OBADDE OKIMANYI?
Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka baateekateekanga batya omulambo nga tebannaguziika?
Abayudaaya tebaalwangawo kuziika, baateranga okuziika omuntu ku lunaku lwennyini lw’afiiriddeko. Waliwo ensonga bbiri lwaki baakolanga bwe batyo. Esooka, mu Kyondo kya Buwalabu emirambo givunda mangu olw’akasana akangi akaliyo. Ey’okubiri, mu kiseera ekyo baalowoozanga nti bwe bamala ennaku eziwera nga tebannaziika, baba tebawadde mufu n’ab’omu maka ge kitiibwa.
Ebitabo by’Enjiri n’ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume byogera ku bantu bana abaaziikibwa ku lunaku lwennyini lwe baafiirako. (Matayo 27:57-60; Ebikolwa 5:5-10; 7:60–8:2) Ekitabo ky’Olubereberye kiraga nti Laakeeri mukyala wa Yakobo yafa nga bali ku lugendo. Mu kifo ky’okumuzzaayo amuziike ku biggya bya bajjajjaabe, Yakobo yamuziika mu ntaana ku ‘kkubo erigenda e Besirekemu.’—Olubereberye 35:19, 20, 27-29.
Bayibuli eraga nti Abayudaaya bateekateekanga bulungi omulambo nga tebannaguziika. Ab’eŋŋanda n’ab’emikwano baagunazanga, baagusiiganga eby’akaloosa n’amafuta amalungi, era ne baguzinga mu ngoye. (Yokaana 19:39, 40; Ebikolwa 9:36-41) Baliranwa n’abantu abalala bajjanga okukubagiza n’okubudaabuda amaka agaabanga gafiiriddwa.—Makko 5:38, 39.
Yesu yaziikibwa mu ngeri Abayudaaya gye baaziikibwangamu?
Abayudaaya bangi baaziikanga abafu mu ntaana oba mu mpuku ezaasimibwanga mu njazi eŋŋonvu ezisangibwa mu bitundu bingi ebya Isiraeri. Mu kukola bwe batyo, baagobereranga enkola eyatandikibwawo bajjajjaabwe ab’edda. Ibulayimu, Saala, Isaaka, Yakobo, n’abalala baaziikibwa mu mpuku y’e Makupeera okumpi n’e Kebbulooni.—Olubereberye 23:19; 25:8, 9; 49:29-31; 50:13.
Yesu yaziikibwa mu ntaana eyasimibwa mu lwazi. (Makko 15:46) Entaana ng’eyo yabanga n’omulyango mufunda. Munda baasimangamu obusenge mwe bateekanga emirambo. Oluvannyuma lw’omulambo okuvunda, baayolanga amagumba ne bagassa mu ssanduuko eyakolebwa mu jjinja, era ng’ekyo kyakolebwanga nnyo mu kiseera kya Yesu. Ekyo kyabasobozesanga okufuna ekifo we bandiziise omuntu omulala.
Ku lunaku lwa Ssabbiiti, Abayudaaya tebaakolanga nteekateeka za kuziika kubanga amateeka Katonda ge yawa Musa gaali gabalagira okuwummula ku lunaku olwo. Olw’okuba Yesu yafa ng’ebula essaawa nga ssatu zokka Ssabbiiti etuuke, Yusufu ow’e Alimasaya n’abala baamuziika nga tebamalirizza kuteekateeka mulambo gwe ng’Abayudaaya bwe baakolanga. (Lukka 23:50-56) Eyo ye nsonga lwaki abamu ku mikwano gya Yesu baagenda ku ntaana ye oluvannyuma lwa Ssabbiiti nga basuubira okukola ebyali bisigadde.—Makko 16:1; Lukka 24:1.