Sanyukiranga Ebirungi Ebiva mu Kufuba Kwo
1. Kiki ekiyinza okutumalamu amaanyi mu buweereza?
1 Omuntu bw’alaba ebirungi ebiva mu kufuba kwe, kimusanyusa. (Mub. 3:13) Kyokka bwe tulaba nti obuweereza bwaffe tebuvaamu kalungi konna, kiyinza okutumalamu amaanyi ne tulekera awo okubuulira n’obunyiikivu. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu?
2. Lwaki tetwandirowoozezza nti abantu bonna bajja kutuwuliriza?
2 Tosuubira nti Bonna Bajja Kukuwuliriza: Kijjukire nti wadde ng’abantu abakkiriza obubaka bwa Yesu baali batono, obuweereza bwe bwavaamu ebirungi bingi. (Yok. 17:4) Mu lugero lwe olukwata ku musizi, Yesu yalaga nti abantu abasinga obungi tebandikkirizza bubaka bw’Obwakabaka. (Mat. 13:3-8, 18-22) Wadde kiri kityo, okufuba kwaffe kuvaamu ebirungi bingi.
3. Tuyinza tutya ‘okubala ebibala’ wadde ng’abantu abasinga obungi tebasiima bubaka bwaffe?
3 Engeri Gye Tubala Ebibala Ebingi: Okusinziira ku lugero lwa Yesu, abo abakkiriza obubaka bw’Obwakabaka ‘babala ebibala.’ (Mat. 13:23) Omukristaayo tabala bibala ng’afuna abayigirizwa abapya kyokka, wabula nga yeeyongera okusiga ensigo z’Obwakabaka. Ekyo kivaamu ebirungi ebituleetera essanyu ka kibe nti abantu tebasiima bubaka bwaffe. Tuba tutukuza erinnya lya Yakuwa. (Is. 43:10-12; Mat. 6:9) Tuba n’enkizo ey’okukolera awamu ne Katonda. (1 Kol. 3:9) Ate era ekyo kiba ‘kibala eky’emimwa’ ekisanyusa ennyo Yakuwa.—Beb. 13:15, 16.
4. Birungi ki ebiyinza okuva mu buweereza bwaffe nga tetumanyi?
4 Okugatta ku ekyo, okufuba kwaffe kuyinza okuba nga kuvaamu ebirungi naye nga tetukimanyi. Kirabika abamu ku bantu abaawuliriza Yesu ng’abuulira baafuuka abayigirizwa be luvannyuma nga Yesu amalirizza obuweereza bwe obw’oku nsi. Mu ngeri y’emu, ensigo z’Obwakabaka ze tusiga ziyinza obutakulirawo mu mutima gw’omuntu, naye oluvannyuma ayinza okuyiga amazima nga tetutegedde. Mu butuufu, obuweereza bwaffe buvaamu ebirungi bingi. N’olwekyo, ka ffenna tweyongere “okubala ebibala bingi” tukirage nti tuli bayigirizwa ba Yesu.—Yok. 15:8.