ESSUULA 21
Yesu Abikkula “Amagezi Agava eri Katonda”
1-3. Abaaliko baliraanwa ba Yesu baakola ki bwe baawulira bye yayigiriza, era baalemererwa kutegeera ki ekyali kimukwatako?
ABAALI bamuwuliriza baawuniikirira. Yesu yali ayimiridde mu maaso gaabwe mu kkuŋŋaaniro era ng’abayigiriza. Yali mumanyifu, kuba yali akulidde mu kibuga kyabwe, era yali amaze emyaka mingi ng’abajjira mu kibuga ekyo. Oboolyawo abamu baali babeera mu nnyumba ezaazimbisibwa ebyo Yesu bye yabajja oba baalimanga ennimiro zaabwe nga bakozesa enkumbi n’ebikoligo bye yakola.a Naye bandikoze ki nga bawulidde omusajja oyo eyali omubazzi ng’ayigiriza?
2 Abasinga obungi ku abo abaali bawuliriza Yesu ng’ayigiriza baawuniikirira era ne babuuza: “Ono yaggya wa amagezi gano?” Era baagamba: “Si ye wuuno omubazzi, omwana wa Malyamu.” (Matayo 13:54-58; Makko 6:1-3) Eky’ennaku, abantu abo abaaliko baliraanwa ba Yesu bayinza okuba baagamba, ‘Omubazzi ono muntu wa bulijjo nga ffe.’ Wadde ng’ebigambo bye yayogera byali bya magezi, tebaamukkiriza. Baali tebamanyi nti amagezi ge yayoleka tegaali gage.
3 Yesu yaggya wa amagezi ago? Yagamba: ‘Bye njigiriza si byange, wabula by’oyo eyantuma.’ (Yokaana 7:16) Omutume Pawulo yagamba nti Yesu ‘afuuse gye tuli, amagezi okuva eri Katonda.’ (1 Abakkolinso 1:30) Amagezi ga Yakuwa gaabikkulwa okuyitira mu Mwana we, Yesu. Mazima ddala, ekyo kituufu kuba Yesu yatuuka n’okugamba nti: “Nze ne Kitange tuli omu.” (Yokaana 10:30) Ka twekenneenye ebifo bisatu Yesu mwe yayolekera ‘amagezi okuva eri Katonda.’
Bye Yayigiriza
4. (a) Obubaka bwa Yesu bwalina mutwe ki, era lwaki omutwe ogwo gwali mukulu? (b) Lwaki amagezi Yesu ge yawa gaaganyulanga abo abaali bamuwuliriza?
4 Okusooka, lowooza ku ebyo Yesu bye yayigiriza. Omutwe gw’obubaka bwe gwali ‘amawulire amalungi ag’obwakabaka.’ (Lukka 4:43) Omutwe ogwo gwali mukulu nnyo olw’ekifo Obwakabaka kye bwandibadde nakyo mu kulaga obutuufu bw’obufuzi bwa Yakuwa era n’okuleetera abantu emikisa egy’olubeerera. Mu ebyo bye yayigiriza, Yesu era yawa amagezi amalungi ku ngeri y’okweyisaamu mu bulamu obwa bulijjo. Yeeraga okuba ‘Omuwi w’Amagezi ow’Ekitalo’ eyalagulwa. (Isaaya 9:6) Mazima ddala, amagezi ge yawanga gaali galina okuba amalungi ennyo. Yali amanyi bulungi nnyo Ekigambo kya Katonda, ebyo Katonda by’ayagala, embeera z’abantu, era ng’abaagala nnyo. N’olwekyo, amagezi ge yawanga gaali ga mugaso era nga gaganyula abaali bamuwuliriza. Yesu yayogera ‘ebigambo by’obulamu obutaggwaawo.’ Mazima ddala, bwe tugoberera amagezi ge yawa tusobola okufuna obulokozi.—Yokaana 6:68.
5. Bintu ki ebimu Yesu bye yayogerako mu Kubuulira okw’Oku Lusozi?
5 Okubuulira okw’Oku Lusozi kyakulabirako eky’enkukunala ekyoleka amagezi ag’ekitalo agali mu ebyo Yesu bye yayigirizanga. Ebiri mu kubuulira okuli mu Matayo 5:3–7:27 biyinza okuweebwa mu ddakiika 20 zokka. Kyokka, okubuulirira okukulimu, kugasa ekiseera kyonna, kwe kugamba, kukyali kwa muganyulo nga bwe kwali, nga kwakasooka okuweebwa. Yesu yayogera ku bintu bingi nnyo, nga mw’otwalidde n’engeri ey’okulongoosaamu enkolagana yaffe n’abalala (Matayo 5:23-26, 38-42; 7:1-5, 12), okusigala ng’oli muyonjo mu mpisa (Matayo 5:27-32), era n’okutambuzaamu obulamu bwaffe mu ngeri ey’amakulu (Matayo 6:19-24; 7:24-27). Naye, Yesu teyakoma ku kubuulira bamuwuliriza ekkubo ery’amagezi kyokka; wabula yalibalaga ng’abannyonnyola, era ng’abawa obukakafu.
6-8. (a) Yesu atuwa nsonga ki ezituyamba obuteeraliikirira? (b) Kiki ekiraga nti okubuulirira kwa Yesu kwoleka amagezi agava waggulu?
6 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kubuulirira kwa Yesu okw’amagezi okukwata ku kweraliikirira ebintu okusangibwa mu Matayo essuula 6. Yagamba: “Temweraliikiriranga bulamu bwammwe, nti mulirya ki, mulinywa ki; newakubadde omubiri gwammwe, nti mulyambala ki?” (Ounyiriri 25) Emmere n’eby’okwambala byetaagisa, era kya mu butonde okwagala okufuna ebintu ebyo. Naye Yesu atugamba nti “temweraliikiriranga” bintu ng’ebyo.b Lwaki?
7 Wuliriza nga Yesu annyonnyola mu ngeri ematiza. Okuva Yakuwa bwe yatuwa obulamu, n’omubiri, tayinza kutuwa mmere ebeesaawo obulamu obwo n’engoye ez’okwambaza omubiri ogwo? (Olunyiriri 25) Bwe kiba nti Katonda awa ebinnyonnyi emmere n’awa n’ebimuli eby’okwambala ebirabika obulungi, taafeeyo nnyo n’okusingawo ku bantu be abamusinza! (Ennyiriri 26, 28-30) N’olwekyo, okweraliikirira ekisukkiridde tekulina makulu. Tekuyinza kwongera ku kiseera kye tuwangaala mu bulamu.c (Olunyiriri 27) Tuyinza tutya okwewala okweraliikirira? Yesu atuwa amagezi gano: Mweyongere okukulembeza okusinza kwa Katonda mu bulamu bwammwe. Abo abakola bwe batyo, bayinza okuba abakakafu nti ebyetaago byabwe ebya buli lunaku Kitaabwe ow’omu ggulu ‘alibibongerako.’ (Olunyiriri 33) Mu nkomerero, Yesu awa ekirowoozo eky’omuganyulo ennyo—okulowooza ku byetaago eby’olunaku oluliwo. Lwaki weeraliikirira ebiribaawo jjo? (Olunyiriri 34) Ng’oggyeko ekyo, lwaki weeraliikirira ebintu ebiyinza n’obutabaawo? Okugoberera okubuulirira okwo okw’amagezi kiyinza okutuwonya obulumi bungi mu nsi eno ejjudde ebizibu.
8 Kya lwatu, okubuulirira kwa Yesu okwo, kukyali kwa muganyulo n’okutuusa leero era nga bwe kwali emyaka nga 2,000 egiyise. Obwo si bujulizi obulaga amagezi okuva waggulu? N’amagezi amalungi ennyo ag’abawi b’amagezi ekiseera kituuka ne galongoosebwamu oba ne gava ku mulembe. Kyokka, na guno gujwa, ebyo Yesu bye yayigiriza bikyali bya muganyulo. Naye, ekyo tekyanditwewunyisizza kubanga Omuwi w’Amagezi ono ow’Ekitalo yayogeranga ‘ebigambo bya Katonda.’—Yokaana 3:34.
Engeri Gye Yayigirizaamu
9. Abaserikale abamu baayogera ki ku ngeri Yesu gye yayigirizaamu, era lwaki bye baayogera tekwali kusavuwaza?
9 Engeri ey’okubiri Yesu mwe yayolekera amagezi ga Katonda ye ngeri gye yayigirizaamu. Lumu, abaserikale abaasindikibwa okumukwata baddayo ngalo nsa, nga bagamba: “Tewali muntu eyali ayogedde bw’atyo.” (Yokaana 7:45, 46) Kuno tekwali kusavuwaza. Mu bantu bonna abaali babaddewo, Yesu eyava ‘mu ggulu,’ y’asinga okuba n’okumanya okungi era n’obumanyirivu. (Yokaana 8:23) Mazima ddala yayigiriza mu ngeri omuntu omulala yenna gye yali tayinza. Weetegereze engeri bbiri Omuyigiriza ono ow’amagezi ze yakozesa.
‘Ebibiina byewuunya engeri gy’ayigirizaamu’
10, 11. (a) Lwaki twewuunya nnyo olw’engeri Yesu gye yakozesaamu ebyokulabirako? (b) Kyakulabirako ki ekiraga nti engero za Yesu nnungi nnyo mu kuyigiriza?
10 Okukozesa obulungi ebyokulabirako. Tugambibwa nti: “Yesu yayogeranga eri ebibiina ng’akozesa ebyokulabirako. Teyayogeranga nabo nga takozesezza kyakulabirako.” (Matayo 13:34, NW) Mazima ddala twewuunya nnyo obusobozi obw’ekitalo bwe yalina obw’okuyigiriza amazima ag’omunda ng’akozesa ebintu ebya bulijjo. Abalimi nga basiga ensigo, abakazi nga bateekateeka okufumba emigaati, abaana nga bazannyira mu katale, abavubi nga bavuba, abasumba nga banoonya endiga zaabwe ezibuze—ebintu abaali bamuwuliriza bye baali balabyeko emirundi n’emirundi. Amazima bwe gakwataganyizibwa n’ebintu abantu bye bamanyi, gatuuka mangu ku mitima n’ebirowoozo byabwe.—Matayo 11:16-19; 13:3-8, 33, 47-50; 18:12-14.
11 Emirundi mingi Yesu yakozesa engero, okuyigiriza ebikwata ku mpisa oba ku by’omwoyo. Okuva engero bwe ziri ennyangu okutegeera n’okujjukira, zaayambanga abantu okujjukira ebyo Yesu bye yayigiriza. Mu ngero nnyingi, Yesu yayogera ku Kitaawe ng’akozesa ebyokulabirako ebyali bitayinza kwerabirwa mangu. Ng’ekyokulabirako, ani atayinza kutegeera makulu gali mu lugero lw’omwana omujaajaamya, nti omuntu bw’awaba naye ne yeenenya mu bwesimbu, Yakuwa amusaasira era n’amusonyiwa?—Lukka 15:11-32.
12. (a) Yesu yakozesa atya ebibuuzo mu kuyigiriza? (b) Yesu yasirisa atya abo abaali babuusabuusa obuyinza bwe?
12 Okukozesa obulungi ebibuuzo. Yesu yakozesa ebibuuzo okuyamba abamuwuliriza okusalawo ku lwabwe, n’okukebera ebiruubirirwa byabwe. (Matayo 12:24-30; 17:24-27; 22:41-46) Abakulembeze b’eddiini bwe baamubuuza obanga yalina obuyinza okuva eri Katonda, Yesu yabaddamu nti: “Okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu, nantiki mu bantu?” Baawuniikirira olw’ekibuuzo ekyo, era ne beebuuzaganya bokka na bokka: “Bwe tunaagamba nti Kwava mu ggulu; anaagamba nti Kale kiki ekyabalobera okumukkiriza? Naye bwe tunaagamba nti Kwava mu bantu—baatya abantu; kubanga bonna baalowooza mazima Yokaana okuba nnabbi.” Mu nkomerero ne bagamba: “Tetumanyi.” (Makko 11:27-33; Matayo 21:23-27) Ng’akozesa ekibuuzo ekyangu, Yesu yabasirisa era n’ayanika enkwe ezaali mu mitima gyabwe.
13-15. Olugero olw’Omusamaliya lwoleka lutya amagezi ga Yesu?
13 Emirundi egimu Yesu yakozesezanga wamu ebibuuzo n’ebyokulabirako. Munnamateeka Omuyudaaya bwe yamubuuza ekyali kyetaagisa okufuna obulamu obutaggwaawo, Yesu yamugamba okukwata Amateeka ga Musa, agalagira okwagala Katonda ne muliraanwa. Ng’ayagala okweraga nti mutuukirivu, omusajja yabuuza: “Muliraanwa wange ye ani?” Yesu yamuddamu ng’amubuulira olugero. Omusajja Omuyudaaya yali atambula yekka, n’agwa mu batemu ne bamukuba emiggo, egyabula kata gimutte. Awo, Abayudaaya babiri ne bajja, okusooka kabona ate oluvannyuma Omuleevi. Bombi baamwebalama. N’Omusamaliya naye n’ajja. Yamukwatirwa ekisa era n’amusiba ebiwundu n’amutwala mu kisulo ky’abagenyi okujjanjabibwa asobole okudda engulu. Ku nkomerero y’olugero, Yesu yabuuza omusajja oyo: “Kale olowooza otya, aluwa ku abo abasatu, eyali muliraanwa w’oyo eyagwa mu batemu?” Omusajja yaddamu “Oli eyamukolera eby’ekisa.”—Lukka 10:25-37.
14 Olugero luno lwoleka lutya amagezi ga Yesu? Mu kiseera kya Yesu, Abayudaaya baakozesa ekigambo ‘muliraanwa’ ku abo bokka abaagobereranga obulombolombo bwabwe. Abasamaliya tebaabatwalanga kuba baliraanwa baabwe. (Yokaana 4:9) Singa mu lugero lwa Yesu Omusamaliya ye yakubibwa era n’ajjanjabibwa Omuyudaaya, ekyo kyandimazeewo kyekubiira? Mu ngeri ey’amagezi, yagera olugero ng’Omusamaliya y’ajjanjaba Omuyudaaya. Ate era weetegereze ekibuuzo Yesu kye yabuuza ku nkomerero y’olugero. Yesu yalaga ani eyandiyitiddwa ‘muliraanwa.’ Munnamateeka yali abuuzizza nti: “Ani eyandibadde muliraanwa wange?” Naye Yesu yabuuza: “Kale olowooza otya, aluwa ku abo abasatu, eyali muliraanwa w’oyo eyagwa mu batemu?” Yesu essira teyalissa ku oyo eyalagibwa ekisa, eyakubibwa abatemu, naye ku Musamaliya, oyo eyalaga ekisa. Muliraanwa ow’amazima abaako ne ky’akolawo okulaga abalala okwagala ka babe ba ggwanga ki. Ensonga eno Yesu yagiraga bulungi nnyo mu lugero luno.
15 Kyewuunyisa nti abantu beewuunya ‘engeri Yesu gye yayigirizaamu’ era ne basikirizibwa gy’ali? (Matayo 7:28, 29) Lumu ‘ekibiina ekinene’ kyali naye okumala ennaku ssatu nga tebalidde na mmere!—Makko 8:1, 2.
Engeri Gye Yeeyisaamu
16. Yesu ‘yalaga’ atya nti alina amagezi agava eri Katonda?
16 Engeri ey’okusatu Yesu mwe yayolekera amagezi ga Yakuwa, ye ngeri gye yeeyisaamu mu bulamu. Amagezi gayamba; gakola. Omuyigirizwa Yakobo yabuuza nti: “Ani alina amagezi n’okutegeera mu mmwe?” Yaddamu ekibuuzo kye ng’agamba: “Ka empisa ze ennungi zikirage.” (Yakobo 3:13, The New English Bible) Yesu yeeyisa mu ngeri ‘eyalaga’ nti yalina amagezi ga Katonda. Ka tulabe engeri gye yasalawo mu ngeri ey’amagezi mu bulamu bwe era n’engeri gye yayisaamu abalala.
17. Biki ebiraga nti Yesu teyagwa lubege mu bulamu bwe?
17 Wali okyetegerezza nti abantu abatasalawo mu ngeri ey’amagezi batera okugwa olubege? Yee, kyetaagisa amagezi obutagwa lubege. Olw’okuba yalina amagezi agava eri Katonda, Yesu teyagwa lubege n’akamu. Yakulembezanga ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwe. Yeemalira ku mulimu ogw’okubuulira amawulire amalungi. Yagamba: “Ekyo kye nnajjirira [mu nsi].” (Makko 1:38) Ebintu si bye byali bisinga obukulu gy’ali; kirabika yalina ebintu bitono nnyo. (Matayo 8:20) Kyokka, teyali muntu atayagala kusanyukamu. Okufaananako Kitaawe, ‘Katonda omusanyufu,’ Yesu yali muntu omusanyufu, era yayongera ne ku ssanyu ly’abalala. (1 Timoseewo 1:11; 6:15) Bwe yagenda ku mbaga, omukolo ogwaliko ennyimba, okuyimba n’okusanyuka, teyamalako bantu ssanyu lyabwe. Omwenge bwe yaggwaawo, yafuula amazzi omwenge, ekintu ‘ekisanyusa omutima gw’omuntu.’ (Zabbuli 104:15; Yokaana 2:1-11) Yesu teyagaananga bwe yayitibwanga ku bijjulo, era emirundi mingi yakozesanga ebiseera ebyo okuyigiriza.—Lukka 10:38-42; 14:1-6.
18. Yesu yalaga atya endowooza ennuŋŋamu mu ngeri gye yayisaamu abayigirizwa be?
18 Yesu yayoleka endowooza ennuŋŋamu mu ngeri gye yayisangamu abalala. Olw’okumanya engeri abantu gye baakolebwamu, yategeera bulungi abayigirizwa be. Yali akimanyi nti tebatuukiridde. Kyokka, yalaba engeri zaabwe ennungi. Yalaba nti abasajja bano Yakuwa be yali asembezza baali balina ebirungi bye bayinza okukola. (Yokaana 6:44) Wadde nga baalina obunafu, Yesu yali mwetegefu okubeesiga. Yawa abayigirizwa be obuvunaanyizibwa obwa maanyi. Yabawa omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi, era yali mukakafu nti bajja kugutuukiriza. (Matayo 28:19, 20) Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kiraga bulungi nti baatuukiriza omulimu gwe yabalagira okukola. (Ebikolwa 2:41, 42; 4:33; 5:27-32) N’olwekyo, Yesu yali mutuufu okubeesiga.
19. Yesu yalaga atya nti yali ‘muwombeefu era omuteefu mu mutima’?
19 Nga bwe twalabye mu Ssuula 20, Baibuli ekwataganya obwetoowaze n’amagezi. Kya lwatu, Yakuwa atuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi ku nsonga eno. Naye ate Yesu? Kizzaamu amaanyi okulaba engeri Yesu gye yali omwetoowaze ng’akolagana n’abayigirizwa be. Ng’omuntu atuukiridde, yali abasingira wala. Kyokka teyanyooma bayigirizwa be. Teyabaleetera kuwulira nti ba wansi oba nti tebalina busobozi. Wabula, yali amanyi ekkomo lyabwe era yagumiikiriza obunafu bwabwe. (Makko 14:34-38; Yokaana 16:12) Tekyewuunyisa nti n’abaana baawuliranga bulungi nga bali ne Yesu? Mazima ddala baasikirizibwa gy’ali kubanga baalaba nti yali “muteefu era omuwombeefu mu mutima.”—Matayo 11:29; Makko 10:13-16.
20. Yesu yalaga atya nti teyali mukakanyavu mu ngeri gye yakolaganamu n’omukazi Munnamawanga, eyalina omuwala atawaanyizibwa dayimooni?
20 Yesu yayoleka obwetoowaze bwa Katonda mu ngeri endala enkulu. Teyali mukakanyavu oba teyakalambira ku nsonga nga kyetaagisa okulaga obusaasizi. Ng’ekyokulabirako, jjukira omukazi Munnaggwanga eyeegayirira Yesu okuwonya muwala we eyali atawaanyizibwa dayimooni. Mu ngeri ssatu, Yesu yasooka n’alaga nti tagenda kumuyamba—okusooka ng’agaana okumuddamu; eky’okubiri, ng’amutegeeza butereevu nti teyasindikibwa eri Ab’Amawanga wabula eri Abayudaaya; n’eky’okusatu, ng’awa ekyokulabirako ekyali kiggyayo ensonga y’emu. Kyokka, omukazi teyaggwaamu maanyi, n’alaga nti yalina okukkiriza kwa maanyi. Kati olwo Yesu yakola ki mu mbeera eno? Yakola ekyo kye yasooka okulaga nti tagenda kukola. Yawonya muwala w’omukazi oyo. (Matayo 15:21-28) Obwo si bwetoowaze bwa kitalo? Era jjukira nti amagezi aga nnamaddala geesigamiziddwa ku bwetoowaze.
21. Lwaki twandifubye okukoppa, engeri, enjogera, n’enkola ya Yesu?
21 Nga tuli basanyufu nnyo nti Enjiri zitulaga ebigambo n’ebikolwa by’omusajja asingayo amagezi mu bantu bonna abaali babaddewo ku nsi! Tujjukire nti Yesu yayolekera ddala Kitaawe ky’ali. Bwe tukoppa engeri, enjogera, n’enkola ya Yesu, tuba tukulaakulanya amagezi agava waggulu. Mu ssuula eddako, tujja kulaba engeri y’okwolekamu amagezi agava eri Katonda mu bulamu bwaffe.
a Mu biseera bya Baibuli, ababazzi baakozesebwanga mu kuzimba amayumba, okubajja eby’omu nnyumba, n’ebikozesebwa mu bulimi n’obulunzi. Justin Martyr, ow’omu kyasa eky’okubiri C.E., yawandiika bw’ati ku Yesu: “Yabajjanga, ng’akola enkumbi n’ebikoligo.”
b Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusibwa ‘okweraliikirira’ kitegeeza ‘okuwugulibwa ebirowoozo.’ Mu Matayo 6:25, kitegeeza okutya okuleetera ebirowoozo by’omuntu okuwugulibwa, ne kimuviirako okufiirwa essanyu lye.
c Mu butuufu, okunoonyereza kwa sayansi kulaze nti okweraliikirira ekisukkiridde kiyinza okutuviirako okulwala omutima n’endwadde endala eziyinza okukendeeza ku bulamu bwaffe.