ESSUULA 62
Yesu Ayigiriza ku Bwetoowaze
MATAYO 17:22–18:5 MAKKO 9:30-37 LUKKA 9:43-48
YESU ADDAMU OKWOGERA KU KUFA KWE
ASASULA OMUSOLO NG’AKOZESA SSENTE Z’AGGYE MU KAMWA K’EKYENNYANJA
ANI ASINGA OBUKULU MU BWAKABAKA?
Oluvannyuma lw’okufuusibwa era n’okuwonya omulenzi aliko dayimooni mu bitundu by’e Kayisaaliya ekya Firipo, Yesu agenda e Kaperunawumu. Agenda n’abayigirizwa be bokka era abantu ‘tebakitegeera.’ (Makko 9:30) Ekyo kimuwa akakisa okwongera okuteekateeka abayigirizwa be basobole okwolekagana n’embeera egenda okubaawo oluvannyuma lw’okufa kwe era basobole okukola omulimu gwe bagenda okuweebwa. Yesu abagamba nti: “Omwana w’omuntu agenda kuliibwamu olukwe aweebweyo mu mikono gy’abantu,b era bamutte, naye ku lunaku olw’okusatu azuukizibwe.”—Matayo 17:22, 23.
Ekyo tekisaanidde kwewuunyisa bayigirizwa be. Yesu yali yabagamba dda nti ajja kuttibwa, wadde ng’ekyo Peetero yagaana okukikkiriza. (Matayo 16:21, 22) Ate abatume abasatu baamulaba ng’afuusibwa era ne bawulira n’ebyo ebikwata ku “kugenda kwe.” (Lukka 9:31) Abagoberezi be kati “banakuwala nnyo” olw’ebyo Yesu by’agamba, wadde nga tebabitegeera mu bujjuvu. (Matayo 17:23) Naye batya okumubuuza ebikwata ku nsonga eyo.
Kya ddaaki batuuka e Kaperunawumu, ekitundu Yesu kye yasinga okukoleramu ebintu ebingi mu buweereza bwe ku nsi, era nga bangi ku batume be basibuka eyo. Abasajja b’eyo abasolooza omusolo batuukirira Peetero, oboolyawo nga baagala okuteeka ku Yesu omusango ogw’obutasasula musolo. Babuuza nti: “Omuyigiriza wammwe asasula omusolo gwa yeekaalu?”—Matayo 17:24.
Peetero abaddamu nti: “Asasula.” Olw’okuba Yesu ategedde byonna ebibaddewo, Peetero bw’addayo mu nnyumba Yesu mw’ali, Yesu amwesooka n’amubuuza nti: “Olowooza otya Simooni? Bakabaka b’ensi empooza oba omusolo babiggya ku baani? Ku baana baabwe oba ku bantu balala.” Peetero amuddamu nti: “Ku bantu balala.” Awo Yesu amugamba nti: “Bwe kiba bwe kityo, abaana tebasasula musolo.”—Matayo 17:25, 26.
Kitaawe wa Yesu ye Kabaka ow’obutonde bwonna era y’asinzibwa mu yeekaalu. Bwe kityo, Omwana wa Katonda talina kuwa musolo gwa yeekaalu. Yesu agamba nti: “Naye olw’obutabeesittaza, genda ku nnyanja osuule eddobo era ekyennyanja ky’onoosooka okukwasa, bw’onooyasamya akamwa kaakyo ojja kusangamu ssente eya ffeeza [sutateri, oba dulakima nnya]. Gitwale ogibawe osasulire nze naawe.”—Matayo 17:27.
Oluvannyuma, ng’abayigirizwa bonna bali wamu, babuuza Yesu nga baagala okumanya asinga obukulu mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Abasajja bano be bamu baatidde okubuuza Yesu ebikwata ku kufa kwe, naye kati tebatidde kumubuuza bikwata ku biseera byabwe eby’omu maaso. Yesu amanyi ensonga lwaki bamubuuzizza ekibuuzo ekyo. Ekyo kye kintu kye babadde bawakanako mu kkubo nga bagenda e Kaperunawumu. N’olwekyo, Yesu ababuuza nti: “Kiki ekibadde kibakaayanya mu kkubo?” (Makko 9:33) Nga baswadde, abayigirizwa basirika busirisi, kubanga babadde bawakana bokka na bokka ani ku bo asinga obukulu. Oluvannyuma babuuza Yesu ekibuuzo ekiraga ensonga eyabadde ebakaayanya: “Ani asinga obukulu mu Bwakabaka obw’omu ggulu?”—Matayo 18:1
Kyewuunyisa okuba nti abayigirizwa bano bakaayana ate nga bamaze emyaka essatu nga balaba ebyo Yesu by’akola era nga bawulira ebyo by’ayigiriza. Naye tebatuukiridde. Ate era bakulidde mu mbeera ng’abantu abasinga obungi bassa nnyo essira ku bukulu n’ebitiibwa. Okugatta ku ekyo, gye buvuddeko awo Yesu yasuubiza Peetero okumuwa “ebisumuluzo” by’Obwakabaka. Kyandiba nti ekyo kireetedde Peetero okuwulira nti asukkulumye ku banne? Ate era Yakobo ne Yokaana bayinza okuba nga bawulira nti nabo basukkulumye ku bannaabwe okuva bwe kiri nti baalabye Yesu ng’afuusibwa.
K’ebe nsonga ki ebaviiriddeko okukaayana, Yesu abaako ky’akolawo okutereeza endowooza yaabwe. Ayita omwana, n’amuyimiriza mu makkati gaabwe, n’abagamba nti: “Mazima mbagamba nti, okuggyako nga mukyuse ne muba ng’abaana abato, temuliyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu. N’olwekyo, buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto, y’asinga obukulu mu Bwakabaka obw’omu ggulu; na buli asembeza omu ku bato ng’ono ku lw’erinnya lyange, nange aba ansembezezza.”—Matayo 18:3-5.
Mu butuufu, engeri Yesu gy’ayigirizaamu nnungi nnyo! Yesu tasunguwalira bayigirizwa be oboolyawo n’abayita ab’omululu oba abalulunkanira ebintu. Mu kifo ky’ekyo, akozesa ekintu kye balabako okubayigiriza. Abaana abato tebalina bitiibwa biri awo era tebatera kuba na ttutumu. Mu kukozesa omwana oyo, Yesu ayagala abayigirizwa be beetwale ng’abaana abato. Yesu akomekkereza ng’alaga ekintu ekikulu abagoberezi be kye basaanidde okujjukira. Agamba nti: “Buli eyeetwala okuba owa wansi mu mmwe ye mukulu.”—Lukka 9:48.