Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Kisoboka okutegeera essaawa zennyini Yesu Kristo kwe yakomererwa?
Abantu abamu beebuuza ekibuuzo kino olw’okuba ebyo omuwandiisi w’Enjiri Makko n’omutume Yokaana bye baawandiika ku kufa kwa Yesu birabika ng’ebikontana. Makko agamba nti: “[Abasirikale] baamukomerera ku ssaawa ssatu.” (Mak. 15:25) Ate Yokaana agamba nti, “zaali ssaawa nga mukaaga” Piraato we yaweerayo Yesu eri Abayudaaya akomererwe. (Yok. 19:14-16) Abeekenneenya Bayibuli bagezezaako okunnyonnyola ensonga lwaki abawandiisi b’Enjiri abo balabika ng’abakontana. Kyokka Ebyawandiikibwa tebiwa kalonda yenna alaga ensonga lwaki kiri kityo. Naye okwekenneenya engeri abantu gye baabalangamu essaawa mu kiseera ekyo kisobola okutuyamba okumanya ensonga lwaki ebyo bye baawandiika birabika ng’ebikontana.
Mu kyasa ekyasooka mu Mbala Eno, Abayudaaya obudde bw’emisana baabugabanyangamu essaawa 12, nga batandika okuzibala ng’enjuba yaakavaayo. (Yok. 11:9) ‘Essaawa ey’okusatu’ yavanga ku ssaawa bbiri ez’oku makya n’etuuka ku ssatu ez’oku makya ate yo essaawa ey’omukaaga yavanga ku ssaawa ttaano ez’oku makya n’etuuka ku mukaaga ez’omu ttuntu. Kya lwatu nti ebiseera enjuba we yaviirangayo ne we yagwiranga byakyukakyukanga mu mwaka. Bwe kityo, ennaku ezimu mu mwaka obudde bw’emisana bwabanga buwanvuko ku bw’ennaku endala. Ate era abantu mu kiseera ekyo baabalanga ebiseera nga basinziira ku kifo enjuba we yabeeranga ku ggulu. Bwe kityo, essaawa zaateeberezebwanga buteeberezebwa. Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani bitera okwogera ku bintu ebyaliwo ku ssaawa ey’okusatu, ey’omukaaga, oba ey’omwenda—ng’emirundi mingi bitegeeza ebintu ebyaliwo ku ssaawa ng’ezo. (Mat. 20:3, 5; Bik. 10:3, 9, 30) Oluusi byogera essaawa zennyini ekintu we kyabeererawo bwe kyabanga kyetaagisa nnyo okumanya essaawa ezo. Ng’ekyokulabirako byogera ku kintu ekimu ekyaliwo “ku ssaawa musanvu.”—Yok. 4:52.
Ebitabo by’Enjiri bikwatagana bulungi bwe biba byogera ku bintu ebyaliwo ku lunaku olwasembayo Yesu amale attibwe. Ebitabo byonna ebina biraga nti bakabona n’abakadde baakuŋŋaana ng’obudde bwakakya ne basalawo okutwala Yesu eri gavana wa Rooma Pontiyo Piraato. (Mat. 27:1; Mak. 15:1; Luk. 22:66; Yok. 18:28) Ekitabo kya Matayo, Makko, ne Lukka byonna biraga nti okuva ku ssaawa mukaaga, ng’olwo Yesu amaze okuwanikibwa ku muti, ensi yonna yakwata ekizikiza “okutuusa ku ssaawa mwenda.”—Mat. 27:45, 46; Mak. 15:33, 34; Luk. 23:44.
Ekimu ku bintu ebiyinza okuba nga bye bireetera ebyo abawandiisi b’Enjiri bye baawandiika ku kiseera Yesu kwe yakomererwa okulabika ng’ebikontana kiri nti: Okukubibwa nakwo kwatwalibwanga ng’ekimu ku bintu ebyali bizingirwa mu kukomerera omuntu. Ebiseera ebimu omuntu yakubibwanga nnyo n’atuuka n’okufa. Ne Yesu ateekwa okuba nga yakubibwa nnyo ne kiba nti yali takyasobola na kwetikka muti ogw’okubonaabona nga kyetaagisa omuntu omulala okumuyambako okugwetikka. (Luk. 23:26; Yok. 19:17) Bwe kiba nti okukubibwa kwa Yesu kwatwalibwa ng’entandikwa y’okukomererwa kwe, wateekwa okuba nga waayitawo ekiseera nga tannawanikibwa ku muti. Bwe kityo, abantu ab’enjawulo basobola okuwa essaawa ez’enjawulo Yesu kwe yakomererwa, okusinziira ku kiseera buli omu ky’aba atutte ng’entandikwa y’okukomererwa kwe.
Omutume Yokaana yawandiika Enjiri ye nga wayiseewo emyaka egiwerako ng’abawandiisi b’Enjiri abalala baamala dda okuwandiika ezaabwe. Bwe kityo, yali amanyi ebyo abawandiisi b’Enjiri abalala bye baali bawandiise. Kituufu nti essaawa Yokaana z’agamba nti Yesu kwe yakomererwa zaawukana ku za Makko. Naye ekyo kiraga bulungi nti Yokaana teyakoppa bukoppi ebyo Makko bye yawandiika. Yokaana ne Makko bombi baaluŋŋamizibwa Katonda. Wadde ng’Ebyawandiikibwa tebiwa kalonda yenna alaga ensonga lwaki ebyo Yokaana ne Makko bye baawandiika birabika ng’ebikontana, tuli bakakafu nti ebyo bye baawandiika byesigika.