-
Weeyagalire mu Ebyo by’Oteganira‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
-
-
6, 7. Kiki ekiraga nti Yesu abadde mukozi munyiikivu okumala ekiseera kiwanvu?
6 Yesu amaze ekiseera kiwanvu nnyo ng’akola n’obunyiikivu. Nga tannajja ku nsi, Katonda yamukozesa “ng’omukozi omukugu” mu kutonda ebintu byonna “mu ggulu ne ku nsi.” (Engero 8:22-31; Abakkolosaayi 1:15-17) Yesu bwe yajja ku nsi, yeeyongera okuba omukozi omunyiikivu. Bwe yali ng’akyali muto, yayiga omulimu gw’obuzimbi, era yali amanyiddwa ‘ng’omubazzi.’a (Makko 6:3) Omulimu guno gwetaagisa amaanyi mangi n’obukugu. Mu kiseera kya Yesu tewaaliwo byuma bya masannyalaze bisala mbaawo oba ebibanda omutundirwa embaawo. Kuba akafaananyi nga Yesu agenda okuleeta emiti egy’okukolamu embaawo—agitema era n’agitwala gy’agenda okukolera. Era kuba akafaananyi ng’azimba ennyumba—asala emiti gy’akasolya, akola enzigi era n’ebibajje ebirala. Awatali kubuusabuusa, emirimu Yesu gye yakolanga gyamuleeteranga essanyu n’obumativu.
-
-
Weeyagalire mu Ebyo by’Oteganira‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
-
-
a Kigambibwa nti ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘omubazzi’ “kitegeeza omuntu eyakozesanga emiti oba embaawo okuzimba ennyumba oba okubajja ebintu ebitali bimu.”
-