ESSUULA 53
Omufuzi Alina Obuyinza ku Maanyi g’Obutonde
MATAYO 14:22-36 MAKKO 6:45-56 YOKAANA 6:14-25
ABANTU BAAGALA KUFUULA YESU KABAKA
YESU ATAMBULIRA KU MAZZI, AKKAKKANYA OMUYAGA
Oluvannyuma lwa Yesu okuliisa abantu abangi mu ngeri ey’ekyamagero, abantu beewuunya nnyo. Bagamba nti “ono ye Nnabbi eyali ow’okujja mu nsi,” Masiya, era nti asobola okubeera omufuzi omulungi. (Yokaana 6:14; Ekyamateeka 18:18) Bwe kityo abantu baagala okumukwata bamufuule kabaka.
Kyokka Yesu ategeera ekyo abantu kye baagala okukola. Asiibula ekibiina ky’abantu era n’agamba abayigirizwa be okulinnya eryato bagende. Bagenda wa? Boolekera Besusayida oluvannyuma bagende e Kaperunawumu. Yesu agenda ku lusozi n’abeera eyo yekka ekiro ng’asaba.
Obudde bwe buba bunaatera okukya, Yesu alengera eryato. Omuyaga ogw’amaanyi gukunta ku nnyanja, era abatume ‘bategana nnyo okukuba enkasi olw’omuyaga ogubava mu maaso.’ (Makko 6:48) Yesu ava ku lusozi n’atandika okutambulira ku nnyanja ng’agenda gye bali. Mu kiseera kino “baakasaabalako mayiro nga ssatu oba nnya.” (Yokaana 6:19) Abayigirizwa bwe balaba Yesu ng’alinga abayitako, batya nnyo ne baleekaana nga bagamba nti: “Oyo si muntu!”—Makko 6:49.
Yesu abagumya ng’agamba nti: “Mugume! Ye nze; temutya.” Naye Peetero amugamba nti: “Mukama waffe, bw’oba nga ye ggwe ndagira ntambulire ku mazzi nzije gy’oli.” Yesu amugamba nti: “Jjangu!” Awo, Peetero ava mu lyato n’atambulira ku mazzi ng’agenda eri Yesu. Naye bw’atunuulira omuyaga, Peetero atya nnyo era n’atandika okubbira. Aleekaana ng’agamba nti: “Mukama wange, mponya!” Yesu agolola omukono gwe n’akwata Peetero era n’amugamba nti: “Ggwe alina okukkiriza okutono, lwaki obuusizzabuusizza?”—Matayo 14:27-31.
Peetero ne Yesu balinnya mu lyato, era omuyaga gukkakkana. Abayigirizwa beewuunya nnyo. Naye ddala bandyewuunyizza? Singa baategedde ‘amakulu g’ekyamagero eky’emigaati,’ Yesu kye yakoze essaawa ntono emabega, tebandyewuunyizza okulaba nti asobodde okutambulira ku mazzi n’okukkakkanya omuyaga. Ekyo kibaleetera okumuvunnamira nga bagamba nti: “Mazima ddala oli Mwana wa Katonda.”—Makko 6:52; Matayo 14:33.
Mu kiseera kitono, batuuka e Genesaleeti, ekisangibwa mu bukiikaddyo bwa Kaperunawumu. Basuula ennanga ne bagenda ku lukalu. Abantu bategeera Yesu, era abantu abo awamu n’abalala bangi okuva mu bitundu ebyetooloddewo, bamuleetera abalwadde. Abalwadde bwe bakwata obukwasi ku lukugiro lw’ekyambalo kye eky’okungulu, bawona.
Mu kiseera kino, ekibiina ky’abantu Yesu b’aliisizza mu ngeri ey’ekyamagero, bategeera nti Yesu agenze. Amaato agava e Tiberiya bwe gatuuka, abantu balinnya ne basaabala okugenda e Kaperunawumu okunoonya Yesu. Bwe bamuzuula, bamugamba nti: “Labbi, watuuse ddi eno?” (Yokaana 6:25) Naye Yesu ayanika ebiruubirirwa ebikyamu bye balina, nga bwe tujja okulaba.