ESSUULA 12
Yesu Abatizibwa
MATAYO 3:13-17 MAKKO 1:9-11 LUKKA 3:21, 22 YOKAANA 1:32-34
YESU ABATIZIBWA ERA AFUKIBWAKO OMWOYO OMUTUKUVU
YAKUWA AGAMBA NTI YESU MWANA WE
Oluvannyuma lw’emyezi nga mukaaga okuva Yokaana Omubatiza lwe yatandika okubuulira, Yesu nga kati alina emyaka nga 30 egy’obukulu, ajja gy’ali ku Mugga Yoludaani. Lwaki Yesu azze eri Yokaana? Tazze kumukyalira bukyalizi oba kulaba bulabi engeri Yokaana gy’akolamu omulimu gwe. Yesu azze Yokaana amubatize.
Yokaana agaana era agamba nti: “Ggwe osaanidde okumbatiza, naye ate ggwe ajja gye ndi?” (Matayo 3:14) Yokaana akimanyi nti Yesu Mwana wa Katonda ow’enjawulo. Kijjukire nti Yokaana bwe yali mu lubuto lwa nnyina, Erizabeesi, yabuukabuuka olw’essanyu Maliyamu eyali olubuto lwa Yesu bwe yakyalira Erizabeesi. Maama wa Yokaana ateekwa okuba nga yamunyumiza ebyo ebyaliwo. Ate era ateekwa okuba nga yawulirako nti malayika yalangirira okuzaalibwa kwa Yesu era nti bamalayika baalabikira abasumba mu kiro Yesu lwe yazaalibwa.
Yokaana akimanyi nti ye abatiza abantu ababa beenenyezza ebibi byabwe, so si Yesu atalina kibi kyonna. Olw’okuba Yokaana agaanye okubatiza Yesu, Yesu amugamba nti: “Ka kibeere bwe kiti kaakano, kubanga kitugwanira okukola eby’obutuukirivu byonna mu ngeri eno.”—Matayo 3:15.
Naye lwaki Yesu azze bamubatize? Okubatizibwa kwa Yesu tekulaga nti yeenenyezza ebibi bye, wabula kulaga nti yeeyanjuddeyo eri Kitaawe okukola by’ayagala. (Abebbulaniya 10:5-7) Yesu abadde mubazzi, naye kati ekiseera kituuse atandike okukola omulimu Kitaawe gwe yamutuma okukola ku nsi. Olowooza Yokaana alina ekintu eky’enjawulo ky’asuubira okubaawo ng’abatiza Yesu?
Nga wayiseewo ekiseera, Yokaana yagamba nti: “Oyo eyantuma okubatiza mu mazzi yaŋŋamba nti, ‘Gw’onoolaba ng’omwoyo gumukkako era ne gumusigalako, y’oyo abatiza n’omwoyo omutukuvu.’” (Yokaana 1:33) N’olwekyo, Yokaana asuubira nti waliwo omuntu gw’ajja okubatiza omwoyo gwa Katonda gukke ku muntu oyo. Era Yesu bwe yali yaakava mu mazzi, Yokaana ateekwa okuba nga teyeewuunya bwe yalaba “Omwoyo gwa Katonda nga [gukka ku Yesu] nga gulinga ejjiba.”—Matayo 3:16.
Naye ekyo si kye kyokka ekibaawo. Yesu bw’ava mu mazzi, ‘eggulu libikkuka.’ Ekyo kitegeeza ki? Kirabika kitegeeza nti nga Yesu yaakamala okubatizibwa, ajjukira byonna bye yali amanyi ng’akyali mu ggulu. N’olwekyo, kati ajjukira obulamu bwe yalimu ng’Omwana wa Yakuwa ow’omwoyo, era n’amazima Katonda ge yamuyigiriza nga tannajja ku nsi.
Okugatta ku ekyo, nga Yesu abatizibwa, eddoboozi okuva mu ggulu ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsiima.” (Matayo 3:17) Eddoboozi eryo ly’ani? Teriyinza kuba lya Yesu kubanga ali awo ne Yokaana. Eddoboozi eryo lya Katonda.
Awatali kubuusabuusa, Yesu Mwana wa Katonda. Yesu si ye Katonda.
Weetegereze nti Yesu muntu naye ayitibwa mwana wa Katonda, nga Adamu omuntu eyasooka okutondebwa bwe yali omwana wa Katonda. Omuyigirizwa Lukka bw’amala okwogera ku kubatizibwa kwa Yesu awandiika nti: “Yesu we yatandikira omulimu gwe, yali aweza emyaka nga 30, era okusinziira ku ekyo abantu kye baali balowooza, yali mwana wa Yusufu, omwana wa Keri, . . . omwana wa Dawudi, . . . omwana wa Ibulayimu, . . . omwana wa Nuuwa, . . . omwana wa Adamu, omwana wa Katonda.”—Lukka 3:23-38.
Nga Adamu bwe yali “omwana wa Katonda,” ne Yesu naye bw’atyo bw’ali. Yesu bw’amala okubatizibwa, afuna enkolagana empya ne Katonda, era afuuka Omwana wa Katonda ow’omwoyo. N’olwekyo, Yesu asobolera ddala okuyigiriza amazima agakwata ku Katonda n’okulaga abantu ekkubo eribatuusa mu bulamu. Yesu atandika obuweereza bwe era oluvannyuma ajja kuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka ku lw’abantu aboonoonyi.