiri lyali liyonjeddwa era nga likyusiddwa. Naye eggwanga eryo lyagaana okukkiriza bannabbi ba Katonda, ne lituuka n’okuziyiza Yesu, oyo akyolese obulungi nti aliko omwoyo gwa Katonda. Ekyo kiraga nti embeera y’eggwanga eryo mbi nnyo n’okusinga bwe kyali mu kusooka.
Yesu bw’aba ayogera, maama we ne baganda be batuuka era ne bayimirira okumpi n’ekibiina ky’abantu. Abamu ku abo abatudde okumpi ne Yesu bamugamba nti: “Maama wo ne baganda bo bayimiridde wabweru, baagala okukulaba.” Awo Yesu akiraga nti abayigirizwa be abatwala nga baganda be, bannyina, era bamaama be. Yesu agolola omukono gwe eri abayigirizwa be n’agamba nti: “Maama wange ne baganda bange beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako.” (Lukka 8:20, 21) Mu ngeri eyo, Yesu akiraga nti wadde ng’ayagala nnyo ab’eŋŋanda ze, enkolagana gy’alina n’abayigirizwa be ya muwendo nnyo gy’ali okusinga eyo gy’alina eri ab’eŋŋanda ze. Bwe tuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne bakkiriza bannaffe kituzzaamu nnyo amaanyi, naddala abalala bwe baba batuvuma olw’ebintu ebirungi bye tukola.