ESSUULA 132
“Mazima Ddala Omuntu Ono Abadde Mwana wa Katonda”
MATAYO 27:45-56 MAKKO 15:33-41 LUKKA 23:44-49 YOKAANA 19:25-30
YESU AFIIRA KU MUTI
EBINTU EBYEWUUNYISA MU KISEERA YESU KY’AFIIRAMU
Essaawa ziri mukaaga ez’omu ttuntu. ‘Ensi eyo yonna ekwata ekizikiza okutuusa ku ssaawa mwenda’ ez’olweggulo. (Makko 15:33) Ekizikiza kino eky’entiisa tekikutte lwa kuba omwezi gusiikirizza enjuba ekitangaala ne kitatuuka ku nsi. Ekyo kitera kubaawo ng’omwezi gwakaboneka, naye kino kiseera kya mbaga ey’Okuyitako era ng’omwezi guba gwa ggabogabo oba mulamba. Ate era ekizikiza kino kimala ekiseera kiwanvuko, so si ddakiika ntono ng’ezo omwezi gwe zimala nga gusiikirizza enjuba. N’olwekyo Katonda y’aleese ekizikiza kino!
Ekyo kiteekwa okuba nga kitiisizza nnyo abo ababadde bakudaalira Yesu. Mu kiseera kino eky’ekizikiza, abakazi bana basembera kumpi n’omuti Yesu kw’akomereddwa. Be bano: maama wa Yesu, Saalome, Maliyamu Magudaleena, ne Maliyamu maama w’omutume Yakobo omuto.
Maama wa Yesu ali mu nnaku ya maanyi era omutume Yokaana ali naye “awo okumpi n’omuti.” Maliyamu alaba mutabani we gw’ayagala ennyo ng’ali mu bulumi obutagambika. Maliyamu alinga gwe bafumise “ekitala ekiwanvu.” (Yokaana 19:25; Lukka 2:35) Wadde nga Yesu ali mu bulumi bwa maanyi, alowooza ku ngeri maama we gy’anaalabirirwamu. Yeekakaba n’atunuulira Yokaana era n’agamba maama we nti: “Laba, Mutabani wo!” Era atunuulira maama we n’agamba Yokaana nti: “Laba, Maama wo!”—Yokaana 19:26, 27.
Obuvunaanyizibwa obw’okulabirira maama we, nga kirabika kati nnamwandu, Yesu abukwasa omutume gw’asinga okwagala. Yesu akimanyi nti baganda be, batabani ba Maliyamu abalala, tebannamukkiririzaamu. N’olwekyo, akoze enteekateeka maama we alabirirwe mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. Nga Yesu atuteerawo ekyokulabirako ekirungi!
Ng’ekizikiza kiggwaako, Yesu agamba nti: “Ennyonta ennuma.” Mu kukola kino atuukiriza obunnabbi obuli mu Byawandiikibwa. (Yokaana 19:28; Zabbuli 22:15) Yesu akitegeera nti Yakuwa amuggyeeko obukuumi asobole okugezesebwa mu bujjuvu. Ng’ayogera mu Lulamayiki olwogerwa Abagaliraaya, Kristo agamba nti: “Eli, Eli, lama sabakusaani?” Ebigambo ebyo bitegeeza nti, “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?” Abamu ku abo abali okumpi awo tebategeera by’ayogera era bagamba nti: “Wulira! Ayita Eriya.” Omu ku bo adduka n’annyika ekisuumwa mu mwenge omukaatuufu, n’akiteeka ku lumuli n’amuwa anywe. Naye abalala bagamba nti: “Mumuleke! Ka tulabe obanga Eriya anajja n’amuwanulayo.”—Makko 15:34-36.
Oluvannyuma Yesu ayogerera waggulu nti: “Kiwedde!” (Yokaana 19:30) Yesu amalirizza byonna Kitaawe bye yamutuma okukola ku nsi. Ng’agenda okufa Yesu agamba nti: “Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” (Lukka 23:46) Yesu ateeka obulamu bwe mu mikono gya Yakuwa nga mukakafu nti ajja kumuzuukiza. Nga yeesize Katonda mu bujjuvu, akutamya omutwe gwe n’afa.
Yesu bw’afa, wabaawo musisi ow’amaanyi n’ayasa n’enjazi. Okumanya wa maanyi nnyo, entaana eziri ebweru wa Yerusaalemi zibikkuka era emirambo gidda kungulu. Abantu abayitawo balaba emirambo egyo era bayingira mu “kibuga ekitukuvu” ne baabuulira abalala bye balabye.—Matayo 12:11; 27:51-53.
Ate era olutimbe oluwanvu olw’omu yeekaalu ya Katonda olwawula Awatukuvu n’Awasinga Obutukuvu luyulikamu wakati okuva waggulu okutuuka wansi. Ekyo kiraga nti Katonda asunguwalidde abo abasse Omwana we, era nti kati kisoboka okukozesa ekkubo eriyingira Awasinga Obutukuvu, mu ggulu.—Abebbulaniya 9:2, 3; 10:19, 20.
Abantu batidde nnyo. Omukulu w’ekibinja ky’abasirikale abakomeredde Yesu agamba nti: “Mazima ddala, omuntu ono abadde Mwana wa Katonda.” (Makko 15:39) Kirabika abaddewo nga Yesu awozesebwa, nga Piraato ayagala okukakasa obanga Mwana wa Katonda. Kati omusirikale oyo akakasizza nti Yesu mutuukirivu era nti Mwana wa Katonda.
Abalala bwe balaba ebintu ebyo, batambula ne baddayo ewaabwe “nga beekuba mu bifuba” olw’ennaku n’okuswala. (Lukka 23:48) Mu abo ababadde balengerera ewala mulimu abayigirizwa ba Yesu abakyala oluusi abaatambulanga naye. Nabo ebintu ebyo bibanakuwaza nnyo.