ESSUULA 24
Yeeyongera Okubuulira mu Ggaliraaya
MATAYO 4:23-25 MAKKO 1:35-39 LUKKA 4:42, 43
YESU ATAMBULA MU GGALIRAAYA N’ABAYIGIRIZWA BANA
OKUBUULIRA KWE N’EBYAMAGERO BIMANYIBWA WONNA
Yesu n’abayigirizwa be abana babadde n’eby’okukola bingi ku lunaku luno mu Kaperunawumu. Akawungeezi, abantu b’omu Kaperunawumu bamuleetera abalwadde baabwe abawonye. Yesu tafunye budde bwa kubeerako yekka.
Ku lunaku oluddako ng’obudde tebunnasaasaana, Yesu afuluma ebweru yekka. Afuna ekifo ekisirifu n’atandika okusaba Kitaawe. Naye oluvannyuma lw’ekiseera kitono, ‘Simooni n’abo abali naye’ bakitegeerako nti Yesu taliiwo, era batandika okumunoonya. Simooni Peetero ayinza okuba nga y’abakulembeddemu kubanga Yesu yasuze mu maka ge.—Makko 1:36; Lukka 4:38.
Bwe basanga Yesu, Peetero amugamba nti: “Abantu bonna bakunoonya.” (Makko 1:37) Awatali kubuusabuusa, abantu b’omu Kaperunawumu baagala Yesu asigale mu kitundu kyabwe. Basiimye nnyo ebyo Yesu by’abakoledde, era “bagezaako okumuziyiza aleme okubavaako.” (Lukka 4:42) Naye, Yesu yajja ku nsi kukola byamagero byokka? Ye abaffe, anaabuulira mu kitundu kino mwokka? Kiki Yesu ky’ayogera ku nsonga eno?
Yesu agamba abayigirizwa be nti: “Tugende awalala mu bubuga obuliraanye wano nayo nsobole okubuulirayo kubanga kino kye kyandeeta.” Era Yesu agamba abantu abaali baagala asigale nti: “Nnina okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala, kubanga ekyo kye kyantumya.”—Makko 1:38; Lukka 4:43.
Ensonga enkulu eyaleeta Yesu ku nsi kwe kubuulira Obwakabaka bwa Katonda. Obwakabaka obwo bujja kutukuza erinnya lya Kitaawe era bumalewo endwadde zonna. Yesu awonya abantu mu ngeri ey’ekyamagero basobole okumanya nti Katonda ye yamutuma. Emyaka mingi emabega, Musa naye yakola ebyamagero okusobola okukakasa abantu nti Katonda ye yali amutumye.—Okuva 4:1-9, 30, 31.
Bwe kityo, Yesu n’abayigirizwa be abana bava e Kaperunawumu ne bagenda okubuulira mu bibuga ebirala. Abayigirizwa abo abana ye Peetero ne muganda we Andereya, Yokaana ne muganda we Yakobo. Wiiki emu emabega Yesu be yasooka okulonda, bamugoberere ekiseera kyonna.
Okubuulira kwa Yesu mu Ggaliraaya ng’ali wamu n’abayigirizwa be abana kuvaamu ebirungi bingi! Mu butuufu, ‘amawulire agakwata ku ebyo by’akola gabuna mu Busuuli yonna,’ mu kitundu eky’ebibuga ekkumi ekiyitibwa Dekapoli, era ne gatuuka n’emitala w’Omugga Yoludaani. (Matayo 4:24, 25) Abantu bangi okuva mu bitundu ebyo, ne mu Buyudaaya, bagoberera Yesu n’abayigirizwa be. Bangi bamuleetera abalwadde baabwe n’abawonya, era n’abo abaliko dayimooni azibagobako.