Essuula 16
Okusalawo Okukakasa Obulamu mu Mirembe n’Obutebenkevu eby’Amazima
1. Bwe tusalawo obulungi, mirembe ki n’obwesige ebiyinza okuba ebyaffe kaakano?
NGA SSANYU lya maanyi okuba n’ekigendererwa eky’amazima mu bulamu, okumanya gy’ogenda! Era ng’emirembe gya kitalo egibeera mu birowoozo ne mu mutima okuba n’obukakafu nti tewali kkubo lisingako lye wandisobodde okukwata! Emirembe ng’egyo n’obwesige biyinza okubeera ebibyo, singa osalawo ekituufu kaakano.
2. Okumanya Yakuwa n’ebigendererwa bye kutuyamba kutya mu bikwata ku ngeri gye tulabamu obulamu?
2 Obujulizi bulaga bulungi nti tetuyinza kukyukira nsi eno ng’ensibuko y’emirembe n’obutebenkevu eby’amazima. Entegeka ez’eby’obusuubuzi, ez’eby’eddiini, n’ez’eby’obufuzi, nga mw’otwalidde n’ekibiina ky’Amawanga Amagatte n’ebirangiriro byakyo ebya ‘emirembe n’obutebenkevu,’ tezisobola kubireeta. N’olwekyo, Baibuli esonga ku Yakuwa Katonda ng’Ensibuko yokka ey’emirembe n’obutebenkevu eby’amazima. Okumumanya n’ebigendererwa bye kituyamba okutegeera lwaki tuli wano ku nsi era lwaki ebintu biri nga bwe biri leero. Tuyiga ku nsonga enkulu ekwata ku bufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna, era n’engeri gye bukwata ku buli omu ku ffe. Tuyiga okupimaapima obutuufu n’amagezi g’ebiruubirirwa byaffe, era tufuna emitindo egyesigika egy’empisa ez’okugoberera. Nga twolekedde obulwadde, obukadde, oba okufa, tuba n’essuubi erizzaamu amaanyi ery’obulamu mu nteekateeka empya ey’obutuukirivu era ey’embeera ennungi eri obulamu, wadde okuyitira mu kuzuukizibwa mu bafu, bwe kiba kyetaagisizza.
3. Lwaki Yakuwa y’oyo gwe twesigamyako essuubi lyaffe lyonna?
3 Olwo, tekyewuunyisa nti Isaaya 26:4 lukubiriza nti: “Mwesigenga [Yakuwa, NW] ennaku zonna: kubanga mu [Ya, NW] Yakuwa mwe muli olwazi olutaliggwaawo.” Atakyukakyuka, Omuyinza w’ebintu byonna, era ataggwaawo, Yakuwa y’oyo ddala gwe twandyesigamizzako essuubi lyaffe lyonna. Wandyagadde okunyumirwa okuluŋŋamizibwa okuva gy’ali n’obukuumi bwe si mu kiseera kino kyokka naye era mu biseera eby’omu maaso byonna mu Nteekateeka Empya gye yasuubiza? Bwe kiba bwe kityo, oteekwa kukola ki?
4. Okufuna okusiimibwa kwa Yakuwa, twetaaga ki, era kiki ekikisobozesa?
4 Abantu bonna okutwalira awamu babadde baawukanyiziddwa okuva ku Katonda olw’ekibi ky’abazadde baffe ababereberye. Naye Katonda agguddewo ekkubo ery’okutabaganyizibwa era n’okuba n’omukwano naye okuyitira mu ssaddaaka y’Omwana we. (2 Abakkolinso 5:19-21; Abaefeso 2:12, 13) Naye, tekimala ffe okugamba obugambi nti twagala omukwano gwa Katonda.
5. Kiki ekyanditukubirizza okunoonya omukwano gwa Yakuwa?
5 Tusaanidde okuba nga tuli beetegefu, era nga twagalira ddala, okukakasa gy’ali nti twagala kino, era lwa kiruubirirwa ekituufu. Ng’ekyokulabirako, tunoonya omukwano eri Yakuwa okusingira ddala olw’okuwona okuzikirizibwa? Bwe tuba ab’okufuna enkolagana ennungi ne Katonda, tekiyinza kuba kya kiseera kino kyokka eky’obwangu ng’okusala omusango tekunnaba oba olw’okuwona obuwonyi “ekibonyoobonyo ekinene” ekijja. (Matayo 24:21, 22) Kiteekwa okuba olw’ebiseera byonna mu maaso. Okwagala okw’amazima kwokka kwe kujja okutuwa okukubirizibwa kuno. Tusobole okulaga obwesimbu bw’okwegomba kwaffe okufuna omukwano gwe, Yakuwa amaze okulaga mu Kigambo kye ebintu ebimu buli muntu ku ffe by’ateekwa okutuukiriza okutabaganyizibwa naye.
Okukkiriza Okulamu
6. Okusanyusa Katonda, bwesige ki bwe tuteekwa okuba nabwo mu ye?
6 Yakuwa Katonda wa mazima. Bwe kityo tuyinza okuba n’obwesige obujjuvu ddala mu bisuubizo bye. Mu butuufu, “awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa: kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.” (Abaebbulaniya 11:6) Bw’oba ng’olina okukkiriza ng’okwo, olwo omanyi nti buli kintu Katonda ky’akola kirina ekigendererwa ekituukirivu, era nti buli kiseera aba afaayo ku lw’obulungi bwaffe. Okuva ku mirimu gye egy’obutonzi ne mu Kigambo kye ekyawandiikibwa, olaba nti si ye asinga bonna amagezi n’amaanyi kyokka naye era Katonda ow’ekisa eky’obwagazi. Kyo kituufu nti taliva ku mitindo gye egy’obutuukirivu. Naye, newakubadde tuli abatatuukiridde era nga tukola ensobi, singa twagala obutuukirivu, alina engeri gy’akolaganamu naffe ejja okutuviiramu emikisa.
7. Obwesige mu butuufu bwa Yakuwa n’amagezi bitukuuma bitya?
7 N’olwekyo, bwe tufuna okugololwa okuva eri Katonda, tujja kumanya nti kikolebwa ku lwa bulungi bwaffe obw’olubeerera. Tujja kutuuka okwesiga Yakuwa ng’omwana omulenzi oba omuwala bwe yeesiga kitaawe omwagazi, ow’amagezi, era ow’amaanyi. (Zabbuli 103:13, 14; Engero 3:11, 12) Nga tulina okukkiriza ng’okwo, tetujja kubuusabuusa magezi agali mu kubuulirira kwe oba obutuufu bw’amakubo ge, newakubadde ng’ebiseera ebimu tuyinza obutategeera mu bujjuvu ensonga ezimu. Mu ngeri eno tuba twessa mu abo omuwandiisi wa zabbuli b’ayogerako nti: “Abaagala amateeka go balina emirembe mingi; so tebaliiko kibeesittaza.”—Zabbuli 119:165; Engero 3:5-8.
8. (a) Lwaki okukkiriza kwokka tekumala? (b) Kikolwa ki ekyogerwako mu Bikolwa 3:19 okukkiriza kye kwanditutuusizzako?
8 Naye “okukkiriza . . . awatali bikolwa nga kufudde,” Yakobo 2:26 bwe lulaga. Okukkiriza okw’amazima kuleetera omuntu okubaako ky’akola. Era ekimu ku bintu ebisooka kye kuleetera omuntu okukola kyekyo omutume Peetero kye yakubiriza: “Mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulibwe, ebiro eby’okuwummuzibwa mu maaso ga [Yakuwa, NW] bituuke.” (Ebikolwa 3:19) Kino kitegeeza ki?
Okwenenya n’Okukyuka
9. (a) Okwenenya okw’amazima kye ki? (b) Kiki kye twetaaga okwenenya?
9 Mu Baibuli, okwenenya kuba enkyukakyuka mu birowoozo okugendera awamu n’okwejjusa mu mutima olw’embeera y’obulamu obw’emabega oba olw’ebikolwa ebikyamu. (2 Abakkolinso 7:9-11) Naye bwe tuba ab’okunyumirwa “ebiro eby’okuwummuzibwa” okuva eri Katonda, tetujja kwenenya kyokka ebikolwa ebibi eby’emabega. Wabula, tuteekwa okulaga okwenenya olw’okuba tutegeera nti, ng’abaana ba Adamu, obuzaale bwaffe bwennyini bwa kibi. Ng’omutume Yokaana bw’ategeeza: “Bwe twogera nga tetulina kibi twekyamya fekka . . . [Katonda] tumufuula mulimba so nga n’ekigambo kye tekiri mu ffe.” (1 Yokaana 1:8, 10) Tusaanidde okwefaananyiriza ddala Omutonzi waffe, nga twoleka ‘engeri ye n’ekifaananyi kye.’ Naye ekibi ekisikire kitulemesa okukola kino mu ngeri etuukiridde. Bwe kityo, ne ‘tusubwa akabonero,’ nga gano ge makulu g’ekigambo “ekibi” mu Baibuli.—Olubereberye 1:26; Abaruumi 3:23.
10, 11. (a) Ani gwe twebaza obulamu, era lwaki? (b) Bwe kityo, obulamu bwaffe tusaanidde kubukozesa tutya?
10 Bwe kityo twetaaga okusonyiyibwa Katonda. (Matayo 6:12) Tumanyi nti obulamu bwaffe twabufuna kuva gy’ali ng’Omutonzi waffe. Naye kaakano tuyiga nti okuyitira mu ssaddaaka y’Omwana wa Katonda, abantu era ‘baagulibwa n’omuwendo’ ogw’amaanyi ennyo. Bwe kityo tetusaanidde kuba “baddu ba bantu,” wadde ab’okwegomba kwaffe kwennyini okw’okwerowoozako. (1 Abakkolinso 7:23) Naye, nga tetunnayiga era n’okukkiriza amazima, ffenna si bwe twali bwe tutyo?—Yokaana 8:31-34.
11 Mu mutima gwo, osiima ekirabo kya Katonda eky’Omwana we era n’ebyo by’akoze okuyitira mu Kristo okutusumulula okuva mu kikoligo ky’ekibi n’okufa? Awo nno mu mazima ojja kwejjusiza ddala okulemererwa kwo kwonna mu biseera ebiyise okukozesa obulamu mu kugondera Omutonzi wo. Kino kijja kukutuusa okwenenyeza ddala okuva mu mutima gwo olw’okugoberera ekkubo ly’obulamu erifaanana ng’eryo ery’ensi, eritatuukana ne Katonda by’ayagala era n’ebigendererwa bye.—Ebikolwa 17:28, 30; Okubikkulirwa 4:11.
12. Omuntu eyenenyezza alaga atya nti ddala aleseyo ekkubo lye ery’emabega?
12 Okwenenya kuno okw’amazima kutuusa ku ‘kukyusa ekkubo,’ nga gano ge makulu g’ekigambo “okukyuka.” Omuntu eyeenenyereza ddala mu mazima teyejjusa bwejjusa kyokka olw’okukozesa obubi obulamu bwe. Agaanira ddala ekkubo eryo ekkyamu era mu butuufu akyayira ddala amakubo ge amakyamu. Kino akiraga nga ‘akyuka’ era ng’akola “ebikolwa ebisaanidde okwenenya,” ng’atuukanya obulamu bwe ne Katonda by’ayagala.—Ebikolwa 26:20; Abaruumi 6:11.
13. (a) Ebigambo bya Yesu ebigamba nti abagoberezi be bateekwa ‘okwefiiriza bokka’ birina makulu ki? (b) Lwa nsonga ki kyetuva twewaayo eri Yakuwa, era kikwata kitya ku bulamu bwaffe?
13 Ekitundu ekimu mu kwenenya kuno n’okukyuka kitwaliramu ekyo Yesu kye yayita ‘okwefiiriza fekka.’ (Matayo 16:24) Kwe kugamba, tuba tetukyeyisa okusinziira ku kwegomba kwaffe okw’okweroowozako awatali kufaayo ku Katonda by’ayagala n’ebigendererwa bye. Mu kifo ky’ekyo, tumanyi nti Yakuwa Katonda mu butuufu alina obwannanyini obujjuvu ku bulamu bwaffe ng’Omutonzi waffe era Omununuzi waffe okuyitira mu ssaddaaka y’Omwana we ey’ekinunulo. Nga Baibuli bw’ekitegeeza, ‘tetuli ku bwaffe, kubanga twagulibwa na muwendo.’ (1 Abakkolinso 6:19, 20) Bwe kityo, mu kifo ky’okukozesa obubi eddembe ery’ekitalo eritugguliddwawo amazima, twewaayo mu bujjuvu okukola Katonda by’ayagala. (Abaggalatiya 5:13; 1 Peetero 2:16) Era kino tukikola si lwakuba bubeezi nti kituufu naye olw’okuba twagala Yakuwa Katonda ‘n’omutima gwaffe gwonna, emmeeme, amagezi, n’amaanyi.’ (Makko 12:29, 30) Ddala kino kyetaagisa buli omu ku ffe okuba mu bulamu obw’okwewaayo eri Katonda. Mu kifo ky’okubeera omugugu, ekkubo lino litusobozesa okunyumirwa obulamu mu ngeri etabangawo.—Matayo 11:28-30.
Okwatula mu Lwatu olw’Okulokolebwa
14. (a) Omuntu bw’akkiriza obwanannyini obutuufu Yakuwa bw’alina ku ye, ayinza kwolesa atya kino eri Katonda? (b) Kiki ekirala kye yandyagadde okukola, nga bwe kiragibwa mu Baruumi 10:10?
14 Kintu kirungi okwoleka mu kusaba okukkiriza kwaffe mu nteekateeka za Katonda, nga tukkiriza obwanannyini bw’alina ku ffe. Naye tuyinza era tusaanidde okwagala okwolesa okukkiriza kwaffe mu ngeri esingako awo, nga Abaruumi 10:10 bwe lututegeeza nti: “Omuntu akkiriza na mutima okuweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa okulokoka.” Okwoleka ‘mu lwatu’ okukkiriza kwaffe kuno mu Yakuwa ne mu nteekateeka ze kusaanidde kuva na ssanyu mu mutima ogujjudde okusiima. Okwatula kuno kutwaliramu okuwaayo obulamu bwaffe eri Yakuwa okukola by’ayagala n’okulaga kino mu kabonero ak’okubatizibwa mu mazzi.
15. Lwaki twandirowoozezza nnyo ku kubatizibwa mu mazzi?
15 Yesu Kristo bwe yatandika okuweereza kwe eri abantu, yalagira Yokaana Omubatiza okumunnyika mu mazzi. Baibuli etegeeza nti olwo Yesu yagamba Katonda nti: “Nzize okukola by’oyagala.” (Abaebbulaniya 10:9; Zabbuli 40:7, 8) Yesu yalagira nti abo bonna abafuuka abayigirizwa be nabo basaanidde okubatizibwa. Oli muyigirizwa ow’engeri eyo? Awo nno okubatizibwa kwo kujja kuba nga ‘kukyatula mu lwatu.’—Matayo 28:19, 20.
16. (a) Oyinza otya okumanya oba ng’otuuse okubatizibwa? (b) Abakadde bayamba batya abantu kinnoomu mu kwetegekera okubatizibwa?
16 Nkizo ya maanyi ddala okufuuka omujulirwa eyeewaayo era omubatize owa Yakuwa, Omufuzi Asingiridde ow’obutonde bwonna. Wejjukanye kaakati ekyo kye kitwaliramu: Mu kwagala, Yakuwa akugguliddewo ekkubo okuba mukwano gwe. Naye okugufuna, oteekwa okuba n’okukkiriza, ng’okkiririza ddala nti Baibuli kye Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa. (2 Timoseewo 3:16, 17) Era oteekwa okulaga okukkiriza mu ssaddaaka ya Yesu ey’ekinunulo ng’ekkubo lyokka omw’okufunira embeera ekkirizibwa Katonda. (Ebikolwa 4:12) Weetaaga okutegeera nga bwe weesigamye ku Yakuwa era oweeyo obulamu bwo gy’ali okukola by’ayagala, si kumala myaka mitono butono, naye emirembe gyonna. Ekkubo eryo litwaliramu okuba nti ‘toli wa nsi.’ (Yokaana 17:16; 1 Yokaana 2:15) Ng’obujulizi obulaga nti weenenyezza ne ‘okyuka,’ oteekwa okuba nga waleka empisa zonna ezikontana n’emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu era oteekwa okuba ng’okola Katonda by’alagira. Omaze okukyusa endowooza yo ne kiba nti eno kaakano ye ngeri gy’olabamu obulamu? (Abaruumi 12:1, 2) Bwe kiba nga bwe kiri, Baibuli ekukubiriza ‘okwatula mu lwatu’ okukkiriza okwo. Eddaala erisooka kyandibadde okutuukirira omu ku bakadde ab’omu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa mu kitundu kyo omutegeeze endowooza yo bw’eri. Ajja kukutegekera okuyitaayita mu njigiriza ensinziivu eza Baibuli mu kweteekerateekera okubatizibwa.
17. Ng’okozesa Baibuli, laga engeri gye tuteekwa okweyongeramu ‘okwatula okukkiriza kwaffe mu lwatu.’
17 Eddaala ery’okubatizibwa si lye lijja okuba enkomerero ya ‘okwatula okukkiriza kwo mu lwatu.’ Ng’Omukristaayo eyeewaddeyo eri Yakuwa Katonda, ojja kwagala okwatula essuubi lyo nga weetaba mu lukuŋŋaana, ‘ng’omutenderereza mu bantu abangi.’ (Zabbuli 35:18; 40:9, 10) Era ojja kwagala okwetaba mu mulimu ogw’enjawulo ogwa ‘okwatula mu lwatu’ Yakuwa gw’akwasa bonna abanaamuweereza—okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nsi yonna n’okufuula abayigirizwa mu bantu ab’amawanga gonna.—Matayo 24:14; 28:19.
Okukuuma Enkolagana yo ne Katonda
18. Okwesomesa ffekka kukulu kwenkana wa mu kukakasa nti enkolagana y’omuntu ne Yakuwa eneewangaala?
18 Kale nno, onookakasa otya nti, ng’omaze okugifuna, enkolagana yo ne Yakuwa eneewangaala emirembe gyonna mu mirembe n’obutebenkevu eby’essanyu? Okusooka ojja kwagala okweyongera okumumanya. Okuyitira mu kwesomesa wekka ojja kuzuula essanyu lyennyini mu kufuna obugagga bw’amagezi obuterekeddwa mu Kigambo kya Katonda. Oyinza okuba ng’omuntu Zabbuli 1:2, 3 gwe zoogerako nti: “Amateeka ga [Yakuwa, NW] gamusanyusa; era mu mateeka ge mw’alowooleza emisana n’ekiro. Naye alifaanana ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’ensulo ez’amazzi, ogubala emmere yaagwo mu ntuuko zaayo, era amalagala gaagwo tegawotoka; na buli ky’akola akiweerwako omukisa.” Yee, okufuna okumanya ku Katonda, n’okukussa mu nkola, kujja kukusobozesa okutambulira mu ‘makubo ag’okusanyukiramu’ era mu ‘ŋŋendo ez’emirembe,’ kubanga kujja kukuwa amagezi okwolekera ebizibu by’obulamu byonna. (Engero 3:13, 17, 18) Ennyonta yo ey’okumanya Baibuli bw’otyo kaakano ejja kulaga bw’osaanira obulamu mu Nteekateeka Empya eya Katonda, kubanga mu kiseera ekyo “ensi erijjula okumanya [Yakuwa, NW], ng’amazzi bwe gasaanikira ennyanja.”—Isaaya 11:9.
19. Lwaki okubeerangawo mu nkuŋŋaana obutayosa kyetaagisa mu bulamu bw’abantu ba Yakuwa?
19 Ekintu ekirala kye weetaaga ennyo kwe kubeerangawo obutayosa mu nkuŋŋaana n’abaweereza ba Yakuwa abalala. Eyo ojja kusangayo okukubirizibwa okw’amazima okwagala n’ebikolwa ebirungi, okukubirizibwa okugumiikiriza mu nkolagana yo entuufu ne Katonda. (Abaebbulaniya 10:23-25) Entabagana ennungi eri ng’amaka ey’abaweereza ba Yakuwa ewa obujulizi obuzzaamu amaanyi nti emirembe n’obutebenkevu ebisuubizibwa mu Nteekateeka Empya eya Katonda bya mazima.—Zabbuli 133:1; 1 Abakkolinso 14:26, 33.
20. Abakadde mu kibiina bayinza batya okutuyamba mu biseera eby’okuziyizibwa ne mu bizibu by’omuntu?
20 Mu kibiina oyinza okuganyulwa okuva mu nteekateeka endala ey’okwagala. Yesu, ‘Omusumba Omulungi,’ alina ‘abasumba abali wansi we’ ku nsi. Bano be bakadde, oba abasajja abakuze mu by’omwoyo, abalabirira “endiga” ze. Bakola kinene mu kutwala mu maaso emirembe n’obutebenkevu mu kibiina ky’abantu ba Katonda mu nsi yonna. (1 Peetero 5:2, 3) Abasajja bano bali “ng’ekifo eky’okwekwekamu eri empewo, n’ekiddukiro eri kibuyaga; ng’emigga gy’amazzi mu kifo ekikalu, ng’ekisiikirize ky’olwazi olunene mu nsi ekooyesa.” (Isaaya 32:1, 2) Yee, mu biseera ebizibu eby’okunyigirizibwa n’okuzitoowererwa okuleetebwa okuziyizibwa kw’ensi oba ebizibu by’omuntu, olw’okukkiriza kwabwe okuli ng’olwazi n’okunywerera ddala ku Kigambo kya Katonda, abasajja bano abakulu mu by’omwoyo bayinza okukuwa obuwagizi bwennyini. Bayinza okukuwa okubuulirira n’okukubirizibwa okuzzaamu amaanyi.
21. Kiki ekinaatuziyiza okukkiriza obutali butuukirivu bw’abalala okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa?
21 Kya mazima nti obutali butuukirivu obw’omuntu bujja kweyoleka, wadde ne mu baweereza ba Katonda. Bulijjo ffenna tusobya. (Yakobo 3:2) Naye tunakkiriza okwesittala olw’obutali butuukirivu bw’abalala ne tukkiriza kino okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa? Okuva, naffe, bwe tukola ensobi, tetusaanidde tulage abalala okusonyiyibwa kwe kumu n’okwo kwe twagala okulagibwa? (Matayo 6:14, 15) Bwe tuba ab’okulaga nga tusaanira okuba abafugibwa mu Nteekateeka Empya ey’emirembe eya Katonda, tuteekwa okulaga kaakati obusobozi bwaffe okukolaganira awamu n’abalala mu mirembe. Tetuyinza kwagala Katonda awatali kwagala eri baganda baffe ne bannyinaffe ab’omwoyo Kristo be yafiirira.—1 Yokaana 4:20, 21.
22. Okusaba kwandibadde na kifo ki mu bulamu bwaffe?
22 Enkolagana entuufu ne Katonda ekuwa enkizo endala ey’ekitalo: okutuukirira Katonda mu kusaba n’obukakafu nti akuwulira. Kuuma enkizo eyo era gikozese buli lunaku, ebiseera byonna eby’olunaku. Ebizibu bijja kugwawo. Obutali butuukirivu bwo bwennyini buyinza okukuteganya. Naye Baibuli ebuulirira nti: “Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna mu kusabanga n’okwegayiriranga awamu n’okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda. N’emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu.”—Abafiripi 4:6, 7.
23. Nga twolekanye n’ebigezo n’okubonyaabonyezebwa olw’okukkiriza kwaffe, kiki ekinaatuyamba okugumiikiriza?
23 Mu kusalawo okuweereza Yakuwa, Ensibuko ey’amazima ey’emirembe n’obutebenkevu, era n’okussa essuubi lyo mu Nteekateeka ye Empya, ojja kuba ng’otandise bulungi. Kaakati, nga Baibuli bw’egamba, “mwetaaga okugumiikiriza, bwe mulimala okukola Katonda by’ayagala mulyoke muweebwe ekyasuubizibwa.” (Abaebbulaniya 10:36) Ng’omaze okulega ku mikisa gy’enkolagana entuufu ne Yakuwa, malirira obutatendewererwa. Tokkirizanga masanyu g’ensi ag’ekiseera okukusika. Newakubadde ng’ebigezo okuva mu nsi ey’obulabe byeyongera, jjukira nti bino bya kiseera buseera. Bw’ogeraageranya n’emikisa Yakuwa gy’anaawa abo abamwagala, okubonaabona ng’okwo kulinga ekitali kintu.—2 Abakkolinso 4:16-18.
24. (a) Tulina ensonga okusanyuka naddala ennaku zino? (b) Okufaanana omuwandiisi wa Zabbuli, tusaanidde kulowooza tutya ku Yakuwa ne ku nkolagana yaffe naye?
24 Weeyongere mu kkubo ery’okwemalira ku Katonda, ng’oli mugumu nti ye ngeri y’obulamu esingira ddala obulungi kaakati era ng’ejja kukutuusa mu bulamu obutaggwaawo mu Nteekateeka Empya eya Katonda. (1 Timoseewo 4:8) Sanyuka olw’obujulizi obulaga ng’Enteekateeka eyo Empya bw’eri okumpi era n’emirembe n’obutebenkevu eby’olubeerera by’ejja okuleeta. Nga weeyongera okuzimba enkolagana yo ne Yakuwa, weewulirenga muli ng’omuwandiisi wa zabbuli bwe yeewulira, eyawandiika nti: “Katonda ge maanyi g’omutima gwange n’omugabo gwange emirembe gyonna. Kubanga, laba, abakuli ewala balizikirira: wabafaafaaganya bonna abagenda okwenda ne bakuleka. Naye kirungi nze nsemberere Katonda: [Yakuwa, NW] Katonda mmufudde ekiddukiro kyange, ndyoke njogerenga ku bikolwa byo byonna.”—Zabbuli 73:26-28.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 181]
Okwatula mu Lwatu