Osaanidde Kuba Muntu Wa Ngeri Ki?
“Mube bantu abalina empisa entukuvu era abakola ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda!”—2 PEET. 3:11.
1, 2. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okusiimibwa mu maaso ga Katonda?
ABANTU bangi bafaayo nnyo ku ekyo abalala kye babalowoozaako. Naye ffe Abakristaayo tusaanidde okufaayo ennyo ku ngeri Yakuwa gy’atutwalamu. Ekyo kiri kityo kubanga Yakuwa ye Muyinza w’Ebintu Byonna era ye “nsibuko y’obulamu.”—Zab. 36:9, NW.
2 Omutume Peetero yakiraga nti okusobola okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa, tulina okuba abantu abalina “empisa entukuvu era abakola ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda.” (Soma 2 Peetero 3:11.) “Empisa” zaffe okusobola okuba entukuvu tulina okuba abayonjo mu birowoozo, mu mpisa, ne mu by’omwoyo. Ate era tulina okuba ‘n’ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda’ nga tumwagala nnyo era nga tumussaamu ekitiibwa. Bwe kityo, okusobola okusiimibwa mu maaso ga Katonda tulina okufaayo ku mpisa zaffe ne ku ekyo ekiri mu mitima gyaffe. Okuva bwe kiri nti Yakuwa akebera emitima, amanyi bulungi obanga tulina empisa entukuvu era obanga tumwemaliddeko.—1 Byom. 29:17.
3. Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
3 Omulabe waffe, Sitaani Omulyolyomi, tayagala tube nga tusiimibwa mu maaso ga Katonda. Mu butuufu, akola kyonna ekisoboka okulaba nti ayonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Sitaani akozesa obulimba okugezaako okutusendasenda okuva ku Katonda waffe gwe tusinza. (Yok. 8:44; 2 Kol. 11:13-15) N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Sitaani alimba atya abantu? Kiki kye nnyinza okukola okusobola okukuuma enkolagana yange ne Yakuwa?’
SITAANI ALIMBA ATYA ABANTU?
4. Okusobola okwonoona enkolagana yaffe ne Katonda, kiki Sitaani ky’agezaako okukola, era lwaki?
4 Yakobo yagamba nti: “Buli muntu agezesebwa ng’atwalirizibwa era ng’asendebwasendebwa okwegomba kwe. Oluvannyuma okwegomba bwe kuba olubuto kuzaala ekibi; ate ekibi bwe kimala okukolebwa kireeta okufa.” (Yak. 1:14, 15) Okusobola okwonoona enkolagana yaffe ne Katonda, Sitaani agezaako okwonoona omutima gwaffe, omusibuka okwegomba kwaffe.
5, 6. (a) Kiki Sitaani ky’akozesa okugezaako okwonoona omutima gwaffe? (b) Bintu ki ebisatu Sitaani by’akozesa okutuleetera okufuna okwegomba okubi mu mitima gyaffe, era bumanyirivu ki bw’alina mu kukozesa ebintu ebyo?
5 Kiki Sitaani ky’akozesa okugezaako okwonoona omutima gwaffe? Bayibuli egamba nti “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yok. 5:19) Ekimu ku bintu Sitaani by’akozesa bye ‘bintu ebiri mu nsi.’ (Soma 1 Yokaana 2:15, 16.) Okumala emyaka nkumi na nkumi Omulyolyomi abadde akozesa ensi ye okulimbalimba abantu. Okuva bwe kiri nti tuli mu nsi eno embi, tulina okwekuuma enkwe za Sitaani.—Yok. 17:15.
6 Sitaani agezaako okutuleetera okufuna okwegomba okubi mu mitima gyaffe. Omutume Yokaana yalaga “ebintu” bisatu “ebiri mu nsi” Sitaani by’akozesa: (1) “okwegomba kw’omubiri,” (2) “okwegomba kw’amaaso,” ne (3) “okweraga olw’ebintu omuntu by’alina mu bulamu.” Sitaani yakozesa ebintu ebyo ng’akema Yesu mu ddungu. Olw’okuba Sitaani amaze emyaka mingi ng’akozesa ebintu ebyo, kati alina obumanyirivu bwa maanyi nnyo mu kubikozesa, era amanyi kintu ki ku bintu ebyo ky’asobola okukozesa ku buli muntu. Nga tetunnaba kulaba kye tuyinza okukola okusobola okwekuuma enkwe za Sitaani, ka tusooke tulabe engeri Omulyolyomi gye yasobola okulimba Kaawa naye n’atasobola kulimba Mwana wa Katonda.
“OKWEGOMBA KW’OMUBIRI”
7. Sitaani yakozesa atya “okwegomba kw’omubiri” okukema Kaawa?
7 Buli muntu yeetaaga okulya emmere okusobola okuba omulamu. Omutonzi waffe yatonda ensi ng’esobola okubala emmere mu bungi. Kyokka Sitaani asobola okukozesa eby’okulya okutuleetera okumenya amateeka ga Katonda. Ka tulabe engeri gye yabikozesaamu okulimbalimba Kaawa. (Soma Olubereberye 3:1-6.) Sitaani yagamba Kaawa nti yali asobola okulya ku ‘muti ogw’okumanya obulungi n’obubi’ n’atafa. Era yamugamba nti bwe yandiridde ku muti ogwo, yandibadde nga Katonda. (Lub. 2:9) Bwe kityo, Omulyolyomi yali ng’agamba nti Kaawa yali teyeetaaga kugondera Katonda okusobola okuba omulamu. Ng’obwo bwali bulimba bwa maanyi! Omulyolyomi bwe yamala okuteeka ekirowoozo ekyo mu Kaawa, Kaawa yali asobola okukola ebintu bibiri: Yali asobola okweggyamu ekirowoozo ekyo, oba okusigala ng’alowooza ku kibala ekyo, n’aleka okwegomba okubi okukula mu mutima gwe. Wadde nga waaliwo emiti emirala mingi Kaawa gye yali asobola okulyako, yasalawo okusigala ng’alowooza ku muti ogwali wakati mu lusuku. N’ekyavaamu ‘yanoga ku bibala byagwo n’alya.’ Sitaani yaleetera kaawa okwegomba ekintu Omutonzi we kye yali amugaanye.
8. Sitaani yagezaako atya okukozesa “okwegomba kw’omubiri” okukema Yesu, naye lwaki teyasobola kumuleetera kujeemera Katonda?
8 Sitaani yakozesa akakodyo ke kamu ng’agezaako okukema Yesu mu ddungu. Yesu bwe yali amaze ennaku 40 ng’asiiba, Sitaani yagezaako okumukema ng’akozesa eby’okulya. Sitaani yagamba Yesu nti, “Bw’oba oli mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere.” (Luk. 4:1-3) Yesu yali asobola okukola ebintu bibiri: Yali asobola okusalawo okukozesa amaanyi ge okwefunira eky’okulya oba obutagakozesa. Yesu yali akimanyi nti tekyali kituufu kukozesa maanyi ge kwenoonyeza bibye. Wadde ng’enjala yali emuluma, okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kye kyali kisinga obukulu gy’ali okusinga eby’okulya. Yesu yagamba Sitaani nti: “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.’”—Mat. 4:4.
“OKWEGOMBA KW’AMAASO”
9. Ebigambo “okwegomba kw’amaaso” biraga ki, era Sitaani yakozesa atya okwegomba okwo okusendasenda Kaawa?
9 Ekintu ekirala Yokaana kye yayogerako kwe ‘kwegomba kw’amaaso.’ Ebigambo ebyo biraga nti omuntu asobola okutandika okwegomba ekintu oluvannyuma lw’okukitunuulira. Sitaani yakozesa okwegomba kw’amaaso okusendasenda Kaawa. Yamugamba nti: ‘Amaaso gammwe gajja kuzibuka.’ Kaawa gye yakoma okutunuulira ekibala ekyagaanibwa, gye yakoma okukyegomba. N’ekyavaamu, Kaawa yalaba ng’omuti “gusanyusa amaaso.”
10. Sitaani yakozesa atya “okwegomba kw’amaaso” okukema Yesu, era Yesu yamuddamu atya?
10 Sitaani yakozesa atya “okwegomba kw’amaaso” okukema Yesu? Sitaani “[yalaga Yesu] obwakabaka bwonna obw’omu nsi; n’amugamba nti: ‘Nja kukuwa obuyinza ku bwakabaka buno bwonna n’ekitiibwa kyabwo.’” (Luk. 4:5, 6) Yesu teyalaba bwakabaka bwonna obw’omu nsi na maaso ge, naye yalaba ekitiibwa kyabwo mu kwolesebwa. Sitaani ateekwa okuba nga yali alowooza nti ebyo Yesu bye yali alabye mu kwolesebwa byandimusikirizza. Yagamba Yesu nti: “Singa ovunnama n’onsinza, bwonna bujja kuba bubwo.” (Luk. 4:7) Yesu yagaana okukola ekyo Sitaani kye yamugamba okukola. Amangu ddala yamuddamu nti: “Kyawandiikibwa nti, ‘Yakuwa Katonda wo gw’olina okusinza era ye yekka gw’olina okuweereza.’”—Luk. 4:8.
“OKWERAGA OLW’EBINTU OMUNTU BY’ALINA MU BULAMU”
11. Sitaani yasendasenda atya Kaawa?
11 Ekintu eky’okusatu Yokaana kye yayogerako kwe ‘kweraga olw’ebintu omuntu by’alina mu bulamu.’ Adamu ne Kaawa bwe baali nga be bantu bokka abali ku nsi, baali tebalina muntu yenna gwe bayinza kweragirako. Naye baayoleka amalala. Sitaani bwe yali akema Kaawa yamuleetera okulowooza nti Katonda yalina ebintu ebirungi bye yali amukwese. Omulyolyomi yamugamba nti bwe yandiridde ku ‘muti ogw’okumanya obulungi n’obubi, yandibadde nga Katonda ng’amanyi ekirungi n’ekibi.’ (Lub. 2:17; 3:5) Sitaani yali ayagala Kaawa alowooze nti asobola okubeerawo awatali bulagirizi bwa Yakuwa. Amalala gayinza okuba nga ge gaaleetera Kaawa okukkiriza ebyo Sitaani bye yamugamba. Yalya ku kibala ekyali kigaaniddwa, ng’alowooza nti teyandifudde. Nga yali mukyamu nnyo!
12. Sitaani yagezaako atya okukema Yesu, era Yesu yamuddamu atya?
12 Obutafaananako Kaawa, Yesu yali mwetoowaze. Sitaani yagezaako okumukema akole ekintu ekyandireetedde abalala okumutendereza naye nga kigezesa Katonda. Ekyo Yesu yagaana okukikola olw’okuba kyandibadde kikolwa ekyoleka amalala. Mu kifo ky’ekyo, Yesu yaddamu Sitaani nti: “Kyagambibwa nti, ‘Tokemanga Yakuwa Katonda wo.’”—Soma Lukka 4:9-12.
TUYINZA TUTYA OKUKUUMA ENKOLAGANA YAFFE NE YAKUWA?
13, 14. Sitaani agezaako atya okutubuzaabuza leero?
13 Ne leero, Sitaani akema abantu ng’akozesa ebintu bye bimu nga bye yakozesa okukema Kaawa ne Yesu. Akozesa “okwegomba kw’omubiri” okuleetera abantu okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu n’okwemalira ku kulya n’okunywa. Akozesa “okwegomba kw’amaaso” okuleetera abantu okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu, naddala ku Intaneeti. Era akozesa ‘okweraga olw’ebintu omuntu by’alina mu bulamu’ okuleetera abantu okuba ab’amalala, okwagala okwefunira obuyinza, ettutumu, n’eby’obugagga.
14 Sitaani akozesa “ebintu ebiri mu nsi” okutusendasenda ng’omuvubi bw’akozesa ensiriŋŋanyi okusikiriza eky’ennyanja. Ensiriŋŋanyi esobola okusikiriza eky’ennyanja naye nga tekimanyi nti eri ku ddobo. Sitaani akozesa ebintu ebirabika ng’ebyetaagisa mu bulamu okutusendasenda okumenya amateeka ga Katonda. Ayagala tulowooze nti okukola ku byetaago byaffe n’okuba mu bulamu obulungi kikulu nnyo okusinga okukola Katonda by’ayagala. Onokkiriza Sitaani okukubuzaabuza?
15. Okufaananako Yesu, tuyinza tutya okuziyiza ebikemo bya Sitaani?
15 Sitaani yalimba Kaawa naye teyasobola kulimba Yesu. Ku buli mulundi Sitaani lwe yagezaako okukema Yesu, Yesu yamuddangamu nti: “Kyawandiikibwa nti” oba, “Kyagambibwa nti.” Bwe tufuba okwesomesa Bayibuli, tujja kutegeera bulungi Ebyawandiikibwa era tujja kusobola okubijjukira n’okubikolerako nga tukemebwa. (Zab. 1:1, 2) Okujjukira ebyokulabirako by’abaweereza ba Katonda abaali abeesigwa aboogerwako mu Bayibuli, kijja kutukubiriza okubakoppa. (Bar. 15:4) Bwe tussa ekitiibwa mu Yakuwa, ne twagala by’ayagala era ne tukyawa by’akyawa, kijja kutuyamba okuziyiza ebikemo.—Zab. 97:10.
16, 17. Okukozesa “amagezi” kiyinza kutuyamba kitya?
16 Omutume Pawulo yatukubiriza okukozesa “amagezi” gaffe kituyambe okuba abantu abalina endowooza ya Katonda, so si ey’ensi. (Bar. 12:1, 2) Pawulo yakiraga nti kikulu nnyo okufaayo ku bintu bye tulowoozaako. Yagamba nti: “Tusiguukulula endowooza enkyamu na buli kintu ekigulumivu ekiwakanya okumanya okukwata ku Katonda; era tuwangula buli kirowoozo ne tukifuula kiwulize eri Kristo.” (2 Kol. 10:5) Ebyo bye tulowooza birina kinene kye biyinza okutukolako. N’olwekyo twetaaga ‘okulowoozanga’ ku bintu ebizimba.—Baf. 4:8.
17 Okusobola okuba abatukuvu, tulina okwewala ebirowoozo ebibi n’okwegomba okubi. Tulina okwagala Yakuwa ‘n’omutima omulongoofu.’ (1 Tim. 1:5) Kyokka omutima mulimba, era oluusi tuyinza n’obutakimanya nti “ebintu ebiri mu nsi” bitutwalirizza nnyo. (Yer. 17:9) N’olwekyo, kikulu nnyo ‘okwekebera okulaba obanga tuli mu kukkiriza, n’okwegezesa tumanyire ddala ekyo kye tuli.’ Ekyo tuyinza okukikola nga tufuba okulaba obanga ebyo bye tulowooza ne bye twegomba bituukagana n’ebyo bye tusoma mu Bayibuli.—2 Kol. 13:5.
18, 19. Lwaki tusaanidde okufuba okuba abantu abasiimibwa mu maaso ga Yakuwa?
18 Ekintu ekirala ekiyinza okutuyamba obutatwalirizibwa ‘bintu ebiri mu nsi’ kwe kukuumira mu birowoozo ebigambo by’omutume Yokaana bino: “Ensi eggwaawo n’okwegomba kwayo, naye oyo akola Katonda by’ayagala abeerawo emirembe gyonna.” (1 Yok. 2:17) Enteekateeka ya Sitaani erabika ng’ejja okubeerawo emirembe gyonna. Naye lujja kukya lumu nga tekyaliwo. Okukijjukira nti buli kintu ekiri mu nteekateeka ya Sitaani kinaatera okusaanawo, kijja kutuyamba obutalimbibwalimbibwa Mulyolyomi.
19 Omutume Peetero atukubiriza okuba abantu abasiimibwa mu maaso ga Katonda ‘nga tulindirira era nga tukuumira mu birowoozo byaffe okujja kw’olunaku lwa Yakuwa, eggulu mwe ligenda okwokebwa omuliro lisaanuuke n’ebintu byonna bisaanuuke olw’ebbugumu eringi!’ (2 Peet. 3:12) Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kuleeta olunaku lwe azikirize ensi ya Sitaani yonna. Naye ng’ekyo tekinnabaawo, Sitaani ajja kweyongera okukozesa “ebintu ebiri mu nsi” okutukema, nga bwe yakema Kaawa ne Yesu. Tetusaanidde kuba nga Kaawa eyeerowoozaako yekka. Singa tuba nga Kaawa tuba tukkirizza Sitaani okuba katonda waffe. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okuba nga Yesu. Tusaanidde okuziyiza ebikemo wadde nga biyinza okuba nga bisikiriza. N’olwekyo, ka buli omu ku ffe afube okuba omuntu asiimibwa mu maaso ga Yakuwa.