Weeyongere Okussa mu Nkola by’Oyize
“Bye mwayiga era ne muweebwa ne muwulira ne mulaba gye ndi, ebyo mubikolenga: ne Katonda ow’emirembe anaabeeranga nammwe.”—ABAFIRIPI 4:9.
1, 2. Okutwalira awamu, Baibuli erina eky’amaanyi ky’ekoze ku bulamu bw’abantu abeegamba nti bannaddiini? Nnyonnyola.
“EDDIINI Yeeyongera Okusimba Amakanda, Kyokka Empisa Zeeyongera Okusereba.” Omutwe guno ogwafulumira mu lupapula lw’amawulire oluyitibwa Emerging Trends, guwumbawumbako ebyava mu kunoonyereza okwakolebwa mu Amerika. Abantu b’omu nsi eyo beeyongedde okugenda mu masinzizo era bagamba nti eddiini kintu kikulu nnyo mu bulamu bwabwe. Kyokka, okunoonyereza kuno kugamba: “Wadde omuwendo ogwo munene, Abamerika bangi babuusabuusa oba nga ddala eddiini erina eky’amaanyi ky’ekoze ku bulamu bw’abantu ssekinnoomu era n’eggwanga lyonna okutwalira awamu.”
2 Embeera eno teri mu ggwanga limu lyokka. Mu nsi yonna, abantu abeegamba nti bakkiririza mu Baibuli era nti bannaddiini, tebakkiriza Byawandiikibwa kubaako eky’amaanyi kye bikola ku bulamu bwabwe. (2 Timoseewo 3:5) Akulira ekibiina ekimu eky’abanoonyereza yagamba: “Tukyateeka nnyo ekitiibwa mu Baibuli, naye bwe kituuka ku ky’okugisoma n’okussa mu nkola by’egamba—ebyo byakoma dda.”
3. (a) Kiki Baibuli ky’ekola ku Bakristaayo ab’amazima? (b) Abagoberezi ba Yesu bateeka batya mu nkola okubuulirira kwa Pawulo okuli mu Abafiripi 4:9?
3 Kyokka, bwe kituuka ku Bakristaayo aba nnamaddala, waliwo enjawulo. Okuteeka mu nkola okubuulirira okuli mu Kigambo kya Katonda, kibaleetedde enkyukakyuka mu ndowooza yaabwe ne mu nneeyisa yaabwe. Era n’abantu abalala banguwa okulaba omuntu omuggya gwe boolesa. (Abakkolosaayi 3:5-10) Abagoberezi ba Kristo, Baibuli tebagitereka buteresi, wabula bagikozesa. Omutume Pawulo yagamba Abakristaayo ab’omu Firipi: ‘Bye mwayiga era ne muweebwa ne muwulira ne mulaba gye ndi, ebyo mubikolenga: ne Katonda ow’emirembe anaabeeranga nammwe.’ (Abafiripi 4:9) Abakristaayo bakola ekisingawo ku kukkiriza obukkiriza amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Bye bayiga mu Baibuli babiteeka mu nkola—ebikwata ku maka, ku mirimu, ku kibiina, era ne mu mbeera endala zonna ez’obulamu.
4. Lwaki si kyangu okuteeka mu nkola amateeka ga Katonda n’emisingi gye?
4 Si kyangu okuteeka mu nkola amateeka ga Katonda n’emisingi gye. Tuli mu nsi eri mu buyinza bwa Setaani Omulyolyomi, Baibuli gw’eyita “katonda ow’emirembe gino.” (2 Abakkolinso 4:4; 1 Yokaana 5:19) N’olwekyo, kikulu nnyo okwekuuma ekintu kyonna ekiyinza okutuziyiza okubeera abagolokofu eri Yakuwa Katonda. Tuyinza tutya okukuuma obugolokofu bwaffe?
Nywezanga “Ekyokulabirako eky’Ebigambo eby’Obulamu”
5. Makulu ki agali mu bigambo bya Yesu: ‘Mungobererenga’?
5 Engeri emu ey’okuteeka mu nkola bye tuyize, etwaliramu okunywerera ku kusinza okw’amazima, wadde nga waliwo okuyigganyizibwa abatakkiriza. Okusobola okugumiikiriza kyetaagisa okufuba. Yesu yagamba: “Omuntu bw’ayagala okujja ennyuma wange, yeefiirize yekka, yeetikke omuti gwe ogw’okubonyaabonya angobererenga.” (Matayo 16:24, NW) Yesu teyagamba nti tulina kumugoberera kumala wiiki emu yokka, oba mwezi, oba mwaka. Wabula yagamba: ‘Mungobererenga.’ Ebigambo bye biraga nti okubeera abayigirizwa be si kintu eky’akaseera obuseera. Okunywerera ku kusinza okw’amazima kitegeeza okugumiikiriza mu kkubo lye tuba tusazeewo okutambuliramu, embeera k’ebeere nzibu etya. Ekyo tuyinza kukikola tutya?
6. Kyakulabirako ki eky’ebigambo eby’obulamu Abakristaayo abaasooka bye baayiga okuva ku Pawulo?
6 Pawulo yakubiriza mukozi munne Timoseewo: “Nywezanga ekyokulabirako eky’ebigambo eby’obulamu bye wawuliranga gye ndi, mu kukkiriza ne mu kwagala okuli mu Kristo Yesu.” (2 Timoseewo 1:13) Pawulo yali ategeeza ki? Ekigambo ky’Oluyonaani wano ekivuunuddwa “ekyokulabirako” kitegeeza ekifaananyi ekitannaba kuggwa ekisiigibwa omusiizi w’ebifaananyi. Wadde nga kiba tekiraga kalonda yenna, omulabi aba asobola okutegeera bwe kinaabeera nga kiwedde. Mu ngeri y’emu, amazima Pawulo ge yayigiriza Timoseewo n’abalala, tegaalina kigendererwa kya kuddamu butereevu buli kibuuzo. Kyokka, okufaananako ekifaananyi ekitannaba kuggwa, okuyigiriza okwo kuwa abantu abeesigwa obulagirizi obumala ne basobola okutegeera Katonda kyabeetaagisa. Kya lwatu, okusobola okusanyusa Katonda, beetaaga okugoberera ekyokulabirako ekyo eky’amazima nga bateeka mu nkola bye bayize.
7. Abakristaayo bayinza batya okunywerera ku kyokulabirako ky’ebigambo eby’obulamu?
7 Mu kyasa ekyasooka, abantu nga Kumenaayo, Alegezanda, ne Fireeto baali bakulaakulanya endowooza eyali ekontana n’ekyokulabirako eky’ebigambo eby’obulamu. (1 Timoseewo 1:18-20; 2 Timoseewo 2:16, 17) Abakristaayo abaasooka bandyewaze batya obutakyamizibwa bakyewaggula? Nga basoma Ebyawandiikibwa n’obwegendereza era ne babiteeka mu nkola mu bulamu bwabwe. Abo abaali bagoberera ekyokulabirako kya Pawulo n’abakkiriza abalala abeesigwa, baasobola okulaba era ne bagaana enjigiriza yonna eyali tekwatagana n’ebyo bye baayigirizibwa. (Abafiripi 3:17; Abaebbulaniya 5:14) Mu kifo ‘ky’okudda mu mpaka n’entalo z’ebigambo,’ beeyongera mu maaso mu kkubo lyabwe ettuufu ery’okutya Katonda. (1 Timoseewo 6:3-6) Naffe tukola kye kimu bwe tuteeka mu nkola amazima ge twayiga. Nga kizzaamu amaanyi okulaba nti obukadde n’obukadde bw’abantu abaweereza Yakuwa mu nsi yonna banywezezza amazima ga Baibuli ge bayigiriziddwa.—1 Abasessaloniika 1:2-5.
Tokkiriza “Nfumo ez’Obulimba”
8. (a) Setaani agezaako atya okusaanyawo okukkiriza kwaffe leero? (b) Kulabula ki Pawulo kwe yawa mu 2 Timoseewo 4:3, 4?
8 Setaani agezaako okusaanyawo obugolokofu bwaffe ng’atuleetera okubuusabuusa ebyo bye tuyigiriziddwa. Leero, nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, bakyewaggula era n’abalala bagezaako okusaanyaawo okukkiriza kw’abantu abatalina bumanyirivu. (Abaggalatiya 2:4; 5:7, 8) Olumu beeyambisa emikutu gy’empuliziganya okusaasaanya ppokopoko oba obulimba ku nkola z’abantu ba Yakuwa n’ebigendererwa byabwe. Pawulo yalabula nti abamu bandiwuguliddwa okuva mu mazima. Yawandiika: “Kubanga ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; naye, amatu nga gabasiiwa, balikuŋŋaanya abayigiriza ng’okwegomba kwabwe bo bwe kuli; baliziba amatu [gaabwe] okulekanga amazima, balikyama okugobereranga enfumo [ez’obulimba].”—2 Timoseewo 4:3, 4.
9. Pawulo ayinza okuba nga yali ategeeza ki bwe yayogera ku “nfumo ez’obulimba”?
9 Mu kifo ky’okunywerera ku kyokulabirako eky’ebigambo eby’obulamu, abamu baasikirizibwa “enfumoez’obulimba.” Enfumo ezo ez’obulimba ze ziruwa? Oboolyawo ezimu ku nfumo Pawulo ze yali ayogerako zifaananako n’ezo ezisangibwa mu kitabo kya Tobit ekitaaluŋŋamizibwa.a Enfumo ezo ziyinza okuba nga zaali zizingiramu eŋŋambo n’okuteebereza ebintu. Ekirala—‘nga bagoberera okwegomba kwabwe,’—abamu bayinza okuba nga baalimbibwalimbibwa abo abataatwalanga mitindo gya Katonda ng’ekintu ekikulu oba abaali bavumirira abo abaatwalanga obukulembeze mu kibiina. (3 Yokaana 9, 10; Yuda 4) Ka kibeere nga kyali ki ekyaliwo, ekituufu kiri nti abamu baali baagala nnyo enfumo ezo okusinga amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Mangu ddala, baalekera awo okukola bye baali bayize, era ekyo kyabatuusa mu kabi ak’eby’omwoyo.—2 Peetero 3:15, 16.
10. Ezimu ku nfumo ez’obulimba eziriwo ennaku zino ze ziruwa, era Yokaana yawa kulabula ki?
10 Leero tuyinza okwewala okusikirizibwa enfumo ez’obulimba singa tusunsula era ne tweroboza mu ebyo bye tuwuliriza ne bye tusoma. Ng’ekyokulabirako, emikutu gy’empuliziganya gitumbula empisa ez’obugwenyufu. Abantu bangi bakulaakulanya okubuusabuusa oba obutakkiririza mu kubeerawo kwa Katonda. Abavumirira Baibuli tebakkiriza ekyo ky’egamba nti yaluŋŋamizibwa Katonda. Era ne bakyewaggula ab’omu mu kiseera kino beeyongera okusiga ensigo ezireetera Abakristaayo okubuusabuusa mu mitima gyabwe basobole okunafuya okukkiriza kwabwe. Omutume Yokaana yalabula bw’ati ku kabi akafaananako n’ako akaaleetebwawo bannabbi ab’obulimba mu kyasa ekyasooka: “Abaagalwa, temukkirizanga buli mwoyo, naye mukemenga emyoyo, oba nga gyava eri Katonda kubanga bannabbi ab’obulimba bangi abafuluma mu nsi.” (1 Yokaana 4:1) N’olwekyo, tulina okwegendereza.
11. Emu ku ngeri gye tuyinza okwekebera okulaba oba nga tukyali mu kukkiriza y’eruwa?
11 Pawulo yawandiika bw’ati ku nsonga eyo: “Mwekebere mwekka oba nga muli mu kukkiriza.” (2 Abakkolinso 13:5) Omutume yatukubiriza okwekeberanga okulaba oba nga tukyanyweredde ku njigiriza z’Ekikristaayo. Bwe tuba nga tutera okuwuliriza abo abeemulugunya, tulina okwekebera era tusabe Yakuwa. (Zabbuli 139:23, 24) Tutera okunoonya ensobi mu bantu ba Yakuwa? Bwe kiba bwe kityo, lwaki? Waliwo ebigambo oba ebikolwa by’omuntu ebyatuyisa obubi? Bwe kiba bwe kityo, tutunuulira embeera mu ngeri etagudde lubege? Okubonaabona kwonna kwe tuyinza okwolekagana nakwo mu nteekateeka y’ebintu eno, kwa kaseera buseera. (2 Abakkolinso 4:17) Ka tubeere nga tulina okugezesebwa kwe twolekaganye nakwo mu kibiina, lwaki twandireseeyo okuweereza Katonda? Bwe wabaawo ekitunyiizizza kyonna, tetwandikoze kyonna ekisoboka okugonjoola ensonga eyo ate oluvannyuma ebintu ne tubirekera Yakuwa?—Zabbuli 4:4; Engero 3:5, 6; Abaefeso 4:26.
12. Abantu b’e Beroya baatuteerawo batya ekyokulabirako ekirungi?
12 Mu kifo ky’okuvumirira abalala, ka tubeere n’endowooza ennuŋŋamu ku bintu bye tufuna okuyitira mu kwesomesa ffekka ne mu nkuŋŋaana z’ekibiina. (1 Abakkolinso 2:14, 15) Ate mu kifo ky’okubuusabuusa Ekigambo kya Katonda, nga kyandibadde kya magezi nnyo okuba n’endowooza y’abantu b’e Beroya ab’omu kyasa ekyasooka abeekenneenya ennyo Ebyawandiikibwa! (Ebikolwa 17:10, 11) N’olwekyo, ka tukolere ku bye tuyiga nga tugaana okukkiriza enfumo ez’obulimba era tunywerera ku mazima.
13. Tuyinza tutya okusaasaanya enfumo ez’obulimba mu butali bugenderevu?
13 Waliwo ekika ky’enfumo ez’obulimba ekirala kye tulina okwerinda. Ebintu bingi nnyo ebicamuukiriza bisaasaanyizibwa, okuyitira ku Internet. Kiba kya magezi okwegendereza ebintu ng’ebyo, naddala bwe tuba tetumanyi nsibuko yaabyo. Ka kibe ng’obubaka obwo busindikiddwa Omukristaayo omukuukuutivu, omuntu oyo ayinza okuba nga tabulinaako bukakafu. Eyo y’ensonga lwaki kikulu nnyo obutasaasaanya mawulire agatannaba kukakasibwa. Mazima ddala, tetwandisaasaanyizza ‘nfumo ez’obulimba ezoonoona ebituukirivu.’ (1 Timoseewo 4:7) Ate era, okuva naffe bwe tuvunaanyizibwa okwogera amazima eri bannaffe, kiba kya magezi okwewala ekintu kyonna ekiyinza okutuleetera okusaasaanya ebintu ebitali bituufu nga tetugenderedde.—Abaefeso 4:25.
Emiganyulo Egiva mu Kukolera ku Mazima
14. Miganyulo ki egiva mu kuteeka mu nkola ebintu bye tuyize mu Kigambo kya Katonda?
14 Okuteeka mu nkola bye tuyiga mu kwesomesa ffekka Baibuli ne mu nkuŋŋaana z’ekibiina kijja kutuleetera emiganyulo mingi. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okukizuula nti enkolagana yaffe n’abo bwe tuli obumu mu kukkiriza erongoose. (Abaggalatiya 6:10) Endowooza yaffe ejja kulongooka bwe tunaateeka mu nkola emisingi gya Baibuli. (Zabbuli 19:8) Ate era bwe tuteeka mu nkola bye tuyiga, tuba ‘tuyonja okuyigiriza kwa Katonda’ era kiyinza okusikiriza abalala okujja mu kusinza okw’amazima.—Tito 2:6-10.
15. (a) Omuvubuka omu yafuna atya obuvumu okuwa obujulirwa ku ssomero? (b) Kiki ky’oyize ku kyokulabirako kino?
15 Mu Bajulirwa ba Yakuwa mulimu abavubuka bangi abateeka mu nkola bye bayize okuyitira mu kwesomesa bokka Baibuli n’ebitabo by’Ekikristaayo, ssaako n’okubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina obutayosa. Enneeyisa yaabwe ennungi ewa obujulirwa obw’amaanyi eri abasomesa wamu ne bayizi bannaabwe ku ssomero. (1 Peetero 2:12) Lowooza ku kyokulabirako kya Leslie, omuwala ow’emyaka 13 mu Amerika. Agamba nti yateranga okukisanga nga kizibu okwogerako ne bayizi banne ku bikwata ku nzikiriza ze, naye lumu ekyo kyakyuka. “Abayizi mu kibiina baayogera ku ngeri abantu gye bagezaako okuguza bantu bannaabwe ebintu. Omuwala omu yagolola omukono gwe n’awa ekyokulabirako ky’Abajulirwa ba Yakuwa.” Ng’Omujulirwa wa Yakuwa, Leslie yakola ki? Agamba nti: “Nnawolereza enzikiriza yange, ekintu ekiteekwa okuba nga kyewuunyisa buli omu, kubanga ndi musirise ku ssomero.” Kiki ekyava mu buvumu bwa Leslie? Agamba: “Nnasobola okugabira omuyizi oyo brocuwa ne tulakiti kubanga yalina ebibuuzo ebirala bingi.” Nga Yakuwa ateekwa okuba ng’asanyuka nnyo abavubuka abateeka mu nkola bye bayize bwe bafuna obuvumu okuwa obujulirwa ku ssomero!—Engero 27:11; Abaebbulaniya 6:10.
16. Omujulirwa omu omuvubuka aganyuddwa atya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda?
16 Ekyokulabirako ekirala kye kya Elizabeth. Okuviira ddala ng’alina emyaka musanvu okutuusa bwe yamalako emisomo gye egya pulayimale, omuwala ono omuto yayitanga abasomesa be okujja mu nkuŋŋaana buli lwe yabangayo n’emboozi mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Omusomesa bwe yabanga nga taasobole kujja, Elizabeth yasigalanga ku ssomero abayizi nga bamaze okuteebwa n’awa emboozi ye mu maaso g’omusomesa. Mu mwaka gwe ogwasembayo mu siniya ey’omukaaga, Elizabeth yawandiika lipoota ejjuza empapula kkumi ng’eraga emiganyulo egiva mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda era n’agisomeramu maaso ga kakiiko k’abasomesa bana. Era yasabibibwa abaweeyo emboozi emu ng’ezo eziweebwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, n’alonda okwogera ku mutwe “Lwaki Katonda Akkiriza Obubi?” Elizabeth aganyuddwa mu nteekateeka y’eby’enjigiriza ekolebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Elizabeth omu bumu ku Bakristaayo abavubuka abangi abaleetera Yakuwa ettendo nga bateeka mu nkola ebyo bye bayiga mu Kigambo kye.
17, 18. (a) Baibuli ewa kubuulira ki okukwata ku bwesigwa? (b) Omusajja omu yakwatibwako atya obwesigwa bw’Omujulirwa wa Yakuwa?
17 Baibuli ekubiriza Abakristaayo okubeera abeesigwa mu bintu byonna. (Abaebbulaniya 13:18) Obutali bwesigwa buyinza okwonoona enkolagana yaffe n’abalala, ate okusingira ddala ne Yakuwa. (Engero 12:22) Obwesigwa bwaffe buwa obukakafu nti tuteeka mu nkola ebintu bye tuyiga, era buleetedde bangi okussa ekitiibwa mu Bajulirwa ba Yakuwa.
18 Lowooza ku kyokulabirako ky’omujaasi ayitibwa Phillip. Yasuula ceeke ya banka gye yali amaze okuteekako omukono. Kyokka, teyategeera nti yali agisudde okutuusa lwe yamuddizibwa okuyitira mu poosita. Ceeke eyo yalondebwa Omujulirwa wa Yakuwa, era akabaluwa akaagigenderako kaagamba nti ekyaviirako eyagironda okugiddiza nnyiniyo, ye nzikkiriza ye. Phillip yeewuunya nnyo. Yagamba: “Kyali kisoboka okuntwalako ssente eziwerera ddala doola 9,000!” Emabegako kyamubuukako bwe baamubbako enkufiira ye mu sinzizo. Mukwano gwe ye yamubbako enkuufiira ye, kyokka ate omuntu gw’atamanyi nako n’akomyawo ceeke eyalimu enkumi n’enkumi za doola! Mazima ddala, Abakristaayo abeesigwa baleetera Yakuwa Katonda ettendo!
Weeyongerenga Okussa mu Nkola by’Oyize
19, 20. Tunaaganyulwa tutya bwe tunaakolera ku bye tuyize mu Byawandiikibwa?
19 Abo abassa mu nkola bye bayiga okuva mu Kigambo kya Katonda bafuna emiganyulo mingi. Omuyigirizwa Yakobo yawandiika: “[Oyo] atunula mu mateeka amatuukirivu ag’eddembe n’anyiikiriramu, nga si muwulizi eyeerabira naye mukozi akola, oyo anaaweebwanga omukisa mu kukola kwe.” (Yakobo 1:25) Yee, bwe tukolera ku bye tuyiga okuva mu Byawandiikibwa, tujja kufuna essanyu erya nnamaddala era tujja kusobola bulungi okwaŋŋanga ebizibu by’obulamu. Okusinga byonna, tujja kufuna emikisa gya Yakuwa era tubeere n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo!—Engero 10:22; 1 Timoseewo 6:6.
20 N’olwekyo, weeyongere okufuba okweyigiriza Ekigambo kya Katonda. Kuŋŋaananga obutayosa n’abasinza ba Yakuwa, era osseeyo omwoyo ku byogerwa mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Teeka mu nkola by’oyiga, mu ngeri eyo ‘Katonda ow’emirembe anaabeeranga naawe.’—Abafiripi 4:9.
[Obugambo obuli wansi]
a Ekitabo kya Tobit, ekiyinza okuba nga kyawandiikibwa mu kyasa eky’okusatu B.C.E., kirimu olugero olutali lutuufu olukwata ku musajja Omuyudaaya eyayitibwanga Tobias. Omusajja oyo agambibwa okuba mbu yafuna obusobozi bw’okuwonya endwadde ssaako n’amaanyi ag’okugoba emizimu nga yeeyambisa omutima, akalulwe, n’ekibumba bye yajja mu ky’ennyanja ekinene ennyo.
Ojjukira?
• “Ekyokulabirako eky’ebigambo eby’obulamu” kye ki, era tuyinza tutya okukigoberera?
• “Nfumo ki ez’obulimba” ze tulina okugaana?
• Abo abateeka mu nkola bye bayiga okuva mu Kigambo kya Katonda bafuna miganyulo ki?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Abakristaayo abaasooka bandisobodde batya okwewala okubuzaabuzibwa bakyewaggula?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]
Ensigo ez’okubuusabuusa ziyinza okusigibwa okuyitira mu mikutu gy’empuliziganya, Internet, era ne bakyewaggula b’omu kiseera kino
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Si kya magezi okusaasaanya amawulire agatannaba kukakasibwa
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]
Abajulirwa ba Yakuwa bateeka mu nkola bye bayiga okuva mu Kigambo kya Katonda nga bali ku mulimu, ku ssomero n’awalala wonna