-
Akulira mu NazaaleesiYesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
-
-
Kirabika nti Yusufu ne Maliyamu we baviira e Misiri, Yesu alina emyaka ng’ebiri era kirabika ye mwana yekka gwe balina. Kyokka oluvannyuma Yesu afuna baganda be, Yakobo, Yusufu, Simooni, ne Yuda. Yusufu ne Maliyamu bazaalayo n’abaana ab’obuwala, bannyina ba Yesu. Mu butuufu, oluvannyuma lw’ekiseera, Yesu aba ne baganda be ne bannyina, nga bonna awamu tebakka wansi wa mukaaga.
-
-
Akulira mu NazaaleesiYesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
-
-
Yusufu kimwetaagisa okukola ennyo okusobola okulabirira ab’omu maka ge kati abeeyongedde obungi. Yusufu mubazzi, era olw’okuba akuza Yesu ng’omwana we yennyini, Yesu ayitibwa ‘omwana w’omubazzi.’ (Matayo 13:55) Yusufu ayigiriza Yesu omulimu ogw’okubajja, era Yesu akuguka mu mulimu ogwo. Mu butuufu, oluvannyuma abantu bwe baba boogera ku Yesu bamwogerako ‘ng’omubazzi.’—Makko 6:3.
-