ESSUULA 60
Kristo Afuusibwa—Alabikira mu Kitiibwa
MATAYO 16:28–17:13 MAKKO 9:1-13 LUKKA 9:27-36
OKUFUUSIBWA
ABATUME BAWULIRA EDDOBOOZI LYA KATONDA
Yesu bw’aba ayigiriza abantu mu bitundu by’e Kayisaliya ekya Firipo, ekiri mayiro nga 15 okuva ku Lusozi Kerumooni, ayogera ekintu ekyewuunyisa ennyo abatume be. Agamba nti: “Mazima mbagamba nti, waliwo abamu ku bali wano abatalirega ku kufa okutuusa nga bamaze okulaba Omwana w’omuntu ng’ajja mu Bwakabaka bwe.”—Matayo 16:28.
Abayigirizwa bateekwa okuba nga beebuuza ekyo Yesu ky’ategeeza. Nga wayise wiiki ng’emu, Yesu atwala abatume be basatu, Peetero, Yakobo, ne Yokaana, ku lusozi oluwanvu. Obudde buyinza okuba nga bwa kiro kubanga abatume abasatu basumagira. Yesu bw’aba ng’asaba afuusibwa nga balaba. Abatume balaba ng’ayakaayakana mu maaso ng’enjuba era ng’ebyambalo bye eby’okungulu nabyo byakaayakana ng’ekitangaala.
Baba bali awo, ne balaba abantu babiri abafaanana nga ‘Musa ne Eriya’ nga boogera ne Yesu. Abantu abo “batandika okwogera ku kugenda kwe, kwe yali agenda okutuukiriza mu Yerusaalemi.” (Lukka 9:30, 31) Okugenda kwa Yesu kwe boogerako kwe kufa kwe n’okuzuukira kwe, bye yayogerako gye buvuddeko awo. (Matayo 16:21) Ebyo bye boogera biraga bulungi nti Yesu alina okuttibwa, okwawukana ku ekyo Peetero kye yali alowooza.
Nga bonna otulo tubaweddeko, abatume abasatu batunula nkaliriza nga bwe bawuliriza ebigenda mu maaso. Kuno kwolesebwa, naye bye balaba biringa ebya ddala ne kiba nti Peetero atandika okwenyigira mu mboozi. Agamba nti: “Labbi, kirungi ffe okubeera wano. N’olwekyo, ka tuzimbe ensiisira ssatu, ng’emu yiyo, ng’endala ya Musa ate endala nga ya Eriya.” (Makko 9:5) Kyandiba nti Peetero ayagala okuzimba ensiisira, okwolesebwa okwo kusobole okugenda mu maaso okumala ekiseera kiwanvuko?
Peetero bw’aba akyayogera, ekire ekimasamasa kibasiikiriza era eddoboozi ne liva mu kire nga ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsiima. Mumuwulire.” Oluvannyuma lw’okuwulira eddoboozi lya Katonda, abatume batya nnyo ne beeyala wansi, naye Yesu abagamba nti: “Temutya, muyimuke.” (Matayo 17:5-7) Abatume abasatu bagenda okuyimuka, nga balaba Yesu yekka. Okwolesebwa kuwedde. Bwe bukya nga baserengeta okuva ku lusozi, Yesu abagamba nti: “Temubaako yenna gwe mubuulira ku kwolesebwa kuno okutuusa Omwana w’omuntu lw’alizuukira mu bafu.”—Matayo 17:9.
Okuba nti Eriya alabikidde mu kwolesebwa, kireetera abatume ekibuuzo. Babuuza nti: “Lwaki abawandiisi bagamba nti Eriya y’alina okusooka okujja?” Yesu abaddamu nti: “Eriya yajja dda naye tebaamutegeera.” (Matayo 17:10-12) Yesu ayogera ku Yokaana Omubatiza, eyakola omulimu ogufaananako ng’ogwa Eriya. Nga Eriya bwe yateekerateekera Erisa ekkubo, ne Yokaana yateekerateekera Yesu ekkubo.
Ng’okwolesebwa okwo kuteekwa okuba nga kuzizzaamu nnyo Yesu n’abatume amaanyi! Kulaga ekitiibwa Kristo ky’anaaba nakyo mu Bwakabaka bwe. Mu ngeri eyo abayigirizwa baalaba “Omwana w’omuntu ng’ajja mu Bwakabaka bwe,” nga Yesu bwe yali abasuubizza. (Matayo 16:28) Nga bali ku lusozi, ‘baalabako n’amaaso gaabwe ekitiibwa kye.’ Wadde ng’Abafalisaayo baali baagala okulaba akabonero akalaga nti Katonda yalonda Yesu okuba Kabaka, akabonero ako teyakabalaga. Naye abayigirizwa ba Yesu ab’oku lusegere baafuna enkizo okulaba nga Yesu afuusibwa, ekintu ekyabakakasa nti obunnabbi bwonna obukwata ku Bwakabaka bujja kutuukirira. Eyo ye nsonga lwaki, Peetero yagamba nti: “Twongedde okukakasa ekigambo ky’obunnabbi.”—2 Peetero 1:16-19.