SEMBERERA KATONDA
“Tteeka Ki Erisinga Obukulu mu Gonna?”
Katonda atwetaagisa ki? Ataddewo olukunkumuli lw’amateeka ge tulina okugoberera? Nedda. Yesu Kristo Omwana wa Katonda yalaga nti Katonda by’atwetaagisa biyinza okuwumbibwawumbibwako mu kigambo kimu kyokka.—Soma Makko 12:28-31.
Lowooza ku mbeera eyaliwo Yesu we yayogerera ebigambo ebiri mu kyawandiikibwa ekyo. Yali ayigiriza mu yeekaalu nga Nisaani 11, ng’ebula ennaku ntono nnyo attibwe. Abalabe be baamubuuza ebibuuzo ebizibu nga banoonya kwe bandisinzidde okumuvunaana, naye buli kibuuzo yakiddamu bulungi. Oluvannyuma baamubuuza ekibuuzo kino: “Tteeka ki erisinga obukulu mu gonna?”—Olunyiriri 28.
Ekibuuzo ekyo kyali kizibu nnyo. Abayudaaya abamu beebuuzanga etteeka erisinga obukulu ku mateeka agasukka mu 600 Katonda ge yawa Musa. Kirabika abalala baagambanga nti amateeka gonna genkana, era nti kikyamu okugamba nti waliwo erisinga amalala obukulu. Yesu yandizzeemu atya ekibuuzo ekyo?
Mu kubaddamu, Yesu teyayogera ku tteeka limu, wabula abiri. Erisooka, yagamba nti: “Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.” (Olunyiriri 30; Ekyamateeka 6:5) Ebigambo ebyo bye yakozesa buli kimu tekirina makulu gaakyo wabula byonna byogera ku kintu kimu, ekyo kye tuli munda. N’olwekyo, Yesu bwe yagamba nti tuteekwa okwagala Yakuwa ‘n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu bwaffe bwonna, n’ebirowoozo byaffe byonna,’ yali akiggumiza nti tulina okwagala Yakuwa mu bujjuvu nga tukozesa byonna bye tulina. Ekitabo ekimu ekinnyonnyola amakulu g’ebigambo ebiri mu Bayibuli kigamba nti ebigambo ebyo bitegeeza nti: “Katonda tulina okumwagalira ddala obuteerekaamu.” N’olwekyo bw’oba oyagala Katonda, buli lunaku ojja kufuba okukola by’ayagala.—1 Yokaana 5:3.
Ery’okubiri, Yesu yagamba nti: “Oteekwa okwagala muntu munno nga bwe weeyagala wekka.” (Olunyiriri 31; Eby’Abaleevi 19:18) Okwagala Katonda n’okwagala muntu munnaffe, bigendera wamu. Tetuyinza kukolako kimu ng’ate ekirala tetukikola. (1 Yokaana 4:20, 21) Bwe tuba twagala bantu bannaffe nga bwe tweyagala, tujja kubayisa nga bwe twandyagadde batuyise. (Matayo 7:12) Bwe tukola tutyo, tuba tulaga nti twagala Katonda eyatutonda ffenna mu kifaananyi kye.—Olubereberye 1:26.
Byonna Yakuwa by’atwetaagisa bisobola okuwumbibwawumbibwako mu kigambo kimu kyokka: okwagala
Amateeka agatulagira okwagala Katonda ne bantu bannaffe makulu nnyo! Yesu yagamba nti: “Tewaliiwo tteeka lisinga gano bukulu.” (Olunyiriri 31) Ate era yagamba nti amateeka amalala gonna geesigamye ku mateeka ago abiri.—Matayo 22:40.
Okusanyusa Katonda si kizibu. Byonna by’atwetaagisa bisobola okuwumbibwawumbibwako mu kigambo kimu kyokka: okwagala. Okuva edda n’edda, Katonda ayagala abo abamusinza okuba nga bamwagala. Naye okwagala tekulina kukoma mu bigambo, wabula tulina okukwoleka mu bikolwa. (1 Yokaana 3:18) Bayibuli egamba nti Yakuwa Katonda “kwagala.” Lwaki toyiga engeri gy’oyinza okulagamu nti oyagala Katonda?—1 Yokaana 4:8.
Essuula za Bayibuli z’oyinza okusoma mu Maaki